Cover

The Old Testament of the Holy Bible

.

Olubereberye

Olubereberye 1

1 Olubereberye Katonda yatonda eggulu n'ensi. 2 Ensi yali njereere nga yeetabuddetabudde; n'ekizikiza kyali kungulu ku buziba: omwoyo gwa Katonda ne gumaamira kungulu ku mazzi. 3 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo obutangaavu. Ne wabaawo obutangaavu. 4 Katonda n'alaba nga kirungi: Katonda n'ayawula wakati mu butangaavu n'ekizikizza. 5 Katonda obutangaavu n'abuyita emisana, n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Nebuba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olumu. 6 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. 7 Katonda n'assaawo ebbanga n'ayawula amazzi agali wansi w'ebbanga n'amazzi agali waggulu mu bbanga: bwe kityo bwe kyali. 8 Katonda ebbanga n'aliyita eggulu. Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri. 9 Katonda n'ayogera nti, Amazzi agali wansi w'ggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu, olukalu lulabike: bwe kityo bwe kyali. 10 Katonda olukalu n'aluyita ensi; n'ekkuŋŋaaniro ly'amazi n'aliyita ennyanja: Katonda n'alaba nga kirungi. 11 Katonda n'ayogera nti, ensi emere ebimeera, omuddo ogubala ensigo, omuti gw'ebibala, ogubala ebibala mu ngeri yaagwo, ogulimu ensigo yaagwo, ku nsi: bwe kityo bwe kyali. 12 Ensi n'emera ebimera, omuddo ogubala ensigo mu ngeri yaagwo, n'omuti ogubala ebibala, ogulimu ensigo yaagwo, mungeri yaagwo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 13 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okusatu. 14 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo ebyaka mu bbanga ery'eggulu; byawulenga emisana n'ekiro, bibenga ng'obubonero, n'ebiro, n'ennaku n'emyaka: 15 Bibenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu bakenga ku nsi: bwe kityo be kyali. 16 Katonda n'akola ebyaka bibiri ebinene; ekyaka ekisinga obunene okufuganga emisana, n'ekyaka ekitono okufuganga ekiro: era n'emmunyeenye. 17 Katonda n'abiteeka mu bbanga ery'eggulu byakenga ku nsi, 18 bifugenga emisana n'ekiro, era byawulenga obutangaavu n'elizikiza: Katonda n'akiraba nga kirungi. 19 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okuna. 20 Katonda n'ayogera nti, Amazzi gazaale ebyewalula bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu. 21 Katonda n'atonda balukwata abanene, na buli ekirina obulamu ekyewalula, amazzi kye gaazaala mu ngeri zaabyo, na buli ekibuuka ekirina ebyona mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 22 Katonda n'abiwa omukisa n'ayongera nti, Mweyongere mwale, mujjuze amazzi ag'omu nnyanja, era n'ebibuuka byeyongere mu nsi. 23 Ne buba akawungeezi, ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okutaano. 24 Katonda n'ayogera nti, Ensi ereete ekirina obulamu mu ngeri yaakyo, ente, n'ekyewalula, n'ensolo y'ensi mu ngeri yaayo: bwe kityo bwe kyali. 25 Katonda n'akola ensolo y'ensi mu ngeri yaazo, n'ente mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo: Katonda n'akiraba nga kirungi. 26 Katonda n'ayogera nti, Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe: bafugenga eby'omu nnyanja n'ebibuuka waggulu, n'ente, n'ensi yonna, na buli ekyewalula ku nsi. 27 Katonda n'atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n'omukazi bwe yabaonda. 28 Katonda n'abawa omukisa, Katonda n'abangamba nti, Mweyongerenga, mwalenga, mujjuze ensi, mugirye: mufugenga eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu, nabuli ekirina obulamu ekitambula ku nsi. 29 Katonda n'ayogera nti, Laba, mbawadde omuddo gwonna ogubala ensigo, oguli ku nsi yonna, na buli muti ogulimu, ekibala ky'omuti ogubala ensigo eri mmwe; gunaabanga mmere. 30 n'eri buli enolo ey'oku nsi, na buli ekibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi, ekirimu mukka omulamu, ngiwadde omuddo gwonna omubisi okubeeranga emmere: bwe kityo bwe kyali. 31 Katonda n'alaba buli ky'akoze; era, laba, nga kirungi. Ne buba akawungeezi ne buba, enkya, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.

Olubereberye 2

1 Ne biggwa okukola eggulu n'ensi n'eggye lyabyo lyonna. 2 Katonda n'amalira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gye yakola; n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu mu mirimu gye gyonna gye yakola. 3 Katona n'awa omukisa olunaku olw'omusanvu n'alutukuza: kubanga olwo lwe yawummuliramu mu mirimu gye gyonna Katonda gye yatonda gye yakola. 4 Bwe lityo ezzadde ery'eggulu n'ensi bwe lyatondebwa, ku lunaku Mukama Katonda lwe yakoleako ensi n'ggulu. 5 Na buli muti ogw'omu nsiko nga tegunnaba kubeerawo mu nsi, na buli muddo ogw'omu nsiko nga tegunnaba kumera: kubanga Mukama Katonda yali nga tannaba kutonnesa nkuba ku nsi, nga tewali muntu alima ensi; 6 naye olufu ne lulinnya okuva mu nsi, ne lutonnya amazzi ku nsi yonna. 7 Mukama Katonda n'abumba omuntu, n'efuufu y'ensi, n'amufuuwamu mu nnyindo omukka ogw'obulamu; omuntu n'afuuka omukka omulamu. 8 Mukama Katonda n'asimba olusuku mu Aden ku luuyi olw'ebuvanjuba; n'ateeka omwo omuntu gwe yabumba. 9 Mukama Katonda n'ameza mu nsi buli muti ogusanyusa amaaso omulungi okulya; n'omuti ogw'obulamu wakati mu lusuku, n'omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi. 10 Omugga ne gusibuka mu Adeni okufukiriranga amazzi mu lusuku; ne gwawukanamu ne gufuuka emitwe ena. 11 Ogw'olubereberye erinnya lyagwo Pisoni; ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kavina, erimu zaabu; 12 ne zaabu ey'omu nsi eri nnungi: mulimu bedola n'amayinja sokamu. 13 N'erinnya ly'omugga ogw'okubiri Gikoni: ogwo gwe gwetooloola ensi yonna eya Kkuusi. 14 N'erinnya ly'omugga ogw'okusatu Kidekeri: ogwo gwe guyita ku mabbali g'e Bwasuli. N'omugga ogw'okuna Fulaati. 15 Mukama Katonda n'atwala omuntu, n'amuteeka mu lusuku Adeni alulimenga alukuumenga. 16 Mukama Katonda n'alagira lomuntu n'amugamba nti Buli muti ogw'omu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga: 17 naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako: kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa. 18 Mukama Katonda n'ayogera nti Si kirungi omuntu okubeeranga yekka; n'amukolera omubeezi amusaanira. 19 Mukama Katonda n'akola n'ettaka buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ekibuuka waggulu; n'abireetera omuntu, okulaba bw'anaabiyita: n'omuntu buli lye yayita ekitonde kyonna ekiramu eryo lye linnya lyakyo. 20 Omuntu n'abituuma amannya buli nsolo n'ekibuuka waggulu na buli nsolo ey'omu nsiko; naye omuntu nga tannalaba mubeezi amusaanira. 21 Mukama Katonda n'aleetera omuntu otulo tungi, ne yeebaka; n'amuggyamu olubiriizi lumu, n'azzaawo ennyama mu kifo kyalwo. 22 Mukama Katonda n'azimba olubiriizi, lw'aggye mu muntu, okuba omukazi, n'amuleeta eri omuntu. 23 Omuntu n'ayogera nti Ono nno lye ggumba erivudde mu magumba gange, ye nnyama ewdde mu nnyama yange: naye anaayitibwanga mukazi, kubanga aggiddwa mu musajja. 24 Omusajja ky'anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we: nabo banaabanga omubiri gumu. 25 Bombi baali bwereere, omusajja ne mukazi we, so tebaakwatibwa nsonyi.

Olubereberye 3

1 N'omusota gwali mukalabakalaba okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko, ze yakola Mukama Katonda. Ne gugamba omukazi nti Bw'atyo bwe yayogera Katonda nti Temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku? 2 Omukazi n'agamba omusota nti Ebibala by'emiti egy'omu lusuku tutya; 3 Wabula ebibala by'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yayogera nti Te mugulyangako newakubadde okugu kwatangako muleme okufa. 4 Omusota ne gugamba omukazi nti Okufa temulifa: 5 Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lw muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyang obulungi n'obubi. 6 Omukazi bwe yalaba ng'omuti mulungi okulya, era nga gusaayusa amaaso n'omuti nga gwa kwegombebw, okuleeta amagezi, n'anoga ku bibala byagwo n'alya, n'awa era ne ku musajja we naye n'alya. 7 Amaaso gaabwe bombi ne gazibuka ne beetegeera nga baali bwereere; ne batunga amalagala g'emiti ne beekolera ebyokwambala. 8 Ne bawulira eddoboozi lya Mukama Katonda ng'atambula mu lusuku mu kiseen eky'empewo: omusajja ne mukaz we ne beekweka mu maaso ga, Mukama Katonda wakati mu mit egy'omu lusuku. 9 Mukama Katonda n'ayita omusajja n'amugamba: nti Oli luuyi wa? 10 N'ayogera nti, Mpulidde eddoboozi lyo mu lusuku, n'entya, kubanga mbadde bwereere; ne nneekweka. 11 N'ayogera ati Ani eyakubuulira nti obadde bwereere? Olidde ku mut gwe nnakulagira obutagulyangako' 12 Omusajja n'ayogera nti Omu kazi, gwe wampa okubeeranga nange ye ampadde ku muti, ne ndya 13 Mukama Katonda n'agamba omukazi nti Kiki kino ky'okoze: Omukazi n'ayogera nti Omusota gunsenzesenze, ne adya. 14 Mukama Katonda n'agamba omusota nti, Kubanga okoze kino, okolimiddwa ggwe okusinga ensolo ez'omu nnyumba zonna, n'okusinga buli nsolo ey'omu nsiko; onootambuzanga olubuto, onoolyauga enfuufu ennaku zonoa ez'obulamu bwo: 15 nange obulabe n'abuteekanga wakati wo n'omukazi, era ne wakati w'ezzadde lyo n'ezzadde ly'omukazi: (ezzadde ly'omukazi) lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro 16 16 N'agamba omukazi nti Okwongera naakwongerangako obulumi bwo n'okubeeranga kwo olubuto; mu bulumi mw'onoozaaliranga abaana; n'okwegomba kwo kunaabanga eri musajja wo, naye anaakufuganga. 17 N'agamba Adamu nti Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo, n'olya ku muti gwe naakulagira nga njogera nti Togulyangako: ensi ekolimiddwa ku lulwo; mu kutegana mw'onoggyanga ebyokulya enaaku zonna ez'obulamu bwo; 18 amaggwa n'amatovu g'eneekuzaaliranga; naawe onoolyanga omuddo ogw'omu nnimiro. 19 Mu ntuuyo ez'omu maaso go mw'onooliiranga emmere,-okutuusa lw'olidda mu ttaka; kubanga omwo mwe waggibwa; kubanga oli nfuufu ggwe, ne mu nfuufu mw'olidda. 20 Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya lye Kaawa; kubanga ono ye nnyina w'abo bonna abalamu. 21 Mukama Katonda n'akolera Adamu ae mukazi we ebyambalo by'amaliba, n'abambaza. 22 Mukama Katonda n'ayogera nti Laba, omuntu afuuse ng'omu ku ffe, okumanyanga obulungi n'obubi; kaakano, aleme okugolola omukono gwe okunoga ku muti ogw'obulamu, okulya okuwangaalanga emirembe n'emirembe; 23 Mukama Katonda kyeyava amuggya mu lusuku Adeni, alimenga ettaka mwe yaggibwa. 24 Bw'atyo n'agoba omuntu; n'azzaamu ebuvanjuba mu lusuku Adeni bakerubi, era n'ekitala ekimyansa ekikyukakyuka okukuumanga ekkubo ery'omuti ogw'obulamu.

Olubereberye 4

1 Adamu n'amanya Kaawa mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Kayini, n'ayogera nti Mpeereddwa omusajja eri Mukama. 2 Era nate n'azaala muganda we Abiri. Abiri n'aba musumba wa ndiga, naye Kayini n'aba mulimi wa ttaka. 3 Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n'alyoka aleeta cbibala by'ettaka okubiwaayo eri Katonda. 4 Abiri naye n'aleeta ku baana b'endiga zeababereberye n'amasavu gaazo. Mukama n'akkiriza Abiri ne ky'awaddeyo: 5 Naye Kayini ne ky'awaddeyo teyamukkiriza. Kayini n'asunguwala nnyo, amaaso ge ne goonooneka. 6 Mukama n'agamba Kayini, nti Kiki ekikusunguwaza? era kiki ekikwonoonesa amaaso go? 7 Bw'onookolanga obulungi, tokkirizibwenga? Bw'otokola bulungi, ekibi kituula ku luggi: n'okwegomba kwe kunaabanga eri ggwe, naawe onoo mufuganga. 8 Kayini n'ayogera ne Abiri mugaana we. Awo bwe baali nga bali mu animiro, Kayini n'alyoka agolokokera ku Abiri muganda we n'amutta. 9 Mukama n'agamba Kayini nti, Aluwa Abiri muganda wo? N'ayogera nti Simanyi: nze mukuumi wa muganda wange? 10 N'ayogera nti Okoze ki? Eddoboozi ly'omusaayi gwa muganda wo linkaabirira mu nsi. 11 Kale kaakano okolimiddwa mu nsi, eyasamizza akamwa kaayo okuweebwa omusaayi gwa muganda wo mu mukono gwo; 12 bw'onoolimanga ensi, okuva kaakano teekuwenga maanyi gaayo; mu nsi onoobanga mmomboze era omutambuze. 13 Kayini n'agamba Mukama nti Okubonerezebwa kwange, tekuyinzika kugumiikirizibwa. 14 Laba, ongobye leero mu maaso g'ensi; era mu maaso go mwe nneekwekanga; era naabanga momboze era omutambuze mu nsi; awo olulituuka buli alindaba, alinzita. 15 Mukama n'amugamba nti Buli alitta Kayini kyaliva awalanwa eggwanga emirundi omusanvu. Mukama n'ateeka ku Kayini akabonero buli amulaba alemenga okumutta. 16 Kayini n'ava mu maaso ga Mukama, n'atuula mu nsi ya Enodi mu maaso ga Adeni. 17 Kayini n'amanya mukazi we; n'abeera olubuto, n'azaala Enoka: n'azimba ekibuga, n'akituuma Enoka ng'eri nnya ly'omwana we. 18 Ne Enoka n'azaala Iradi: Iradi n'azaala Mekuyaeri: Mekuyaeri n'azaala Mesusaeri: 19 Lameka n'awasa abakazi babiri; ow'olubereberye erinnya lye Ada, n'ow'okubiri erinnya lye Zira 20 Ada n'azaala Yabali: oyo ye kitaabwe w'abo abatuula mu weema nga balunda. 21 N'erinnya lya muganda we Yubali; oyo ye kitaabwe w'abo abakuba ennanga n'omulere. 22 Nate Zira n'azaala Tubalukayini, omuweesi wa buli ekisaala eky'ekikomo n'eky'ekyuma: ne mwannyina Tubalukayini ye Naama. 23 Lameka n'agamba bakazi be nti Ada ne Zira, muwulire eddoboozilyange: Mmwe abakazi ba Lameka, muwulire ekigambo kyange: Kubanga natta omusajja ku' banga yanfumita nze, Era omuvubuka kubanga yambetenta nze: 24 Ohanga Kayini aliwalaturwa eggwanga emirundi musanvu, Lameka walanirwa emirundi mu musanvu. 25 Adamu n'amanya nate mukazi we; n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Seezi: Kubanga Katonda yandagiririra ezzadde eddala okudda mu kifo kya Abiri; kubanga Kayini yamutta. 26 Seezi naye n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya lye Enosi: mu biro ebyo mwe baasookera okusabanga erianya lya Mukama.

Olubereberye 5

1 Kino kye kitabo eky'okuzaalibwa kwa Adamu. Olunaku Katonda lwe yatonderamu omuntu, mu kifaananyi kya Katonda mwe yamukolera; 2 omusajja n'omukazi bwe yabatonda; n'abawa omukisa, n'abatuuma erinnya lyabwe Adamu ku lunaku lwe baatonderwamu. 3 Adamu n'amala emyaka kikumi mu asatu, n'azaala omwana ow'obulenzi mu kifaananyi kye, mu ngeri ye; n'amutuuma erinnya lye Seezi: 4 eanaku za Adamu bwe yamala okuzaala Seezi emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 5 Ennaku zonna eza Adamu ze yamala ne ziba emyaka lwenda mu asatu; n'afa. 6 Seezi n'amala emyaka kikumi mu ataano, n'azaala Enosi. 7 Seezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enosi emyaka lunaana mu musanvu n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala; 8 ennaku zonna eza Seezi ne ziba emyaka lwenda mu kkumi n'ebiri; n'afa. 9 Enosi n'amala emyaka kyenda, n'azaala Kenani: 10 Enosi n'awangaala bwe yamala okuzaala Kenani emyaka lunaana mu kkumi n'etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 11 ennaku zonna eza Enosi ne ziba emyaka Iwenda mu etaano; n'afa. 12 Kenani n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Makalaleri: 13 Kenani n'awangaala bwe yamala okuzaala Makalaleri myaka lunaana mu ana, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 14 ennaku zonna eza Kenani ne ziba emyaka lwenda mu kkumi; n'afa. 15 Makalaleri n'amala emyaka nkaaga mu etaano, n'azaala Yakedi: 16 Makalaleri n'awangaala bwe yamala okuzaala Yaledi emyaka lunaana mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 17 ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano; n'afa. 18 Yaledi n'amala emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri, n'azaala Enoka; 19 Yaledi n'awangaala bwe yamala okuzaala Enoka emyaka lunaana, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 20 ennaku zonna eza Yaledi ne ziba emyaka lwenda mu, nkaaga mu ebiri; n'afa. 21 Enoka n'amala emyaka nkaaga! mu etaano, n'azaala Mesuseera: 22 Enoka n'atambulira wamu ne Katonda bwe yamala okuzaala Mesuseera emyaka bisatu, n'azaala abaana' ab'obulenzi n'ab'obuwala: 23 eunaku zonna eza Enoka ne ziba emyaka bisatu mu nkaaga mu etaano: 24 Enoka n'atambulira wamu ne Katonda: so n'atabeerawo; kubanga Katonda yamutwala. 25 Mestueera n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu, n’azaala Lameka: 26 Mesuseera n'awangaala bwe yamala okuzaala Lameka emyaka lusaavu mu kinaana mu ebiri, n'azaala abaana ab'obulelizi n'ab'obuwala: 27 ennaku zonna eza Mesuseera ne ziba emyaka lwenda mu nkaaga mu mwenda; n'afa. 28 Lameka n'amala emyaka kikumi mu kinaana mu ebiri, n'azaala omwana ow'obulenzi: 29 n'amutuuma erinnya lye Nuuwa, ng'ayogera nti Ono ye alitusanyusa mu mulimu gyaffe ne mu kutegana okw’emikono gyaffe olw’ensi Mukama gye yakolimira. 30 Lameka n'awangaala bwe yamala okuzaala Nuuwa emyaka bitaano mu kyenda mu etaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala: 31 ennaku zonna eza Lameka ne ziba emyaka lusanvu mu nsanvu mu musanvu; n'afa. 32 Nuuwa yali nga yaakamala emyaka bitaano: Nuuwa n'azaala Seemu, Kaamu, ne Yafeesi.

Olubereberye 6

1 Awo abantu bwe baasooka okweyongera ku nsi, ne bazaala abaana ab'obuwala, 2 abaana ba Katonda ne balaba abawala b'abantu nga balungi; ne bawasanga abakazi mu bonna be baalonda. 3 Mukama n'ayogera nti Omwoyo gwange teguuwakanenga na muntu emirembe n'emirembe, kubanga naye gwe mubiri: naye ennaku ze ziriba emyaka kikumi mu abiri. 4 Mu biro ebyo waaliwo Abanefuli mu nsi, era oluvannyuma, abaana ba Katonda bwe baayingiranga eri abawala b'abantu, ne babazaalira abaana: bano be b'amaanyi abaasooka edda, abantu abaayatiikirira. 5 Mukama n'alaba obubi bw'omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw'ebirowoozo eby'omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo. 6 Mukama ne yejjusa kubanga yakola omuntu mu nsi, n'anakuwala mu mutima gwe. 7 Mukama n’ayogera nti Ndisangula omuntu gwe nnatonda, okuva mu nsi; okusookera ku muntu, n'ensolo, n'eky'ewalula n'ekibuuka waggulu; kubanga nejjusizza kubanga nabikola. 8 Naye Nuuwa n’alaba ekisa mu maaso ga Mukama. 9 Kuno kwe kuzaala kwa Nuuwa. Nuuwa yali mutuukirivu, nga talina kabi mu mirembe gye: Nuuwa n'atambulira wamu ne Katonda. 10 Nuuwa n'azaala abaana basatu, Seemu, Kaamu, ne Yafeesi. 11 Ensi n'eyonooneka mu maaso ga Katonda, ensi n'ejjula eddalu. 12 Katonda n'alaba ensi, ng'eyonoonese; kubanga ekirina omubiri kyonna kyali nga kimaze okwonoona ekkubo lyakyo ku nsi. 13 Katonda n'agamba Nuuwa nti Enkomerero ya buli ekirina omubiri etuuse mu maaso gange, kubanga ensi ejjudde eddalu ku lwabwe; kale, laba, ndibazikiriza wamu n'ensi. 14 Weekolere eryato n'omuti goferi; osalangamu ennyumba mu lyato, osiige munda ae kungulu envumbo. 15 Bw'otyo bw'okolanga: emikono ebikumi bisatu obuwanvu bw'eryato, n'emikono ataano obugazi bwalyo, n'emikono asatu obuguluauvu bwalyo. 16 Osalangako ekituli ku lyato, era ng'omukono gumu bw'olimala waggulu; n'omulyango gw'eryato oguteekanga mu mbiriizi zaalyo okolanga eryato nga lirina eanyumba eya wansi, n'ey'okubiri, n'ey'okusatu. 17 Nange, laba, nze ndireeta amataba ag'amazzi ku nsi, okuzikiriza ekirina omubiri kyonna ekirimu omukka ogw'obulamu wansi w'eggulu; buli ekiri mu nsi kirifa. 18 Naye ndiragaana endagaano yange naawe; oliyingira mu lyato, ggwe n'abaana bo, ne mukazi wo, n'abakazi b'abaana bo wamu naawe. 19 Ne mu buli kiramu mu birina omubiri byoana, bibiri bibiri mu buli ngeri by'olireeta mu lyato, biryoke bibeere ebiramu awamu naawe; biriba ekisajja n'ekikazi. 20 Mu bibuuka mu ngeri yaabyo, mu nte mu ngeri yaazo, mu buli ekyewalula eky'omu nsi mu ngeri yaakyo, mu buli ngeri babiri bibiri birijja gy'oli, bibe ebiramu. 21 Naawe weetwalire ku mmere yonna eriibwa, ogyekuŋŋaanyize; eriba mmere gy'oli ggwe nabyo. 22 Nuuwa n'akola bw'atyo; nga byonna Katonda bye yamulagira bw'atyo bwe yakola.

Olubereberye 7

1 Mukama n'agamba Nuuwa nti Yingira ggwe n'ennyumba yo yonna mu lyato, kubanga nkulabye ng'oli mutuukirivu mu maaso gange mu mirembe gino. 2 Mu buli nsolo ennongoofu twala musanvu musanvu ensajja n'enkazi yaayo; era ne mu nsolo ezitali nongoofu bbiri, ensajja n'enkazi yaayo; 3 era ne mu bibuuka waggulu, musanvu musanvu, ekisajja n'ekikazi: ezzadde liryoke libe eddamu ku nsi yonna. 4 Kubanga oluvannyuma lw'ennaku omusanvu nze nditonnyesa enkuba ku nsi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nange ndisangula buli kintu ekiramu kye nnakola okuva mu ttaka. 5 Nuuwa byonna n'abikola nga Katonda bwe yamulagira. 6 Naye Nuuwa yali nga yaakamala emyaka lukaaga, amataba ag'amazzi bwe gaabeera ku nsi. 7 Nuuwa n'ayingira n’abaana be: awamu naye mu lyato olw’amazzi g'amataba: 8 Mu nsolo ennongoofu, ne mu nsolo ezitali nongoofu, ne mu bibuuka, ne mu buli ekyewalula ku nsi, 9 bibiri bibiri ne biyingira eri Nuuwa mu lyato, ekisajja n'ekikazi nga Katonda bwe yalagira Nuuwa. 10 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ennaku omusanvu ziri, amazzi ag'amataba ae gaba ku nsi. 11 Mu mwaka ogw'olukaaga og'wobulamu bwa Nuuwa, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi, ku lunaku olwo ne zizibukuka ensulo zonna, ez'omu nnyanja ennene, n'ebituli eby'omu ggnlu ne bigguka. 12 Enkuba n'etonnyera ku nsi ennaku amakumi'ana emisana n'ekiro. 13 Ku lunaku olwo Nuuwa n'ayingira ne Seemu ne Kaamu ne Yafeesi, abaana ba Nuuwa, ae mukazi wa Nuuwa n’abakazi abasatu ab'abaana be awamu nabo, mu lyato; 14 Abo na buli nsolo mu ngeri yaayo, n'ente zonna mu ngeri yaazo, na buli ekyewalula ku nsi mu ngeri yaakyo, na buli ekibuuka mu ngeri yaakyo, buli nayonyi eya 'buli kiwaawaatiro. 15 Ne biyingira eri Nuuwa mu lyato bibiri bibiri mu buli nnyama yonna erimu omukka ogw'obulamu. 16 Ebyayingira ne biyingira ekisajja n'ekikazi mu buli nnyama, nga Katonda bwe yamulagira: Mukama n'amuggalira munda. 17 Amataba ne gabeera ku nsi, ennaku: amakumi, ana; amazzi ne geeyongera ne gasitula eryato; ne liwanikibwa waggulu w’ensi. 18 Amazzi ne gafuga, ne geeyongera nnyo ku nsi; eryato ne liseeyeeya kungulu ku mazzi. 19 Amazzi ne gayinza nnyo ku nsi; ensozi zonna empanvu ne zisaanikirwa ezaali wansi w'eggulu lyonna. 20 Emikono kkumi n'etaa no okugenda waggulu amazzi bwe gaayinza; ensozi ne zisaanikirwa. 21 Buli nnyama etambula ku nsi n'efa, ekibuuka, n'ente, n'ensolo na buli ekyewalula ku nsi, na buli muntu yenna: 22 byonna ebyalimu omukka ogw'omwoyo ogw'obulamu mu nnyindo zaabyo, mu byonna ebyali mu lukalu ne bifa. 23 N'asangula buli kintu kiramu ekyali kungulu ku ttaka, omuntu, n'ente, n'ekyewalula, n'ekibuuka waggulu; ne bisangulibwa ku nsi: Nuuwa n'asigalawo yekka, n'abo abaali awamu naye mu lyato. 24 Amazzi ne gayinza ku nsi ennaku kikumi mu ataano.

Olubereberye 8

1 Katonda n'ajjukira Nuuwa na buli kiramu na buli nte eyali; awamu aaye mu lyato: Katonda n'aleeta empewo ziyite ku nsi, amazzi ne gaweebuuka; 2 era n'ensulo ez'ennyanja n'ebituli eby'omu ggulu ne biggalirwa, enkuba ey'omu ggulu n'eziyizibwa; 3 amazzi ne gadda okuva ku nsi obutayosa: ne gaweebuuka amazzi oluvannyuma ennaku ekikumi mu ataano bwe, zaayitawo. 4 Mu mwezi ogw'omusanvu, ku lunaku olw'ekkumi n'omusanvu olw'omwezi eryato ne lituula ku nsozi za Alalati. 5 Amazzi ne gaweebuuka obutayosa okutuusa kul mwezi ogw'ekkumi: mu mwezi' ogw'ekkumi, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi entikko z'ensozi ae zirabika. 6 Awo oluvannyuma lw'ennaku amakumi ana Nuuwa n’asumulula ekituli eky'eryato kye yakola: 7 n'atuma namuŋŋoona n'afuluma n'addiŋŋananga okutuusa amazzi lwe gaakalira ku nsi. 8 N'atuma ejjiba okuva w'ali alyoke alabe ng'amazzi gaweebuuse kungulu ku nsi; 9 naye ejjiba teryalaba bbanga wa kuwummuza ekigere kyalyo, ne likomawo Wal mu lyato, kubanga amazzi gaali kungulu ku nsi yonna: n'afulumya omukono gwe, n'alikwata n'aliyingiza mw'ali mu lyato. 10 N'ayosaawo ennaku musanvu nate; nate n'atuma ejjiba okuva mu lyato; 11 ejjiba ne likomawo olw'eggulo mw'ali; laba, mu kamwa kaalyo ne muba akalagala akabisi ak'omuzeeyituuni: Nuuwa n'alyoka amanya nti amazzi gaweebuuse okuva ku nsi. 12 N'ayosaawo ennaku musanvu nate; n'atuma ejjiba; awo oluvannyuma teryakomawo nate gy'ali. 13 Awo mu mwaka ogw'olukaaga mu gumu, mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, amazzi ne gakalira ku nsi; Nuuwa n'aggyako ekyasaanikira eryato, n'atunuulira, laba, kungulu ku nsi nga kukalidde. 14 Mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'amakumi abiri mu musanvu olw'omwezi, ensi n'ekalira. 15 Katonda n'agamba Nuuwa nti 16 Va mu lyato, ggwe, ne mukazi wo, n’abaana bo, n'abakazi b'abaana bo, awamu naawe. 17 Ofulumye wamu naawe buli kiramu ekiri awamu naawe mu buli nnyama yonna, ekibuuka n'ente na buli ekyewalula ku nsi; bizaalenga bibune mu nsi, byalenga byeyongerenga ku nsi. 18 Nuuwa n'afuluma, n'abaana be ne mukazi we n'abakazi b'abaana be awamu naye 19 buli nsolo, buli ekyewalula, na buli ekibuuka, buli ekitambula kyonna ku nsi, mu bika byabyo, ne bifuluma mu lyato. 20 Nuuwa n'azimbira Mukama ekyoto; n'alonda ku nsolo zonna ennongoofu, ne ku bibuuka byonna ebirongoofu, n'aweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto. 21 Mukama n'awulira evvumbe eddungi; Mukama n'ayogera mu mutima gwe nti Ensi sikyagikolimira nate oluvannyuma ku lw'omuntu; kubanga okulowooza okw'omu mutima gw'omuntu kubi okuva mu buto bwe; so sikyakuba nate oluvannyuma buli kiramu, nga bwe nkoze. 22 Ensi ng'ekyaliwo, okusiga n'okukungula, era empewo n'ebbugumu, era ekyeya ne ttoggo, era emisana n'ekiro tebiggwengawo.

Olubereberye 9

1 Katonda n'awa Nuuwa n'abaana be omukisa, n'abagamba nti Mwalenga mweyongerenga, mujjule ensi. 2 N'ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe binaabanga ku buli nsolo ey'ensi, ne ku buli nnyonyi eya waggulu; era ne byonna ebijjuza olukalu, n'ebyennyanja byonna, biweereddwayo mu mukono gwammwe. 3 Buli kiramu ekitambula kinaabanga kya kulya gye muli; ng'omuddo ogumera byonna mbibawadde. 4 Naye ennyama awamu n'obulamu bwayo, gwe musaayi gwayo, temugiryanga. 5 Era omusaayi gwammwe, ogw'obulamu bwammwe, siiremenga kuguvunaana; eri buli nsolo n'aguvunaananga :n'eri omuntu, eri buli muganda w'omuntu, n'avunaananga obulamu bw'omuntu. 6 Buli muntu anaayiwanga omusaayi gw'omuntu, omusaayi gwe guyiyibwznga abantu: kubanga mu kifaananyi kya Katonda mwe yakolera abantu. 7 Nammwe mwalenga, mweyongerenga; muzaalenga nnyo ku nsi, mweyongerenga omwo. 8 Katonda n'agamba Nuuwa n'abaana be awamu naye, 9 nti Nange, laba, nnywezezza endagaano yange nammwe era n'ezzadde lyammwe erinaddangawo; 10 era na buli kiramu ekiri awamu nammwe, ennyonyi, ente, na buli nsolo ey'ensi awamu nammwe; byonna ebiva mu lyato, buli nsolo ey'ensi. 11 Nange naanywezanga endagaano, yange nammwe; so ebirina omubirt byonna tebikyazikirizibwa nate mulundi gwa kubiri n'amazzi ag'amataba; so tewakyabaawo mataba nate mulundi gwa kubiri okuzikiriza ensi. 12 Katonda n'ayogera nti Kano ke kabonero ak'endagaano gye ndagaana nze namniwe na buli kitonde kiramu ekiri nammwe, okutuusa emirembe egitaliggwaawo: 13 nteeka musoke wange ku kire, era anaabanga kabonero ak'endagaano gye ndagaanye n'ensi. 14 Kale olunaatuukanga, bwe nnaaleetanga ekire ku nsi, musoke anaalabikiranga ku kire, 15 nange najjukiranga endagaano yange, gye ndagaanye nze nammwe na buli kitonde kiramu ekirina omubiri kyonna; n'amazzi tegaafuukenga nate mataba okuzikiriza omubiri gwonna. 16 Ne musoke anaabanga ku kire; nange naamutunuuliranga, njijukire endagaano eteridiba Katonda gy'alagaanye na buli kitonde ekiramu' ekirina omubiri kyonna ekiri mu nsi. 17 Katonda n'agamba Nuuwa nti Ako ke kabonero ak'endagaano gye, nnywezezza nze na buli ekirina omubiri ekiri mu nsi. 18 N'abaana ba Nuuwa, abaava mu lyato, Seemu, ne Kaamu, ne Yafeesi: ne Kaamu ye yazaala Kanani. 19 Abo bonsatule Nuuwa be yazaala: n'abazzukulu b'abo be baabuna ensi zonna. 20 Nuuwa n'atanula okuba omulimi, n'asimba olusuku olw'emizabbibu: 21 n'anywa ku mwenge gwalwo, n'atamiira: n'akunamira mu weema ye. 22 Kaamu, ye yazaala Kanani, n'alaba ensonyi za kitaawe, n'abuulira baganda be ababiri abaali ebweru. 23 Seemu ne Yafeesi ne batoola ekyambalo, ne bakiteeka ku bibegabega byabwe bombi, ne batambula ekyennyumannyuma, ne babikka ku nsonyi za kitaabwe; era amaaso gaabwe nga gatunuulira nnyuma, ne batalaba nsonyi za kitaabwe. 24 Nuuwa n'atamiirukuka mu mwenge gwe, n'amanya omwana we omuto bwe yamukola. 25 N'ayogera nti, Kanani akolimirwe; Anaabanga muddu w'abaddu eri baganda be. 26 Era yayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we. 27 Katonda agaziye Yafeesi, Era atuulenga mu weema za Seemu; Era Kanani abeerenga muddu we. 28 Nuuwa n'awangaala amataba nga gamaze okubaawo emyaka bisatu mu ataano. 29 N'ennaku zonna eza Nuuwa zaali myaka lwenda mu ataano: n'afa.

Olubereberye 10

1 Ne kuno kwe kuzaala kw'abaana ba Nuuwa, Seemu, Kaamu ne Yafeesi: abaana ne babazaalirwa amataba nga gamaze okubaawo. 2 Abaana ba Yafeesi: Gomeri, ne Magogi, ne Madayi, ne Yivani, ne Tubali, ne Meseki, ne Tirasi. 3 N'abaana ba Gomeri: Asukenaazi, ne Lifasi, ne Togaluma. 4 N'abaana ba Yavani: Erisa, ne Talusiisi, Kitimu, ne Dodanimu. 5 Abo be baagabirwa ebizinga eby'amawanga mu nsi zaabwe, buli muntu ng'olulimi lwe bwe lwali; ng'ebika byabwe bwe byali, mu mawanga gaabwe. 6 N'abaana ba Kaamu: Kuusi, ne Mizulayimu, ne Puuti, ne Kanani. 7 N'abaana ba Kuusi: Seeba, ne Kavira, ne Sabuta, ne Laama, ne Sabuteka: n'abaana ba Laama: Seeba, ne Dedaai. 8 Kuusi n'azaala Nimuloodi; n'atanula okuba ow'amaanyi mu nsi. 9 Yali muyizzi wa maanyi mu maaso ga Mukama: kyekiva kyogerwa nti Nga Nimuloodi omuyizzi ow'amaanyi mu maaso ga Mukama. 10 N'okusooka kw'obwakabaka bwe kwali Baberi, ne Ereki, ne Akudi, ne Kalune, mu nsi Sinali. 11 N'ava mu nsi omwo n'agenda mu Bwasuli, n’azimba Nineeve, ne Lekobosiyira, ne Kala, 12 ne Leseni ekiri wakati wa Nineeve ne Kala (ekyo kye kibuga ekinene). 13 Mizulayimu n'azaala Ludimu, ne Anamimu, ne Lekabimu, ne Nafutukimu, 14 ne Pasulusimu, ne Kasulukimu (omwava Abafirisuuti), ne Kafutolimu. 15 Kanani n'azaala Zidoni omubereberye we, ne Keesi, 16 n'Omuyebusi, n'Omwamoli, n'Omugirugaasi; 17 An'Omukiivi, n'Omwaluki, n'Omusiini; 18 n'Omwaluvada, n'Omuzemali, n'Omukamasi; n'ebika eby'Omukanani ne biddirira abo okubuna. 19 N'ensalo ey'Omukanani yava mu Zidoai, ng'ogenda e Gerali, n'etuuka ku Gaza; era yatuuka ku Lasa, ng'ogenda e Sodoma ne Ggomola ne Aduma ne Zeboyimu. 20 Abo be baana ba Kaamu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, mu mawanga gaabwe. 21 Era ne Seemu, jjajja w'abaana bonna aba Eberi, muganda wa Yafeesi omukulu, naye n'azaalirwa abaana. 22 Abaana ba Seemu: Eramu, ae Asuli, ne Alupakusaadi ne Ludi, ne Alamu. 23 N'abaana ba Alamu: Uzi, ne Kuuli, ne Ggeseri, ne Masi. 24 Ne Alupakusaadi n'azaala Seera; Seera n'azaala Eberi. 25 Eberi n'azaalirwa abaana babiri: erinnya ly'omu Peregi; kubanga mu nnaku ze ensi zonna mwe zaagabirwa; n'erinnya lya muganda we Yokutaani. 26 Yokutaani n'azaala Alumodaadi, ne Serefu, ne Kazalumaveesi, ne Yera; 27 ne Kadolaamu, ne Uzali, ne Dikula; 28 Ane Obali, ne Abima yeeri, ne Seeba; 29 ne Ofiri, ne Kavira, ne Yobabu: abo bonna baana ba Yokutaani. 30 N'ensi gye baatuulamu yava ku Mesa, ng'ogenda e Serali, olusozi olw'ebuvanjuba. 31 Abo be baana ba Seemu, ebika byabwe nga bwe byali, n'ennimi zaabwe, mu nsi zaabwe, amawanga gaabwe nga bwe gaali. 32 Ebyo bye bika eby'abaana ba Nuuwa, ng'okuzaalibwa kwabwe bwe kwali, mu mawanga gaabwe: era mu abo mwe gaava amawanga okwawulirwa mu nsi amataba nga gamaze okubaawo.

Olubereberye 11

1 N'ensi zona zaalina olulimi lumu n'enjogera emu. 2 Awo, bwe baali batambula ebuvanjuba, ne balaba olusenyi mu nsi Sinali; ne batuula omwo. 3 Ne bagambagana nti Kale nno, tukole amatoffaali, tugookere ddala. Awo ne baba n'amatoffaali mu kifo ky'amayinja, n'ebitosi mu kifo ky'ennoni. 4 Ne boogera nti Kale nno, twezimbire ekibuga, n'ekigo, (ekirituusa) entikko yaakyo mu ggulu, era twefimire erinnya; tuleme oku'saasaanira ddala ewala mu nsi zonna. 5 Mukama n'akka okulaba ebibuga n'ekigo, abaana b'abantu bye bazimba. 6 Mukama n'ayogera ati Laba, abo lye ggwanga limu, era bonna baalina olulimi lumu; era kino kye batanula okukola: ne kaakano tewali ekigenda okubalema, kye baagala okukola. 7 Kale nno, tukke, tutabuliretabulire eyo olulimi lwabwe, baleme okutegeera eajogera yaabwe bokka na bokka 8 Bw'atyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okuva eyo okubuna ensi zonna: ne baleka okuzimba ekibuga. 9 Erinnya lyakyo kye lyava lituumibwa Baberi; kubanga eyo Mukama gye yatabuliratabulira olulimi lw'ensi zonna: n'okuva eyo Mukama n'abasaasaanyiza ddala okubuna ensi zonna. 10 Kuno kwe kuzaala kwa Seemu. Seemu yali yaakamaze emyaka kikumi, n'azaala Alupakusaadi amataba nga gaakamaze emyaka ebiri okubaawo: 11 Seemu n'awangaala bwe yamala okuzaala Alupakusaadi emyaka bitaano, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 12 Alupakusaadi n'amala emyaka asatu mu etaano, n'azaala Seera: 13 Alupakusaadi n'awangaala bwel yamala okuzaala Seera emyaka bina' mu esatu, n’azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 14 Seera n'amala emyaka asatu, n'azaala Eberi: 15 Seera n'awangaala bwe yamala okuzaala Eberi emyaka bina mu esatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 16 Eberi n'amala emvaka asatu mu ena, n'azaala Peregi: 17 Ebezi n'awangaala bwe yamala okuzaala Peregi emyaka bina mu asatu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'o, buwala. 18 Peregi n'amala emyaka asatu, n'azaala Leewo: 19 Peregi n'awangala a bwe yamala oknzaala Leewo emyaka bibiri mu mwenda, n'azaala, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 20 Leewo n'amala emyaka asatu mu ebiri, n'azaala Serugi; 21 Leewo n'awangaala bwe yamala okuzaala Serugi emyaka bibiri mu musanvu, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 22 Serugi n'amala emyaka asatu, n'azaala Nakoli: 23 Serugi n'awangaala bwe yamala okuzaala Nakoli, emyaka bibiri, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 24 Nakoli n'amala emyaka abiri mu mwenda, n'azaala Teera 25 Nakoli n'awangaala bwe yamala okuzaala Teera emyaka kikumi mu kkumi mu mwenda, n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. 26 Teera n'amala emyaka nsanvu, n'azaala Ibulaamu, Nakoli ne Kalaru. 27 Era kuno kwe kuzaala kwa Teera. Teera yazaala Ibulaamu, Nakoli, ne Kalani; Kalani n'azaala Lutti. 28 Kalani n'afiira awali kitaawe mu nsi mwe yazaalirwa, mu Uli, y'ensi ey'Abakaludaaya. 29 Ne Ibulaamu ne Nakoli ne beewasiza abakazi: omukazi wa Ibulaamu erinnya lye Salaayi; n'omukazi wa Nakoli erinnya lye Mirika, omwana wa Kalani, ye kitaawe wa Mirika, era kitaawe wa lsilta. 30 Era Salaayi yali mugumba; teyalina mwana. 31 Teera n'atwala Ibulaamu omwana we, ne Lutti, omwana wa Kalani, omuzzu kulu we, ne Salaayi muka mwana we, omukazi w'omwana we Ibulaamu; ne bavaayo nabo mu Uli, ye ensi ey'Abakaludaaya, okuyingira mu nsi ya Kanani; ne batuuka e Kalani, ne batuula eyo. 32 N'ennaku za Teera zaali emyaka bibiri mu etaano: Tera n'afiira mu Kalani.

Olubereberye 12

1 Awo Mukama n'agamba Ibulaamu nti Va mu nsi ya nnyo, era awali ekika kyo, n'ennyumba ya kitaawo, oyingire mu nsi gye ndikulaga: 2 nange ndikufuula eggwanga eddene, era naakuwanga omukisa, era naakuzanga erinnya lyo; era beeranga mukisa ggwe: 3 nange naabawanga omukisa abanaakusabiranga ggwe omukisa, n'oyo anaakukolimiranga naamukolimiranga nze; ne mu ggwe ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 4 Bw'atyo Ibulaamu n'agenda, nga Mukama bwe yamugamba; ne Lutti n'agenda naye: Ibulaamu yali yaakamaze emyaka nsanvu mu etaano bwe yava mu Kalani. 5 Ibulaamu n'atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti omwana wa muganda we, n'ebintu byabwe byonna bye baali bakuaŋŋaanyizza; n'abantu be baafuniramu Kalaani; ne bavaayo okuyingira mu nsi ya Kanani; ne bayingira mu nsi ya Kanani. 6 Ibulaamu n'ayita mu nsi n'atuuka mu kifo kya Sekemu, awali omuvule gwa Mmoole. Era Omukanaani yali mu nsi mu biro ebyo. 7 Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'ayogera nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama eyamulabikira. 8 N'avaayo n'agenda awali olusozi ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Beseri, n'asimba eweema ye, e Beseri nga kiri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne Ayi ku luuyi olw'ebuvanjuba: n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'akaabira erinnya lya Mukama. 9 Ibulaamu n'atambula, ng'akyakwata ekkubo ery'obukiika obwa ddyo. 10 Ne wagwa enjala mu nsi: Ibulaamu n'aserengeta mu Misiri, okutuula omwo; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi. 11 Awo, bwe yali ng'anaatera okuyingira mu Misiri, n'alyoka agamba Salaayi mukazi we nti Laba, mmanyi nga gw'oli mukazi mulungi okutunuulira: 12 kale, Abamisiri bwe balikulaba, kyebaliva boogera nti Oyo ye mukazi we: era balinzita, nze, naye ggwe balikuwonya mulamu. 13 Oyogeranga, nkwegayiridde, nga gw'oli mwannyinaze: ndyoke ndabe ebirungi ku bubwo, n'obulamu bwange buwone ku lulwo. 14 Awo Ibulaamu bwe yamala okuyingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba omukazi nga mulungi nayo. 15 N'abakungu ba Falaawo ne bamulaba, ne bamutendereza eri Falaawo; ne batwala omukazi mu nnyumba ya Falaawo. 16 N'akola bulungi Ibulaamu ku bubwe: n'aba n'endiga, n'ente, n'endogoyi ensajja, n'abaddu, n'abazaana, n'endogoyi enkazi, n'eŋŋamira. 17 Mukama n'abonyaabonya Falaawo n'ennyumba ye n'ebibonoobono ebikulu olwa Salaayi mukazi, wa Ibulaamu. 18 Falaawo n'ayita Ibulaamu, n'ayogera nti Kino kiki ky'onkoze? kiki ekyakulobera okumbuulira nga ye mukazi wo? 19 Kiki ekyakwogeza nti Ye mwannyinaze, nange n'okutwala ne mmutwala okuba mukazi wange: kale kaakano laba mukazi wo, omutwale, weegendere: 20 Falaawo n'amulagiririza abasajja: ne bamuwerekerako ye ne mukazi we nce byonna bye yalina.

Olubereberye 13

1 Ibulaamu n'alinnya n'ava mu Misiri, ye ne mukazi we ne byonna bye yalina, ne Lutti wamu naye, ne bagenda mu bukiika obwa ddyo. 2 Era Ibulaamu yalina obugagga bungi, ente, ne ffeeza, ne zaabu. 3 N'agenda ng'atambula n'ava mu bukiika obwa ddyo n'atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye mwe yasooka okubeera, wakati w'e Beseri ne Ayi; 4 mu kifo eky'ekyoto kye yakola eyo olubereberye: Ibulaamu n'akaabira eyo erinnya lya Mukama. 5 Era ne Lutti, eyagenda ne Ibulaamu, yalina embuzi n'ente n'eweema. 6 Ensi n'etebayinza bombi okutuula awamu: kubanga ebintu byabwe byali bingi, n'okuyinza ne batayinza kutuula wamu. 7 Ne wabaawo empaka eri abasumba b'ente za Ibulaamu n'abasumba b'ente za Lutti: era Omukanani n'Omuperizi baatuula mu nsi mu nnaku ezo. 8 Ibulaamu n'agamba Lutti nti Waleme okubaawo empaka, nkwegayiridde eri nze naawe, n'eri abasumba bange n'abasumba bo; kubanga tuli ba luganda. 9 Ensi yonna teri mu maaso go? Yawukana nange nkwegayiridde: obanga oneeroboza omukono ogwa kkono, nange naagenda ku mukono ogwa ddyo; naawe bw'oneeroboza omukono ogwa ddyo, naage naagenda ku mukono ogwa kkono. 10 Lutti n'ayimusa amaaso ge, n'alaba olusenyi olwa Yoludaani lwonna, nga mulimu amazzi mangi wonna wonna, Mukama nga tannazikiriza Sodoma ne Ggomola, nga lufaanana ng'olusuku lwa Mukama, ng'ensi y'e Misiri, ng'ogenda mu Zowaali. 11 Awo Lutti ne yeeroboza olusenyi lwonna olwa Yoludaani; Lutti n'atambula ebuvanjuba: ne baawukana bokka na bokka. 12 Ibulaamu n'atuula mu nsi ya Kanani, ne Lutti n'atuula mu bibuga eby'omu lusenyi, n'ajjulula eweema ye n'agituusa e Sodoma. 13 N'abantu ab'omu Sodoma baali babi era boonoonyi nnyini mu maaso ga Mukama. 14 Mukama n'agamba Ibulaamu, Lutti bwe yamala okwawukana naye, nti Yimusa kaakano amaaso go, otunule ng'oyima mu kifo mw'oli, obukiika obwa kkono n'obwa ddyo n'ebuvanjuba n'ebugwanjuba: 15 kubanga ensi yonna gy'olabye, ndigiwa ggwe, n'ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Era ndifuula n'ezzadde lyo ng'enfuufu ey'oku nsi: era omuntu bw'ayinza okubala enfuufu ey'oku nsi, era n'ezzadde lya liribalika. 17 Golokoka, otambule obune ensi obuwanvu bwayo n'obugazi bwayo; kubanga ndigiwa ggwe. 18 Ibulaamu n'ajjulula eweema ye, n'ajja n'atuula awali emivule gya Mamule, egiri mu Kebbulooni, n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama.

Olubereberye 14

1 Awo mu mirembe gya Amulaferi kabaka w'e Sinali, Aliyoki, kabaka w'e Erasali, Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, n'egya Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, 2 ne balwana ne Bbeera, kabaka w'eSodoma, ne Bbiruusa, kabaka w 'e Ggomola, Sinaabu, kabaka w'e Aduma, ne Semebeeri, kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali). 3 Abo bonna ne beegattira mu kiwonvu Sidimu (eyo ye nnyanja ey'omunnyo): 4 Ne baweerereza Kedolawomeeri emyaka kkumi n'ebiri, ne mu mwaka ogw'ekkumi n'esatu ne bajeema. 5 Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ena Kedolawomeeri n'ajja, ne bakabaka abaali awamu naye, ne bakubira Abaleefa mu Asuterosikalumayimu, n'Abazuuzi mu Kaamu, n'Abemi mu Savekiriyasayimu, 6 n'Abakooli ku lusozi lwabwe Seyiri, ne babagoba okutuusa Erupalaani ekiri okumpi n'eddungu. 7 Ne baddayo ne batuuka e Nuumisupaati (ye Kadesi), ne bakuba ensi! yonna eya Abameleki, era n'eya Abamoli, abaatuula mu Kazazonutamali. 8 Ne watabaala. kabaka w'e Sodoma, ne kabaka w'e Ggomola, ne kabaka w'e Aduma, ne kabaka w'e Zeboyiyimu, ne kabaka w'e Bera (ye Zowaali); ne bategeka olutalo okulwanira nabo mu kiwonvu Sidimu; 9 okulwana ne Kedolawomeeri, kabaka w'e Eramu, ne Tidali, kabaka w'e Goyiyimu, ne Amulafeeri, kabaka w'e Sinali, ne Aliyooki kabaka w'e Erasali : bakabaka abana nga balwana n'abataano. 10 Era ekiwonvu Sidimu kyali kjjudde obunnya obw'ebitosi; ne bakabaka w’e Sodoma ne Ggomola ne badduka, ne bagwa omwo, n'abo abaasigalawo ne baddukira ku lusozi. 11 Ne banyaga abintu byonna eby'omu Sodoma ne Ggomola, n'ebyokulya byabwe byonna, ne beegendera. 12 Ne banyaga Lutti, omwana wa muganda wa Ibulaamu, eyatuulanga mu Sodoma, n'ebintu bye, ne bagenda. 13 Ne wajja omu eyawonawo, n'abuulira Ibulaamu Omwebbulaniya: oyo yatuulanga awali emivule gya Mamule Omwamoli, muganda wa Esukoli, era muganda wa Aneri; nabo baali nga balagaanye ne Ibulaamu. 14 Ibulaamu bwe yawulira nga baanyaga muganda we, n'age babagoberera okutuusa ku Ddaani. 15 Ne baawukanamu okubalumba ekiro, ye n'abaddu be, ne babakuba, ne babagoberera okutuusa ku Kkoba, ekiri ku mukono ogwa kkono ogw'e Ddamasiko. 16 N'akomyawo ebintu byonna, era n'akomyawo ne muganda we Lutti, n'ebintu bye, era n'abakazi, n'abantu. 17 Ne kabaka w'e Sodoma n'afuluma okumusisinkana, bwe yamala okukomawo ng'asse Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, mu kiwonvu Save (kye kiwonw kya kabaka). 18 Ne Merukizeddeeki kabaka w'e Ssaalemi n'aleta emmere n'omwenge: era ye yali kabona wa Katonda ali waggulu ennyo. 19 N'amusabira omukisa, n'ayogera nti Ibulaamu aweebwe omukisa, Katonda ali waggulu ennyo, nannyini ggulu n'ensi: 20 era Katonda ali waggulu ennyo atenderezebwe akugabidde abalabe bo mu mukono gwo. N'amuwa ekitundu eky'ekkumi ekya byonna. 21 Kabaka w'e Sodoma n'agamba Ibulaamu nti Mpa nze abantu, ebintu obyetwalire ggwe. 22 Ibulaamu n'agamba kabaka w'e Sodoma nti Nnyimusizza omukono gwange eri Mukama Katonda ali waggulu ennyo, nannymi ggulu n'ensi, 23 nga ndayira nti siritwala kaggwa newakubadde akakoba k'engatto newakubadde akantu konna k'olina, oleme okwogera nti Mmugaggawazizza Ibulaamu: 24 wabula ebyo abavubuka bye balidde, n'omugabo gw'abasajja abaagenda nange; Aneri, Esukoli; ne Mamule abo batwale omugabo gwabwe.

Olubereberye 15

1 Oluvannyuma lw'ebyo ekigambo kya Mukama ne kijjira Ibulaamu mu kwolesebwa, nga kyogera nti Totya, Ibulaamu: nze ngabo yo, n'empeera yo ennene ennyo. 2 Ibulaamu n'ayogera nti Ai Mukama Katonda, onompa ki, kubanga ntambula nga sirina mwana, naye alirya ennyumba yange ye Ddamesiko Erieza? 3 Ibulaamu n'ayogera nti Laba, nze tompadde zadde: era, laba, eyazaalirwa mu nnyumba yange ye musika wange. 4 Era, laba, ekigambo kya Mukama ne kimujjira, nga kyogera nti Omuntu oyo taliba musika wo; naye aliva mu ntumbwe zo ggwe ye aliba omusika wo. 5 N'amufulumya ebweru, n'ayogera nti Tunuulira eggulu kaakano, obale emmunyeenye, bw'onooyinza okuzibala: n'amugamba nti Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo. 6 N'akkiriza Mukama; n'akumubalira okuba obutuukirivu. 7 N'amugamba nti Nze, Mukama eyakuggya mu Uli eya Abakaludaaya, okukuwa ensi eno okugisikira. 8 N'ayogera nti Ai Mukama Katonda, kiki ekinantegeeza nga ndigisikira? 9 N'amugamba nti Ontwalire ente enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'embuzi enkazi eyaakamaze emyaka esatu, n'endiga ensajja eyaakamaze emyaka esatu, ne kaamukuukulu, n'ejjiba etto. 10 Ne yeetwalira ebyo byonna, n'abyasaamu wakati, n'ateeka ebitundu bibiri bibiri nga birabagana: naye ebinyonyi n'atabyaasaamu. 11 N'amasega ne gagwa ku mirambo, Ibulaamu n'agagoba. 12 Awo enjuba bwe yali ng'egwa, otulo otungi ne rugwa ku Ibulaamu; era, laba, entiisa ey'ekizikiza ekikutte n'emugwako. 13 N'agamba Ibulaamu nti Tegeerera ddala ng'ezzadde lyo liriba ggenyi mu nsi eteri yaabwe, era balibaweereza; era balibabonyezabonyeza emyaka bina; 14 era n'eggwanga eryo, lye baliweereza, ndirisalira omusango: ne balyoka bavaamu nga balina ebintu bingi. 15 Naye ggwe oligenda awali bajjajja bo n'emirembe; oliziikibwa bw'olimala okuwangaala obulungi. 16 Ne mu mirembe egy'okuna balikomawo nate wano: kubanga obutali butuukirivu obw'Omwamoli tebunnatuukirira. 17 Awo, enjuba bwe yamala okugwa, ekizikiza nga kikutte, laba, ekikoomi ekinyooka n'omumuli ogwaka ne biyita wakati awali ebitundu ebyo. 18 Ku lunaku olwo Mukama n'alagaana ne Ibulaamu, ng'ayogera nti Ezzadde lyo ndiwadde ensi eno, okuva ku mugga ogw'e Misiri okutuuka kw mugga omunene, omugga Fulaati 19 Omukeeni, n'Omukenizi, n'Omukadumooni, 20 n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Abaleefa, 21 n'Omwamoli, n'Omukanani, n'Omugirugaasi, n'Omuyebusi.

Olubereberye 16

1 Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atamuzaalira baana: era yalina omuzaana, Omumisiri, erinnya lye Agali. 2 Salaayi n'agamba Ibulaamu : nti Laba nno, Mukama anziyizza okuzaalanga; nkwegayiridde, yingira eri omuzaana wange, mpozzi ndifuna abaana mu ye. Ibulaamu n'awulira eddoboozi lya Salaayi. 3 Salaayi, mukazi wa Ibulaamu, n'atwala Agali, Omumisiri, muzaana we, Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka ekkumi okutuula mu nsi ya Kanani, n'amuwa Ibulaamu musajja we okuba mukazi we. 4 N'ayingira eri Agali, naye n'aba olubuto: awo bwe yalaba ng'ali lubuto, mugole we n'anyoomebwa mu maaso ge. 5 Salaayi n'agamba Ibulaamu nti Okwonoona kwange kube ku ggwe: nakuwa omuzaana wange mu kifuba kyo; kale bwe yalaba ng'ali lubuto, ne nnyoomebwa mu maaso ge: Mukama atusalire omusango nze naawe. 6 Naye Ibulaamu n'agamba Salaayi nti Laba, omuzaana wo ali mu mukono gwo; mukolere ekifaanana ekirungi mu maaso go. Salaayi, n'amujoganga, n'adduka mu maaso ge. 7 Ne malayika wa Mukama n'amulabira awali oluzzi olw'amazzi mu ddungu, oluzzi oluli mu kkubo ng'ogenda e Ssuuli. 8 N'ayogera nti Agali, muzaana wa Salaayi, ova wa? era ogenda wa? Naye n'ayogera nti Nziruka mu maaso ga mugole wange Salaayi. 9 Ne malayika wa Mukama n'amugamba nti Ddayo eri mugole wo, ogonde wansi w'emikono gye. 10 Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Ndyongera nnyo ezzadde lyo, n'okubala ne litabalika olw'obungi. 11 Era malayika wa Mukama n'amugamba nti Laba, oli lubuto, era olizaala omwana wa bulenzi; era olimutuuma erinnya Isimaeri, kubanga Mukama awulidde okubonyabonyezebwa kwo. 12 Era aliba ng'entulege mu bantu; omukono gwe gunaalwananga na buli muntu, n'omukono gwa buli muntu gunaalwananga naye; era anaatuulanga awali baganda be bonna. 13 N'ayita erinnya lya Mukama eyayogera naye, ati Ggwe Katonda alaba: kubanga yayogera nti N'okutunula ntunuu lidde oyo andaba? 14 Oluzzi kyerwava luyitibwa Beerirakairo: laba, luli wakati wa Kadesi ne Beredi. 15 Agali n'azaalira Ibulaamu omwana; Ibulaamu n'atuuma omwana we, Agali gwe yazaala, erinnya lye Isimaeri. 16 Ibulaamu yali yaakamaze emyaka kinaana mu mukaaga, Agali bwe yazaalira Ibulaamu Isimaeri.

Olubereberye 17

1 Awo Ibulaamu bwe yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, Mukama n'alabikira Ibulaamu, n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna; tambuliranga mu maaso gange, obeerenga mutuukirivu. 2 Nange ndiragaana endagaano yange nze naawe, era ndikwaza nnyo. 3 Ibulaamu n'avuunama amaaso ge: Katonda n'ayogera naye nti 4 Nze, laba, endagaano yange eri naawe, naawe oliba kitaawe w'amawanga amangi. 5 So tokyayitibwanga nate erinnya lyo Ibulaamu, naye erinnya lyo linaabanga Ibulayimu; kubanga nkufudde kitaawe w'amawanga amangi. 6 Era ndikwaza nnyo, era ndikufuula amawanga, ne bakabaka baliva mu ggwe. 7 Era ndinyweza endagaano yange nze naawe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna okuba endagaano eteridiba, okuba Katonda eri ggwe n'eri ezzadde lyo eririddawo. 8 Era ndikuwa ggwe n'ezzadde lyo eririddawo ensi gye watambulirangamu, ensi yonna eya Kanani, okugirya emirembe gyonna; era nze, naabeeranga Katonda waabwe. 9 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Naawe, gw'olikwata endagaano yange, ggwe n'ezzadde lyo eririddawo okutuusa emirembe gyabwe gyonna. 10 Eno ye ndagaano yange, gye munaakwatanga, eri nze namatwe n'ezzadde lyo eririddawo; buli musajja mummwe anaakomolwanga. 11 Era munaakomolwanga omubiri gw'ekikuta kyammwe; era kunaabanga kabonero ak'endagaano eri nze nammwe. 12 Anaamalanga ennaku omunaana anaakomolwanga mu mmwe, buli musajja mu mirembe gyammwe gyonna, anaazaalirwangamu nnyumba, era n'oyomunnaggwanga yenna gw'anaa'baguzanga n'ebintu, atali wa ku zzadde lyammwe. 13 Anaazaalirwanga mu nnyumba yo, n'oyo anaagulibwanga n'ebintu byo, kibagwarura okumukomolanga: n'endagaano yange eneebanga mu mubiri gwammwe okuba endagaano eteridiba. 14 N'omusajja atali mukomole atakomolwanga mu mubiri gw'ekikuta kye, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be; ng'amenye endagaano yange. 15 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Salaayi mukazi we, tokyamuyita erinnya lye Salaayi, naye Saala lye linaabanga erinnya lye. 16 Nange ndimuwa omukisa, era nate ndikuwa omwana mu ye: weewaawo, ndimuwa omukisa, naye aliba nnyina w'amawanga; bakabaka b'abantu baliva mu ye. 17 Ibulayimu n'alyoka avuunama amaaso ge, n'aseka, n'ayogera mu mutima gwe nti Omwana alizaalirwa oyo eyaakamaze emyaka ekikumi? era ne Saala, eyaakamaze emyaka ekyenda, alizaala? 18 Ibulayimu n'agamba Katonda nti Singa Isimaeri anaabanga mulamu mu maaso go! 19 Katonda n'ayogera nti Nedda, naye Saala mukazi wo alikuzaalira omwana; naawe olimutuuma erinnya lye Isaaka: naage naanywezanga endagaano yange naye okuba endagaano eteridiba eri ezzadde lye eririddawo. 20 N'ebya Isimaeri, akuwulidde: laba, mmuwadde omukisa, era ndimwaza, era ndimwongera nnyo; alizaala abakungu kkumi na babiri, era ndimufuula eggwanga eddene. 21 Naye endagaano yange naaginywezanga eri Isaaka, Saala gw'alikuzaalira mu biro ebyo ebyateekebwawo mu mwaka ogugenda okujja. 22 N'aleka okwogera naye, Katonda n’alinnya n'ava eri Ibulayimu. 23 Ibulayimu n'atwala Isimaeri omwana we, ne bonna abaazaalirwa mu nnyumba ye, ne bonna abaagulibwa n'ebintu bye, buli musajja mu bantu ab'omu nnyumba ya Ibulayimu, n'abakomolera ku lunaku olwo omubiri gw'ekikuta kyabwe, nga Katonda bwe yamugamba. 24 Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kyenda mu mwenda, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 25 Ne Isimaeri omwana we yalij yaakamaze emyaka kkumi n'esatu, bwe yakomolwa omubiri gw'ekikuta kye. 26 Ku lunaku lumu Ibulayimu n'akomolebwa ne Isimaeri omwana we. 27 N'abasajja bonna ab'omu nnyumba ye, abo abaazaalirwa mu nnyumba, n'abo munnaggwanga yenna be yamuguza n'ebintu, ne bakomolwa wamu naye.

Olubereberye 18

1 Mukama n'amulabikira awali emivule gya Mamule, bwe yali ng'atudde mu mulyango mu ttuntu; 2 n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge: awo bwe yabalaba, n'ava mu mulyango gw'eweema n'adduka mbiro okubasisinkana, n'avuunama, 3 n'ayogera nti Mukama wange, oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, tova wali muddu wo, nkwegayiridde: 4 kale nno baleete otuzzi, munaabe ebigere, muwummulire wansi w'omuti: 5 nange naaleeta akamere, musanyuke emitima gyammwe; ne mulyoka mugenda: kubanga mutuuse eri omuddu wammwe. Ne boogera nti Kola bw'otyo, nga bw'oyogedde. 6 Ibulayimu n'ayanguwa n'ayingira mu weema eri Saala n'ayogera nti Teekateeka mangu ebigero bisatu eby'obutta, obugoye, ofumbe emmere. 7 Ibulayimu n'adduka mbiro eri ekisibo, n'akima ennyana ennonvu ennungi, n'agiwa omuddu; n'ayanguwa okugifumba. 8 N'addira omuzigo, n'amata, n'ennyana gy'afumbye, n'abiteeka mu maaso gaabwe; n'ayimirira ku mabbali gaabwe wansi w'omuti, ne balya. 9 Ne bamugamba nti Ali ludda wa Saala mukazi wo? N'ayogera nti Laba, ali mu weema. 10 N'ayogera nti Sirirema kukomawo w'oli ekiseera bwe kiridda; era, laba, Saala mukazi wo alizaala omwana ow'obulenzi. Saala n'awulira mu mulyango gw'eweema, eyali ennyuma we. 11 Ibulayimu ne Saala baali bakaddiye, era nga bayitiridde obukadde; so nga Saala takyabeera ng'empisa ey'abakazi bw'eri. 12 Saala n'aseka munda ye, ag'ayogera nti Nga mmaze okukaddiwa ndisanyuka, era ne mukama wange ng'akaddiye? 13 Mukama n'agamba Ibulayimu nti Kiki ekimusesezza Saala, ng'ayogera nti Mazima ndizaala omwana nga nkaddiye? 14 Waliwo ekirema Mukama? Mubiro ebyateekebwawo ndikomawo w'oli, ekiseera bwe kiridda, ne Saala alizaala omwana ow'obulenzi. 15 Saala n'alyoka yeegaana, ng'ayogera nti Sisese: kubanga yatya: N'ayogera nti Nedda; naye okuseka osese. 16 Abasajja ne bagolokoka okuva eyo, ne batunuulira e Sodoma: Ibulayimu n'agenda nabo okubawerekerako. 17 Mukama n'ayogera nti Ibulayimu naamukisa kye nkola 18 kubanga Ibulayimu talirema kufuuka ggwanga ddene ery'amaanyi, era amawanga gonna ag'omu nsi galiweerwa omukisa mu ye. 19 Kubanga kyennava mmumanya, alyoke abalagire abaana be n'ennyumba ye eriddawo, okukwatanga ekkubo lya Mukama, okukolanga eby'obutuukirivu n'eby'ensonga; Mukama alyoke aleete ku Ibulayimu bye yamwogerako. 20 Mukama n'ayogera nti Kubanga okukaaba okw'e Sodoma ne Ggomola kunene, era kubanga okwonoona kwabwe kwa kitalo: 21 nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng'okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze; era obanga tekyali bwe kityo, naamanya. 22 Abasajja ne bava eyo, ne bagenda e Sodoma: naye Ibulayimu ng'akyayimiridde mu maaso ga Mukama. 23 Ibulayimu n'asembera, n'ayogera nti Olizikiriza abatuukitivu awamu n'ababi? 24 Mpozzi mu kibuga mulimu abatuukirivu ataano: olizikiriza ekifo n'otokisonyiwa ku bwa batuukirivu ataano abakirimu? 25 Kitalo okole bw'otyo, okutta abatuukirivu awamu n'ababi, n'okwenkana abatuukirivu ne benkana n'ababi; kitalo ekyo: Omulamuzi w'ensi zonna talikola bya butuukirivu? 26 Mukama n'ayogera nti Bwe nnaalaba mu Sodoma abatuukirivu ataano munda mu kibuga, ne ndyoka nsonyiwa ekifo kyonna ku bwabwe. 27 Ibulayimu n'addamu n'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama newakubadde nga ndi nfuufu bu fuufu n'evvu: 28 mpozzi ku batuukirivu ataano kunaabulako abataano: olizikiriza ekibuga kyonna kubanga abataano babulako? N'ayogera nti Sirikizikiriza bwe nnaalabayo ana mu abataano. 29 N'ayogera naye nate era nti Mpozzi munaalabikamu ana. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo ku bw'ana. 30 N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange kanjogere: mpozzi munaalabikamu asatu. N'ayogera nti Sirikola bwe ntyo, bwe nnaalabayo asatu. 31 N'ayogera nti Laba nno, ngezezza nze okwogera ne Mukama: mpozzi munaalabikamu abiri. N'ayogera nti Sirikizikiriza, ku bw'abiri abo. 32 N'ayogera nti Nkwegayiridde, Mukama tasunguwala, nange ka njogere nate omulundi guno ogumu gwokka : mpozzi munaalabikamu ekkumi. N'ayogera nti Sirikizikiriza ku bw'ekkumi abo. 33 Mukama ne yeegendera, bwe yamala okwogera ne Ibulayimu: Ibulayimu n'addayo mu kifo kye.

Olubereberye 19

1 Ne Bamalayika babiri ne batuuka e Sodomu akawungeezi; ne Lutti yali atudde mu mulyango ogw'e Sodoma: Lutti n'abalaba, n'agolokoka okubasisinkana; n'avuunama amaaso ge 2 n'ayogera nti Laba nno, bakama bange, mwekooloobye, mbegayiridde, mu nnyumba ey'omuddu wammwe, musule okukeesa obudde, munaabe ebigere, mukeere enkya okugolokoka, mwegendere. Ne boogera nti Nedda; naye tunaasula mu luguudo okukeesa obudde. 3 N'abawaliriza nnyo; ne beekooloobya ewuwe, ne bayingira mu nyumba ye; n'abafumbira embaga, n'ayokya omugaati ogutazimbulukuswa, ne, balya. 4 Naye nga tebanneebaka, abasajja ab'omu kibuga, ab'e Sodoma, ne bazingiza ennyumba, abato era n'abakulu, abantu bonna nga bavudde mu bifo byonna: 5 ne bayita Lutti, ne bamugamba nti Abasajja bali ludda wa abayingidde ewuwo ekiro kino? obafulumye gye tuli, tubamanye. 6 Lutti n'afuluma gye bali mu mulyango, n'aggalawo oluggi ennyuma we. 7 N'ayogera nti Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. 8 Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye labo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w'ekisiikirize eky'akasolya kange. 9 Ne boogera nti Vaawo. Ne boogera nti Olusajja luno lwayingira okuba omugenyi, naye kirugwanira okuba omulamuzi: kaakano tunakukola ggwe bubi okusinga abo. Ne bamunyigiriza nnyo omusajja, ye Lutti, ne basembera okumenya oluggi. 10 Naye abasajja ne bagolola emikono, ne bayingiza Lutti mu nnyumba mwe baali, ne baggalawo oluggi. 11 Ne bazibya amaaso g'abasajja abaali ku luggi, abato era n'abakulu: n'okwekooya ne beekooya nga banoonya oluggi. 12 Abasajja ne bagamba Lutti nti Olina nate wano abalala? mukoddomi wo, n'abaana bo, ab'obulenzi n'ab'obuwala, ne bonna b'olina mu kibuga; bafulumye mu kifo muno: 13 kubanga tunaazikiriza ekifo kino, kubanga okukaaba kwabwe kweyongedde nnyo mu maaso ga Mukama; era Mukama yatutumye okukizikiriza. 14 Lutti n'afuluma n'ayogera ne bakoddomi be, abaawasa abawala be, n'agamba nti Mugolokoke, muve mu kifo kino; kubanga Mukama anaazikiriza ekibuga. Naye yaliŋŋanga asaaga eri bakoddomi be. 15 Awo bwe bwakya enkya, bamalayika ne bamwanguyiriza Lutti, nga boogera nti Golokoka, otwale mukazi wo, n'abaana bo abawala bombi abali wano: oleme okuzikirizibwa mu butali butuukirivu obw'ekibuga. 16 Naye n’alwa; abasajja ne bamukwata ku mukono gwe, ne ku mukono gwa mukazi we, ne ku mukono gw'abaana be abawala bombi; Mukama ng'atusaasira: ne bamuggyamu, ne bamuleeta ebweru w'ekibuga. 17 Awo bwe baamala okubaggiramu ddala, n'ayogera nti Dduka oleme okufa; totunula nnyuma wo, so tolwa mu lusenyi lwonna; ddukira ku lusozi, oleme okuzikirizibwa. 18 Lutti n'abagamba nti Nedda, mukama wange, nkwegayiridde: 19 laba nno, omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, era ogulumizizza okusaasira kwo, kw'ondaze ng'omponya nneme okufa; ne siyinza kuddukira ku lusozi luno, akabi kaleme okuntuukako ne nfa: 20 laba nno, ekibuga ekyo kwe kumpi okukiddukiramu, era kye kibuga ekitono: nkwegayiridde, nzirukire omwo, (si kitono?), n'obulamu bwange buliwona. 21 N'amugamba nti Era nkukkirizza ne mu kigambo ekyo, obutasuula kibuga ky'oyogeddeko. 22 Yanguwako, oddukire omwo; kubanga siyinza kukola kigambo, nga tonnatuuka omwo. Erinnya ly'ekibuga kyeryava liyitibwa Zowaali. 23 Enjuba yali ng'emaze okuvaayo ku nsi Lutti bwe yatuuka mu Zowaali. 24 Mukama n'alyoka atonnyesa ku Sodoma ne ku Ggomola omuliro n'ekibiriiti nga biva mu ggulu; 25 n'asuula ebibuga ebyo, n'olusenyi lwonna, n'abo bonna abaatuulanga mu bibuga, n'ebyo ebyamera ku ttaka. 26 Naye mukazi we n'atunula ennyuma we ng'amuvaako ennyuma, n'afuuka empagi ey'omunnyo. 27 Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya n'agenda mu kifo mwe yayimirira mu maaso ga, Mukama: 28 n'atunuulira e Sodoma n'e Ggomola, n'eri ensi yonna ey'olusenyi, n'alengera, era, laba, omukka ogw'ensi ne gunyooka ng'omukka ogw'ekikoomi. 29 Awo, Katonda bwe yazikiriza ebibuga eby'omu lusenyi, Katonda n'ajjukira Ibulayimu n'asindika Lutti ave wakati mu bibuga ebyasuulibwa, bwe yasuula ebibuga Lutti mwe yali atuula. 30 Lutti n'alinnya n'ava mu Zowaali, n'atuula ku lusozi, n'abaana be abawala bombi naye; kubanga n'atya okutuula mu Zowaali: n'atuula mu mpuku, n'abaana be abawala bombi. 31 N'omubereberye n'agamba omuto nti Kitaffe akaddiye, so tewali musajja mu nsi aliyingira gye tuli ng'empisa y'ensi zonna bw'eri: 32 kale, tunywese kitaffe omwenge, naffe tunaasula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. 33 Ne banywesa kitaabwe omwenge ekiro ekyo; n'omubereberye n'ayingira, n'asula ne kitaawe; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. 34 Awo ku lunaku olwaddako, omubereberye n'agamba omuto nti Laba, ekiro nasuze ne kitange: era tumunywese omwenge n'ekiro kino; naawe n'oyingira, n'osula naye, tukuume ezzadde lya kitaffe. 35 Era ne banywesa kitaabwe omwenge n'ekiro ekyo: omuto n'agolokoka, n'asula naye; n'atamanya bwe yagalamira, newakubadde bwe yagolokoka. 36 Bwe batyo abaana ba Lutti bombi abawala ne baba embuto za kitaabwe. 37 Omubereberye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Moabu: oyo ye jjajja w'Abamoabu ne kaakano. 38 Era n'omuto naye n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Benami: oyo ye jjajja w'abaana ba Amoni ne kaakano.

Olubereberye 20

1 Ibulayimu n'ava eyo n'atambula okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, n'atuula wakati wa Kadesi ne Ssuuli; n'abeera mu Gerali. 2 Ibulayimu n'ayogera ku Saala mukazi we nti Ye mwanayinaze: ne Abimereki kabaka w'e Gerali n'atuma, n'atwala Saala. 3 Naye Katonda n'ajjira Abimereki mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Laba, ggwe oli mufu bufu, olw'omukazi gwe watwala; kubanga alina bba. 4 Era Abimereki yali nga tannamusemberera: n'ayogera nti Mukama, olitta eggwanga newakubadde nga ttuukirivu? 5 Teyaŋŋamba ye yennyini nti Ye mwannyinaze? naye omukazi, omukazi yennyini n'ayogera nti Ye mwannyinaze: nga nnina omutima omutuukirivu n'engalo ezitaliiko kabi bwe nnakola ekyo. 6 Katonda n'amugamba mu kirooto nti Weewaawo, mmanyi nga wakola ekyo ng'olina omutima omutuukirivu, era nange ne nkuziyiza okunnyonoona: kyennava nnema okukuganya okumukwatako. 7 Kale nno zzaayo mukazi w'omusajja; kubanga ye nnabbi, naye alikusabira, naawe oliba mulamu: era bw'otoomuzzeeyo, tegeera nga tolirema kufa, ggwe, n'ababo bonna. 8 Abimereki n'agolokoka enkya mu makya, n'ayita abaddu be bonna, n'abuulira ebyo byonna mu matu gaabwe: abasajja tre batya nayo. 9 Abimereki n’alyoka ayita Ibulayimu, n'amugamba nti Onkoze ki? nange nnakwonoona ntya, ggwe okundeetera nze n'obwakabaka bwange okwonoona okunene? Onkoze ebikolwa ebitagwana kukola. 10 Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Walaba kiki, ekyakukoza ekyo? 11 Ibulayimu n'ayogera nti Kubanga nalowooza nti Mazima okutya Katonda tekuli mu kifo kino; nange balinzita olwa mukazi wange. 12 Era naye mazima ye mwanayinaze, mwana wa kitange, naye si mwana wa mmange; n'afuuka mukazi wange: 13 kale, Katonda bwe yantambuzatambuza okuva mu nnyumba ya kitange, ne ndyoka mmugamba nti Kino kye kisa kyo ky'ononjolesanga; mu buli kifo mwe tunaatuukanga, oyogeranga ku nze nti Ye mwannyinaze. 14 Ne Abimereki n'atwala endiga n'ente, n'abaddu n'abazaana, n'abiwa Ibulayimu, n'amuddiza Saala mukazi we. 15 Abimereki n'ayogera nti Ensi yange eri mu maaso go: tuula gy'onooyagala. 16 N'agamba Saala nti Laba, mpadde mwannyoko ebitundu lukumi ebya ffeeza: laba, ky'eky'okubikka ku maaso gy'oli eri abo bonna abali naawe; ne mu bigambo byonna ogattiddwa. 17 Ibulayimu n'asaba Katonda: Katonda n'awonya Abimereki, ne mukazi we, n'a bazaana be; ne bazaala abaana. 18 Kubanga Mukama yali asibidde ddala embuto zonna ez'omu nnyumba ya Abimereki, alwa Saala mukazi wa Ibulayimu.

Olubereberye 21

1 Mukama n'ajjira Saala nga bwe yayogera, era Mukama n’akola Saala nga bwe yagamba. 2 Saala n'aba olubuto, n'azaalira Ibulayimu omwana ow'obulenzi ng'akaddiye, mu biro ebyo ebyateekebwawo Katonda bye yamugambako. 3 lbulayimu n'atuuma omwana we eyamuzaalirwa, Saala gwe yamuzaalira, erinnya lye Isaaka. 4 Ibulayimu n'akomola omwana we Isaaka nga yaakamaze ennaku munaana, nga Katonda bwe yamulagira. 5 Era Ibulayimu yali yaakamaze emyaka kikumi, omwana we Isaaka bwe yamuzaalirwa. 6 Katonda n'ayogera nti, Wabeewo abbanga wakati mu mazzi, lyawulenga amazzi n'amazzi. 7 N'ayogera nti Aluwa oyo eyandigambye Ibulayimu nga Saala aliyonsa abaana be? kubanga mmuzaalidde omwana ow'obulenzi ng'akaddiye. 8 Omwana n'akula, n'ava ku mabeere: Ibulayimu n'afumba embaga ennene ku lunaku Isaaka lwe yaviirako ku mabeere. 9 Saala n'alaba omwana wa Agali Omumisiri, gwe yazaalira Ibulayimu, ng'aduula. 10 Kyeyava agamba Ibulayimu nti Goba omuzaana ono n'omwana we: kubanga omwana w'omuzaana ono tajja kubeera musika wamu n'omwana wange, ye Isaaka. 11 N'ekigambo ekyo ne kiba kizibu nnyo mu maaso ga Ibulayimu olw'omwana we. 12 Katonda n'agamba Ibulayimu nti Kireme okuba ekizibu mu maaso go olw'omulenzi, n'olw'omuzaana wo; mu byonna Saala by'anaakubuuliranga, owuliranga eddoboozi lye; kubanga mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga. 13 Era ne mu mwana w'omuzaana ndimuviisaamu eggwanga, kubanga ye lye zzadde lyo. 14 Ibulayimu n'agolokoka eakya mu makya, n'addira emmere n'ensawo ey'eddiba ey'amazzi, n'abiwa Agali, ng'abissa ku kibegabega kye, n'omwana, n'amusindika: n'agenda, n'atambuliratambulira mu ddungu ery'e Beeruseba; 15 N'amazzi ag'omu ddiba ne gaggwaamu, n’asazika omwana wansi w'ekisaka ekimu. 16 N'agenda, n'atuula wansi ng'amutunuulira walako, ug'ebbanga akasaale we kagwa: kubanga yayogera nti Nneme okulaba omwana ng'afa. N'atuula ng'amutunuulira, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. era n'emmunyeenye. 17 Katonda n'awulira eddoboozi ly'omulenzi; ne malayika wa Katonda n'ayita Agali ng'ayima mu ggulu, n’amugamba nti Obadde otya, Agali? totya; kubanga Katonda awulidde eddoboozi ly'omulenzi w'ali. 18 Golokoka, oyimuse omulenzi, omukwate mu ngalo zo; kubanga ndimufuula eggwanga eddene. 19 Katonda n'azibula amaaso ge, n'alaba oluzzi lw'amazzi n'agenda, n'ajjuza eddiba amazzi, n'anywesa omulenzi. 20 Katonda n'aba wamu n'omulenzi, n'akula; n'atuulanga mu ddungu, n'afuuka omulasi w'obusaale. 21 N'atuulanga mu ddungu ery'e Palani: ne nnyina n'amuwasiza omukazi mu nsi y'e Misiri. 22 Awo mu biro ebyo Abimereki ne Fikoli omukulu w'eggye ne bagamba Ibulayimu nti Katonda ali wamu naawe mu byonna by'okola: 23 kale nno, ndayirira wano Katonda nga tonkuusekuusenga nze; newakubadde omwana wange, newakubadde omwana w'omwana wange: naye ng'ekisa bwe kiri kye nkukoze, naawe ononkolanga bw'otyo nze, n'ensi gye watuulamu. 24 Ibulayimu n'ayogera nti Nnaalayira. 25 Ibulayimu n'anenya Abimereki olw'oluzzi lw'amazzi abaddu ba Abimereki lwe baamuggyako olw'amaanyi. 26 Abimereki n'ayogera nti Simumanyi bw'ali eyakola bw'atyo; so tombuulirangako, so siwulirangako era, wabula leero. 27 Ibulayimu n'addira endiga n'ente, n'abiwa Abimereki, ne balagaana endagaano bombi. 28 Ibulayimu n'ateeka endiga enduusi musanvu ez'omu kisibo wamu zokka. 29 Abimereki n'agamba Ibulayimu nti Endiga ezo enduusi omusanw z'otadde awamu zokka amakulu gaazo ki? 30 N'ayogera nti Endiga ezo eaduusi omusanvu onooziweebwa mu mukono gwange, ekyo kibeere omujulirwa gye ndi, nga nze nnasima oluzzi olwo. 31 Kyeyava ayita ekifo ekyo Beeruseba; kubanga eyo gye baalayirira bombi. 32 Bwe batyo ne balagaanira endagaano mu Beeruseba: Abimereki n'agolokoka ne Fikoli omukulu w'eggye lye, ne baddayo mu nsi eya Abafirisuuti. 33 (Ibulayimu) n'asimba omumyulira mu Beeruseba, n'akoowoolera eyo erinaya lya Mukama, Katonda ataggwaawo. 34 Ibulayimu n'amala ennaku nnyiagi mu nsi eya Abafisuuti.

Olubereberye 22

1 Awo oluvannyuma lw'ebyo, Katonda n'akema Ibulayimu, n'amugainba nti Ibulayimu; n'ayogera nti Nze nzuuno. 2 N'ayogera nti Twala kaakano omwana wo, omwana wo omu, gw'oyagala, ye Isaaka, ogende mu nsi Moliya; omuweere eyo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku lumu ku nsozi lwe ndikugambako. 3 Ibulayimu n'agolokoka enkya mu makya, n'assa amatandiiko ku ndogoyi ye, n'atwala babiri ku bavubuka be, ne Isaaka omwana we; n'ayasa enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'agolokoka, n'agenda mu kifo Katonda kye yamugambako. 4 Ku lunaku olw'okusatu Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'alengera ekifo. 5 Ibulayimu n'agamba abawbuka be nti Mubeere mmwe wano n'endogoyi; nange n'omulenzi tunaagenda wali; ne tusinza, ne tudda gye muli. 6 Ibulayimu n'atwala enku ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'azitikka Isaaka omwana we; n'atwala omuliro n'akambe mu ngalo ze; ne bagenda bombi wamu. 7 Isaaka n'agamba Ibulayimu kitaawe nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; mwana wange. N'ayogera nti Laba, omuliro n'enku (biibino): naye guluwa omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa? 8 Ibulayimu n'ayogera nti Katonda aneefunira omwana gw'endiga ogw'ekiweebwayo ekyokebwa, mwana wange: kale ne bagenda bombi. 9 Ne batuuka mu kifo Katonda we yamugamba; Ibulayimu n'azimbira eyo ekyoto, n'atindikira enku, n'asiba Isaaka omwana we, n'amugalamiza ku Kyoto, ku nku. 10 Ibulayimu n'agolola omukono gwe, n'addira akambe okutta omwana we. 11 Ne malayika wa Mukama n'amukoowoola ng'ayima mu ggulu, n'ayogera nti Ibulayimu, Ibulayimu: n'ayogera nti Nze nzuuno. 12 N'ayogera nti Tossa mukono gwo ku mulenzi, so tomukolako kantu: kubanga kaakano ntegedde ng'otya Katonda, kubanga tonnyimye mwana wo, omwana wo omu. 13 Ibulayimu n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, ennyuma we endiga ensajja, ng'ekwatiddwa mu kisaka n'amayembe gaayo: Ibulayimu n'agenda n'atwala endiga, n'agiwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa mu kifo ky'omwana we. 14 Ibulayimu n'atuuma ekifo kiri erinnya lyakyo Yakuwayire: nga bwe kyogerwa ne leero nti ku lusozi lwa Mukama kirirabwa. 15 Ne malayika wa Mukama n'ayita Ibulayimu omulundi ogw'okubiri ng'ayima mu ggulu, 16 n'ayogera nti Nneerayidde nzekka, bw'ayogera Mukama, kubanga okoze bw'otyo, n'otonnyima mwana wo, omwana wo omu: 17 okukuwa omukisa naakuwanga omukisa, n'okwongera naakwongerangako ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja; era ezzadde lyo balirya omulyango ogw'abalabe baabwe; 18 era mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; kubanga owulidde eddoboozi lyange. 19 Awo Ibulayimu n'addayo eri abavubuka be, ne bagolokoka ne bagenda bonna wamu e Beeruseba; Ibulayimu n'atuulanga mu Beeruseba. 20 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne babuulira Ibulayimu nga boogera nti Laba, era Mirika naye yazaalira abaana muganda wo Nakoli; 21 Uzi, omubereberye we, ne Buzi, muganda we, ne Kemweri, kitaawe wa Alamu; 22 ne Kesedi, ne Kaazo, ne Pirudaasi, ne Yidulaafu, ne Bessweri. 23 Bessweri n'azaala Lebbeeka: abo omunaana Mirika yabazaalira Nakoli, muganda wa Ibulayimu. 24 N'omuzaana we, erinnya lye Lewuma, era naye n'azaala Teba, ne Gakamu, ne Takasi, ne Maaka.

Olubereberye 23

1 Saala n'awangaala emyaka kikumi mu abiri mu musanvu: egyo gye myaka Saala gye yawangaala. 2 Saala n'afiira mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), mu nsi ya Kanani: Ibulayimu n'ajja okukungubagira Saala, n'okumukaabira, amaziga. 3 Ibulayimu n'agolokokai n'ava eri omulambo gwe, n'agamba abaana ba Keesi nti 4 Nze ndi mugenyi era mutambuze gye muli: mumpe ekifo eky'okuziikangamu okuba obutaka mu nsi yammwe, nziike omulambo gwange obutagulabangako. 5 N'abaana ba Keesi ne baddamu Ibulayimu, nga bamu gamba nti 6 Otuwulire, mukama wange: ggwe oli mukungu mukulu mu ffe: ziika omulambo gwo mu ntaana yaffe gy'oneeroboza mu zonna; tewali mu ffe agenda okukumma entaana ye, obutaaiika omulambo gwo. 7 Ibulayimu n'agolokoka, n'awunamira abantu ab'omu nsi, be baana ba Keesi. 8 N'ayogera nabo, ng'agamba nti Bwe mwagala nze okuziika omulambo gwange obutagulabangako, mumpulire, munneegayiririre Efulooni omwana wa Zokali, 9 ampe empuku eya Mnkupeera, gy'alina, ekomerera mu lusuku lwe; aginguze omuwendo gwayo omulamba wakati mu mmwe okuba obutaka okuba entaana. 10 Efulooni yali atudde wakati mu baana ba Keesi; Efulooni Omukiiti n'addamu Ibulayimu abaana ba Keesi nga bamuwulira, be bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga, ng'ayogera nti 11 Nedda, mukama wange, ompulire: olusuku ndukuwadde, n'empuku erulimu ngikuwadde; mu maaso g`abaana b'abantu bange ngikuwadde: ziika omulambo gwo. 12 Ibulayimu n'avuunama mu maaso g'abantu ab'omu nsi. 13 N'agamba Efulooni abantu ab'oImu nsi nga bamuwulira, ng'ayogera Inti Naye bw'onooyagala, nkwegayiIrira, ompulire: nnaasasula omuwendo gw'olusuku; gukkirize nkuwe, nange naaziika omwo omulambo gwange. 14 Efulooni n'addamu Ibulayimu, ng'amugamba nti 15 Mukama wange, ompulire: akasuku omuwendo gwako essekeri eza ffeeza ebina kintu ki eri nze naawe? kale ziika omulambo gwo. 16 Ibulayimu n'awulira Efulooni; Ibulayimu n'agerera Efulooni effeeza gye yali agambye abaana ba Keesi nga bamuwulira, essekeri eza ffeeza bina, nga effeeza eya bulijjo ey'omuguzi bwe yali. 17 Awo olusuku lwa Efulooni, olwali mu Makupeera, etunuulira Mamule, olusuku n'empuku eyalimu, n'emiti gyonna egyali mu lusuku, egyali mu nsalo yaalwo yonna okwetooloola, 18 byanywezebwa eri Ibulayimu okuba obutaka bwe mu maaso g'abaana ba Keesi, mu maaso ga bonna abaayingira mu mulyango gw'ekibuga kye. 19 Oluvannyuma lw'ebyo Ibulayimu n'aziika Saala mukazi we mu mpuku ey'omu lusuku olwa Makupeera etunuulira Mamule (ye Kebbulooni), mu nsi y'e Kanani. 20 N'olusuku n'empuku erulimu ne binywezebwa abaana ba Keesi eri Ibulayimu okuba obutaka bwe okuba ekifo eky'okuziikangamu.

Olubereberye 24

1 Ibulayimu yali akaddiye, ng'ayitiridde obukadde: era Mukama yawanga Ibulayimu omukisa mu bigambo byonna. 2 Ibulayimu n'agamba omuddu we, omukulu w'ennyumba ye, eyafuganga byonna bye yalina, nti Nkwegayiridde, ssa omukono gwo wansi w'ekisambi kyange; 3 nange naakulayiza Mukama, Katonda w'eggulu era Katonda w'ensi, nga toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Bakanani, be ntuulamu: 4 naye oligenda mu nsi yange, era eri baganda bange, omuwasize omwana wange Isaaka omukazi. 5 Omuddu n'amugamba nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange okutuuka mu nsi eno: kirignwanira okuzza omwana wo mu asi gye wavaamu? 6 Ibulayimu n'amugamba nti Tozzangayo mwana wange n'akatono. 7 Mukama, Katonda w'eggulu, eyanziya mu nnyumba ya kitange, ne mu nsi mwe nnazaalirwa, era eyayogera nange, nandayirira, ng'agamba nti Ezzadde lyo ndiriwa ensi eno; oyo alituma malayika we okukukulembera, naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva eyo. 8 N'omukazi bw'aliba nga takkirizza kujja naawe, kale nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange kino; kino kyokka, obutamuzzaayo mwana wange. 9 Omuddu n'assa omukono gwe wansi w'ekisambi kya Ibulayimu mukama we, n'amulayirira mu kigambo ekyo. 10 Omuddu n'atwala eŋŋamira kkumi, ez'omu ŋŋamira za mukama we, ne yeegendera; ng'alina ebintu byonna ebirungi ebya mukama we mu ngalo ze: n'agolokoka, n'agenda mu Mesopotamiya, mu kibuga kya Nakoli. 11 N'afukamiza eŋŋamira ebweru w'ekibuga awali oluzzi lw'amazzi obudde nga buwungeera, obudde nga butuuse abakazi we baafulumi ranga okusena amazzi. 12 N'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ompe, nkwegayiridde, omukisa leero, olage ekisa mukama wange Ibulayimu. 13 Laba, nnyimiridde ku nsulo z'amazzi; n'abaana abawala b'ab'omu kibuga bafuluma okusena amazzi: 14 kale kibeere bwe kiti; omuwala gwe nnaagamba nti Sena ensuwa yo, nkwegayiridde, nnywe; naye anaagamba nti Nnywa, nange nnaanywesa n'enhamira zo: oyo abeere oyo gwe walagirira omuddu wo Isaaka; era bwe ntyo bwe nnaategeera ng'olaze ekisa mukama wange. 15 Kale olwatuuka, bwe yali ng'akyayogera, laba, Lebbeeka n'afuluma, eyazaalirwa Bessweri omwana wa Mirika; mukazi wa Nakoli, muganda wa Ibulayimu, ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye. 16 N'omuwala yali mulungi nnyo okulaba, omuwala omuto, so nga tewali musajja eyamumanya: n'aserengeta ku nsulo, n'ajjuza ensuwa ye, n'ayambuka. 17 Omuddu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'ayogera nti Onnywese, nkwegayiridde, otuzzi mu nsuwa yo. 18 N'ayogera nti Nywa, mukama wange: n'ayanguwa n'assa ensuwa ye ku mukono gwe, n’amunywesa. 19 Awo bwe yamala okumunywesa, n'ayogera nti Nnaasenera n'eŋŋamira zo zinywe zikkute. 20 N'ayanguwa n'afuka ensuwa ye mu kyesero, n'addukana nate ku luzzi okusena, n'asenera eŋŋamira ze zonna. 21 Omusajja n'amwekaliriza amaaso, ng'asirise, okutegeera nga Mukama awadde olugendo Iwe omukisa oba nga tawadde. 22 Awo olwatuuka, eŋŋamira bwe zaamala okunywa, omusajja n’addira empeta eya zaabu obuzito bwayo kitundu kya sekeri, n'emisagga egy'okubanga ku mikono gye obuzito bwagyo sekeri kkumi eza zaabu; 23 n'ayogera nti Ggwe oli mwana w'ani? mbuulira, nkwegayiridde. Mu nnyumba ya kitaawo mulimu ebbanga ffe okusula omwo? 24 N'amugamba nti Nze ndi mwana wa Bessweri omwana wa Mirika, gwe yazaalira Nakoli. 25 Era nate n'amugamba nti Tulina essubi era n'ebyokulya ebinaazimala, era n'ebbanga ery'okusulamu 26 Omusajja n'akutama, n'asinza Mukama. 27 N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, ataleka kusaasira kwe n'amazima ge eri mukama wange: nze, Mukama annuŋŋamizza mu kkubo eri ennyumba ya baganda ba mukama wange. 28 Omuwala n'addukana, n'abuulira ab'omu nnyumba ya nnyina ng'ebigambo ebyo bwe biri. 29 Era Lebbeeka yalina mwannyina, erinnya lye Labbaani: Labbaani, n'afuluma n'adduka okusisinkana omusajja awali oluzzi. 30 Awo olwatuuka, bwe yalaba empeta, n'emisagga egyali ku mikono gya mwannyina, era bwe yawulira ebigambo bya Lebbeeka mwaanyina, ng'ayogera nti Bw'atyo omusajja bw'aŋŋambye; n'ajja eri omusajja; era, laba, yali ng'ayimiridde mu mbiriizi z'eŋŋamira awali ensulo. 31 N'ayogera nti Yingira ggwe Mukama gw'awadde omukisa; kiki ekikuyimirizza ebweru? kubanga nteeseteese ennyumba, n'ekifo eky'eŋŋamira. 32 Omusajja n'ayingira mu nnyumba, n'asumulula eŋŋamira; n'awa essubi n'ebyokulya eby'ennamira, n'amazzi okunaaza ebigere bye n'ebigere by'abasajja abaali naye. 33 Ne bateeka emmere mu maaso ge alye: naye n'ayogera nti Siirye nga sinnayogera bye nnatumibwa. N'ayogera nti Yogera. 34 N'ayogera nti Nze ndi muddu wa Ibulayimu 35 Era Mukama yawanga mukama wange omukisa mungi; era afuuse omukulu: era yamuwa embuzi n'ente, ne ffeeza ne zaabu, n'abaddu n'abazaana, n'eŋŋamira n'endogoyi. 36 Ne Saala mukazi wa mukama wange n’azaalira! mukama wange omwana bwe yali ng'akaddiye: era oyo n'amuwa. byonna by'alina. 37 Ne mukama wange n'andayiza, ag'ayogera nti Toliwasiza mwana wange mukazi aliva mu bawala aba Abakanani, be ntuulira mu nsi yaabwe: 38 naye oligenda eri ennyumba ya kitange, n'eri baganda bange, owasize omwana wange omukazi. 39 Ne ŋŋamba mukama wange nti Mpozzi omukazi talikkiriza kujja nange. 40 N'aŋŋamba nti Mukama, gwe ntambulira, mu maaso ge, alituma malayika we wamu naawe, aIiwa olugendo lwo omukisa; naawe oliwasiza omwana wange omukazi aliva mu baganda bange, ne mu nnyumba ya kitange: 41 bw'otyo tolibaako musango olw'ekirayiro kyange, bw'olituuka mu baganda bange; nabo bwe batalikuwa mukazi, ggwe nga toliiko musango olw'ekirayiro kyange. 42 Leero ne njija awali oluzzi, ne njogera nti Ai Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, bw'onoowa kaakano omukisa olugendo lwange lwe ŋŋenda: 43 laba, nnyimiridde awali ensulo y'amazzi; kale kibeere bwe kiti; omuwala anaafuluma okusena, gwe nnaagamba nti Ompe, nkwegapiridde, otuzzi mu nsuwa yo nnywe: 44 naye anaŋŋnamba nti nywa ggwe, era nze naasenera n'eŋŋamira zo: oyo abeere oyo Mukama gwe yalagirira omwana wa mukama wange. 45 Bwe mbadde nga nkyayogera mu mutima gwange, laba, Lebbeeka n'afuluma ng'alina ensuwa ye ku kibegabega kye: n'aserengeta ku nsulo, n’asena: ne mmugamba nti Nnywe, nkwegayiridde. 46 N'ayanguwa, n'assa ensuwa ye okuva ku kibegabega kye, n'ayogera nti Nywa, nange naanywesa n'eŋŋamira zo: ne nnywa, naye n'anywesa n'eŋŋamira. 47 Ne mmubuuza ne njogera nti Ggwe oli mwana w'ani? N'ayogera nti Mwana wa Bessweri, omwana wa Nakoli, Mirika gwe yamuzaalira: ne nnaanika empeta mu nnyindo ye, n'emisagga ku mikono gye. 48 Ne nkutama, ne nsinza Mukama, ne nneebaza Mukama, Katonda wa mukama wange Ibulayimu, eyannuŋŋamya mu kkubo lyeanyini okuwasiza omwana we omwana wa mwannyina mukama wange. 49 Ne kaakaano bwe munakkiriza okukolera mukama wange eby'ekisa n'eby'amazima, mumbuulire; era bwe mutakkirize, mumbuulire; ndyoke nkyukire ku mukono ogwa ddyo, oba ku gwa kkono. 50 Labbaani ne Bessweri ne balyoka baddamu ne boogera nti Ekigambo ekyo kivudde eri Mukama: tetuyinza kukubuulira bibi newakubadde ebirungi. 51 Laba, Lebbeeka ali mu maaso go, mutwale, ogende, abeere mukazi w'omwana wa mukama wo, Mukama aga bw'ayogedde. 52 Awo olwatuuka, omuddu wa Ibulayimu bwe yawuiira ebigambo ebyo, n'avuunama eri Mukama, 53 Omuddu n'aleeta amakula aga ffeeza n'amakula aga zaabu n'ebyambalo, n'abiwa Lenbeeka: era n'awa ne mwannyina ne nayina ebintu eby'omuwendo omungi. 54 Ne balya ne banywa; ye n'abasajja abaali naye, ne basula ne bakeesa obudde; ne bagolokoka enkya, n'ayogera nti Munsiibute yende eri mukama wange. 55 Ne mwannyina ne nnyina ne boogera nti Omuwala abeere naffe amale eanaku si nnyingi, ekkumi oba kusingawo; alyoke agende. 56 N'abagamba nti Tondwisa, kubanga Mukama awadde omukisa olugendo lwange; munsiibule ŋŋende eri mukama wange. 57 Ne boogera nti Tunaayita omuwala, tumubuuze mu kamwa ke. 58 Ne ayita Lebbeeka, ne bamugamba Onoogenda n'omusajja ono? N'ayogera nti Nnaagenda. 59 Ne basiibula Lebbeeka mwannyinaabwe, n'omulenzi we, n'omuddu wa Ibulayimu, n'abasajja be. 60 Ne basabira Lebbeeka omukisa, ne bamugamba nti Mwannyinaffe, beeranga nnyina w’abantu obukumi enkumi n’ezzadde lyo liryenga omulyango gw’abo ababakyawa. 61 Lebbeeka n’agolokoka n’abazaana be, ne beebagala ku ŋŋamirane bagenda n’omusajja: omuddu n’atwala Lebeeka ne yeegendera. 62 Isaaka najja ng’ava mu kkubo ery’e Beerirakairoi: kubanga yali atuula mu nsi ey’obukiika obwa ddyo. 63 Isaaka n'afuluma okufumiitiriza mu nnimiro akawungeezi : n'ayimusa amaaso ge, n'atula, era, laba, eŋŋamira nga zijja. 64 Lebbeeka n'ayimusa amaaso ge, era bwe yalaba Isaaka, n'ava kuŋŋamira. 65 N'agamba omuddu nti Musajja ki oyo atambulira mu ninniro okutusisinkaana? Omuddu n’ayogera nti Ye mukama wange: n’addira olugoye lwe olubikka mu maaso ne yeebikkako. 66 Omuddu n’abuulira Isaaka byonna bye yakola 67 Isaaka n'amuleeta mu nnyumba nnyina Saala, n'awasa Lebbeeka, n'aba mukazi we; n'amwagala: Isaaka n'asanyusibwa nnyina bwe yamala okufa.

Olubereberye 25

1 Awo Ibulayimu n'awasa omukazi amulala, erinnya lye Ketula. 2 Naye n'amuzaalira Zimulaani, ne Yokusaani, ne Medani, ne Midiyaani, ne Isubaki, ne Suwa. 3 Yokusaani n'azaala Seeba, ne Dedani. N'abaana ba Dedani abasajja baali Asulimu, ne Letusimu, ne Leumimu. 4 N'abaana ba Midiyaani abasajja; Efa, ne Eferi, ne Kanoki, ne Abida, ne Erudaa. Abo bonna baana ba Ketula. 5 Ibulayimu n'awa Isaaka byonna bye yalina. 6 Naye abaana abasajja ab'abazaana, Ibulayimu be yalina, Ibulayimu n'abawa bo ebirabo; n'abasindika okuva eri Isaaka omwana we, bwe yali ng'akyali mulamu, bagende ebuvanjuba, mu nsi ey'ebuvanjuba. 7 N'ennaku ez'emyaka ez'obulamu bwa IbuIayimu bwe yamala ze zino, emyaka kikumi mu nsanvu mu etaano. 8 Ibulayimu n’ata omukka n'afa ng'amaze okuwangaala obulungi, nga mukadde emyaka gye nga gituukiridde: n'atwalibwa eri abantu be. 9 Isaaka ne Isimaeri batabani be ne bamuziika mu mpuku ya Makupeera, mu Iusuku lwa Efulooni omwana wa Zokali Omukiiti, olutunuulira Mamule; 10 olusuku abaana ba Keesi lwe baaguza Ibulayimu: Ibulayimu mwe baamuziika omwo ne Saala mukazi we. 11 Awo olwatuuka Ibulayimu ng'amaze okufa Katonda n'awa Isaaka omwana we omukisa; Isaaka n'atuulanga ku Beerirakairoi. 12 Era okuzaala kwa Isimaeri, omwana wa Ibulayimu Agali Omamisiri, omuzaana wa Saala, gwe yazaalira Ibulayimu, kwe kuno: 13 n'abaana ba Isimarei, amannya gaabwe nga bwe gaali, nga bwe baazaalibwa, amannya gaabwe ge gano: omubereberye wa Isimaeri, Nebayoosi; ne Kedali, ne Adubeeri, ne Mibusamu, 14 ne Misuma, ne Duma, ne Masa; 15 Kadadi ne Teenna, Yettili, Nafisi, ne Kedema: 16 abo be baana ba Isimaeri, era ago ge mannya gaabwe, ng'ebyalo byabwe bwe byali, era nga bwe baakuba eweema zaabwe; abalangira kkumi na babiri ng'amawanga gaabwe bwe gaali. 17 N'emyaka gya Isimaeri gye yamala, emyaka kikumi mu asatu mu musanvu: n'ata omukka n'afa; n'atwalibwa eri abantu be. 18 Ne batuula okuva ku Kavira okutuuka ku Ssuuli ekitunuulira Misiri, ng'ogenda e Bwasuli: yatuulanga mu maaso ga baganda be bonna. 19 N'okuzaala kwa Isaaka, omwa-i na wa Ibulayimu, kwe kuno: Ibulayimu yazaala Isaaka: 20 era Isaaka yali yaakamaze emyaka ana bwe, yawasa Lebbeeka, omwana wa, Bessweri Omusuuli ow'e Padanalaamu, mwannyina Labbaani Omusuuli, okuba mukazi we. 21 Isaaka ne yeegayiririra Mukama mukazi we, kubanga yali mugumba: Mukama n'awulira okwegayirira kwe, ne Lebbeeka mukazi we n'aba olubuto. 22 Abaana ne bawakanira mu nda ye; n'ayogera nti Bwe kiri bwe kityo, kyenva mbeera, omulamu kiki? N'agenda okubuuza Mukama. 23 Mukama n'amugamba nti Amawanga abiri gali mu lubuto lwo. N'ebika ebibiri biryawukana n'okuva mu byenda byo: N'eggwanga erimu linaasinganga eggwanga eddala amaanyi; N'omukulu anaaweerezanga omuto. 24 Awo ennaku ze bwe zaatuukirira okuzaala, laba ne baba abalongo mu lubuto lwe. 25 N'omubereberye n'avaamu nga mumyufu, omubiri gwe gwonna nga gufaanana ekyambalo eky'ebyoya: ne bamutuuma erinnya lye Esawu. 26 Muganda we n'amuddirira n'avaamu, omukono gwe nga gukutte ekisinziiro kya Esawu; n'erinnya lye ne bamutuuma Yakobo: era Isaaka yali yaakamaze emyaka nkaaga, mukazi we bwe yabazaala. 27 Abalenzi ne bakula: Esawu n'abanga omuyizzi ow'amagezi, omusajja ow'omu nsiko; ne Yakobo yali musajja muteefu, eyatuulanga mu weema. 28 Era Isaaka n'ayagala Esawu, kubanga yalyanga ku muyiggo gwe: ne Lebbeeka n'ayagala Yakobo. 29 Yakobo n'afumba omugoyo: Esawu n'ayingira ng'a vudde mu nsiko, ng'akooye nga talina maanyi: 30 Esawu n'agamba Yakobo nti Ndiisa, nkwegayirira, omugoyo ogwo omumyufu; kubanga sirina maanyi: erinnya lye kye lyava liyitibwa Edomu. 31 Yakobo n'ayogera nti Nguza leero eby'obukulu bwo. 32 Esawu n'ayogera nti Laba, mbulako katono iokufa: n'eby'obukulu biringasa bitya? 33 Yakobo n'amugamba nti Ndayirira leero; n'amulayirira: n'aguza Yakobo eby'obukulu bwe. 34 Yakobo n'awa Esawu emmere n'omugoyo gw'ebijanjaalo; n'alya, n'anywa, n'agolokoka, ne yeegendera: bw'atyo Esawu n'anyooma eby'obukulu bwe.

Olubereberye 26

1 Ne wagwa enjala mu nsi, endala so si eyo ey'olubereberye eyagwa mu nnaku za Ibulayimu. Isaaka n'agenda eri Abimereki kabaka wa Abafirisuuti mu Gerali. 2 Mukama n'amulabikira, n'ayogera nti Toserengeta mu Misiri; tuula mu nsi gye nnakugambako: 3 beera mu nsi eno, nange naabeeranga wamu naawe, era naakuwanga omukisa; kubanga ggwe n'ezzadde lyo ndibawa mmwe ensi zino zonna, era naanywezanga ekirayiro kye nnalayirira Ibulayimu kitaawo; 4 era naayazanga ezzadde lyo ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, era ndiwa ezzadde lyo ensi zino zonna; ne mu zzadde lyo amawanga gonna ag'omu nsi mwe galiweerwa omukisa; 5 kubanga Ibulayimu yawuliranga eddoboozi lyange, ne yeekuumanga bye nnamukuutiranga, ebigambo byange, amateeka gange, n'ebiragiro byange. 6 Isaaka n'atuula mu Gerali: 7 abasajja baayo ne bamubuuza ku mukazi we; n'ayogera nti Ye mwannyinaze: kubanga yatya okwogera nti Mukazi wange; abasajja baawo baleme okunzita olwa Lebbeeka: kubanga yali mulungi okulaba. 8 Awo olwatuuka, bwe yali yaakamalayo ebiro bingi, Abimereki kabaka wa Abafirisuuti n'atunuulira mu ddirisa, n'alaba, era laba, Isaaka yali ng'azannya ne Lebbeeka mukazi we. 9 Abimereki n’ayita Isaaka n'amugamba nti Laba mazima ye mukazi wo: naawe wayogera otyo nti ye mwannyinaze? Isaaka n’amugamba nti Kubanga nali njogera nti Nneme okufa ku bubwe. 10 Abimereki n'ayogera nti Kino kiki ky'otukoze? omu ku bantu yaadisuze ne mukazi wo nga talowoozezza, naawe wandituleeseeko omusango. 11 Abimereki n'akuutira abantu bonna, ng'ayogera Buli anaakwatanga ku musajja oyo oba mukazi we talirema kuttibwa. 12 Isaaka n'asiga mu nsi eyo, n'afuna mu mwaka ogwo emirundi kikumi: Mukama n'amuwa omukisa. 13 Omusajja n'akula ne yeeyongerayongeranga okutuusa bwe yali omukulu ennyo: 14 era yaluna embuzi ze n'ente ze, n'abaddu baagi: n'akwasa Abafirisuuti obuggya. 15 Awo enzizi zonna abaddu ba kitaawe ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe, Abafirisuuti baali nga bazizibye era nga bazijjuzizza ettaka. 16 Abimereki n'agamba Isaaka nti genda tuveeko; kubanga otusinga nnyo amaanyi. 17 Isaaka n’avaayo, n'asimba eweema ze mu kiwonvu eky'e Gerali, n'atuula omwo. 18 Isaaka n'ayerula enzizi z'amazzi, ze baasimira mu nnaku za Ibulayimu kitaawe; kubanga Abafrrisuuti baaziziba Ibulayimu bwe yamala okufa: n'aziyita amannya gaazo ag'amannya bwe gaali kitaawe ge yazituuma. 19 Abaddu ba Isaaka ne basima mu kiwonvu, ne balaba omwo oluzzi Iw'amazzi amalamu. 20 N'abasumba ab'e Gerali ne bawakanya abasumba ba Isaaka, nga boogera nti' Amazzi gaffe: n'atuuma oluzzi erinnya lyalwo Eseki; kubanga baawakana naye. 21 Ne basima oluzzi olulala, era a'olwo ne baluwakaaira: n'alutuuma erinnya lyalwo Situna. 22 N'ajjulukuka okuvaayo, n'asima oluzzi olulala; n'olwo ne bataluwakanira; n'alutuuma erinnya lyalwo Lekobosi; n'ayogera nti Kubanga kaakano Mukama atugaziyizza, naffe tulyalira mu nsi. 23 N'avaayo n'aYambuka e Beeruseba. 24 Mukama n'amulabikira ekiro ekyo, n'ayogera nti Nze Katonda wa Ibulayimu kitaawo: totya, kubanga nze ndi wamu naawe era naakuwanga omukisa, era naayongeranga ezzadde lyo ku bw'omuddu wange Ibulayimu. 25 N'azimba ekyoto eyo, n'akoowoola erinnya lya Mukama, n'asimba eyo eweema ye: n'eyo abaddu ba Isaaka ne basimayo oluzzi. 26 Abimereki n'alyoka ava mu Gerali n’agenda gy'ali, ne Akuzasi mukwano gwe, ne Fikoli omukulu w'eggye lye. 27 Isaaka n'abagamba ati Kiki ekibaleese gye ndi, bwe muba nga munkyawa, era mwangoba gye muli? 28 Ne boogera nti Twalabira ddala nga Mukama ali naawe: ne twogera nti Wabeere nno ekirayiro gye tuli, wakati waffe naawe, era tulagaane endagaano naawe; 29 obutatukolerangako kabi, nga ffe bwe tutakukwatangako, era nga bwe tutakukoleranga kantu wabula ebirungi, era ne tukusindika n'emirembe; kaakano ggwe oyo Mukama gw'awa omukisa. 30 N'abafumbira embaga, ne balya ne banywa. 31 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne balayiragana: Isaaka n'abasiibula, ne bamuvaako n'emirembe. 32 Awo olwatuuka ku lunaku olwo, abaddu ba Isaaka ne bajja, ne bamubuulira ku luzzi lwe baali basimye, ne bamugamba ati Tulabye amazzi. 33 N'alutuuma Siba; erinnya ly'ekibuga kyeriva libeera Beeruseba ne leero. 34 Esawu bwe yali nga yaakamaze emyaka ana n'awasa Yudisi omwana wa Beeri Omukiiti, ne Basimansi omwana wa Eromi Omukiiti: 35 ne banakuwaza Isaaka ne Lebbeeka emmeeme zaabwe.

Olubereberye 27

1 Awo olwatuuka Isaaka bwe yamala okukaddiwa, n'amaaso ge nga gayimbadde n'okuyinza nga takyayinza kulaba, n'ayita Esawu omwana we omubereberye, n'amugamba nti Mwana wange: n'amugamba nti Nze nzuuno. 2 N'ayogera nti Laba nno, nze nkaddiye, simanyi lunaku lwe ndifiirako. 3 Kale kaakano nkwegayirira, ddira by'oyizza, omufuko gwo n'omutego gwo, ogende mu nsiko, onjiggire omuyiggo; 4 era onnongooseze ennyama ey'akawoowo, nga bwe njagala, ogindeetere, ndye; obulamu bwange bukusabire omukisa nga sinnafa. 5 Lebbeeka n'awulira Isaaka bwe yayogera ne Esawu omwana we. Esawu n'agenda mu nsiko okuyigga omuyiggo, n'okuguleeta. 6 Lebbeeka n'agamba Yakobo omwana we nti Laba, mpulidde kitaawo ng'agamba Esawu muganda wo nti 7 Ndeetera omuyiggo, onnongooseze ennyama ey'akawoowo, ndye, nkusabire omukisa mu maaso ga Mukama nga sinnafa. 8 Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange ng'ebyo bwe biri bye nkulagira. 9 Genda kaakano eri embuzi, onkimireyo abaana b'embuzi abalungi babiri; nange naazirongooseza kitaawo okuba ennyama ey'akawoowo, nga bw'ayagala: 10 naawe onoogitwalira kitaawo, alye, alyoke akusabire omukisa nga tannafa. 11 Yakobo n'agamba Lebbeeka nnyina nti Laba, Esawu muganda wange ye musajja ow'obwoya, nange omubiri gwange guseerera. 12 Mpozzi kitange anampeeweetako, nange naafaanana gyali ng'omulimba; era neereetako okukolimirwa, so si mukisa. 13 Nnyina namugamba nti Okukolimirwa kwo kubeere ku nze, mwana wange: kino kyokka, wulira eddoboozi lyange, ogende obinkimire. 14 N'agenda, n'abikima, n'abireetera nnyina : nnyina n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, nga kitaawe bwe yayagala. 15 Lebbeeka n'addira ebyambalo ebirungi ebya Esawu omwana we omubereberye, ebyali naye mu nnyumba, n'ayambaza ebyo Yakobo omwana we omuto: 16 n'ateeka amaliba g'abaana b'embuzi ku ngalo ze, ne ku nsiago awaseerera: 17 n'awa omwana we Yakobo mu ngalo ze ennyama ey'akawoowo n'emmere bye yali aloagoosezza. 18 N'ajja eri kitaawe, n'ayogera nti Kitange: n'ayogera nti Nze nzuuno; ggwe ani, mwana wange? 19 Yakobo n'agamba kitaawe nti Nze Esawu omwana wo omubereberye; era nkoze nga bw'ondagidde: golokoka, nkwegayirira, otuule olye ku muyiggo gwange, obulamu bwo bunsabire omukisa. 20 Isaaka n'agamba omwana we nti Kiki ekikugulabisizza amangu bwe kityo, mwana wange? N'ayogera nti Kubanga Mukama Katonda wo ambedde. 21 Isaaka n'agamba Yakobo nti Sembera, nkwegayiridde, nkuweeweeteko, mwana wange, oba ggwe mwana wange Esawu ddala ddala nantiki si ye wuuyo. 22 Yakobo n'asemberera Isaaka kitaawe; n'amuweeweetako, n'ayogera nti Eddoboozi ly'eddoboozi lya Yakobo, naye engalo z'engalo za Esawu. 23 N'atamwekkaanya, kubanga engalo ze zaaliko obwoya, ng'engalo za muganda we Esawu: kale n'amusabira omukisa. 24 N'ayogera nti gwe mwana wange Esawu ddala ddala? N'ayogera nti Nze nzuuyo. 25 N'ayogera nti Gunsembereze, nange n'alya ku muyiggo ogw'omwana wange, obulamu bwange bukusabire omukisa. N'agusembeza gy'ali, n'alya; n'amuleetera omwenge, n'anywa. 26 Kitaawe Isaaka n'amugamba nti Sembera kaakanoonnywegere, mwana wange 27 N’asembera, n'amunywegera n'awulira akaloosa ek'ebyambalo bye, n'amusabira omukisa, n'ayogera nti Laba, akaloosa ak'omwana wange Kalintlanga akaloosa ak'ennimiro Mukama gy'awadde omukisa: 28 Era Katonda akuwenga ku musulo oguva mu ggulu, Ne ku bugimu obw'ensi, N'entlaano nnyingi a'omwenge mungi: 29 Abantu bakuweerezenga N'amawaanga gakuvuunamirenga: Ofugenga baganda bo, N'abaana ba nayoko bakuvuunamirenga: Akolimirwenga buli akukolimira, Era aweebwenga omukisa buli akusabira omukisa. 30 Awo olwatuuka, Isaaka bwe yali nga kyajje amale okusabira Yakobo omukisa, ne Yakobo ng'akyaliwo tannaviira ddala eri Isaaka kitaawe, Esawu muganda we n’alyoka ayingira ng'avudde okuyigga. 31 Era naye n'alongoosa ennyama ey'akawoowo, n'agireetera kitaawe; n'agamba kitaawe nti Kitange agolokoke, alye ku muyiggo ogw'omwana we, obulamu bwo bunsabire omukisa. 32 Isaaka kitaawe n'amugamba nti Ggwe ani? N'ayogera nti Nze mwana wo, omubereberye wo, Esawu. 33 Isaaka n'akankana nnyo nayini, n'ayogera nti Kale ani oyo eyayizze omuyiggo n’agundeetera, nange ndidde ku byonna nga tonnajja, ne mmusabira omukisa? era naye n'okuweebwa aliweebwa omukisa. 34 Esawu bwe yawulira ebigambo bya kitaawe, n'akaaba okukaaba okunene ennyo era okw'ennaku enayingi, n'agamba kitaawe nti Nsabira nze, era nange, ai kitange. 35 N'ayogera nti Muganda wo azze ng'alimba, era akuggyeko omukisa gwo. 36 N'ayogera nti Teyatuumibwa bulungi erinnya lye Yakobo? kubanga annyingiriridde mu byange emirundi gino gyombi: yanziyako eby'obukulu bwange; ne kaakano, laba anziyeeko omukisa gwange. N'ayogera nti Tonterekedde nange mukisa? 37 Isaaka n'addama n'agamba Esawu nti Laba, mmuwadde okukufuganga ggwe, ne baganda be bonna mbawadde eri ye okumuweerezanga; era mmujjaajabye n'eŋŋaano n'omwenge: kale kiki kye nnaakukolera ggwe, mwana wange? 38 Esawu n'agamba kitaawe nti Olina omukisa gumu gwokka, kitange? nsabira nze, era nange, ai kitange. Esawu n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 39 Isaaka kitaawe n'addamu n'amugamba nti Laba, ennyumba yo eneebanga ya bugimu bwa nsi, Era ya musulo oguva mu ggulu waggulu; 40 N'ekitala kyo kye kinaakuwanga obulamu, era onooweerezanga muganda wo; Era olulituuka bw'olyesumattula, Olikunkumula ekikoligo kye okuva mu bulago bwo. 41 Esawu n'akyawa Yakobo olw'omukisa kitaawe gwe yamusabira: Esawu n'ayogera mu mutima gwe nti Ennaku ez'okukaabira kitange ziriteta okutuuka; ne ndyoka nzita muganda wange Yakobo. 42 Ne babuulira Lebbeeka ebigambo bya Esawu omwana we omubereberye; n'atuma n'ayita Yakobo omwana we omuto, n'amugamba nti Laba, muganda wo Esawu, mu bigambo byo, yeesanyusa, ng'ateesa okukutta. 43 Kale kaakano, mwana wange, wulira eddoboozi lyange; ogolokoke, oddukire eri Labbaani mwannyinaze mu Kalani: 44 omaleyo naye ennaku si nnyingi, okutuusa obukambwe bwa muganda wo lwe bulyekooloobya; 45 obusungu bwa muganda wo lwe bulyekooloobya gy'oli, naye lw'alyerabira kye wamukolera: ne ndyoka ntuma, ne nkuggyayo: kiki ekyandinfiisizzaako mmwe mmwembi ku lunaku olumu? 46 Lebbeeka n'agamba Isaaka nti Obulamu bwange bunkooyesezza olw'abawala ba Keesi: Yakobo bw'aliwasa omukazi ku bawala ba Keesi, abali nga abo, ku bawala ab'omu nsi eno, obulamu bwange bulingasa butya?

Olubereberye 28

1 Isaaka n'ayita Yakobo, n'amusabira omukisa, n'amukuutira, n'amugamba nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani. 2 Golokoka, ogende e Padanalaamu, eri ennyumba ya Bessweri kitaawe wa nnyoko; weewasize omukazi alivaayo ku bawala ba Labbaani mwannyina wa nnyoko. 3 Era Katonda Omuyinza w'ebintu byonna akwongerenga, ofuuke ekibiina ky'amawanga; 4 era akuwe omukisa gwa Ibulayimu, ggwe n'ezzadde lyo awamu naawe; osikire easi gye watambuliramu, Katonda gye yawa Ibulayimu. 5 Isaaka n'asindika Yakobo: n'agenda e Padanalaamu eri Labbaani, omwana wa Bessweri Omusuuli, mwannyina Lebbeeka, nnyina wa Yakobo ne Esawu. 6 Era Esawu n'alaba nga Isaaka yasabira Yakobo omukisa n'amusiadika okugenda e Padanalaamu, okwewasizaayo omukazi; era bwe yamusabira omukisa n'amukuutira ng'ayogera nti Towasanga mukazi ku bawala ba Kanani; 7 era nga Yakobo n'awulira kitaawe ne nnyina, era ng'agenze e Padanalaamu: 8 Esawu n'alaba ng'abawala ba Kanani tebaasanyusa Isaaka kitaawe; 9 Esawu n'agenda eri Isimaeri, n'awasa wamu n'abakazi be yalina Makalasi muwala wa Isimaeri omwana wa Ibulayimu, mwannyina Nebayoosi, okuba mukazi we. 10 Yakobo n'ava mu Beeruseba n'agenda eri Kalani. 11 N'atuuka mu kifo, n'asulawo n'akeesa obudde, kubanga enjuba yali egudde; n'atwala erimu ku mayinja ag'omu kifo, n'alyezizika wansi w'omutwe gwe, n'agalamira mu kifo ekyo okwebaka. 12 N'aloota ekirooto, era, laba, amadaala agaasimbibwa ku ttaka, n'entikko yaago ng'etuuse muggulu: era laba bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakka ku go. 13 Era, laba, Mukama ng'ayimiridde waggulu waago, n'ayogera nti Nze Mukama, Katonda wa Ibulayimu jjajjaawo, era Katonda wa Isaaka: ensi gy'ogalamiddeko, ndigikuwa ggwe n'ezzadde lyo; 14 n'ezzadde lyo linaabanga ng'enfuufu ey'oku nsi, era olibuna ebugwanjuba, n'ebuvanjuba, n'obukiika obwa kkono, n'obwa ddyo: ne mu ggwe ne mu zzadde lyo ebika byonna eby'omu nsi mwe biriweerwa omukisa. 15 Era, laba, nze ndi wamu naawe, era naakukuumanga gy'onoogendanga yonna, era ndikukomyawo mu nsi eno; kubanga sirikuleka okutuusa lwe ndimala okukola bye nkugambyeko. 16 Yakobo n'azuukuka mu tulo, n'ayogera nti Mazima Mukama ali mu kifo kino; nange mbadde simanyi. 17 N'atya, n'ayogera nti Ekifo kino nga kya ntiisa (ekifo) kino ye nnyumba ya Katonda ddala mazima, era gwe mulyango gw'eggulu. 18 Yakobo n'agolokoka enkya mu makya, n'addira ejjinja lye yeezizise wansi w'omutwe gwe, n'alisimba okuba empagi, n'alifukako amafuta ku ntikko yaalyo. 19 N'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Beseri naye erinnya ly'ekibuga olubereberye lyali Luzi. 20 Yakobo ne yeeyama obweyamo, ng'ayogera nti Katonda bw'anaabanga awamu nange era bw'anankuumiranga mu kkubo lino lye gyeŋŋendamu, era bw'anampanga emmere ey'okulya, n'engoye ez'okwambala, 21 n'okudda ne nzira mu nnyumba ya kitange n'emirembe, Mukama n'alyoka abeera Katonda wange, 22 n'ejjinja lino, lye nsimbye okuba empagi, liriba ennyumba ya Katonda: era ku byonna by'onompanga siiremenga kukuwa ggwe ekitundu eky'ekkumi.

Olubereberye 29

1 Yakobo n'alyoka agenda ng'a tambula, n'ajja mu nsi ey'abaana ab'ebuvanjuba. 2 N'atunu la, era, laba, oluzzi mu nnimiro, era, laba, ebisibo bisatu eby'endiga nga zigalamidde awo awali oluzzi: kubanga mu luzzi omwo mwe baanywesanga ebisibo: n'ejjinja eryali ku kamwa k'oluzzi lyali ddene. 3 N'ebisibo byonsatule ne bikuŋŋaanira awo: ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi, ne banywesa endiga, ne bazza ejjinja ku kamwa k'oluzzi, mu kifo kyalyo. 4 Yakobo n'abagamba nti Baganda bange, muva wa? Ne boogera nti Tuli ba Kalani. 5 N'abagamba nti Mumanyi Labbaani omwana wa Nakoli? Ne boogera nti Tumumanyi. 6 N'abagamba nti Mulamu? Ne boogera nti Mulamu: era, laba, Laakeeri muwala we ajja n'endiga. 7 N'ayogera nti Laba, enjuba ekyali mu luggya; so obudde tebunnatuuka ensolo okukuŋŋaanyizibwa: munywese endiga, mugende muziriise. 8 Ne boogera nti Tetuyinza, ebisibo byonsatule nga tebinnakuŋŋaanyizibwa, ne bayiringisa ejjinja okuliggya ku kamwa k'oluzzi: ne tulyoka tunywesa endiga. 9 Bwe yali akyayogera nabo, Laakeeri n'ajja n'endiga za kitaawe; kubanga yeyazirundanga. 10 Awo olwatuuka Yakobo bwe yalaba Laakeeri muwala wa Labbaani mwannyina nnyina n'endiga za Labbaani mwannyina nnyiaa, Yakobo n'asembera, n'ayiringisa ejjinja n'aliggya ku kamwa k'oluzzi, n’anywesa ekisibo kya Labbaani mwannyina nnyina. 11 Yakobo n'anywegera Laakeeri, n'ayimusa eddoboozi lye, n'akaaba. 12 Yakobo n'abuulira Laakeeri nga ye muganda wa kitaawe, era nga ye mwana wa Lebbeeka: n'addukena mbiro n'abuulira kitaawe. 13 Awo olwatuuka Labbaani bwe yawulira ebigambo bya Yakobo omwana wa mwannyina n'addukana okumusisinkana, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera, n'amuyingiza mu nnyumba ye. N'abuulira Labbaani ebigambo ebyo byonna. 14 Labbaani n'amugamba nti Mazima ggwe oli ggumba lyange era omubiri gwange. N'atuula naye n'amalayo omwezi gumu. 15 Labbaani n'agamba Yakobo nti Kubanga oli muganda wange kyekiva kikugwanira okumpeererezanga obwereere? mbuulira, empeera yo eneebanga ki? 16 Era Labbaani yalina abawala babiri: erinnya ly'omukulu Leeya, n'erinnya ly'omuto Laakeeri. 17 Ne Leeya amaaso ge gaali magonvu; naye Laakeeri yali mulungi n'amaaso ge ga kusanyusa. 18 Yakobo n'ayagala Laakeeri; n'ayogera nti Naakuweererezanga emyaka musanvu mpeebwe Laakee ri omwana wo omuto. 19 Labbaani n'ayogera nti Waakiri mmukuwe ggwe okusinga okumuwa omusajja omulala; beera nange. 20 Yakobo n'aweerereza emyaka musanvu aweebwe Laakeeri; ne gifaanana ng'ennaku si nnyingi olw'okwagala kwe yamwagala. 21 Yakobo n'agamba Labbaani nti Mpa omukazi wange, kubanga ennaku zange zituukiridde, nnyingire gy'ali. 22 Labbaani n'akuŋŋaanya abasajja bonna ab'omu kifo, n'afumba embaga. 23 Awo olwatuuka akawungeezi n'addira Leeya omwana we, n'amumuleetera; n'ayingira gy'ali. 24 Labbaani n'amuwa Zirupa omuzaana we eri omwana we Leeya okuba omuzaana. 25 Awo olwatuuka enkya n'alaba nga ye Leeya: n'agamba Labbaani' nti Kino kiki ky'onkoze? saakuweereza lwa Laakeeri? kale kiki ekikuanimbizza? 26 Labbaani n'ayogera nti Tebakola bwe batyo mu kifo kyaffe okuwa omuto okusooka omubereberye. 27 Mala ennaku musanvu ez'oyo, tulyoke tukuwe n'omulala olw'okuweereza kw'onompeerezanga nate emyaka omusanw emirala. 28 Yakobo n'akola bw'atyo, n'amala ennaku ze musanvu: n'amuwa Laakeeri omwana we okumuwasa. 29 Labbaani n'awa Laakeeri omwana we Bira omuzaana we okuba omuzaana we. 30 Era n'ayingira n'eri Laakeeri, era n'ayagala Laakeeri okusinga Leeya, n'amuweerereza nate emyaka musanvu emirala. 31 Mukama n’alaaba nga Leeya yakyibwa, n'asumula olubuto lwe naye Laakeeri yali mugumba. 32 Leeya n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'ohulenzi n’amutuuma erinnya lye Lewubeni: kubanga yayogera nti Kubanga Mukama atunuulidde ekibonoobono kyange; kubanga kaakaao baze ananjagala. 33 N'aba olubuto nate n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kubanga Mukama yawulira nga nkyayibwa kyavudde ampa n'omwana ono era: n'amuruuma erinnya lye Simyoni. 34 N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'ayogera nti Kale nno omulundi guno baze aneegatta nange, kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi basatu: erinnya lye kyeryava liba Leevi. 35 N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Omulundi guno naamutendereza Mukama: kyeyava amutuuma erinnya lye Yuda; n'aleekera awo okuzaala.

Olubereberye 30

1 Laakeeri bwe yalaba nga tazaalira Yakobo baana, Laakeeri n'akwatirwa obuggya muganda we; n'agamba Yakobo nti Mpa abaana, oba tompe, n'afa. 2 N'obusungu bwa Yakobo ne bubuubuukira Laakeeri: n'ayogera nti Nze ndi mu kifo kya Katonda, eyakumma ebibala eby'olubuto? 3 N'ayogera nti Laba omuzaana iwange Bira, yingira gy'ali; alyoke azaalire ku maviivi gange, era nange nfune abaana mu ye. 4 N'amuwa 'Bira omuzaana we okumuwasa: Yakobo n'ayingira gy'ali. 5 Bira n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 6 Laakeeri n'ayogera nti Katonda ansalidde omusango, era ampulidde eddoboozi lyange, era ampadde omwana ow'obulenzi: kyeyava amutuuma erinnya lye Ddaani. 7 Bira omuzaana wa Laakeeri n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 8 Laakeeri n'ayogera nti Mmegganye ne muganda wange okumeggana okw'amaanyi, era mmezze: n'amutuuma erinnya lye Nafutaali. 9 Leeya bwe yalaba ng'alekedde awo okuzaala, n'addira Zirupa omuzaana we, n'amuwa Yakobo okumuwasa. 10 Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi. 11 Leeya n'ayogera nti Kirungi! n'amutuuma erinnya lye Gaadi. 12 Zirupa omuzaana wa Leeya n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okubiri. 13 Leeya n'ayogera nti Ndabye omukisa! kubanga abawala banampitanga wa mukisa: n'amutuumal erinnya lye Asezi. 14 Lewubeeni n'agenda mu nnaku mwe baali bakungulira eŋŋaano, n'alaba amadudayimu mu nnimiro, n'agaleetera nnyina Leeya. Awo Laakeeri n'amugamba Leeya nti Mpa, nkwegayiridde, ku madudayimu ag'omwana wo. 15 N'amugamba ye nti Kigambo kitono okunziyako baze? era oyagala okunziyako n'amadudayimu ag'omwana wange? Laakeeri n'amugamba nti Kyanaava asula naawe ekiro kino olw'amadudayimu ag'omwana wo. 16 Yakobo n'ava mu nnimiro akawungeezi, Leeya n'afuluma okumusisinkana, n'ayogera ad Kikugwanira okuyingira gye ndi; kubanga mazima nkuweeredde amadudayimu ag'omwana wange. N'asula naye ekiro ekyo. 17 Katonda n'awulira Leeya, n'aba olubuto, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'okutaano. 18 Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde empeera yange, kubanga nawa baze omuzaana wange: n'amutuuma erinnya lye Isakaali. 19 Leeya n'aba olubuto nate, n'azaalira Yakobo omwana ow'obulenzi ow'omukaaga. 20 Leeya n'ayogera nti Katonda ampadde ekirabo eky'obugole ekirungi; kaakano baze anaatuulanga nange kubanga mmuzaalidde abaana ab'obulenzi mukaaga: n'amutuuma erinnya lye Zebbulooni. 21 Oluvannyuma n'azaala omwana ow'obuwala, n'amutuuma arinnya Dina. 22 Katonda n'ajjukira Laakeeri, Katonda n'amuwulira, n'aggula olubuto lwe. 23 N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi: n'ayogera nti Katonda anziyeeko okuvumibwa kwange: 24 n'amutuuma erinnya lye Yusufu, ng'ayogera nti Mukama annyongereko omwana omulala ow'obulenzi. 25 Awo olwatuuka, Laakeeri bwe yamala okuzaala Yusufu, Yakobo n'agamba Labbaani nti Nsindika ŋŋende mu kifo ky'ewaffe, era mu nsi ey'ewaffe. 26 Mpa bakazi bange n'abaana bange be nnakuweererezanga, nneegendeze: kubanga omanyi okuweereza kwange kwe nnakuweerezanga. 27 Labbaani n'amugamba nti Kaakano obanga ndabye ekisa mu maaso go, beera wano: kubanga nfumiitirizza nga Mukama yampa, omukisa ku bubwo. 28 N'ayogera nti Nsalira empeera yo, nange naagiwanga. 29 N'amugamba nti Omanyi bwe nnakuweerezanga, era ebisibo byo bwe byali nange. 30 Kubanga bye walina nga sinnajja bitono, era byeyongedde okuba ebingi; era Mukama akuwadde omukisa gye nnakyukiranga yonna: ne kaakano ndifuna ddi eby'enayumba yange nze era? 31 N'ayogera nti Naakuwa ki? Yakobo n'ayogera nti Toliiko ky'onompa: bw'olinkolera kino, naalundanga nate ekisibo kyo, naakikuumanga. 32 Naayita leero mu kisibo kyo kyonna, nga nziyamu buli eya bujagijagi n'eya bitaaga, na buli nzirugavu mu ndiga, n'eza bitanga n'eza bujagijagi mu mbuzi: era y'eneebanga empeera yange. 33 Bwe butyo obutuukirivu bwange bulimpolereza oluvannyuma, bw'olijja olw'empeera yange eri mu maaso go: buli eteri ya bujagijagi oba eya bitanga mu mbuzi, oba nzirugavu mu ndiga, eyo bw'erirabika nange eribalibwa nga nzibe. 34 Labbaani n'ayogera nti Laba, nandyagadde kibeere ng'ekigambo kyo bwe kiri. 35 N'aggyamu ku lunaku olwo embuzi ennume eza biwuuga n'eza bitanga n'embuzi enkazi zonna eza bujagijagi n'eza bitanga, buli eyaliko ebbala ejjeru, n'enzirugaw zonna mu ndiga, n'aziwa mu mukono gw'abaana be; 36 n'assaawo olugendo lwa nnaku ssatu wakati we ne Yakobo; Yakobo n'alunda ebisibo bya Labbaani ebyasigalawo. 37 Yakobo n'addira obuti bw'omulibine omubisi, n'obw'omusakedi n'obw'omwalamoni; n'abusasambulako enguudo ezitukula, n'alabisa obutukuvu obwali ku buti. 38 N'asimba obuti bw'asasambudde mu maaso g'ebisibo ku mmanvu mu byesero eby'okunywesezaamu ebisibo we byajja okunywa; ne ziwaka amawako bwe zajja okunywa. 39 Ebisibo ne biwakira mu maaso g'obuti, ebisibo ne bizaala eza biwuuga n'ezabujagijagi n'ezabitanga. 40 Yakobo n'ayawula mu baana, n'atunuza amaaso g'ekisibo eri aba biwuuga, n'eri abaddugavu bonna ab'omu kisibo kya Labbaani; n'ayawulako ebisibo bye, n'atabigatta n'ekisibo kya Labbaani. 41 Awo olwatuuka ezaalina amaanyi mu kisibo bwe zaawakanga, Yakobo n'ateeka obuti mu maaso g'ekisibo mu byesero, ziwakire awali obuti; 42 naye ekisibo bwe kyabanga ekibi, n'atabussangawo; bwe zityo embi ze zaabanga eza Labbaani, n'ez'amaanyi nga ze za Yakobo. 43 Omusajja ne yeeyongera nnyo, n'aba n'ebisibo binene, n'abazaana n'abaddu, n'eŋŋamira n'endogoyi.

Olubereberye 31

1 N'awulira ebigambo by'abatabani ba Labbaani, nga boogera nti Yakobo byonna ebyali ebya kitaffe abimuggyeeko; era mu ebyo ebyali ebya kitaffe mw'afunidde ekitiibwa ekyo kyonna. 2 Yakobo n'alaba amaaso ga Labbaani, era laba, nga tegakyafaanana gy'ali ng'olubereberye. 3 Mukama n'agamba Yakobo nti Ddayo mu nsi ya bajjajja bo, era eri baganda bo; nange naabeeranga wamu naawe. 4 Yakobo n'atuma n'ayita Laakeeri ne Leeya bajje mu ddundiro awali ekisibo kye, 5 n'abagamba nti Ndabye amaaso ga kitammwe nga tegakyafaanana gye ndi ng'olubereberye; naye Katonda wa kitange yabeeranga nange. 6 Era mumanyi nga naweerezanga kitammwe n'amaanyi gange gonna. 7 Era kitammwe yannimba, n'awaanyisanga empeera yange emirundi kkumi; naye Katonda teyamuganya kunkola bubi. 8 Bwe yayogeranga bw'ati nti Eza bujagijagi ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza bujagijagi: era bwe yayogeranga bw'ati nti Eza biwuuga ze zinaabanga empeera yo; ekisibo kyonna ne kizaala eza biwuuga. 9 Bw'atyo Katonda ensolo za kitammwe yazimuggyako n'aziwa nze. 10 Awo olwatuuka mu biro ekisibo bwe kyawaka amawako, ne nnyimusa amaaso gange, ne ndabira mu kirooto, era, laba, embuzi ennume ezaalinnyira ekisibo zaali za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo. 11 Malayika wa Katonda n'aŋŋambira mlt kirooto nti Yakobo: ne njogera nti Nze nzuuno. 12 N'ayogera nti Yimusa kaakaao amaaso go, olabe, embuzi zonna ennume ezirinnyira ekisibo za biwuuga, n'eza bujagijagi, n'eza kiweewoweewo: kubanga ndabye byonna Labbaani by'akukolera. 13 Nze Katonda w'e Beseri, gye wafukira amafuta ku mpagi, gye wanneeyamira obweyamo: kaakano golokoka, ove mu nsi eno, oddeyo mu nsi gye wazaalirwamu. 14 Laakeeri ne Leeya ne baddamu ne bamugamba nti Tukyalina omugabo oba busika mu anyumba ya kitaffe? 15 Tetubalibwa nga bannaggwanga gy'ali? kubanga yatutunda, era n'ebintu byaffe abiriiridde ddala. 16 Kubanga obugagga bwonna Katonda bw'aggye ku kitaffe, bwe bwaffe era bwa baana baffe: kale kaakano, kyonna Katonda ky'akugambye, kikole. 17 Yakobo n'alyoka agolokoka, ne yeebagaza abaana be ne bakazi be ku ŋŋamira; 18 n'atwala naye ebisibo bye byonna, n'ebintu byonna bye yali akuŋŋaanyizza, ebisibo bye yali afunye, bye yakuŋŋaanyiza mu Padanalaamu, agende eri Isaaka kitaawe mu nsi ya Kanani. 19 Labbaani yali agenze okusala ebyoya by'endiga ze: Laakeeri n'abba baterafi ba kitaawe. 20 Yakobo n'agenda mu kyama Labbaani Omusuuli nga tamanyi, kubanga teyamubuuIira ng'adduka. 21 Bw'atyo n'adduka ne byonna bye yalina; n'agolokoka n'awunguka omugga, n'akyusa amaaso ge eri olusozi olwa Gireyaadi. 22 Ne babuulira Labbaani ku lunaku olw'okusatu nga Yakobo yadduka. 23 N'atwala naye baganda be, n’amugoberera olugendo lwa nnaku musaavu; n'amutuukako ku lusozi Gireyaadi. 24 Katonda n'ajjira Labbaani Omusuuli mu kirooto eky'ekiro, n'amugamba nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 25 Labbaani n'atuuka ku Yakobo. Yakobo yali asimbye eweema ye ku lusozi; ne Labbaani ne baganda be ne basimba ku lusozi Gireyaadi. 26 Labbaani n'agamba Yakobo nti Wakola ki, okugenda ekyama nga simanyi, n'otwalira ddala abaana bange ng'abaanyagibwa n'ekitala? 27 Kiki ekyakuddusa ekyama ng'onkisa ng'ogenda; n'otombuulira, ndyoke nkusiibule n'ekinyumu n'ennyimba, n'ebitaasa n'ennanga; 28 n'otoŋŋanya kunywegera batabani bange ne bawala bange? kaakano okoze kya busirusiru. 29 Kiri mu buyinza bw'omukono gwange okukukola obubi: naye Katonda wa kitammwe yayogedde nange ekiro, nti Weekuume oleme okwogera ne Yakobo newakubadde ebirungi newakubadde ebibi. 30 Ne kaakano oyagala nnyo okugenda, kubanga olumirwa nnyo ennyumba ya kitaawo, (naye) kyewava obba bakatonda bange kiki? 31 Yakobo n'addamu n'agamba Labbaani nti Kubanga natya: kubanga nayogera nti Oleme okunziyako bawala bo olw'empaka. 32 Buli gw'onoolaba ng'alina bakatoada bo, taabe mulamu: mu maaso ga baganda baffe yawulamu ebibyo ebiri ewange, obyetwalire. Kubanga Yakobo yali tamanyi nga Laakeeri ye yababba. 33 Labbaani n'ayingira mu weema ya Yakobo, ne mu weema ya Leeya, ne mu weema ey'abazaana bombi; naye n'atabalaba. N'ava mu weema ya Leeya, n'ayingira mu weema ya Laakeeri. 34 Laakeeri yali atutte baterafi, n'abassa mu matandiiko g'eŋŋamira, n'abatuulako. Labbaani n'ayaza mu weema yonna, naye n'atabalaba. 35 N'agamba kitaawe nti Mukama wange aleme okusunguwala kubanga siyinza kukuyimirira w'oli kubanga ndi mu mpisa, y'abakazi. N'anoonya, naye n'atalaba baterafi. 36 Yakobo n'asunguwala, n'ayomba ne Labbaani: Yakobo n'addamun'agambaLabbaani nti Nsobezza ki? Nkoze kibi' ki ekikungoberesezza embiro? 37 Kubanga oyazizza ebintu byange byonna, kiki ky'olabye kul bintu byonna eby'omu nnyumba yo? Kiteeke wano mu maaso ga baganda bange ne baganda bo, batusalire omusango fembi. 38 Emyaka egyo abiri nabeeranga naawe; endiga zo n'embuzi zo enkazi tezisowolanga, n'ennume ez'omu kisibo kyo siziryanga. 39 Eyataagulwanga ensolo saakuleeteranga; nze nnafiirwanga eyo; wagivunaa nanga mu mukono gwange, obanga yabbibwanga misana oba yabhibwanga kiro. 40 Bwe nnaabeeranga bwe ntyo; emisana omusana gwanzigwerangako, n'ekiro empewo; n'otulo twambulanga mu maaso gange. 41 Emyaka egyo abiri nabeeranga mu nnyumba yo; nakuweererezanga emyaka kkumi n'ena olwa bawala bo bombi, n'emyaka mukaaga olw'ekisibo kyo; naawe wawaanyisanga empeera yange emirundi kkumi. 42 Singa Katonda wa kitange, Katonda wa Ibulayimu, era Entiisa ya Isaaka, teyabeeranga nange, kaakano tewandiremye kunsindika bwereere. Katonda alabye okubonaabona kwange n'okutegana kw'emikono gyange, n'akujunga ekiro. 43 Labbaani n'addamu n'agamba Yakobo nti Abawala be bawala bange, n'abaana be baana bange, n'ebisibo by'ebisibo byange, ne byonna by'olaba bye byange: ne leero nnyinza kukolera ki bawala bange bano, oba baana baabwe be baazaala? 44 Kale nno kaakano, tulagaane endagaano, nze naawe; ebeerenga omujulirwa eri nze naawe. 45 Yakobo n'addira ejjinja, n'alisimba okuba empagi. 46 Yakobo n'agamba baganda be nti Mukuŋŋaanye amayinja; ne baddira amayinja, ne bagatuuma entuumu: ne baliira awo awali entuumu. 47 Labbaani n'agituuma erinnya Yegalusakadusa: naye Yakobo n'agituuma Galeedi. 48 Labbaani n'ayogera nti Entuumu eno ye mujulirwa eri nze naawe leero. Erinnya lyayo kyeryava libeera Galeedi: 49 era Mizupa, kubanga yayogera nti Mukama atunulenga wakati wange naawe, bwe tuliba aga tetukyalabagana. 50 Bw'onoobonyaabonyanga abaana bange, era bw'onoowasanga abalala awali abaana bange, tewali muntu ali naffe; laba, Katonda ye muiulirwa wakati wange naawe. 51 Labbaani n'agamba Yakobo nti Laba entuumu eno, era laba n'empagi eno, gye nsimbye wakati wange naawe. 52 Entuumu eno eneebeeranga omujulirwa, n'empagi ebeerenga omujulirwa, nga nze siriyita ku ntuumu eno okugenda gy'oli, era nga naawe toliyita ku ntuumu eno n'empagi eno okujja gye ndi, okukola obubi. 53 Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Nakoli, Katonda wa kitaabwe, alamule wakati waffe. Yakobo n'alayira Entiisa ya kitaawe Isaaka. 54 Yakobo n'aweerayo saddaaka ku lusozi, n'ayita baganda be okulya emmere: ne balya emmere, ne babeera ku lusozi ne bakeesa obudde. 55 Awo enkya mu makya Labbaani n'agolokoka, n'anywegera batabani be ne bawala be n'abasabira omukisa: Labbaani n'agenda, n'addayo mu kifo ye.

Olubereberye 32

1 Yakobo ne yeegendera, ne bamalayika ba Katonda ne bamusisinkana. 2 Yakobo bwe yabalaba n'ayogera nti Lino lye ggye lya Katonda: n'atuuma ekifo ekyo erinnya lyakyo Makanayimu. 3 Yakobo n'atuma ababaka okumukulembera eri Esawu muganda! we mu nsi ya Seyiri, ye nnimiro ya Edomu. 4 N'abalagira ng'ayogera nti Bwe muti bwe muligamba mukama wange Esawu; nti Bw'ati bw'ayogera omuddu wo Yakobo nti Natuulanga ne Labbaani, ne mbeerayo okutuusa kaakano: 5 era nnina ente n'endogoyi, n'ebisibo, n'abaddu n'abazaana: era ntumye okubuulira mukama wange, ndabe ekisa mu maaso go. 6 Ababaka ne bakomawo eri Yakobo nga boogera nti Twatuuka eri muganda wo Esawu, era ajja okukusisinkana, n'abasajja bina wamu naye. 7 Yakobo n'alyoka atya nnyo ne yeeraliikirira: n'ayawulamu abantu abaali naye, n'ebisibo, n'ente, n'eŋŋamira, okuba ebibiina bibiri; 8 n'ayogera nti Esawu bw'anaatuukira ku kibiina ekimu n'akikuba, ekibiina ekinaasigalawo kinaawona. 9 Yakobo n'ayogera nti Ai Katonda wa jjajja wange Ibulayimu, era Katonda wa kitange Isaaka, ai Mukama, eyaŋŋamba nti Ddayo mu nsi y'ewammwe era eri baganda bo, nange naakukolanga bulungi: 10 sisaanira (newakubadde) akatono mu kusaasira kwonna, n'amazima gonna, bye wagiriranga omuddu wo; kubanga nawunguka Yoludaani guno nga nnina muggo gwokka; ne kaakano nfuuse ebibiina bibiri. 11 Nkwegayirira, mponya mu mukono gwa muganda wange, mu mukono gwa Esawu: kubanga mmutya, aleme okujja okunzita, ne bannyaabwe n'abaana baabwe. 12 Naawe wayogera nti Siiremenga kukukola buluagi, era naafuulanga ezzadde lyo ng'omusenyu ogw'oku nnyanja, ogutabalika olw'obungi. 13 N'asula awo ekiro ekyo: n'atoola ku ebyo bye yali aabyo okuba ekirabo kya Esawu muganda we; 14 embuzi enkazi bibiri n'enaume abiri; endiga enkazi bibiri n'ennume abiri; 15 eŋŋamira eziramulwa asatu n'abaana baazo; ente enkazi ana n'eza seddume kkumi, endogoyi enkazi abiri n'abaana baazo kkumi. 16 N'abiwa mu mukono gw'abbadu be, buli kisibo kyokka; n'agamba abaddu be nti Munkulembere musomoke, musseewo ebbanga wakati w'ekisibo n'ekisibo. 17 N'alagira eyakulembera ng'ayogera nti Esawu muganda wange bw'anaakusisinkana, n'akubuuza nti Oli w'ani? era ogenda wa? n'ebyo ebiri mu maaso go by'ani? 18 n'olyoka ogamba nti Bya muddu wo Yakobo; kye kirabo ekiweerezebbwa mukama wange Esawu; era, laba, naye ali nnyuma waffe. 19 Era n'alagira n'ow'okubiri n'ow'okusatu ne bonna abaagoba ebisibo, ng'ayogera nti Bwe muti bwe munaagamba Esawu, bwe munaamulaba. 20 Era munaayogera nti Era, laba, omuddu wo Yakobo ali nnyuma waffe: Kubaaga yayogera nti Naamuwooyawooya n'ekirabo ekinankulembera ne ndyoka mmulaba amaaso ge; mpozzi anannyaniriza. 21 Awo ekirabo ne kimukulembera ne kisomoka: naye ye yennyini n'asula ekiro ekyo wamu n'ekibiina. 22 N'agolokoka ekiro ekyo, n’addira bakazi be bombi, n'abazanra be bombi, n'abaana be ekkumi n'omu, n'asomokera mu musomoko gw'e Yaboki. 23 N'abatwala, n'abasomosa omugga, n'asomosa byonna bye yalina. 24 Yakobo n'asigalayo yekka; omusajja n'ameggana naye okutuusa emambya bwe yasala. 25 Era bwe yalaba nga tajja kumumegga, n'akoma ku mbalakaso ye; embalakaso ya Yakobo ne yeereega, ng'ameggana naye. 26 N'ayogera nti Nta, kubanga emmambya esala. N'ayogera atil Sijja kukuta, wabula ag'ompadde omukisa. 27 N'amugamba nti Erinnya lyo ggwe ani? N'ayogera nti Yakobo. 28 N'ayogera nti Erinnya lyo terikyayitibwanga Yakobo, wabula Isiraeri: kubanga owakanye ne Katonda era n’abantu, era osinze. 29 Yakobo n'amubuuza n'ayogera nti Nkwegayiridde, mbuulira erinnya lyo. N'ayogera nti Kiki ekikumbuuzisa erinnya lyange? N'amuweera eyo omukisa. 30 Yakobo n'atuuma ekifo erianya lyakyo Penieri: kubanga ndabagaaye ne Katonda mu maaso, n'obulamu bwaage buwonye. 31 Enjuba n'evaayo n'emwakako ng'awuunuka Penueri, n'awenyera olw'ekisambi kye: 32 Abaana ba Isiraeri kyebava balema okulya ekinywa ky'ekisambi ekiri ku mbalakaso, okutuusa leero: kubanga yakoma ku mbalakaso ya Yakobo mu kinywa ky'ekisambi.

Olubereberye 33

1 Yakobo n'ayimusa amaaso ge, n'atunula, era, laba, Esawu ng'ajja, n'abasajja bina wamu naye. N'agabira abaana Leeya ne Laakeeri n'abazaana bombi. 2 N'ateeka abazaana n'abaana baabwe mu maaso, n'abaddiriza Leeya n'abaana be, n'aviisaako ennyuma Laakeeri ne Yusufu. 3 Naye ye yennyini n'akulembera mu maaso gaabwe, n'avuunama emirundi musanvu, okutuusa bwe yasemberera muganda we. 4 Esawu n'addukana mbiro okumusisinkana, n'amukwata mu agalo, n'amugwa mu kifuba, n'amunywegera: ne bakaaba amaziga. 5 N'ayimusa amaaso ge, n’alaba abakazi n’abaana; n'ayogera nti Baani bano abali naawe? N'ayogera nti Abo be baana Katonda be yawa omuddu wo olw'ekisa. 6 Abazaana ne balyoka basembera, bo n'abaana baabwe, ne bawunama. 7 Era ne Leeya n'abaana be ne basembera, ne bavuunaama: Yusufu ne Laakeeri ne balyoka basembera, ne bawunama. 8 N'ayogera nti Ekibiina elryo kyonna kye nsisinkanye amakulu gaakyo kiki N'ayogera nti Okulaba ekisa mu maaso ga mukama wange. 9 Esawu n'ayogera nti Bye nnina bimmala; muganda wange, by'olina bibe bibyo. 10 Yakobo n'ayogera nti Nedda, nkwegayiridde, kaakano oba nga ndabye ekisa mu maaso go, kkiriza ekirabo kyange mu mukono gwange: kubanga ndabye amaaso go, ng'omuntu bw'alaba amaaso ga Katonda, n'onsanyukira. 11 Nkwegayiridde, toola ekirabo kyange kye bakuleetedde; kubanga Katonda ankoledde eby'ekisa, era kubanga bye nnina bimmala. N'amwegayirira, n'akitwala. 12 N'ayogera nti Tukwate ekkubo tugende, nange naakukulembera. 13 N'amugamba nti Mukama wange amanyi ng'abaana tebalina maanyi, era ng'endiga n'ente eziri nange ziyonsa: era bwe balibigoba ennyo ku lunaku olumu, ebisibo byotuia birifa. 14 Nkwegayiridde, mukama wange akulembere omuddu we: nange naagenda mpola, ng'okutambula kw'ensolo eziri mu maaso gange era ng'okutambula kw'abaana bwe kuli, ntuuke awali mukama wange mu Seyiri. 15 Esawu n'ayogera nti Ka nkulekere kaakano ku bantu abali nange. N'ayogera nti Si nsonga: ndabe ekisa mu maaso ga mukama wange. 16 Awo Esawu n'addayo ku lunaku olwo ng'agenda e Seyiri. 17 Yakobo n'atambula n'agenda e Sukkosi, ne yeezimbira ennyumba, n'akolera ensolo ze engo; erinnya ly'ekifo kyeriva liyitibwa Sukkosi. 18 Yakobo n'atuuka mirembe mu kibuga kya Sekemu, ekiri mu nsi ya Kanani, bwe yava mu Padanalaamu; n'asiisira mu maaso g'ekibuga. 19 N'agula ekibanja, gye yasimba eweema ye, mu mukoao gw'abaana ba Kamoli, kitaawe wa Sekemu, n'ebitundu by'effeeza kikumi. 20 N'asimbayo ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Ererokeyisiraeri.

Olubereberye 34

1 Dina omwana wa Leeya, gwe yazaalira Yakobo, n'afuluma n'agenda okulaba abawala ab'omu nsi. 2 Sekemu omwana wa Kamoli Omukiivi, omukulu w'ensi, n'amulaba; n'amutwala, n'asula naye, n'amwata. 3 N’obulamu bwe ne bwegatta ne Dina omwana wa Yakobo, n’ayagala omuwala oyo, n’ayogera n’omuawala n’ekisa. 4 Sekemu n'agamba kitaawe Kamoli nti Mpasiza omuwala oyo. 5 Yakobo n'awulira nga yagwagwaza Dina omwana we; n'abaana be baali n'ensolo ze mu ddundiro: Yakobo n'asirika okutuusa lwe badda. 6 Kamoli kitaawe wa Sekemu n'afuluma eri Yakobo okuteesa naye. 7 Abaana ba Yakobo ne bava mu ddundiro ne bayingira bwe baakiwulira: abasajja ne banakuwala, ne basunguwala nnyo, kubanga yali akoze eky'omuzizo mu Isiraeri bwe yasula n'omwana wa Yakobo; ekitagwanira kukola. 8 Kamoli n'ateesa nabo ng'ayogera nti Obulamu bw'omwana wange Sekemu bulumirwa omuwala wammwe: mbeegayirira mumumuwe okumuwasa. 9 Era mufumbiriganwenga naffe: mutuwenga ffe abawala battunwe, era muwasenga mmwe abawala baffe. 10 Era munaatuulanga wamu naffe: n'ensi eneebanga mu maaso gammwe; mutuulenga omwo mugulenga mwefunirenga ebintu omwo. 11 Sekemu n'agamba kitaawe ne baganda be nti Ndabe ekisa mu maaso gammwe, era kye munansalira kye nnaabawa. 12 Ebyobuko n'ekirabo bye munansaba bwe binenkana wonna, nange naabawa bwe atyo nga bwe munaŋŋamba: naye mumpe omuwala okumuwasa. 13 Abaana ba Yakobo ne baddamu Sekemu ne Kamoli kitaawe nga bakuusa ne boogera, kubanga yali agwagwawazizza Dina mwannyinaabwe, 14 ne babagamba nti Tetuyinza kukola kino, okumuwa mwannyinaffe atali mukomole;' kubanga ekyo kyandibadde nsonyi gye tuli: 15 endagaano eno yokka ye ejja okubatukkirizisa: bwe munakkiriza okuba nga ffe, buli musajja mummwe okukomolebwanga; 16 ne tulyoka tubawanga abawala baffe, naffe tunaawasanga abawala bammwe, naffe tunaatuulanga wamu nammwe, era tulifuuka ggwanga limu. 17 Naye bwe mutaatuwulire, okukomolebwa; olwo tunaatwala omuwala waffe, ne tugenda. 18 Ebigambo byabwe ne bisanyusa Kamoli, ne Sekemu omwana wa Kamoli. 19 Omuvubuka n'atalwawo kukola ekyo, kubanga yasanyukira omuwala wa Yakobo: era yalina ekitiibwa okusinga ennyumba yonna eya kitaawe. 20 Kamoli ne Sekemu omwana we ne bajja mu wankaaki w'ekibuga kyabwe, ne bateesa n'abasajja ab'omu kibuga kyabwe, nga boogera 21 nti Abasajja abo tebaagala kulwana naffe; kale batuulenga mu nsi bagulenga omwo; kubanga, laba, ensi ngazi, eribamala; ffe tuwasenga abawala baabwe, era tubawenga bo abawala baffe, 22 Endagaano eao yokka ye ejja okubakkirizisa abasajja abo ffe okutuula nabo, okufuuka eggwanga erimu, buli musajja muffe bw'alikomolebwa, nga bo bwe bakomolebwa. 23 Ente zaabwe n'ebintu byabwe n'ensolo zaabwe zonna tebiriba byaffe? naye kyokka tubakkirize, nabo banaatuulanga naffe. 24 Ne Kamoli ne Sekemu omwana we bonna abaavanga mu wankaaki w'ekibuga kye ne babawulira; buli musajja n'akomolebwa, buli eyavanga mu wankaaki w'ekibuga. 25 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, bwe baali nga balumwa, abaana ba Yakobo ababiri, Simyoni ne Leevi, bannyina Dina, ne baddira buli muntu ekitala kye, ne bazinduukiriza ekibuga, ne batta abasajja bonna. 26 Ne batta Kamoli ne Sekemu omwana we n'ekitata, ne baggya Dina mu nnyumba ya Sekemu, ne bavaayo. 27 Abaana ba Yakobo ne babasanga nga babasse, ne banyaga ekibuga, kubanga baagwagwawaza mwannyinaabwe. 28 Baanyaga endiga zaabwe n'embuzi zaabwe n'endogoyi zaabwe, n'ebyo ebyali mu kibuga, n'ebyo ebyali mu nnimiro: 29 n'obugagga bwabwe bwonaa, n'abaana baabwe bonna abato n'abakazi baabwe, ne babasiba ne babanyaga, byonna ddala ebyali mu nayumba. 30 Yakobo n'agamba Simyoni ne Leevi ati Munneeraliikirizza, okumpunyisa mu abo abatuula mu nsi, mu Bakanani ne mu Baperizi: naage, kubanga omuwendo gwange mutono, balikuŋŋaana bonna okunnumba, balinkuba: nange ndizikirizibwa, nze n'ennyumba yange. 31 Ne boogera nti Kirungi akole mwannyinaffe ng'omwenzi?

Olubereberye 35

1 Katonda n'agamba Yakobo nti Golokoka, oyambuke e Beseri, otuule eyo: ozimbire eyo ekyoto eri Katonda, eyakulabikira bwe wadduka amaaso ga Esawu mugaada wo. 2 Yakobo n'alyoka agamba ab'omu nnyumba ye n'abo bonna abaali naye nti Muggyeewo bakatonda abalala abali mu mmwe, mwetukuze, muwaanyise ebyambalo byammwe: 3 tugolokoke, twambuke e Beseri: nange ndizimbira. eyo ekyoto eri Katonda, eyanziramu ku luaaku olw'okweraliikirira kwange, era eyabanga nange mu kkubo lye nnatambuliramu. 4 Ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna abaali mu mukono gwabwe, n'empeta ezaali mu matu gaabwe; Yakobo n'abikweka wansi w'omwera ogwali mu Sekemu. 5 Ne batambula: n'entiisa ennyingi n'egwa ku bibuga ebyabeetooloola, ne batagoberera baana ba Yakobo. 6 Awo Yakobo n'atuuka e Luzi, ekiri mu nsi ya Kanani (ye Beseri), ye n'abantu bonna abaali naye. 7 N'azimbira tyo ekyoto, n'ayita ekifo Erubeseri: kubanga eyo Katonda gye yamubikkulirwa, bwe yadduka amaaso ga muganda we. 8 Debola, omulezi wa Lebbeeka, n'afa, ne bamuziika emmanga wa Beseri wansi w'omwera: ne bagutuuma erinnya Alooninakusi. 9 Katonda n'alabikira nate Yakobo, bwe yava mu Padanalaamu, n’amuwa omukisa. 10 Katonda n'amugamba nti Erinnya lyo Yakobo: erinnya lyo tokyayitibwa nate Yakobo, naye Isiraeri lye linaabanga erinnya lyo: n'amutuuma erinnya Isiraeri. 11 Katonda n'amugamba nti Nze Katonda Omuyinza w'ebintu byonna: oyale weeyongerenga; eggwanga n'ekibiina eky'amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka baliva mu ntumbwe zo; 12 n'ensi gye nnawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, n'ezzadde lyo eririddawo ndiriwa ensi, 13 Katonda n'ava gy'ali n'alinnya, mu kifo mwe yayogerera naye. 14 Yakobo n'asimba empagi mul kifo mwe yayogerera naye, empagi ey'amayinja: n'agifukako ekiweebwayo ekyokunywa, n'agifukako amafuta. 15 Yakobo n'atuuma ekifo Katonda mwe yayogerera naye erinnya lyakyo Beseri. 16 Ne bava mu Beseri ne batambula; baali babulako ekiseera batuuke e Efulasi: Laakeeri n'ayagala okuzaala, n'alumwa nnyo. 17 Awo olwatuuka, bwe yali alumwa nnyo, omuzaalisa n'amugamba nti Torya; kubanga kaakano onoozaala omwana ow'obulenzi omulala. 18 Awo olwatuuka, obulamu bwe: bwali nga bunaatera okugenda (kubanga yafa), n'amutuuma erinnya Benoni: naye kitaawe n'amutuuma Benyamini. 19 Laakeeri n'afa, ne bamuziika mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 20 Yakobo n'asimba empagi ku malaalo ge: eyo ye mgapi ey'amalaalo ga Laakeeri ne leero. 21 Isiraeri n'atambula, n’asimba eweema ye ng'ayise ku kigo kya Ederi. 22 Awo olwatuuka, Isiraeri bwe yali ng'atudde mu nsi eyo, Lewubeeni n'agenda n'asula ne Bira omuzaana wa kitaawe: Isiraeri n'akiwulirako. Batabani ba Yakobo baali kkumi na babiri: 23 abaana ba Leeya; Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo, ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali, ne Zebbulooni: 24 abaana ba Laakeeri; Yusufu, ne Benyamini: 25 n'abaana ba Bira, omuzaana wa Laakeeri; Ddaani ne Nafutaali: 26 n'abaana ba Zirupa, omuzaana wa Leeya; Gaadi ne Aseri: abo be batabani ba Yakobo, abaamuzaalirwa mu Padanalaamu. 27 Yakobo n'ajja eri Isaaka kitaawe mu Mamule, mu Kiriasualaba (ye Kebbulooni), Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 N'ennaku za Isaaka zaali myaka kikumi mu kinaana. 29 Isaaka n'ata omukka, n'afa, n'atwalibwa eri abantu be, ng'akaddiye, ng'awezezza ennaku nnyingi: Esawu ne Yakobo abaana be ne bamuziika.

Olubereberye 36

1 N'okuzaala kwa Esawu (ye Edomu) kwe kuno. 2 Esawu yawasa ku bawala ba Kanani; Ada muwala wa Eroni Omukiiti, ne Okolibama muwala wa Ana, omuwala wa Zibyoni Omukiivi; 3 ne Basimansi omuwala wa Isimaeri, muganda wa Nebayoosi. 4 Ada n'azaalira Esawu Erifaazi; ne Basimansi n'azaala Leweri: 5 ne Okolibama n'azaala Yewusi, ne Yalamu, ne Koola: abo be batabani ba Esawu, abaamuzaalirwa mu nsi ya Kanani. 6 Esawu n'addira bakazi be ne batabani be ne bawala be, n'abantu bonna abaali mu nnyumba ye, n'ebisibo bye n'ensolo ze zonna, n'ebintu bye byonna, bye yakuŋŋaanyiza mu nsi ya Kanani; n'agenda mu nsi endala n'abeera wala ne muganda we Yakobo. 7 Kubanga ebintu byabwe byali bingi bwe biti n'okuyinza tebaayinza kutuula wamu; n'ensi gye baatuulamu teyabayinza olw'ebisibo byabwe. 8 Esawu n'atuula ku lusozi Seyiri: Esawu ye Edomu. 9 N'olulyo lwa Esawu jjajja wa Abaedomu abaali ku lusozi Seyiri lwe luno: 10 batabani ba Esawu amannya gaabwe ge gano: Erifaazi omwana wa Ada omukazi wa Esawu, Leweri omwana wa Basimansi omukazi wa Esawu. 11 Ne batabani ba Erifaazi Temani, Omali, Zefo, ne Gatamu, ne Kenazi. 12 Ne Timuna yali muzaana wa Erifaazi omwana wa Esawu; n'azaalira Erifaazi Amaleki; abo be baana ba Ada omukazi wa Esawu. 13 N'abaana ba Leweri baabano; Nakasi, ne Zeera, Samna, ne Mizza: abo be baali abaana ba Basimansi omukazi wa Esawu. 14 N'abaana ba Okolibama omwana wa Ana, omwana wa Zibyoni, omukazi wa Esawu: n'azaalira Esawu Yewusi, ne Yalamu, ne Koola. 15 Abaana ba Esawu abaalya obwami baabano: abaana ba Erifaazi omubereberye wa Esawu; omukungu Temani, omukungu Omali, omukungu Zefo, omukungu Kenazi, 16 omukungu Koola, omukungu Gatamu, omukungu Amaleki: abo be bakungu abaava mu Erifaazi mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Ada. 17 N'abaana ba Leweri omukungu wa Esawu baabano; omukungu Nakasi, omukungu Zecra, omukungu Samma, omukungu Mizza: abo be bakungu abaava mu Leweri mu nsi ya Edomu; abo be baana ba Basimansi omukazi wa Esawu. 18 N'abaana ba Okolibama omukazi wa Esawu baabano; omukungu Yewusi, omukungu Yalamu, omukungu Koola: abo be bakungu abaava mu Okolibama omuwala wa Ana, mukazi wa Esawu. 19 Abo be baana ba Esawu, n'abo be bakungu baabwe: oyo ye Edomu. 20 Abaana ba Seyiri Omukooli, be baatuulanga mu nsi, baabano; Lotani ne Sobali ne Zibyoni ne Ana, 21 ne Disoni ne Ezeri ne Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, be baana ba Seyiri mu nsi ya Edomu. 22 N'abaana ba Lotani be bano Koli ne Kemamu; ne mwannyina Lotani ye Timuna. 23 N'abaana ba Sobali baabano; Aluvani ne Manakasi ne Ebali, Sefo ne Onamu. 24 N'abaana be Zibyoni baabano; Aya ne Ana: Ana ye oyo eyalaba enzizi z'amazzi agabuguma mu ddungu, bwe yali alunda endogoyi za Zibyoni kitaawe. 25 N'abaana ba Ana baabano; Disoni ne Okolibama omuwala wa Ana. 26 N'abaana ba Disoni baabano; Kemudaani ne Esubani ne Isulani ne Kerani. 27 Abaana ba Ezeribaabano; Birani ne Zaavani ne Akani. 28 Abaana ba Disani baabano; Uzi ne Alani. 29 Abaami abaava mu Bakooli baabana; omwami Lotani, omwami Sobali omwami Zibyoni, omwami Ana, 30 omwami Disoni, omwami Ezeri, omwami Disani: abo be baami abaava mu Bakoli, ng'abaami baabwe bwe baali mu nsi ya Seyiri. 31 Ne bassekabaka abaafuga mu nsi ya Edomu, nga tewannafuga kabaka yenna abaana ba Isiraeri, baabano. 32 Bera omwana wa Byoli n'afuga mu Edomu; n'ekibuga kye erinnya lyakyo Dinukaba. 33 Bera n'afa, Yobabu omwana wa Zeera ow'e Bozula n'alya obwakabaka mu kifo kye. 34 Yobabu n'afa, Kusamu ow'ensi ya Abatemami n'alya obwakabaka mu kifo kye. 35 Kusamu n'afa, Kadadi omwana wa Bedadi, eyakuba Midiyaani mu nnimiro ya Mowaabu, n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Avisi. 36 Kadadi n'afa, Samula ow'e Masuleka n'alya obwakabaka mu kifo kye. 37 Samula n'afa, Sawuli ow'e Lekobosi ekiriraana a'omugga n'alya obwakabaka mu kifo kye. 38 Sawuli n'afa, Baalukanani omwana wa Akubooli n'alya obwakabaka mu kifo kye. 39 Baalukanani omwana wa Akubooli n'afa, Kadali n'alya obwakabaka mu kifo kye: n'ekibuga kye erinnya lyakyo Pawu; ne mukazi we erinnya lye Meketaberi, omwana wa Matuledi, omwana wa Mezakabu. 40 N'amannya g'abaami abaava mu Esawu, ng'ebika byabwe, n'ebifo byabwe, n'amannya gaabwe bwe biri, gaagano; omwami Timuna, omwami Aluva, omwami Yesesi; 41 omwami Okolibama, omwami Era, omwami Pinoni; 42 omwami Kenazi, omwami Temani, omwami Mibuzali; 43 omwami Magudyeri, omwami Iramu: abo be baami ba Edomu, nga bwe baatuulanga mu nsi ey'obutaka bwabwe. Oyo ye Esawu jjajja wa Abaedomu.

Olubereberye 37

1 Yakobo n'abeeranga mu nsi kitaawe mwe yatuulanga mu nsi ya Kanani. 2 Okuzaala kwa Yakobo kuukuno. Yusufu bwe yali yaakamaze emyaka kkumi na musanvu, yali alunda ekisibo awamu ne baganda be: omulenzi n'abanga wamu n'abaana ba Bira, n'abaana ba Zirupa, abakazi ba kitaawe: Yusufu n'abuuliranga lutaabwe ebigambo byabwe ebibi. 3 Era Isiraeri yayagala Yusufu okusinga abaana be bonna, kubanga gwe yazaala ng'akaddiye: n'amutungira ekizibawo eky'amabala amangi. 4 Baganda be ne balaba nga kitaawe yamwagala okusinga baganda be bonna; ne bamukyawa, ne batayinza kwogera naye wabula eby'okuyomba. 5 Yusufu n'aloota ekirooto, n'akibuulira baganda be: ne beeyongera nate okumukyawa. 6 N'abagamba nti Mbeegayiridde, muwulire ekirooto kino kye ndoose: 7 kubanga, laba, twali tusiba ebinywa mu nnimiro, era laba, ekinywa kyange ne kiyimirira, era ne kyesimba; era, laba, ebinywa bwammwe ne bijja ne bikyetooloola, ne bivuunamira ekinywa kyange. 8 Baganda be ne bamugamba nti Okufuga olitufuga ggwe? oba kutwala. olitutwala ggwe? Ne beeyongera aate okumukyawa olw'ebirooto bye n'olw'ebigambo bye. 9 N'aloota nate ekirooto ekirala, n'akibuulira baganda be n'ayogera nti Laba, ndoose n'ekirooto ekirala; era, laba, enjuba n'omwezi n'emmunnyeenye ekkumi n'emu ne binvuunamira. 10 N'akibuulira kitaawe ne baganda be; kitaawe n'amunenya, n'amugamba nti Kirooto ki kino ky'oloose? Nze ne nnyoko ne lbaganda bo okujja tulijja okukuvuunamira? 11 Baganda be ne bamukwatirwa obuggya; naye kitaawe n'ajjukira ebyo bye yayogera. 12 Baganda be ne bagenda okulunda ekisibo kya kitaabwe mu Sekemu. 13 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Baganda bo tebalunda kisibo mu Sekemu? jjangu nkutume gye bali. N'amugamba nti Nze nzuuno. 14 N'amugamba nti Genda kaakano olabe nga baganda bo gyebali balungi, era n'ekisibo nga gyekiri kirungi; okomewo ombuulire. Awo n'amutuma okuva mu kiwonvu eky'e Kebbulooni, n'atuuka e Sekemu. 15 Omusajja n'amulaba, era, laba, yali akyamidde mu nsiko: omusajja n'amubuuza nti Onoonya ki? 16 N'ayogera nti Nnoonya baganda bange: mbuulira, nkwegayiridde, gye balundidde ekisibo. 17 Omusajja n'ayogera nti Baagenda: kubaaga nabawulira nga boogera nti Tugende e Dosani. Yusufu n'agoberera baganda be, n'abasanga mu Dosani. 18 Ne bamuleagera ng'akyali wala, ne bamwekobaana nga tannabasemberera okumutta. 19 Ne bagambagana nti Laba, sekalootera wuuyo ajja. 20 Kale nno mujje tumutte, tumusuule mu bumu ku bunnya, tulyogera nti Ensolo enkambwe ye yamulya: ne tulyoka tulaba ebirooto bye bwe biriba. 21 Lewubeeni n'awulira ekyo, n'amuwonya mu mukono gwabwe; n'ayogera nti Tuleme okumuttira ddala. 22 Lewubeeni n'abagamba ati Temuyiwa musaayi; mumusuule mu bunnya buno obuli mu ddungu, naye temumussaako mukono: alyoke amuwonye mu mukono gwabwe, okumuddiza kitaawe. 23 Awo olwatuuka, Yusufu bwe yatuuka eri baganda be, ne bambula Yusufu ekizibawo kye, ekizibawo eky'amabala amangi kye yali ayambadde; 24 ne bamutwala ne bamusuula mu bunnya: n'obunnya bwali bukalu nga temuli mazzi. 25 Ne batuula okulya emmere: ne bayimusa amaaso gaabwe ne batunula, era, laba, ekibiina ky'Abaisimaeri abaava mu Gireyaadi nga batambula, nga balina eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa n'envumbo ne moli, nga babitwala mu Misiri. 26 Yuda n'agamba baganda be nti Kiritugasa kitya okutta muganda waffe n'okukisa omusaayi gwe? 27 Kale ttumuguze Abaisimaeri, so omukono gwaffe guleme okumubaako; kubanga ye muganda waffe, gwe mubiri gwaffe. Baganda be ne bamuwulira. 28 Abamidiyaani, ab'obuguzi, ne bayitawo; ne bawalula Yusufu ne bamuggya mu bunnya, ne baguza Abaisimaeri Yusufu ebitundu by'effeeza amakubi abiri. Ne batwala Yusufu mu Misiri: 29 Lewubeeni n'addayo eri obunnya; era, laba, Yusufu teyali mu bunnya; n'ayuzaayuza engoye ze. 30 N'addayo eri baganda be, n'ayogera nti Omwana taliiyo; nange ndigenda wa? 31 Ne baddira ekizibawo kya Yusufu, ne batta embuzi ennume, ne bannyika ekizibawo mu musaayi; 32 ne baweereza ekizibawo eky'amabala amangi, ne bakireetera kitaabwe; ne boogera nti Twalaba kino: kaakano tegeera obanga kye kizibawo eky'omwana wo nantiki si kyo. 33 N'akitegeera, n'ayogera nti Kye kizibawo eky'omwana wange; ensolo embi yamulya; Yusufu yataagulwataagulwa awatali kubuusabuusa. 34 Yakobo n'ayuzaayuza engoye ze, ne yeesiba ebibukutu mu kiwato, n'akungubagira omwana we ennaku nnyingi. 35 Batabani be bonna ne bawala be bonna ne bagolokoka okumusanyusa; naye n'agaana okusanyusibwa; n'ayogera nti Kubanga ndikka emagombe awali omwana wange nga nkyakaaba. Kitaawe n'amulirira amaziga. 36 Abamidiyaani ne bamuguza Potifali mu Misiri, ye mwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa.

Olubereberye 38

1 Awo olwatuuka mu biro ebyo Yuda n'ava mu baganda be n'aserengeta, n'ayineira mu nnyumba ey'omu Adulamu, erinnya lye Kira. 2 Yuda n'alabayo omukazi omwana w'Omukanani erinnya lye Suwa; n'amutwala, n'ayingira gy'ali. 3 N'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi; Yuda n'amutuuma erinnya Eri. 4 N'aba olubuto nate, n'azaala omwana ow'obulenzi; n'amutuuma erinnya Onani. 5 Era nate n'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya Seera: ne Yuda yali mu Kezibi, bwe yamuzaala. 6 Yuda n'awasiza Eri omwana we omubereberye omukazi, erinnya lye Tamali. 7 Ne Eri, omubereberye wa Yuda, yali mubi mu maaso ga Mukama; Mukama n'amutta. 8 Yuda n'agamba Onani nti Yingira eri omukazi wa muganda wo, omuwase nga bwe kigwanira muganda wa bba, oddizeewo muganda wo ezzadde. 9 Onani n'ategeera ng'ezzadde teririba lirye; awo olwatuuka bwe yayingira eri omukazi wa muganda we, n'agafuka wansi, aleme okuwa muganda we ezzadde. 10 N'ekigambo kye yakola kyali kibi mu maaso ga Mukama: n'oyo n'amutta. 11 Yuda n'alyoka agamba Tamali muka mwana we nti Beerera awo nnamwandu mu nnyumba ya kitaawo, okutuusa Seera omwana wange lw'alimala okukula: kubanga yayogera nti N'oyo aleme okufa nga baganda be. Tamali n'ageada n’abeera mu nnyumba ya kitaawe. 12 Ebiro ne biyitawo omuwala wa Suwa, omukazi wa Yuda, n'afa; Yuda n'ayabya olumbe, n'ayambuka, ye ne mukwano gwe Kira Omwadulamu, e Timuna eri basajja be abaasala endiga ebyoya. 13 Ne babuulira Tamali nti Laba, ssezaala wo ayambuka e Timuna okusala eadiga ze ebyoya. 14 N'ayambulamu ebyambalo eby'obwannamwandu bwe, ne yeebikka olugoye olw'oku mutwe, ne yeewumba, n'atuula mu mulyango gwa Enayimu, ekiri ku kkubo erigenda e Timuna; kubanga yalaba nga Seera amaze okukula, ne batamumuwa okumuwasa. 15 Yuda bwe yamulaba, n'alowooza nga mwenzi; kubanga yali yeebisse mu maaso. 16 N'akyamira gy'ali okuva mu kkubo n'ayogera nti Kale nno, nkwegayiridde, nnyingire gy'oli: kubanga teyamanya nga se muka mwana we. N'ayogera nti Onompa ki bw'onooyingira gye ndi? 17 N'ayogera nti Ndikuweereza omwana gw'embuzi ogw'omu kisibo. N'ayogera ati Onompa omusingo, okutuusa lw'oliguweereza? 18 N'ayogera nti Musingo ki gwe nnaakuwa? N'ayogera nti akabonero ko n’akajegere ko, n'omuggo gwo oguli mu mukono gwo. N'abimuwa, n'ayingira gy'ali, naye n'aba olubuto olulwe. 19 N'agolokoka, ne yeegendera, n'ayambulamu olw'okubikka ku mutwe, n'ayambala ebyambalo eby'obunnamwandu bwe. 20 Yuda n'aweereza omwana gw'embuzi mu mukono gwa mukwano gwe Omwadulamu, okuweebwa, omusingo mu mukono gw'omukazi: l nayo n'atamulaba. 21 N'alyoka abuuza abasajja ab'ekifo kye nti Omwenzi ali ludda wa eyali e Nayimu ku mabbali g'ekkubo? Ne boogera nti Tewabanga wano mwenzi. 22 N'addayo eri Yuda, n'ayogera nti Simulabye; era n'abasajja ab'ekifo boogedde nti Tewabanga wano mwenzi. 23 Yuda n'ayogera nti Agyetwalire, tuleme okukwatibwa ensonyi: laba, naweerezza omwana ogwo ogw'embuzi, naawe n'otomulaba. 24 Awo olwatuuka emyezi ng'esatu bwe gyayitawo ne babuulira Yuda nti Tamali muka mwana wo yayenda; era nate, laba, ali lubuto lwa bwenzi. Yuda n'ayogera nti Mumufulumye, bamwokye. 25 Bwe baamufulumya, n'atumira ssezaala we, ng'ayogera nti Omusajja nannyini bino ye yangira olubuto: n'ayogera nti Tegeera, nkwegayiridde, bino by'ani, akabonero n'obujegere n'omuggo. 26 Yuda n'abikkiriza, n'ayogera nti Ansinze nze okuba omutuukirivu; kubanga saamuwa Seera omwana wange. N'atamumanya nate lwa kubiri. 27 Awo olwatuuka entuuko ze bwe zaatuuka okuzaala, laba, abalongo ne baba mu lubuto lwe. 28 Awo bwe yali anaatera okuzaala, omu n'afulumya engalo ze: omuzaalisa n'azikwata n'asiba akagoye akamyufu ku ngalo ze, ng'ayogera nti Ono ye asoose okufuluma. 29 Awo olwatuuka, bwe yazzaayo engalo, laba, muganda we n'afuluma; n'ayogera ati Kiki ekikuwaguza wekka? erinnya lye kyeryava lituumibwa Pereezi. 30 Oluvannyuma muganda we n'afuluma, eyalina akagoye akamyufu ku ngalo ze: n'atuumwa erinnya Zeera.

Olubereberye 39

1 Yusufu ne bamuserengesa mu Misiri; Potifali, omwami wa Falaawo, omukulu w'abambowa, Omumisiri, n'amugula mu mukono gw'Abaisimaeri, abaamuserengesa eyo. 2 Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n'aba n'omukisa; n'abeera mu nnyumba ya mukama we Omumisiri. 3 Mukama we n'alaba nga Mukama ali naye, era nga Mukama amuwa buli kye yakola okuba n'omukisa mu mukono gwe. 4 AYusufu n'alaba ekisa mu maaso ge, n'amuweereza: n'amufuula omulabirizi w'ennyumba ye, ne bye yali nabyo byonna n'abiteeka mu mukono gwe. 5 Awo olwatuuka bwe yamala okumufuula omulabirizi w'ennyumba ye, era owa byotma bye yalina, Mukama n'alyoka agiwa ennyumba ey'Omumisiri omukisa ku bwa Yusufu: omukisa gwa Mukama ne guba ku byonna bye ya lina, eby'omu nnyumba n'eby'omu nnimiro. 6 N'aleka byonna bye yalina mu mukono gwa Yusufu; n'atamanya kintu ekyali naye wabula emmere gye yalyanga. Era Yusufu yali mulungi, n'amaaso ge ga kusanyusa. 7 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omukazi wa mukama we n’atunuulira Yusufu; n'ayogera nti Sula nange. 8 Naye n'agaana, n'agamba omukazi wa mukama we nti Laba, mukama wange tamanyi ebiri nange mu nnyumba, era yateeka byonna by'alina mu mukono gwange; 9 tewali ansinga nze obukulu mu anyumba muno; so teyasigaza kintu obutakimpa nze wabula ggwe, kubanga oli mukazi we: kale anyinza ntya okwonoona, okwenkanidde wano, n'okusobya ku Katonda? 10 Awo olwatuuka bwe yayogera ne Yusufu buli lunaku, n'atamuwuliranga, okusula naye, oba kubeera naye. 11 Awo olwatuuka mu biro ebyo n'ayingira mu nnyumba okukola emirimu gye; so nga siwali basajja ba mu nnyumba muli munda. 12 N'amukwatako ekyambalo kye ng'ayogera ati Sula nange: n'aleka ekyambalo kye mu mukono gwe. n'adduka, n'avaayo. 13 Awo olwatuuka, bwe yalaba ng'alese ekyambalo kye mu mukono gwe n'adduka n'avaayo, 14 n'alyoka ayita abasajja ab'omu nnyumba ye, n'abagamba nti Laba, yayingiza Omwebbulaniya okutuduulira; ayingidde gye ndi okusula nange, ne nkoowoola n'eddoboozi ddene: 15 awo olwaruuse, bw'swulidde nga nnyimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi n'adduka n'avaayo. 16 N'atereka ekyambalo kye ewuwe, okutuusa mukama we bwe yakomawo eka. 17 N'amugamba ng'ebigambo bino bwe biri nti Omuddu Omwebbulaniya gwe watuleetera yayingira gye ndi okunduulira: 18 awo olwatuuka, bwe nnayimusa eddoboozi lyange ne nkoowoola, n'alyoka aleka ekyambalo kye gye ndi, n'adduka n'avaayo. 19 Awo olwatuuka, mukama we bwe yawulira ebigambo bya mukazi we bye yamugamba nti Bw'atyo omuddu wo bwe yankolera; obusungu bwe ne bubuubuuka. 20 Mukama wa Yusufu n'amutwala, n’amussa mu kkomera, ekifo abasibe ba kabaka mwe baasibirwa: n'abeera omwo mu kkomera. 21 Naye Mukama n'aba wamu ne Yusufu, n’amulaga ebirungi, n'amuwa ekisa mu maaso g'omukuumi w'ekkomera. 22 Omukuumi w'ekkomera n'ateresa Yusufu mu mukono gwe abasibe bonna abaali mu kkomera; ne byonna bye baakola eyo, oyo ye yabikola. 23 Omukuumi w'ekkomera teyatunuulira kintu ekyali wansi w'omukono gwe, kubanga Mukama yali wamu naye; n'ebyo bye yakola, Mukama n'abiwa omukisa.

Olubereberye 40

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo, omusenero wa kabaka w'e Misiri n'omufumbiro we ne banyiiza mukama waabwe kabaka w'e Misiri. 2 Falaawo n'asunguwalira abaami be bombi, omukulu w'abasenero, n'omukulu w'abafumbiro. 3 n'abasiba mu nnynunba ey'omukulu w'abambowa, mu kkomera, mu kifo Yusufu mwe yasibirwa. 4 Omukulu w'abambowa n'a bateresa Yusufu, n'abaweereza: ne bamalayo ekiseera nga basibiddwa. 5 Ne baloota ekirooto bombi, buli muntu ekirooto kye mu kiro kimu, buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali, omusenero n'omufumbiro wa kabaka w'e Misiri, abaasibibwa mu kkomera. 6 Yusufu n'ayingira gye baali enkya, n'abalaba, era, laba, baali banakuwadde. 7 N'abuuza abaami ba Falaawo abaasibirwa awamu naye mu nnyumba ya mukama we, ng'ayogera nti Kiki ekinakuwazizza bwe kityo amaaso gammwe leero? 8 Ne bamugamba nti Tuloose ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo. Yusufu n'abagamba nti Okutegeeza amakulu si kwa Katonda? mukimbuulire, mbeegayiridde. 9 Omusenero omukulu n'abuulira Yusufu ekirooto kye, n'amugamba nti Mu kirooto kyange, laba, omuzabbibu gubadde mu maaso gange; 10 ne ku muzabbibu kubaddeko amatabi asatu: ne guba ng'ogwanya, ne gusansula ebimuli; n'ebirimba byagwo ne bibala ezabbibu ennyengevu: 11 n'ekikompe kya Falaawo kibadde mu mukono gwange; ne nzirira ezabbibu, ne nzikamulira mu kikompe kya Falaawo, ne mpaayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo. 12 Yusufu n'amugamba nti Gano ge makulu gaakyo: amatabi asatu ze nnaku essatu; 13 walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo n'akukomyawo mu bwami bwo: era onoowangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo, ng'empisa bwe yali edda bwe wali omusenero we. 14 Naye onjijukiranga nze bw'oliraba ebirungi, ondage nze ekisa, nkwegayiridde, onjogerangako eri Falaawo, onziye mu nnyumba muno: 15 kubanga amazima nanyagibwa mu nsi ey'Abaebbulaniya: era ne kuno sikolanga kigambo ekyandibanteesezza mu kkomera. 16 Omufumbiro omukulu bwe yalaba ng'amakulu malungi, n'agamba Yusufu ati Nange mbadde mu kirooto kyange, era, laba, ebibbo ebisatu ebibaddemu emmere enjeru ne ba ku mutwe gwange: 17 ne mu kibbo ekya waggulu mubaddemu engeri zonna ez’emmere enjokye eza Falaawo; ennyonyi ne ziziriira mu kibbo ku mutwe gwange. 18 Yusufu n'addamu n'ayogera nti Gano ge makulu gaakyo: ebibbo ebisatu ze nnaku essatu; 19 walibaawo nate ennaku ssatu Falaawo n'alyoka agulumiza omutwe gwo okuva ku ggwe, era alikuwanika ltu mhti; n'ennyonyi zirirya ennyama yo okugiggya ku ggwe. 20 Awo olwatuuka ku lunaku olw'okusatu, lwe lunaku Falaawo lwe yazaalibwako, n'afumbira abaddu be bonaa embaga; n'agulumiza omutwe gw'omusenero omukulu n'omutwe gw'omufumbiro omukulu mu baddu be. 21 N'akomyawo nate omusenero omukulu mu busenero bwe; n'awangayo ekikompe mu mukono gwa Falaawo: 22 naye n'awanika omufumbiro omukulu: nga Yusufu bwe yabategeeza amakulu. 23 Naye omusenero omukulu n'atajjukira Yusufu, naye n'amwerabira.

Olubereberye 41

1 Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Falaawo n'aloota: era, laba, yali ayimiridde ku mugga. 2 Era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu ennungi eza ssava; ne ziriira mu lusa. 3 Era, laba, ente eadala omusanvu ne ziziddirira ne ziva mu mugga, embi enkovvu; ne zipimirira ku mabbali g'omugga awali ente endala. 4 N'ente embi enkovvu ne zirya ente omusanvu ennungi eza ssava. Kale Falaawo n'azuukuka. 5 Ne yeebaka n'aloota omulundi ogw'okubiri: era, laba, ebirimba by'eŋŋaano musanvu ne bimera ku kiti kimu, ebigimu ebirungi. 6 Era, laba, ebirimba musanvu ebitono ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba ne bibiddirira ne bimera. 7 Ebirimba ebitono ne bimira ebirimba omusanvu ebigimu ebinene. Falaawo n'azuukuka, era, laba, kibadde kirooto. 8 Awo olwatuuka enkya omwoyo gwe ne gweraliikirira: n'atuma n'ayita abasawo bonna ab'omu Misiri, n'abagezigezi bonna abaamu: Falaawo n'ababuulira ekirooto kye; naye tewaali ayinia okutegeeza Falaawo amakulu gaakyo. 9 Omusenero omukulu n’alyoka agamba Falaawo nti Njijukidde leero okwonoona kwange: 10 Falaawo yasuaguwalira abaddu be, n'ansibira mu unyumba ey'omukulu w'abambowa, nze n'omufumbiro omukulu: 11 ne tuloota ekirooto mu kiro kimu nze naye; twaloota buli muntu ng'amakulu g'ekirooto kye bwe gali. 12 Era yaliyo wamu naffe omulenzi, Omwebbulaniya, omuddu ow'omukulu w'abambowa; ne tumubuulira, n'atutegeeza amakulu g'e,birooto byaffe; yategeeza buli muntu ag'ekirooto kye bwe kyali. 13 Awo olwatuuka, nga bwe yatutegeeza, ne kiba bwe kityo; nze yanziza mu bwami, n'oyo yamuwanika. 14 Falaawo n'alyoka atuma n’ayita Yusufu, ne bamuggya mangu mu kkomera: n'amwa, n'awaanyisa ebyambalo bye, n’ayingira eri Falaawo. 15 Falaawo n'agamba Yusufu nti Naloota ekirooto, so siwali ayinza okutegeeza amakulu gaakyo: era mpulidde nga boogera ku ggwe ng'oyinza okutegeeza amakulu g'ekirooto bw'okiwulira. 16 Yusufu n'addamu Falaawo, ng'ayogera ati Si mu nze: Katonda y'anaawa Falaawo okuddamu okw'emirembe 17 Falaawo n'agamba Yusufu nti Mu kirooto kyaage, laba, nga nnyimiridde ku mabbali g'omugga: 18 era, laba, ne muva mu mugga ente musanvu, eza ssava ennungi; ne ziriira mu lusa: 19 era, laba, ente musanvu eadala ne ziziddirira ne zirinnya, ennafu embi ennyo enkovvu, ze ssirabangako mu nsi yonna ey'e Misiri obubi: 20 ente enkovvu embi ne zirya ente omusaavu eza ssava ezisoose: 21 awo bwe zaamala okuzirya ne kitategeerekeka nga ziziridde; naye nga zikyali mbi ng'olubereberye. Awo ne azuukuka. 22 Ne ndabira mu kirooto kyange, era, laba, ebirimba musaavu ne bimera ku kiti kimu, ebinene ebirungi: 23 era, laba, ebirimba musaavu, ebiwotose, ebitono, ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba, ne bibiddirira ne bimera 24 ebirimba ebitono ne bimira ebirimba ebizungi omusanvu: ne nkibuulira abasawo; naye siwali ayinza okukintegeeza. 25 Yusufu n'agamba Falaawo ati Ekirooto kya Falaawo kiri kimu: Katoada by'ageada okukola, yabibuulira Falaawo. 26 Ente omusanvu ennungi gy’emyka omusaavu; n'ebirimba omusanvu ebirungi gye myaka omusanvu: ekirooto kiri kimu. 27 N'ente omusanvu enkovvu embi ezaaziddirira gye myaka omusanvu, era n'ebirimba omusanvu ebitaliimu ebikaze n'empewo ez'ebuvanjuba; egyo giriba myaka omusanvu egy'enjala. 28 Ekyo kye kigambo kye mbuulidde Falaawo: Katonda by'agenda okukola, yabiraga Falaawo. 29 Laba, girijja emyaka musanvu egy'ekyengera ekingi mu nsi yonna ey'e Misiri: 30 oluvannyuma lw'egyo giribaawo emyska musanvu egy'enjala; n'ekyengera kyonna kiryerabirwa mu nsi ey'e Misiri; n'eajala erizikiriza ensi; 31 n'ekyengera tekirimanyibwa mu nsi olw'enjala erikiddirira; kubanga eriba nnyingi nnyo. 32 Era kubanga ekirooto kyayongererwa Falaawo emirundi ebiri, kyekyava kyongerwa kubanga ekigambo kinywezebwa Katonda, era Katonda alikituukiriza mangu. 33 Kale nno kaakano Falaawo anoonye omusajja omukabakaba ow'amagezi, amuwe okufuga easi ey'e Misiri. 34 Falaawo akole bw'atyo, era asseewo abalabirizi ku nsi, atereke ekitundu eky'ekkumi eky'ensi ey'e Misiri mu myaka omusanvu egy'ekyengera. 35 Era bakuŋŋaanye emmere yonna ey'emyaka gino emirungi egijja, baterekere eŋŋaano mu bibuga mu mukono gwa Falaawo, bagikuume. 36 N'emmera eyo eriba eggwanika ery'ensi olw'emyaka omusanvu egy'enjala, egiribaawo mu nai ey'e Misiri; ensi ereme okufa enjala. 37 N'ekigambo ekyo kyali kirungi mu maaso ga Faiaawo, ne mu maaso g'abaddu be bonna. 38 Falaawo n'agamba abaddu be nti Tuliyinza ohulaba omusajja afaanana ng'oyo, omusajja omuli omwoyo gwa Katonda 39 Falaawo n'agamba Yusufu nti Kubanga Katonda akulaze cbyo byonaa, tewali mukabakaba era ow'amagezi nga ggwe: 40 gw'olifuga ennyumba yange, era ng'ekigambo kyo bwe kiri abanntu bange bonna banaafugibwanga: naye kyokka mu ntebe yange nze naakusinganga ggwe obukulu. 41 Falaawo n’agamba Yusufu nti Laba, nkuwadde okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 42 Falaawo ne yeenaanula empeta ye ey'akabonero ku ngalo ye, n'anaanika Yusufu ku ngalo ye, n'amwambaza ebyambalo ebya bafuta ennungi, n'ateeka omukuufu ogwa zaabu mu bulago bwe. 43 N'amutambuliza mu ggaali ery'okubiri lye yalina; ne balangira mu maaso ge nti Mufukamire: n'amuwa okufuga ensi yonna ey'e Misiri. 44 Falaawo n'agamba Yusufu nti Nze adi Falaawo, era awatali nze tewali muntu aligolola omukono gwe newakubadde ekigere kye mu nsi yonna eye Misiri. 45 Falaawo n'atuuma Yusufu erianya Zafenasipaneya; n'amuwa Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni okumuwasa. Yusufu n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 46 Era Yusufu yali yaakamaze emyaka asatu bwe yayimirira mu maaso ga Falaawo kabaka we Misiri. Yusufu n'ava eri Falaawo, n'atambula n'abunya ensi ey'e Misiri. 47 Ne mu myaka omusanvu egy'ekyengera ensi n'ebala emmere mu bungi. 48 N'akuŋŋaaayanga emmere yonna ey'emyaka omusanvu egyabaawo mu nsi ey'e Misiri, n’aterekeranga emmere mu bibuga: emmere ey'omu nnuniro ezaali zeetoolodde buli kibuga, yagiterekeranga mu ekyo. 49 Yusufu n'atereka eŋŋaano ag'omusenyu ogw'ennyanja, nnyingi nnyo, okutuusa lwe yaleka okubala; kubanga teyabalikika. 50 Abaana babiri ne bazaalirwa Yusufu omwaka ogw'enjala nga tegunnatuuka, Asenaansi omwana wa Potiferi kabona owe Oni be yamuzaalira. 51 Yusufu n'atuuma omubereberye erinaya Manase: nti Kubaaga Katonda anneerabizza okutegana kwange n'ennyumba ya kitange yonna. 52 N'ow'okubiri n'amutuuma erinnya Efulayimu: nti Kubanga Katonda yanjaliza mu nsi ey'okubonaabona kwange. 53 Emyaka omusanvu egy'ekyengera egyabaawo mu nsi ey'e Misiri ne giggwaako. 54 Emyaka omusanvu egy'enjala ne gitanula okujja, nga Yusufu bwe yayogera; enjala n'egwa mu nsi zonna; naye mu nsi yonna ey'e Misiri emmere nga mweri. 55 Era ensi yonna ey'e Misiri bwe yalumwa enjala, abantu ne bakaabira Falaawo olw'emmere: Falaawo n'agamba Abamisiri bonna nti Mugendenga eri Yusufu; by'anaabagambanga mukolenga bwe mutyo. 56 Enjala n'ebuna ensi zonna: Yusufu n'aggulawo amawanika gonna, n'aguzanga Abamisiri; enjala n'eba nnyingi mu nsi ey'e Misiri. 57 N'ab'ensi zonna ne bajjira Yusufu mu Misiri okugula eŋŋaano; kubanga enjala yali nnyingi mu nsi zonna.

Olubereberye 42

1 Era Yakobo n’alaba nga mu Misiri eŋŋaano mweri,Yakobo n'agamba abaana be nti Kiki ekibatunuulizaganya mwekka na mwekka? 2 N'ayogera nti Laba, mpulidde nga mu Misiri eŋŋaano mweri: muserengete, mugendeyo, mutugulire eyo; tubeere abalamu, tuleme okufa. 3 Ne baganda ba Yusufu ekkumi ne baserengeta okugula eŋŋaano mu Misiri. 4 Naye Benyamini, muganda wa Yusufu, Yakobo n'atamutuma wamu ne baganda be; kubanga yayogera nti Mpozzi akabi kaleme okumubaako. 5 N'abaana ba Isiraeri ne bajja okugula mu abo abajja: kubanga enjala yali mu nsi ya Kanani. 6 Era Yusufu ye yali omukulu w'ensi; oyo ye yaguzanga abantu bonna ab'omu nsi: baganda ba Yusufu ne bajja, ne bamuvuunamira nga bawunzise amaaso wansi. 7 Yusufu n'alaba baganda be, n'abekkaanya, naye ne yeefuula nga munnaggwanga gye bali, n'ayogera nabo n'ebboggo; n'abagamba nti Muva wa? Ne boogera nti Mu nsi ya Kanani okugula emmere. 8 Yusufu ne yekkaanya baganda be, naye bo ne batamwekkaanya. 9 Yusufu n'ajjukira ebirooto bye yaloota ku bo, n'abagamba nti Muli bakessi; muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 10 Ne bamugamba nti Nedda, mukama wange, naye abaddu bo bazze okugula emmere. 11 Fenna tuli baana b'omu; tuli ba mazima, abaddu bo si bakessi n'akatono. 12 N'abagamba nti Nedda, naye muzze okulaba ensi bw'eteriimu. 13 Ne boogera nti Ffe abaddu bo tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana b'omu mu nsi ya Kanani; era, laba, omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero, n'omu taliiwo. 14 Yusufu n'abagamba nti Kye kiikyo kye mbagambye nti Muli bakessi: 15 bwe mulikemebwa bwe muti: ndayidde obulamu bwa Falaawo, temugenda kuva wano, wabula omwana wa bommwe ng'azze wano. 16 Mutume munnammwe omu, akime muganda wammwe, nammwe mmunaasibibwa, ebigambo byammwe bikemebwe, oba nga amazima mwegali mu mmwe: oba bwe mutaakole bwe mutyo, ndayidde obulamu bwa Falaawo, mazima muli bakessi. 17 N'abateeka bonna wamu mu kkomera ennaku ssatu. 18 Yusufu n'abagamba ku lunaku olw'okusatu nti Mukole bwe muti, mubeere abalamu; kubanga ntya Katonda: 19 oba nga muli ba mazima, omu ku baganda bammwe asibibwe mu nnyumba ey'ekkomera lyammwe; naye mmwe mugende, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe; 20 era mundeetere omwana wa bommwe; ebigambo byammwe bwe biritegeezebwa nga bya mazima bwe bityo, nammwe temulifa. Ne bakola bwe batyo. 21 Ne bagambagana nti Mazima tuliko omusango olwa muganda waffe, kubanga twalaba emmeeme ye bwe yanakuwala, bwe yatwegayirira, naffe ne tugaana okuwulira; ennaku zino kye zivudde zitutuukako. 22 Lewubeeni n'abaddamu ng'ayogera nti Saababuulira nti Temusobya ku mwana; nammwe ne mugaana okuwulira? era omusaayi gwe kyeguva gutuvunaanyizibwa. 23 Ne batamanya nga Yusufu ategedde ebigambo byabwe; kubanga omutegeeza . yabanga wakati we nabo. 24 N'abakuba enkoona, n'akaaba amaziga; n'addayo gye bali, n'ayogera nabo, n'abaggyamu Simyoni, n'amusibira mu maaso gaabwe. 25 Awo Yusufu n'alagira okujjuza ebintu byabwe eŋŋaano, n'okuddiza buli muntu effeeza ye mu nsawo ye, n'okubawa entanda ey'omu kkubo: ne babakolera bwe batyo. 26 Ne bateeka eŋŋaano yaabwe ku ndogoyi zaabwe, ne bagenda ne bavaayo. 27 Munnaabwe omu bwe yasumulula ensawo ye okuliisa endogoyi ye mu kifo kye baasulamu, n'alaba effeeza ye; era, laba, yali mu kamwa k'ensawo ye. 28 N'agamba baganda be nti Effeeza yange enkomezebbwawo; era, laba, eri mu nsawo yange; omwoyo gwabwe ne gubatyemuka, ne bakyukiragana nga bakankana nga boogera nti Kino kiki Katonda ky'atukoze? 29 Ne bajjira Yakobo kitaabwe mu nsi ya Kanani, ne bamubuulira byonna ebyababaako; nga boogera nti 30 Omusajja, omukulu w'ensi, yayogera naffe n'ebboggo, n'atulowooza ng'abakessi b'ensi. 31 Ne tumugamba nti Tuli ba mazima; tetuli bakessi: 32 tuli ba luganda kkumi na babiri, abaana ba kitaffe; omu taliiwo, n'omwana wa boffe ali wamu ne kitaffe leero mu nsi ya Kanani. 33 Omusajja, omukulu w'ensi, n'atugamba nti Bwe nti bwe nditegeera nga muli basajja ba mazima: muleke wamu nange omu ku baganda bammwe, mutwale eŋŋaano olw'enjala ey'omu nnyumba zammwe, mwegendere: 34 mundeetere omwana wa bommwe: awo nnaategeera nga temuli bakessi n'akatono; naye nga muli basajja ba mazima: bwe ntyo ndibawa muganda wammwe, nammwe munaagulanga mu nsi. 35 Awo olwatuuka bwe baggya ebintu mu nsawo zaabwe, laba, omutwalo gw'effeeza ogwa buli muntu gwali mu nsawo ye: bo ne kitaabwe bwe baalaba emitwalo gyabwe egy'effeeza, ne batya. 36 Yakobo kitaabwe n'abagamba nti Nze munziyeeko abaana bange: Yusufu taliiwo, era ne Simyoni taliiwo, era mwagala okunziyaako ne Benyamini: ebyo byonna binzitoowerera. 37 Lewubeeni n'agamba kitaawe nti Obattanga batabani bange bombi, bwe sirimukomyawo gy'oli: mumpe mu mukono gwange, nange ndimukomyawo gy'oli nate. 38 N'ayogera nti Omwana wange taliserengeta nammwe; kubanga muganda we yafa, naye asigaddewo yekka: akabi bwe kalimubaako mu kkubo lye muliyitamu, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala.

Olubereberye 43

1 Enjala n'eba nnyingi mu nsi. 2 Awo olwatuuka, bwe baamala okulya eŋŋaano yonna gye baggya mu Misiri, kitaabwe n'abagamba nti Mugende nate, mutugulire akamere. 3 Yuda n'amugamba nti Omusajja yatulayiririra ddala ng'ayogera nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali wamu nammwe. 4 Bw'onoosindika muganda waffe awamu naffe, tunaaserengeta tulikugulira emmere: 5 naye bw'otoomusindike, tetugenda kuserengeta: kubanga omusajja yatugamba nti Temuliraba maaso gange, wabula muganda wammwe ng'ali nammwe. 6 Isiraeri n'ayogera nti Kiki ekyabankoza obubi obwenkanidde awo okubuulira omusajja nga mulina ow'oluganda omulala? 7 Ne boogera nti Omusajja yatubuuza bubuuza bwe twali ne baganda baffe bwe baali, ng'ayogera nti Kitammwe akyali mulamu? mulina ow'oluganda omulala? ne ttunubuulira ng'ebigambo ebyo bwe biri: twandiyinzizza n'akatono okutegeera ng'anaagamba nti Muserengese muganda wammwe? 8 Yuda n'agamba Isiraeri kitaawe nti Sindika omulenzi awamu nange, naffe tunaagolokoka ne tugenda; tube abalamu, tuleme okufa, ffe; naawe, era n'abaana baffe abato. 9 Nze naabeera omuyima we; olimuvunaana nze mu mukono gwange: bwe sirimuleeta gy'oli, ne mmuteeka mu maaso go, omusango gube ku nze ennaku zonna: 10 kuba singa tetuludde, mazima kaakano twandibadde nga tukomyewo omulundi ogw'okubiri. 11 Kitaabwe Isiraeri n'abagamba nti Oba nga kaakano kiri bwe kityo, mukole bwe muti; mutwale ku bibala eby'omu nsi ebisinga obuhmgi mu bintu byammwe, mutwalire omusajja ekirabo, enwmbo si nnyingi, n'omubisi gw'enjuki, omugaw n'obubaane, ebinywebwa n'endoozi: 12 era mutwale effeeza ebigero bibiri mu ngalo zammwe; n'effeeza eyakomezebwawo mu bumwa bw'ensawo zammwe gitwale nate mu ngalo zammwe; mpozzi baagizza nga tebamanyiridde: 13 era mutwale ne muganda wammwe, mugolokoke, muddeyo eri omusajja: 14 era Katonda omuyinza w'ebintu byonna abawe okusaasirwa mu maaso g'omusajja abasumulurire muganda wammwe omulala ne Benyamini. Nange bwe ndifiirwa abaana bange, ndifiirwa. 15 Abasajja ne batwala ekirabo ekyo, ne batwala effeeza ebigero bibiri mu ngalo zaabwe, ne Benyamini; ne bagolokoka, ne baserengeta mu Misiri, ne bayimirira mu maaso ga Yusufu. 16 Yusufu bwe yalaba Benyamini ng'ali wamu nabo n'agamba omuwanika w'ennyumba ye nti Twala abasajja mu nnyumba, obabaagire, oteeketeeke; kubanga abasajja banaaliira wamu nange mu ttuntu. 17 Omusajja n'akola nga Yusufu bwe yalagira; omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu. 18 Abasajja ne batya, kubanga babaleese mu nnyumba ya Yusufu; ne boogera nti Olw'effeeza eyakomezebwawo mu nsawo zaffe olubereberye kyebavudde batuleeta muno; atulabireko ensonga, atuwamatukireko, atunyage okuba abaddu, n'endogoyi zaffe. 19 Ne basemberera omuwanika w'ennyumba ya Yusufu, ne boogerera naye ku mulyango gw'ennyumba, 20 ne bagamba nti Ai mukama wange, mazima twaserengeta olubereberye okugula emmere: 21 awo olwatuuka, bwe twatuuka mu kifo ekyokusulamu, ne tusumulula ensawo zaffe, era, laba, effeeza ya buli muntu yali mu kamwa k'ensawo ye, effeeza yaffe ekigero kyayo kituufu: era tugikomezzaawo mu ngalo zaffe. 22 Era tuleese n'effeeza endala mu ngalo zaffe okugula emmere: tetumanyi bw'ali eyateeka effeeza yaffe mu nsawo zaffe. 23 N'ayogera nti Emirembe gibe gye muli, temutya: Katonda wammwe, era Katonda wa kitammwe, ye yabawa obugagga mu nsawo zammwe: nnaweebwa effeeza yammwe. N'abafulumiza Simyoni. 24 Omusajja n'atwala abasajja mu nnyumba ya Yusufu, n'abawa amazzi, ne banaaba ebigere byabwe; n'awa endogoyi zaabwe ebyokulya. 25 Ne bateekateeka ekirabo Yusufu ng'ajja kujja mu, ttutttu: kubanga bawulidde nga banaaliira eyo emmere. 26 Awo, Yusufu bwe yadda eka, ne bamuleetera mu nnyumba ekirabo ekyali mu ngalo zaabwe, ne bamuvuunamira. 27 N'ababuuza bwe baali, n'ayogera nti Kitammwe gyali omukadde gwe mwayogerako? Akyali mulamu? 28 Ne boogera nti Omuddu wo kitaffe gyali, akyali mulamu. Ne bakutama, ne bavuunama. 29 N'ayimusa amaaso ge n'alaba Benyamini muganda we, omwana wa nnyina, n'ayogera nti Oyo ye mwana wa bommwe, gwe mwaŋŋambako? N'ayogera nti Katonda akulage ekisa, mwana wange. 30 Yusufu n'ayanguwa; kubanga emmeeme ye yalumirwa muganda we: n'anoonya w'anaakaabira amaziga; n'ayingira mu kisenge kye, n'akaabira omwo. 31 N'anaaba mu maaso, n'afuluma; n'azibiikiriza n'ayogera nti Mujjule emmere. 32 Ne bamusoosootolera ye yekka, nabo bokka, n'Abamisiri, abaaliiranga awamu naye, nabo bokka: kubanga Abamisiri tebayinza kuliira mmere wamu n'Abaebbulaniya; kubanga ekyo kya muzizo eri Abamisiri. 33 Ne batuula mu maaso ge, omubereberye ng'obukulu bwe bwe bwali, n'omuto ng'obuto bwe bwe bwali: abasajja ne beewuunya bokka na bokka. 34 N'ababegerako ebitole (ku mmere) eyali mu maaso ge: naye ekitole kya Benyamini kyasinga ebyabwe byonna emirundi etaano. Ne banywa, ne basanyukira wamu naye.

Olubereberye 44

1 N'alagira omuwanika w'ennyumba ye, ng'ayogera nti jjuza ensawo ez'abasajja emmere, nga bwe bayinza okwetikka, era teeka effeeza eya buli muntu mu kamwa k'ensawo ye. 2 Era teeka ekikompe kyange, ekikompe ekya ffeeza, mu kamwa k'ensawo ey'omuto, n'effeeza ye ey'eŋŋaano. N'akola ng'ekigambo bwe kibadde Yusufu ky'ayogedde. 3 Awo bwe bwakya enkya, abasajja ne basiibulwa, bo n'endogoyi zaabwe. 4 Bwe baamala okuva mu kibuga, nga bakyali kumpimpi, Yusufu n'agamba omuwanika we nti Golokoka, ogoberere abasajja; bw'onoobatuukako, bagambe nti Kiki ekibawalanyizza ebibi olw'obulungi? 5 Kino si kye kiikyo mukama wange ky'anywesa, era n'okulagula ky'alaguza? mwakoze bubi bwe mwakoze bwe mutyo. 6 N'abatuukako, n'abagamba ebigambo ebyo. 7 Ne bamugamba nti Kiki ekyogezezza mukama wange ebigambo ebiriŋŋanga ebyo? Kitalo abaddu bo okukola ekigambo ekyenkanidde awo. 8 Laba, effeeza gye twalaba mu bumwa bw'easawo zaffe, twagizza gy'oli okuva mu nsi ya Kanani: kale twandibbye tutya effeeza oba zaabu mu nnyumba ya mukama wo? 9 Buli anaalabika ku baddu bo ng'ali nakyo, afe, era naffe; tunaaba abaddu ba mukama wange. 10 N'ayogera nti Kale nno kaakano kibe ng'ebigambo byammwe bwe biri: anaalabika ng'gli nakyo ye aaaaba omuddu wange; nammwe temuubeeko musango. 11 Awo ne banguwa, ne beetikkula buli mimtu ensawo ye, ne bazissa wansi, buli omu n'asumulula ensawo ye. 12 N'anoonya, ag'asookera ku mubereberye n'amalira ku muto: ekikompe ne kirabikira mu nsawo ya Benyamini. 13 Ne balyoka bayuza engoye zaabwe, ne bateeka ebintu buli muntu ku ndogoyi ye ne baddayo mu kibuga. 14 Yuda ne baganda be ne batuuka mu nnyumba ya Yusufu; ne bamusanga ng'akyaliyo: ne bavuunama mu maaso ge. 15 Yusufu n'abagamba nti Kikolwa ki kino kye mukoze? temumanyi nti omusajja eyenkana nange obukulu ayinza okulagulira ddala? 16 Yuda n'ayogera nti Tunaagamba tutya mukama wange? tunaayogera tutya? oba tunaawoza tutya? Katonda akebedde obutali butuukirivu bw'abaddu bo: laba, tuli baddu ba mukama wange, ffe era n'oyo alabise ng'alina ekikompe mu mukono gwe. 17 N'ayogera nti Kitalo nze okukola bwe ntyo: omusajja alabise ng'alina ekikompe mu mukoao gwe ye anaaba omuddu wange; naye mmwe, mwambuke mugende eri kitammwe n'emirembe. 18 Yuda n'alyoka amusemberera n'ayogera nti Ai mukama wange, nkwegayiridde, omuddu wo ayogere ekigambo mu matu ga mukama wange, so obusungu bwo buleme okubuubuukira omuddu wo: kubanga oliŋŋanga, Falaawo ddala. 19 Mukama wange yabuuza abaddu be ng'ayogera nti Mulina kitammwe, oba muganda wammwe? 20 Naffe ne tugamba mukama wange nti Tulina kitaffe, mukadde, n'omwana gwe yazaala ng'akaddiye, omwana omuto; ne muganda we yafa, naye asigaddewo yekka ku baana ba nnyina, era kitaawe amwagala. 21 Naawe n'ogamba abaddu bo nti Mumundeetere, mmukubeko amaaso. 22 Ne tugamba mukama wange nti Omulenzi tayinza kuleka kitaawe: kuba bw'alireka kitaawe, kitaawe alifa. 23 N'ogamba abaddu bo nti Mwana wa bommwe bw'ataliserengeta nammwe, temuliraba nate maaso gange. 24 Awo olwatuuka bwe twayambuka ne tujja eri omuddu wo kitange, ne tumubuulira ebigambo bya mukama wange. 25 Kitaffe n'ayogera nti Muddeeyo nate, mutugulire akamere. 26 Naffe ne twogera nti Tetuyinza kuserengeta: omwana wa boffe bw'anaabeera awamu naffe, tuliserengeta: kubanga tetuyinza kulaba maaso ga musajja, omwana wa boffe wabula ng'ali wamu naffe. 27 Omuddu wo kitange n'atugamba nti Mumanyi nti mukazi wange yanzaalira abaana ab'obulenzi babiri: 28 omu n'ava gye ndi, ne njogera nti Mazima yataagulwataagulwa; nange sikyamulabako: 29 era bwe munanziyako a'oyo, akabi ne kamubaako, muliserengesa envi zange mu magombe olw'okunakuwala. 30 Kale kaakano bwe ndijja eri omuddu wo kitange, n'omulenzi nga tali wamu naffe; kubanga obulamu bwe busibiddwa n'obulamu bw'omulenzi; 31 olulituuka bw'aliraba ng'omulenzi taliiwo, alifa: n'abaddu bo baliserengesa envi z'omuddu wo kitaabwe mu magombe olw'okunakuwala. 32 Kubanga omuddu wo ye yeeyimirira omulenzi eri kitange nga njogera nti Bwe sirimuleeta gy'oli, nze ndiba n'omusango eri kitange ennaku zonna. 33 Kale nno, nkwegayiridde, omuddu wo abeere wano mu kifo ky'omulenzi okuba omuddu wa mukama wange; n'omulenzi ayambukire wamu ne baganda be. 34 Kubanga ndyambuka ntya eri kitange, n'omulenzi nga tali wamu nange? nneme okulaba akabi akalituuka ku kitange.

Olubereberye 45

1 Awo Yusufu n'alemwa okuzibiikiririza mu maaso g'abo bonna abayimiridde okumpi naye; n'ayogerera waggulu nti Mufulumye buli muntu bave gye ndi. Ne wataba muntu ayimiridde naye, Yusufu bwe yali yeeyoleka eri baganda be. 2 N'akaaba n'eddoboozi ddene: Abamisiri ne bawulira, n'ennyumba ya Falaawo n'ewulira. 3 Yusufu n'agamba baganda be nti Nze Yusufu; kitange akyali mulamu? Baganda be ne batayinza kumuddamu; kubanga beeraliikirira mu maaso ge. 4 Yusufu n'agamba baganda be nti Munsemberere, mbeegayiridde. Ne basembera. N'ayogera nti Nze Yusufu muganda wammwe, gwe mwatunda e Misiri. 5 Ne kaakano temunakuwala, so temwesunguwalira, kubanga mwantunda muno: kubanga Katonda ye yankulembeza mmwe okuwonya mu kufa. 6 Enjala yaakamaze mu nsi emyaka ebiri: era ekyasigaddeyo etaano, gye batagenda kulimiramu newakubadde okukungula. 7 Era Katonda ye yankulembeza mmwe okubawonyeza abalisigala ku mmwe mu nsi, n'okubalokola muleme okufa mu kuwonya okw'ekitalo. 8 Kale nno si mmwe mwansindika muno, wabula Katonda: era yanfuula kitaawe wa Falaawo, era omwami w'ennyumba ye yonna, era omukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri: 9 Mwanguwe, mwambuke mugende eri kitange, mumugambe nti Omwana wo Yusufu bw'ayogera bw'ati nti Katonda yanfuula omwami w'e Misiri yonna : oserengete ojje gye ndi, tolwawo: 10 era onootuulanga mu nsi ey'e Goseni, naawe onoobeeranga kumpi nange, ggwe n'abaana bo, n'abaana b'abaana bo, n'endiga zo n'ente zo, ne byonna by'olina: 11 era naakuliisizanga eyo; kubanga ekyasigaddeyo emyaka etaano egy'enjala; oleme okwawwala, ggwe n'ennyumba yo ne byonna by'olina. 12 Era, laba, amaaso gammwe galaba, era n'amaaso ga muganda wange Benyamini, ng'akamwa kange ke koogera nammwe. 13 Era mulibuulira kitange ekitiibwa kyange kyonna mu Misiri bwe kiri, ne byonna bye, mulabye; era mwanguwe muserengese kitange mumuleete wano. 14 N'agwa muganda we Benyamini mu bulago n'akaaba amaziga; Benya_ mini n'akaabira mu bulago bwe. 15 N'anywegera baganda be bonna, n'akaabira ku bo: oluvannyuma baganda be ne banyumya naye. 16 N'ebigambo ebyo ne biwulirwa mu nnyumba ya Falaawo, nti Baganda ba Yusufu bazze : ne bisanyusa nnyo Falaawo n’abaddu be. 17 Falaawo n'agamba Yusufu nti Gamba baganda bo nti Mukole bwe muti; muteeke ebintu ku nsolo zammwe, mugende muserengete mu nsi ya Kanani; 18 mutwale kitammwe n'ennyumba zammwe, mujje ewange: nange ndibawa ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri, era munaalyanga obugimu obw'ensi. 19 Kaakano olagiddwa, mukole bwe muti: mutwalire abaana bammwe abato ne bakazi bammwe amagaali mu nsi y'e Misiri, muleete kitammwe mujje. 20 Era temulowooza bintu byammwe; kubanga ebirungi eby'omu nsi y'e Misiri byammwe. 21 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo: Yusufu n'abawa amagaali, nga Falaawo bwe yalagira, n'abawa n'entanda ey'omu kkubo. 22 Bonna n'abawa buli muntu ebyambalo eby'okukyusizaamu; naye n'awa Benyamini ebitundu eby'effeeza ebikumi bisavu n'ebyambalo eby'okukyusizaamu engeri ttaano. 23 Ne kitaawe n'amuweereza bw'ati; endogoyi kkumi ezeetisse ebirungi eby'omu Misiri, n'endogoyi enkazi kkumi ezeetisse eŋŋaano n'emmere n'ebyokulya kitaawe by'aliriira mu kkubo. 24 Bw'atyo n'asiibula baganda be 'ne bageada: n’abagamba nti Mwekuume muleme okuyombera mu kkubo. 25 Ne bayambuka ne bava mu Misiri, ne bajja mu nsi ya Kanani eri Yakobo kitaabwe. 26 Ne bamugamba ati Yusufu akyali mulamu, era ye mukulu afuga ensi yonna ey'e Misiri. Omutima gwe ne guzirika kubanga teyabakkiriza. 27 Ne bamugamba ebigambo byonna ebya Yusufu, bye yababuulira: kale bwe yalaba amagaali Yusufu ge yaweereza okumusitula, omwoyo gwa Yakobo kitaabwe ne guddamu amannyi: 28 Isiraeri n'ayogera nti Kinaamala; Yusufu omwaaa wange akyali mulamu: ndigenda okumulaba nga sinnafa.

Olubereberye 46

1 Isiraeri n'atambula ng'atwala byonna bye yalina, n'ajja e Beeruseba, n'awaayo saddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka. 2 Katonda n'ayogera ne Isiraeri mu kwolesebwa okw'ekiro, nti Yakobo, Yakobo. N'ayogera nti Nze nzuuno. 3 N'ayogera nti Nze Katonda, Katonda wa kitaawo: totya kuserengeta mu Misiri; kubanga ndikufuulira eyo eggwanga eddene: 4 ndiserengeta naawe mu Misiri; era sirirema kukuggyamu nate: era Yusufu aliteeka engalo ze ku maaso go. 5 Yakobo n'agolokoka n'ava mu Beeruseba: abaana ba Isiraerii ne basitulira Yakobo kitaabwe, n'abaana baabwe abato n'abakazi baabwe, mu magaali Falaawo ge yaweereza okumusitula. 6 Ne batwala ensolo zaabwe n'ebintu byabwe bye baafuna mu nsi ya Kanani, ne bajja mu Misiri, Yakobo n'ezzadde lye lyonna awamu naye: 7 batabani be n'abaana ba batabani be wamu naye, bawala be n'abawala ba batabani be, n'ezzadde lye lyonna be yatwala naye bwe yageada mu Misiri. 8 N'amaanya g'abaana ba Isiraeri, abajja mu Misiri, Yakobo ne batabani be, ge gano: Lewubeeni, omubereberye wa Yakobo. 9 Ne batabani ba Lewubeeni: Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni; ne Kalumi. 10 N'abaana ba Simyoni abasajja; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani. 11 Ne batabani ba Leevi; Gerusoni, Kokasi, ne Merali. 12 Ne batabani ba Yuda; Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi, ne Zeera: naye Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani. Ne batabani ba Pereezi baali Kezulooni ne Kamuli. 13 Ne batabani ba Isakaali; Tola, ne Puva, ne Yobu, ne Simulooni. 14 Ne batabani ba Zebbulooni; Seredi, ne Eroni, ne Yaleeri. 15 Abo be batabani ba Leeya, be yazaalira Yakobo mu Padanalaamu, awamu n'omuwala we Dina: abaana be bonna abasajja n'abakazi baali obulamu asatu mu busatu. 16 Ne batabani ba Gaadi: Zifiyooni, ne Kagi, Suni, ne Ezeboni, Eri, ne Alodi, ne Aleri 17 Ne batabani ba Aseri; Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya, ne Seera mwannyinaabwe: ne batabani ba Beriya; Keberi, ne Malukiyeeri. 18 Abo be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya omwana we, era abo be yazaalira Yakobo, bwe bulamu ekkumi n'omukaaga. 19 Batabani ba Laakeeri mukazi wa Yakobo; Yusufu ne Benyamini. 20 Era Yusufu n'azaalirwa mu nsi y'e Misiri Manase ne Efulayimu, Asenaasi omwana wa Potiferi kabona ow'e Oni be yamuzaalira. 21 Ne batabani ba Benyamini; Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, Eki, ne Losi, Mupimu, ne Kupimu, ne Aludi. 22 Abo be batabani ba Laakeeri, abaazaalirwa Yakobo: obulamu bwonna bwali kkumi na buna. 23 Ne batabani ba Ddaani; Kusimu. 24 Ne batabani ba Nafutaali; Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu. 25 Abo be batabani ba Bira, Labbaani gwe yawa Laakeeri omwana we, era abo be yazaalira Yakobo: obulamu bwonna bwali musanvu. 26 Obulamu bwonna obwayingira mu Misiri awamu ne Yakobo, obwava mu ntumbwe ze, obutassaako bakazi b'abaana ba Yakobo, obulamu bwonna bwali nkaaga mu mukaaga; 27 ne batabani ba Yusufu, abaamuzaalirwa mu Misiri, baali bulamu bubiri: obulamu bwonna obw'ennyumba ya Yakobo, obwayingira mu Misiri, bwali nsanvu. 28 N'atuma Yuda okumukulembera eri Yusufu, okulaga ekkubo mu maaso ge erigenda mu Goseni; ne batuuka mu nsi y'e Goseni. 29 Yusufu n'ateekateeka eggaalilye, n'ayambuka okusisinkana Isiraeri kitaawe, mu Goseni; ne yeeraga gy'ali, n'amugwa mu bulago, n'akaaba amaziga mu bulago bwe ekiseera ekinene. 30 Isiraeri n’agamba Yusufu nti Kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go, ng'okyali mulamu. 31 Yusufu n'agamba baganda be n'ennyumba ya kitaawe nti N'ayambuka ne mbuulira Falaawo ne mmugamba nti Baganda bange n'ennyumba ya kitange, abaali mu nsi Kanani, bazze ewange: 32 era abasajja be basumba, kubanga baalundanga nte; era baleese endiga zaabwe n'ente zaabwe ne byonna bye balina. 33 Awo olulituuka Falaawo bw'alibayita bw'alyoger nti Emirimu gyammwe ki? 34 Mwogeranga nti Abaddu bo baalundanga nte okuva mu buto bwaffe okutuusa leero, ffe era ne bajjajja baffe: mulyoke mutuule mu nsi y'e Goseni: kubanga buli musumba kya muzizo eri Abamisiri.

Olubereberye 47

1 Yusufu n'alyoka ayingira n'abuulira Falaawo n'ayogera nti Kitange ne baganda baage, endiga zaabwe, n'ente zaabwe ne byonna bye balina, batuuse bavudde mu nsi ya Kanani; era, laba, bali mu nsi y'e Goseni. 2 N'alonda ku bagaada be abasajja bataano, n'abaleetera Falaawo. 3 Falaawo n'agamba baganda be nti Emirimu gyammwe ki? Ne bagamba Falaawo nti Abaddu bo basumba, ffe era ne bajjajja baffe. 4 Ne bagamba Falaawo ati Tuzze okuruula mu nsi; kubanga tewali muddo gwa bisibo bya baddu bo; kubanga enjala nayingi mu nsi ya Kanani: kale tmo kaakano, tukwegayiridde, abaddu bo batuule mu asi y'e Goseni 5 Falaawo n'agamba Yusufu nti Kitaawo ne baganda bo bazze ewuwo: 6 ensi y'e Misiri eri mu maaso go; awasinga obulungi mu nsi ruuza awo kitaawo ne baganda bo; batuule mu nsi y'e Goseni: era oba nga omanyi ku bo ab'amagezi, kale bafuule abakulu b'ente zange. 7 Yusufu n'ayingiza Yakobo kitaawe, n'amuteeka mu maaso ga Falaawo: Yakobo n'asabira Falaawo omukisa. 8 Falaawo n'agamba Yakobo nti Ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwo ziri mmeka? 9 Yakobo n'agamba Falaawo nti Ennaku ez'emyaka egy'okutambula kwange ziri myaka kikumi mu asatu: ennaku ez'emyaka egy'obulamu bwange ziri ntono era mbi, so teziwera nnaku za myaka gya bulamu bwa bajjajja bange mu nnaku ez'okutambula kwabwe. 10 Yakobo n'asabira Falaawo omukisa, n'ava mu maaso ga Falaawo. 11 Yusufu n'atuuza kitaawe ne, baganda be, n'abawa obutaka mu nsi y'e Misiri, awasinga obulungi mu nsi, mu nsi ya Lamesesi, nga Falaawo bwe yalagira. 12 Yusufu n'aliisa kiiaawe ne baganda be n'ekika kyonna ekya kitaawe n'emmere, ng'ennyumba zaabwe bwe zaali. 13 Ne wataba mmere mu nsi yonna: kubanga enjala yali nnyingi nnyo, ensi y'e Misiri n'ensi ya Kanani n'okuzirika ne zizirika olw'enjala. 14 Yusufu n'akuŋŋaaaya effeeza yonna eyalabikira mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, ag'abaguza eŋŋaano: Yusufu n'aleeta effeeza mu anyumba ya Falaawo. 15 Effeeza yonna bwe yaggwa mu nsi y'e Misiri ne mu nsi ya Kanani, Abamisiri bonna ne bajjira Yusufu ne boogera nti Tuwe emmere: kubanga kyetunaava tufiira mu maaso go kiki? kubanga effeeza etubuze. 16 Yusufu n'ayogera nti Muweeyo ensolo zammwe; nange n'abaweeranga ensolo zammwe, effeeza bw'eribabula. 17 Ne baleetera Yusufu ensolo zaabwe Yusufu n'abawaanyisa emmere n'embalaasi n'eadiga n'ente n'endogoyi: n'abaliisiza emmere omwaka ogwo ng'abawaanyisiza ensolo zaabwe zonna. 18 Omwaka ogwo bwe gwaggwaako, ne bamujjira mu mwaka ogw'okubiri, ne bamugamba ati Tetuukise mukama wange ng'effeeza yaffe yoana yaggwaawo; n'ebisibo by'ensolo bya mukama wange: tewali ekisigaddewo mu maasa ga mukama wange, wabula emibiri gyaffe n'ebyalo byaffe: 19 kyetunaava tufiira mu maaso go kiki, ffe n'ensi yaffe era? tugule ffe n'ensi yaffe n'emmere, naffe n'ensi yaffe tuliba baddu ba Falaawo: tuwe ensigo, tube abalamu tuleme okufa, ensi ereme okuzika. 20 Awo Yusufu n'agulira Falaawo ensi yonua ey'e Misiri; kubanga Abamisiri baatunda buli muatu ennimiro ye, kubanga enjala yabayingirira: ensi n'efuuka ya Falaawo. 21 N'abantu n’abajjulula n'abassa mu bibuga okuva ku nsalo y'e Misiri weekoma okutuusa ku nkomerero yaayo endala. 22 Ensi ya bakabona yokka gy’ataagula: kubanga bakabona baali balina omugabo gwabwe gwe baaweebwanga Falaawo, ne balyanga omugabo gwabwe Falaawo gwe yabawanga; kyebaava balema okutunda ensi yaabwe. 23 Yusufu n'alyoka agamba abantu nti Laba, ngulidde leero Falaawo mmwe n'ensi yammwe: laba, easigo zammwe ziizino, munaasiga ensi. 24 Era olulituuka bwe munaakungulanga, munaawanga Falaawo ekitundu eky'okutaano, n'ebitundu ebina bye binaabanga ebyammwe, okuba eby'okusiga eanimiro n'okuba emmere yammwe era n'ab'omu nnyumba zammwe n'okuba emmere ey'abaana bammwe abato. 25 Ne boogera nti Otuwonyezza mu kufa: tulabe ekisa mu maaso ga mukama wange, era tuliba baddu ba Falaawo. 26 Yusufu n'ateeka etteeka eryo ery'ensi y'e Misiri ne leero, Falaawo okuweebwanga ekitundu eky'okutaano; naye ensi ya bakabona yokka ye etaafuuka ya Falaawo. 27 Isiraeri n'atuula mu asi y'e Misiri, mu nsi y'e Goseni; ne bafunira omwo ebintu, ne baala, ne beeyongera nnyo. 28 Yakobo n'amala emyaka. kkumi na musanvu mu asi y'e Misiri: bwe zityo ennaku za Yakobo, emyaka egy'obulamu bwe, zaali myaka kikumi mu ana mu musanvu. 29 Ebiro ne bitera okutuuka Isiraeri by'agenda okufiiramu: n'ayita omwana we Yusufu, n'amugamba nti Obanga kaakano ndabye ekisa mu maaso go, nkwegayiridde, teeka omukono gwo wansi w'ekisambi kyange, onkolere eby'ekisa n'eby'amazima; tonziikanga, nkwegayiridde, mu Misiri: 30 naye bwe ndyebakira awamu ne bajjajja bange, onsitule onziye mu Misiri, onziike mu kifo kyabwe eky'okuziikangamu. N'ayogera nti Ndikola nga bw'oyogedde. 31 N'ayogera nti Ndayirira: n'amulayirira. Isiraeri n'avuunama emitwetwe.

Olubereberye 48

1 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo ne bagamba Yusufu nti Laba, kitaawo alwadde: n'atwala naye abaana be abasajja bombi, Manase ne Efulayimu. 2 Ne bagamba Yakobo nti Laba, omwana wo Yusufu ajja gy'oli: Isiraeri ne yeekakaabiriza, n'atuula ku kitanda. 3 Yakobo n'agamba Yusufu nti Katonda Omuyinza w'ebintu byonna yandabikira e Luzi munsi ya Kanani, n'ampa omukisa, 4 n'aŋŋamba nti Laba, ndikwaza, ndikwongera, ndikufuula ekibiina ky'amawanga; era ndiwa ezzadde lyo eririddawo ensi eno okuba obutaka obw'emirembe n'emirembe. 5 Ne kaakano abaana bo abasajja bombi, abaakuzaalirwa mu nsi y'e Misiri nga sinnakujjira mu Misiri, bange; Efulayimu ne Manase banaabanga bange, nga Lewubeeni se Simyoni. 6 N'ezzadde lyo, ly'onoozaalanga oluvannyuma lw'abo, linaabanga liryo: banaatuumibwanga erinnya lya baganda baabwe mu busika bwabwe. 7 Nange, bwe nnava mu Padani, Laakeeri n'anfaako mu nsi ya Kanani mu kkubo, nga wakyaliyo ebbanga ddeneko okutuuka ku Efulasi: ne mmuziika evo mu kkubo erigenda e Efulasi (ye Besirekemu). 8 Isiraeri n'alaba abaana ba Yusufu, n'ayogera nti Bano be baani? 9 Yusufu n'agamba kitaawe nti Be baana bange Katonda be yampeera wano. N'ayogera nti Baleete, nkwegayiridde, nange naabasabira omukisa. 10 Era amaaso ga Isiraeri gaali gazibye olw'obukadde, n'okuyinza teyayinza kulaba. N'abamusembereza; n'abanywegera n'abawambaatira. 11 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Nali sirowooza kulaba maaso go: era, laba, Katonda andabisizza n'ezzadde lyo. 12 Yusufu n'abaggya mu maviivi ge wakati; n'avuunama amaaso ge. 13 Yusufu n'abakwata bombi, Efulayimu n'omukono gwe ogwa ddyo awali omukono ogwa kkono ogwa Isiareri, ne Manase n'omukono gwe ogwa kkono awali omukono ogwa ddyo ogwa Isiraeri, n'abasembeza gy'ali. 14 Isiraeri n'agolola omukono gwe ogwa ddyo, n'agussa ku mutwe gwa Efulayimu, ye muto, a'omukono gwe ogwa kkono ku mutwe gwa Manase, ng'atereeza emikono gye ng'amanyi; kubanga Manase ye yali omubereberye. 15 Nasabira Yusufu omukisa n'ayogera nti Katonda wa bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka gwe baatambuliranga mu maaso ge, Katonda eyandiisanga ennaku zange zonna okutuusa leero, 16 malayika eyannunula mu bubi bwonna, awe omukisa abalenzi; n'erinnya lyange lituumibwenga ku bo, n'erinnya lya bajjajja bange Ibulayimu ne Isaaka; era bafuuke ekibiina ekinene wakati mu nsi. 17 Yusufu bwe yalaba nga kitaawe assizza omukono gwe ogwa ddyo ku mutwe gwa Efulayimu, n'anyiiga: n'asitula omukono gwa kitaawe okuguggya ku mutwe gwa Efulayimu okugussa ku mutwe gwa Manase. 18 Yusufu n'agamba kitaawe nti Nedda, kitange: kubanga oyo ye mubereberye; ssa omukono;gwo ogwa ddyo ku mutwe gwe. 19 Kitaawe n'agaana n'ayogera nti Mmanyi, mwana wange, mmanyi: era naye alifuuka ggwariga, era naye aliba mukulu: naye omwana waabo ye alimusinga obukulu, n'ezzadde lye liriba mawanga mangi. 20 N'abasabira omukisa ku lunaku olwo, ng'ayogera nti Mu ggwe Isiraeri anaasabanga omukisa, ng'ayogera nti Katonda akufuule nga Efulayimu ne Manase: Efulayimu n'amusoosa Manase. 21 Isiraeri n'agamba Yusufu nti Laba, nfa: naye Katonda anaabanga wamu nammwe, alibazza nate mu nsi ya bajjajja bammwe. 22 Era nkuwadde ggwe omugabo gumu okusinga baganda bo, gwe nnaggya mu mukono gw'omu Amoli n'ekitala kyange n'omutego gwange.

Olubereberye 49

1 Yakobo n'ayita abaana be abasajja, n'ayogera nti Mukutltlaane ndyoke mbabuulire ebiribabaako mu nnaku ez'enkomerero. 2 Mukungaane, muwulire, mmwe abaana ba Yakobo; Muwulire Isiraeri kitammwe. 3 Lewubeeni, ggwe oli mubereberye wange, buyinza bwange, era amaanyi gange mwe gasookera; Ekitiibwa ekisinga, n'obuyinza obusinga. 4 Omulebevu ng'amazzi tolisinga; Kubanga walinnya ku kitanda kya kitaawo: N'okigwagwawaza: yalinnya ku kiriri kyange. 5 Simyoni ne Leevi baauganda; Ebitala byabwe bya kulwanyisa bya maanyi. 6 Ggwe emmeeme yange, tojjanga mu lukiiko lwabwe; Ggwe ekitiib,wa. kyange, teweegattanga n'ekibiina kyabwe; Kubanga olw'obusuagu bwabwe batta omusajja, N'olw'eddalu lyabwe baatema ente olunywa. 7 Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi; N'obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima: Ndibaawula mu Yakobo, Ndibasaasaanya mu Isiraeri. 8 Yuda, ggwe baganda bo banaakutenderezanga: Omukono gwo gunaabanga ku bulago bw'abalabe bo; Abaana ba kitaawo banaakutamaaga mu maaso go. 9 Yuda ye mwana w'empologoma; Olinnye mwana wange, ng'ovudde ku muyiggo: Yakutama, yabwama ng'empologoma, Era ng'empologoma enkazi; ani anaamubuusa? 10 Effumu lya kabaka teriivenga ku Yuda, Newakubadde omuggo gw'oyo afuga teguuvenga wakati mu bigere bye, Okutuusa Siiro lw'alijja; N'oyo abantu gwe banaawuliranga. 11 Ng'asiba omwana w'ensolo ye ku muzabbibu, N'omwana w'endogoyi ye ku muzabbibu ogusinga obulungi; Yayoza ebyambalo bye n'omwenge, N'engoye ze n'omusaayi gw'ezzabbibu: 12 Amaaso ge ganaamyukanga n'omwenge, N'amannyo ge ganaatukulanga n'amata. 13 Zebbulooni anaatuulanga ku ttale ly'ennyanja: Anaabanga omwalo ogw'amaato; N'ensalo ye eneebanga ku Sidoni. 14 Isakaali ye ndogoyi erina amaanyi, Egalamira awali ebisibo by'endiga: 15 N'alaba okuwummula nga kulungi, N'ensi nga ya kwesiima; N'akutamya ekibegabega kye okusitula, N'afuuka omuddu alagirwa emirimu. 16 Ddaani anaasaliranga abantu be emisango, Ye nga kye kika mu bika bya Isiraeri. 17 Ddaani anaabanga omusota mu luguudo, Embalasaasa mu kkubo, Eruma embalaasi ebiauulo, N'okugalanjuka ey'ebagadde n'agalanjuka. 18 Nindiridde obulokozi bwo, ai Mukama. 19 Gaadi, ekibiina kirimunyigiriza: Naye alinyigiriza ekisinziiro kyabwe. 20 Mu Aseri emmere ye eneebanga I ngimu, Anaaleetanga enva ennungi eza kabaka. 21 Nafutaali ye mpeewo. esumuluddwa: Ayogera ebigambo ebirungi. 22 Yusufu lye ttabi eribala ennyo. Ettabi eribala ennyo awali oluzzi; Abaana be babuna bbugwe. 23 Abalasa obusaale baamunakuwaza nnyo, Baamulasa, baamuyigganya: 24 Naye omutego gwe ne gunywera n'amaanyi, N'emikono gy'engalo ze ne giweebwa amaanyi, Eri emikono gy'Omuyinza wa Yakobo, (Omuva omusumba, ejjinja lya Isiraeri,) 25 Ye Katonda wa kitaawo, anaakubeeranga, Ye Muyinza w'ebintu byonna, anaakuwanga omukisa, Omukisa oguva mu ggulu waggulu, N'omukisa oguva mu nnyanja egalamira wansi, N'omukisa oguva mu mabeere, n'oguva mu lubuto. 26 Omukisa gwa kitaawo Gusingidde ddala omukisa gwa bajjajja bange Okutuusa ku nsalo ey'enkomerero: ey'ensozi ezitaliggwaawo: Gunaabanga ku mutwe gwa Yusufu. 27 Benyamini gwe musege ogunyaga: Enkya anaalyanga omuyiggo, Era akawungeezi anaagabanga omunyago. 28 Ebyo byonna bye bika bya Isiraeri ekkumi n'ebibiri: n'ebyo kitaabwe bye yababuulira n'abasabira omukisa; buli muntu ng'omukisa gwe bwe gwali bwe yabasabira bw'atyo omukisa. 29 N'abakuutira, n’abagamba nti ŋŋenda okutwalibwa awali abantu bange: munziikanga wamu ne bajjajja bange mu mpuku eri mu nnimiro ya Efulooni Omukiiti, 30 mu mpuku eri mu nnimiro ya Makupeera, eri mu maaso ga Mamule, mu nsi ya Kanani, Efulooni Omukiiti gye yaguza Ibulayimu awamu n'ennimiro okuba obutaka obw'okuziikangamu: 31 eyo gye baaziika Ibulayimu ne Saala mukazi we; eyo gye baaziika Isaaka ne Lebbeeka mukazi we; era eyo gye nnaziika Leeya: 32 ennimiro n'empuku egirimu, abaana ba Keesi gye baabaguza. 33 Awo Yakobo bwe yamala okukuutira abaana be, n'afunya amagulu ge ku kitanda, n'ata obulamu, n'atwalibwa eri abantu be.

Olubereberye 50

1 Yusufu n'agwa ku maaso ga kitaawe, n'amukaabirako, n'amunywegera: 2 Yusufu n'alagira abaddu be abasawo okukalirira kitaawe: abasawo ne bakalirira Isiraeri. 3 Ne bamala ennaku ana nga bamukalirira; kubanga bwe zityo ennaku ez'okukaliriramu bwe zenkana okuzimala: Abamisiri ne bamala ennaku nsanvu nga bakumye olumbe ku bubwe. 4 Awo ennaku ez'okumukaabira bwe zaggwa, Yusufu n'agamba ennyumba ya Falaawo nti Oba nga kaakano ndabye ekisa mu maaso gammwe, mbeegayiridde, mwogerere mu matu ga Falaawo nti 5 Kitange yandayiza ng'ayogera nti Laba, nfa: mu ntaana gye nneesimira mu nsi ya Kanani mw'olinziika. Kale kaakano nkwegayiridde, nnyambuke, nziike kitange, era ndikomawo. 6 Falaawo n'ayogera nti Yambuka oziike kitaawo nga bwe yakulayiza. 7 Yusufu n'ayambuka okuziika kitaawe: ne wagenda naye abaddu bonna aba Falaawo, abakadde ab'ennyumba ye n'abakadde bonna ab'ensi y'e Misiri, 8 n'ennyumba yonna eya Yusufu, ne baganda be n'ennyumba ya kitaawe: abaana baabwe abato, n'endiga zaabwe n'ente zaabwe ebyo byokka bye baaleka mu nsi y'e Goseni. 9 Ne wayambuka naye amagaali era n'abeebagadde ku mbalaasi: ne kiba ekibiina ekinene ennyo. 10 Ne batuuka ku gguliro lya Atadi, eriri emitala wa Yoludaani, ne bakubira eyo ebiwoobe bingi binene nayo: n'amala eanaku musanvu, ng'akaabira kitaawe. 11 N'abo abaatuulanga mu nsi, Abakanani, bwe baalaba nga bakaabira mu gguliro lya Atadi, ne boogera nti Okukaaba kuno kungi eri Abamisiri: kyeryava lituumibwa erinnya Aberumiziraimu, ekiri emitala wa Yoludaani. 12 Abaana be ne bamukolera nga bwe yabalagira: 13 bwe kityo abaana be ne bamusitula ne bamutwala mu asi ya Kanani, ae bamuziika mu mpuku ey'omu tmimiro ya Makupeera, Ibulayimu gye yagula awamu n'ennimiro, okuba obutaka okuziikangamu, eri Efulooni Omukiiti, eri mu maaso ga Mamule. 14 Yusufu n'addayo mu Misiri ye ne baganda be ne bonna abaagenda naye okuziika kitaawe, bwe yamala okuziika kitaawe. 15 Baganda ba Yusufu bwe baalaba nga kitaabwe yafa, ne boogera nti Mpozzi Yusufu agenda okutukyawa, n'okutuwalanirako ddala obubi bwonna bwe twamukola. 16 Ne batumira Yusufu nga boogera nti Kitaatvo yalagira bwe yali nga tannafa ng'ayogera nti 17 Bwe mutyo bwe muligamba Yusufu nti Nkwegayiridde kaakano, sonyiwa okwonoona kwa baganda bo n'ekibi kyabwe, kubanga baakukola bubi: ne kaakano, tukwegayiridde, sonyiwa okwonoona kw'abaddu ba Katonda wa kitaawo. Yusufu n'akaaba amaziga bwe baayogera naye. 18 Ne baganda be n'okugenda ne bagenda ne bavuunama mu maaso ge; ne boogera nti Laba, tuli baddu bo. 19 Yusufu n'abagamba nti Temutya: nze ndi mu kifo kya Katonda? 20 Nammwe, mwali mwagala okundeetako ebibi; naye Katonda yali ayagala okundeetako 'ebirungi, nga era bwe kibadde, okuwonya abantu abangi baleme okufa. 21 Kale kaakano temutya: nnaabaliisanga mmwe n'abaana bammwe abato. Naaabasanyusa, nnaabagamba eby'ekisa. 22 Yusufu n'atuulanga mu Misiri ye n'ennyumba ya kitaawe: Yusufu n'awangaala emyaka kikumi mu kkumi. 23 Yusufu n’alaba abaana ba Efulayimu bannakabirye: era n'abaana ba Makiri omwana wa Manase baazaalirwa ku maviivi ga Yusufu. 24 Yusufu n'agamba baganda be nti Nfa: naye Katonda telirema kubajjira n'okubaggya mu nsi eno okubatwala mu nsi gye yalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo. 25 Yusufu n'alayiza abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira, nammwe mulitwala amagumba gange nga mugaggya muno. 26 Bw'atyo Yusufu n'afa, nga yaakamaze emyaka kikumi mu kkumi: ae bamukalirira; ne bamuteeka mu ssanduuko ey'okuziikamu mu Misiri.

Okuva

Okuva 1

1 Gano ge mannya g'abaana ba Isiraeri abaatuuka mu Misiri; buli muntu n'ennyumba ye n'ajja awamu ne Yakobo. 2 Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda; 3 Isakaali, Zebbulooni, ne Benyamini; 4 Ddaani ne Nafutaali, Gaadi ne Aseri. 5 Abantu bonna abaava mu ntumbwe za Yakobo ne baba emyoyo nsanvu: naye Yusufu yali ng'amaze okubeera mu Misiri. 6 Yusufu n'afa, ne baganda be bonna, n'emirembe giri gyonna. 7 Abaana ba Isiraeri ne bazaala, ne beeyongera nnyo, ne baba bangi, ne baba ba maanyi nnyo; ensi n'ejjula abo. 8 Awo ne walya kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9 N'abagamba abantu be nti Laba, abantu b'abaana ba Isiraeri bangi ba maanyi okusinga ffe: 10 kale tubasalire amagezi; baleme okuba abangi, olutalo bwe lulijja baleme okwegatta n'abalabe baffe, okulwana aaffe, okugolokoka okuva mu nsi. 11 Kyebaava babateekako abakoza okubabonyaabonya n'emigugu. Ne bamuzimbiia Falaawo ebibuga eby'amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye nga bwe beeyongera okubabonyaabonya, bwe batyo bo bwe beeyongera obungi n'okubuna. Ne banakuwala olw'abaana ba Isiraeri. 13 Abamisiri ne babakoza emirimu abaana ba Isiraeri n'amaanyi: 14 ne bakaayisa obulamu bwabwe mu buddu obuzibu, okutegana n'ebbumba n'amatoffaali, era n'obuddu bwonna obw'omu nsuku, obuddu bwonna bwe baabakoza n'amaanyi. 15 Kabaka w’e Misiri n'abagamba abazaalisa Abaebbulaniya, erinnya ly'omu Sifira, erinnya ly'ow'okubiri Puwa: 16 n'ayogera nti Bwe mubakolanga abakazi Abaebbulaniya emirimu egy'obuzaalisa, bwe mubalabanga nga bali ku ntebe; omwana bw'abanga ow'obulenzi, mumuttanga; naye bw'abanga ow'obuwala, abeeranga mulamu. 17 Naye aba zaalisa ne bamutya Katonda, so kebaakola nga bwe baalagirwa kabaka We Misiri, naye baabakuuma Iabaaaa ab'obulenzi nga balamu. 18 Kabaka w'e Misiri n'abayita abazaalisa, n'abagamba nti Kiki ekibakoza ekigambo ekyo, ne mubakuuma abaana ab'obulenzi nga balamu? 19 Abazaalisa ne bamugamba Falaawo nti Kubanga abakazi Abaebbulaniya tebali ng'abakazi Abamisiri; kubanga balamu, abazaalisa we bagenda okubatuukirako nga bamaze okuzaala. 20 Katonda n'akola bulungi abazaalisa: abantu ne baba bangi, ne baba ba maaayi nnyo. 21 Awo kubanga abazaalisa baatya Katonda, n'abawa abaana. 22 Falaawo n'alagira abantu be bonna n'ayogera nti Buli mulenzi alizaalibwa mumusuulanga mu mugga, buli muwala mumulekanga.

Okuva 2

1 Omuntu ow'omu nnyumba a Levi n’agenda n'awasa muwala wa Levi. 2 Omukazi n'aba olubuto n’azaala omawana wa bulenzi: naye bwe yamulaba nga mulungi, n'amukwekera emyezi esatu. 3 Awo bw'ataayinza kwongera kumukweka, n'amukolera ekibaya eky’ebitoogo, n'akisiiga ebitosi n’envumbo; omwana n'amuteeka munda; n'akiteeka mu kitoogo ku lubalama lw'omugga. 4 Mwannyinna n’ayimirira wala amanye ekinaamubeerako. 5 Muwala wa Falaawo n’aserengeta okunaaba ku mugga; abazaana be ne batambula ku lubalama lw’omugga; n'alaba ekibaya mu kitoogo, n'atuma omuzaana we okukireeta. 6 n'akisumulula, n'alaba omwana: laba, omwana n'akaaba. n'amusaasira, n'ayogera nti Ono ye munne w'abaana ba Baebbulaniya. 7 Awo mwanyina n'amugamba omuwala wa Falaawo nti ŋŋende nkuyitire omulezi mu bakazi Abaebbulaniya akuyonseze omwana? 8 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Kale. Omuwala n'agenda n'amuyita nnyina w'omwana. 9 Muwala wa Falaawo n'amugamba nti Twala omwana ono omunnyonseze, nange ndikuwa empeera yo. Omukazi n'atwala omwana, n'amuyonsa. 10 Omwana n'akula, n'amuleetera muwala wa Falaawo, n'afuuka omwana we. N'amutuuma erinnya lye Musa, n'ayogera nti Kubanga namuggya mu mazzi. 11 Awo olwatuuka mu nnaku ziri, ng'amaze okukula Musa, n'abajjira baganda be n'alaba emigugu gyabwe: n'alaba omuntu Omumisiri ng'akuba omuntu Omwebbulaniya, ow'omu baganda be. 12 N'amagamaga eruuyi n'eruuyi n'alaba nga tewali muntu, n'alyoka amukuba Omumisiri, n'amukweka mu musenyu. 13 Awo ku lunaku olw'okubiri n'avaayo, laba, abasajja babiri ab'omu Baebbulaniya ne balwana: n'amugamba oli eyakola obubi nti Kiki ekikubizza munno. 14 N'ayogera nti Ani eyakuwa obukulu n'okutulamula ffe? Oyagala kunzita nze nga bwe watta Omumisiri? Musa n'atya n'ayogera nti Mazima ekigambo kino kimanyise. 15 Awo Falaawo bwe yawulira ekigambo ekyo, n'ayagala okumutta Musa. Naye Musa n'adduka mu maaso ga Falaawo, n'atuula mu nsi ya Midiyaani: n'atuula wansi okumpi n'oluzzi. 16 Ne kabona ow'e Midiyaani yalina abawala musanvu: ne bajja ne basena ammazi, ne bajjuza ebyesero ne bazinywesa endiga za kitaabwe. 17 Abasumba ne bajja ne babagoba: naye Musa n'agolokoka n'abayamba, n'anywesa ekisibo kyabwe. 18 Bwe bajja eri Leweri kitaabwe, n'ayogera nti Nga muzze mangu leero? 19 Ne boogera nti Omuntu Omumisiri yatuwonyezza mu mikono gy'abasumba, nate n'atusenera amazzi, n'anywesa ekisibo. 20 N'abagamba bawala be nti Ali luuyi wa? Kiki ekibalesezza omuntu oyo? Mumuyite alye emmere. 21 Musa n'akkiriza okutuula n'omuntu oyo: n'amuwa Musa muwala we Zipola. 22 N'azaala omwana ow'obulenzi, n'amutuuma erinnya lye Gerusomu: kubanga yagamba nti Nali mugenyi mu nsi etali yange. 23 Awo ennaku ziri bwe zaayitawo, ennyingi, kabaka w'e Misiri n'afa: abaana ba Isiraeri ne basinda ku lw'obuddu bwabwe, ne bakaaba, n'okukaaba kwabwe ne kulinnya eri Katonda ku lw'obuddu bwabwe. 24 Katonda n'awulira okusinda kwabwe, Katonda n'ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo. 25 Katonda n'alaba abaana ba Isiraeri, Katonda n'abalowooza.

Okuva 3

1 Awo Musa yali ng'alunda ekisibo kya Yesero mukoddomi we, kabona w’e Midiyaani: n'atwala ekisibo ennyuma w'eddungu n'atuuka ku lusozi lwa Katonda Kolebu. 2 Malayika wa Mukama n'amulabikira mu lulimi lw'omuliro okuva wakati w'ekisaka: n'atunuulira, laba, ekisaka ekyo ne kyaka omuliro ekisaka ne kitasiriira. 3 Musa n'ayogera nti Ka nneekooloobye kaaka'ti, ndabe ekigambo kino ekikulu, ekisaka kyekivudde kirema okusiriira. 4 Mukama bwe yalaba nga yeekooloobezza okulaba, Katonda n'amuyita ng'ayima wakati w'ekisaka n'ayogera nti Musa, Musa. N'ayitaba nti Nze nzuuno. 5 N'ayogera nti Tosembera wano: ggyamu engatto zo mu bigere byo, kubanga ekifo ky'oyimiriddemu ye ensi entukuvu. 6 N'ayogera nate nti Nze ndi Katonda wa kitaawo, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo. Musa n'akweka amaaso ge: kubanga yatya okumutunuulira Katonda. 7 Mukama n'ayogera nti Ndabidde ddala okubonaabona okw'abantu bange abali mu Misiri, ne mpulira okukaaba kwabwe ku Iw'abo ababakoza; kubanga mmanyi ennaku zaabwe; 8 era nzise okubawonya mu mukono ogw'Abamisiri, okubalinnyisa okuva mu nsi eri bayingire mu nsi ennungi engazi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki; mu kifo eky'omu Kanani, n'eky'omu Kiiti, n'eky'omu Amoli, n'eky'omu Perizi, n'eky'omu Kiivi, n'eky'omu Yebusi. 9 Kale laba, okukaaba okw'abaana ba Isiraeri kutuuse gye ndi: nate ndabye okubonaabona kwe baababonyaabonya Abamisiri. 10 Kale nno jjangu, naakutuma eri Falaawo. obaggyeyo abantu bange abaana ba Isiraeri mu Misiri. 11 Musa n'agamba Katonda nti Nze ani agenda eri Falaawo mbaggyeyo abaana ba Isiraeri mu Misiri? 12 N'ayogera nti Mazima ndibeera wamu naawe; era kano kalikubeerera akabonero, nga nze nkurumye: bw'olimala okuggya abantu abo mu Misiri, muliweerereza Katonda ku lusozi luno. 13 Musa n'agamba Katonda nti Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe yantumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? ndibagamba ntya? 14 Katonda n'agamba Musa nti NINGA BWE NDI: n'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti NDI ye antumye eri mmwe. 15 Katonda n'agamba nate Musa nti Bw'otyo bw'olibagamba abaana ba Isiraeri nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo ye antumye eri mmwe: eryo lye linnya lyange ebiro ebitaggwaawo, n'ekyo kye kijjukizo kyange emirembe gyonna. 16 Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isiraeri awamu, obagambe nti Mukama Katonda wa bajjajja bammwe, Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikidde ng'ayogera nti Mbajjiridde ddala, ndabye bye mukolebwa mu Misiri: 17 ne njogera nti Ndibalinnyisa okubaggya mu kibonoobono eky'e Misiri okuyingira mu nsi ey'Omukanani, n'Omukiiti n'Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi, mu nsi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki. 18 Balikuwulira eddoboozi lyo: olijja, ggwe n'abakadde ba Isiraeri, eri kabaka w'e Misiri, mulimugamba nti Mukama, Katonda wa Baebbulaniya, yatujjira: kale nno, otulagire, tukwegayiridde, tugende olugendo olw'ennaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe. 19 Era mmanyi nti kabaka w'e Misiri talibalagira kugenda, weewaawoeran'omukono ogw'amaanyi. 20 Nange ndigolola omukono gwange, ne nkuba Misiri n'amagero gange gonna ge ndikola wakati waayo: oluvannyuma lwago balagira. 21 Era ndibawa abantu abo okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri: awo lwe mulivaayo, temulivaayo bwereere: 22 naye buli mukazi alisaba muliraanwa we n'oli abeera mu nnyumba ye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'engoye: mulibiteeka ku batabani bammwe n'abawala bammwe; mulinyaga Abamisiri.

Okuva 4

1 Musa n'addamu n'ayogera nti Naye, laba, tebalinzikiriza so tebaliwulira ddoboozi lyange: kubanga balyogera nti Mukama teyakulabikira. 2 Mukama n'amugamba ati Kiki ekiri mu mukono gwo? N'ayogera ati Muggo. 3 N'ayogera nti Gusuule wansi. N'agusuula wansi, ne gufuuka omusota: Musa n'adduka mu maaso gaagwo. 4 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo, ogukwate akawuuwo: (n'agolola omukono gwe, n'agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe:) 5 Balyoke bakkirize nti Mukama Katonda wa bajjajja baabwe, Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, nti akulabikidde. 6 Mukama n'amugamba nate nti Teeka omukono mu kifuba kyo. N'ateeka omukono gwe mu kifuba kye: bwe yaguggyaamu, laba, omukono gwe nga gulina ebigenge ng'omuzira. 7 N'ayogera nti Guzze omukono gwo mu kifuba kyo. (N'aguzza omukono gwe mu kifuba kye; bwe yaguggya mu kifuba kye, laba, nga gufuuse ng'omubiri (gwonna). 8 Awo olulituuka bwe batalikukkiriza era bwe bataliwulira ddoboozi lya kabonero ak'olubereberye, balikkiriza eddoboozi ery'akabonero ak'okubiri. 9 Awo bwe batalikkiriza bubonero buno bwombiriri era bwe bataliwulira ddoboozi lyo, olisena ku mazzi g'omugga n'ofuka ku lukalu: amazzi g'olisena mu mugga galifuuka omu saayi ku lukalu. 10 Musa n'agamba Mukama nti Ai Mukama, nze siri muntu wa bigambo okuva ddi na ddi, newakubadde okuva lw'oyogedde n'omuddu wo: kubanga soogera mangu, n'olulimi, lwange luzito. 11 Mukama n'amugamba nti Ani eyakola akamwa; k'omuntu? Oba ani akola kasiru oba omuzibe w'amatu oba atunula oba muzibe w'amaaso? Si nze Mukama? 12 Kale, kaakano genda, nange ndibeera wamu n'akamwa ko, ndikuyigiriza by'olyogera. 13 N'ayogera nti Ai Mukama, tuma nno, nkwegayiridde, mu mukono gw'oyo gw'oyagala okutuma. 14 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Musa, n'ayogera nti Alooni Omuleevi muganda wo taliiwo? Mmanyi nti ayinza okwogera obulungi. Era, laba, ajja okukusisinkana: bw'alikulaba, alisanyuka mu mutima gwe. 15 Naawe olimugamba, era oliteeka ebigambo mu kamwa ke: nange ndibeera wamu n'akamwa ko, n'akamwa ke, ndibayigiriza bye mulikola. 16 Naye alibeera mutegeeza wo eri abantu: awo alikubeerera kamwa, naawe olimubeerera nga Katonda. 17 Naawe olitwala omuggo guno mu mukono gwo, gw'olikoza obubonero. 18 Musa n’agenda n'addayo eri Yesero mukoddomi we, n'amugamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzireyo eri baganda bange abali mu Misiri, ndabe nga bakyali balamu. Yesero n'agamba Musa nti Genda n'emirembe. 19 Mukama n'agamba Musa mu Midiyaani nti Genda, oddeyo mu Misiri: kubanga abantu bonna abaali bakunoonya obulamu bwo bafudde. 20 Musa n'atwala mukazi we n'abaana be, n'abeebagaza ku ndogoyi, n'addayo mu nsi y'e. Misiri: Musa n'atwala omuggo gwa Katonda mu mukono gwe. 21 Mukama n'agamba Musa nti Bw'oliddayo mu Misiri, tolemanga kukola mu maaso ga Falaawo amagero gonna ge nteese mu mukono gwo: naye ndikakanyaza omutima gwe, talibaleka abantu okugenda. 22 Naawe oligamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri ye mwana wange, omubereberye wange: 23 nange nkugambye nti Leka omwana wange ampeereze; naawe ogaaayi okumuleka: laba, nditta omwaaa wo, omubereberye wo. 24 Awo (bwe baali nga bakyali) mu kkubo mu kisulo, Mukama n'amusisinkana n'ayagala okumutta. 25 Awo Zipola n'atwala ejjinja ly'obwogi, n'asalako ekikuta ky'omwana we, n'akisuula ku bigerebye; n'ayogera nti Oli baze wa musaayi era omwami w'obugole bw'omusaayi. 26 N'amuleka. N'alyoka ayogera nti Oli baze wa musaayi olw'oku Komolebwa. 27 Mukama n'agamba Alooni nti Genda mu ddungu omusisiakane Musa. N'agenda n'amulaba ku lusozi lwa Katonda, n'amunywegera. 28 Musa n'agamba Alooni ebigambo byonna ebya Mukama bye yamutuma, n'obubonero bwonna bwe yamulagira. 29 Musa ne Alooni ne bagenda ne bakuŋŋaanya abakadde bonna ab'abaana ba Isiraeri: 30 Alooni n'ayogera ebigambo byonna Mukama bye yamugamba Musa, n'akola obubonero mu maaso g'abantu. 31 Abantu ne bakkiriza: bwe baawulira nti Mukama yabajjira abaana ba Isiraeri n'alaba okubonaabona kwabwe, ne Ibavuunama emitwe gyabwe, ne basinza.

Okuva 5

1 Awo oluvannyuma ne bajja Musa ne Alooni ne bagamba Falaawo nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Leka abantu bange bankolere embaga mu ddungu. 2 Falaawo n'ayogera nti Mukama ye ani, mmuwulire eddoboozi lye okuleka Isiraeri? Simanyi nze Mukama, era nate sirireka Isiraeri. 3 Ne boogera nti Katonda wa Baebbulaniya yatusisinkana: tukwegayiridde, leka tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe; aleme okutukuba ne kawumpuli oba n'ekitala. 4 Kabaka We Misiri n'abagamba nti Lwaki mmwe, Musa ne Alooni, okubalesaayo abantu emirimu gyabwe? Mugende eri emi gugu gyammwe. 5 Falaawo n'ayogera nti Laba, abantu ab'omu nsi bangi kaakano, nammwe mubawummuza mu migugu gyabwe. 6 Ku lunaku luli Falaawo n'alagira abakoza b'abantu n'abaami baabwe, ng'ayogera nti 7 Temuwanga nate abantu essuubi ery'okukoza amatoffaali ng'edda: bagende beekuInnaanyize essubi. 8 N'omuwendo 'ogw'amatoffaali, gwe baakola edda, mugubasalire; muleme okugukendeezaako n'akatono: kubanga bagayaala; kyebava bakaaba nga boogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Katonda waffe. 9 Emirimu emizibu gisalirwe abasajja bagikole; baleme okuwulira ebigambo eby'obulimba. 10 Abakoza b'abantu ne bavaayo n'abaami baabwe, ne bagamba abantu nga boogera nti Bw'ati bw'ayogera Falaawo nti Siribawa ssubi. 11 Mugende mwekka, mwereetere essubi gye muyinza okuliraba: kubanga emirimu gyammwe tegirisalibwako n'akatono. 12 Awo abantu ne basaasaanira mu nsi yonna ey'e Misiri okukuŋŋaanya ebisasiro nga tewali ssubi. 13 Abakoza baabwe ne babakubiriza, nga boogera nti Mutuukirize emirimu gyammwe, emirimu egya buli lunaku, nga bwe mwakola essubi bwe lyabangawo. 14 Abaami b'abaana ba Isiraeri, abakoza ba Falaawo be baakuza ku bo, ne bakubibwa, nga boogera nti Lwaki obutatuukiriza mulimu gwammwe jjo ne leero okukola amatoffaali ng'edda? 15 Awo ne bajja abaami b'abaanal ba Isiraeri ne bakaabira Falaawo, nga boogera nti Kiki ekikukoza bw'otyo abaddu bo? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, ne batugamba nti Mukole amatoffaali: era, laba, abaddu bo tukubibwa; naye omusango guli ku bantu bo. 17 Naye n'ayogera nti Mugayaala, mugayaala: kyemuva mwogera nti Leka tugende tuweeyo saddaaka eri Mukama. 18 Kale kaakati mugende mukole emirimu; kubanga temuliweebwa ssubi,naye nammwe munaaleetanga omuwendo gw'amatoffaali. 19 Abaami b'abaana ba Isiraeri ne balaba nga balabye obubi bwe bayogera nti Temulikendeeza ku matoffaali gammwe n'akatono, emirimu egya buli lunaku. 20 Ne basisinkana Musa ne Alooni, abaali bayimiridde mu kkubo, nga bava eri Falaawo: 21 ne babagamba nti Mukama abatunuulire asale omusango; kubanga mukyayisizza okuwunya kwaffe mu maaso ga Falaawo,, ne mu maaso g'abaddu be, okubawa' ekitala mu mukono gwabwe okututta. 22 Musa n'addayo eri Mukama n'ayogera nti Ai Mukama, kiki ekikukozezza obubi abantu bano? Kiki ekikuntumizza nze? 23 Kubanga kasookedde njija eri Falaawo okwogera mu linnya lyo, akoze bubi abantu bano; so tewabawonya abantu bo n'akatono.

Okuva 6

1 Mukama n'amugamba Musa nti Kaakano bw'oliraba bye ndimukola Falaawo: kubanga n'omukono ogw'amaanyi alibaleka, era n'omukono ogw'amaanyi alibagoba mu nsi ye. 2 Katonda n'ayogera ne Musa, n'amugamba nti NZE YAKUWA: 3 nalabikira Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo, nga Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, naye mu linnya lyange YAKUWA saamanyibwa nabo. 4 Ne nnyweza nate endagaano yange nabo, okubawa ensi ya Kanani, ensi ey'okutambula kwabwe, gye baatambulamu. 5 Nate ne mpulira okusinda kw'abaana ba Isiraeri, Abamisiri be baafuula abaddu; ne njijukira endagaano yange. 6 Kyova obabuulira abaana ba Isiraeri nti Nze Yakuwa, nange ndibaggyako emigugu egy'Abamisiri, ndibaggirawo obuddu bwabwe, ndibanunula n'omukono gwe ndigolola n'emisango eminene: 7 era ndibeetwalira okubeera eggwanga, nange ndibabeerera Katonda: nammwe mulimanya nga nze Yakuwa Katonda wammwe, abaggya mu; migugu egy'Abamisiri. 8 Era ndibayingiza mu nsi eri, gye nnayimusiza omukono gwange okugiwa Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo; ndigiwa mmwe okubeera obutaka: nze Yakuwa. 9 Musa n'agamba bw'atyo abaana ba Isiraeri: naye ne batawulira Musa ku lw'obunaku obw'omwoyo, era ne ku lw'obuddu obukambwe. 10 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti 11 Yingira, ogambe Falaawo kabaka We Misiri abaleke abaana ba Isiraeri bave mu nsi ye. 12 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama ng'agamba nti Laba, abaana ba Isiraeri tebampulidde; Falaawo anampulira atya nze atakomolebwa mimwa? 13 Mukama n'agamba Musa ne Alooni, n'abai lagira eri abaana ba Isiraeri n'eri Falaawo kabaka We Misiri, okuggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri. 14 Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja baabwe: abaana ba' Lewubeeni omubereberye wa Isiraeri: Kanoki, ne Palu, Kezuiooni, ne Kalumi: abo bye bika bya Lewubeeni. 15 N'abaana ba Simyoni; Yemweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali, ne Sawuli omwana w'omukazi Omukanani: abo bye bika bya Simyoni. 16 Ne gano ge mannya g'abaana ba Leevi mu mirembe gyabwe; Gerusoni, ne Kokasi, ne Merali: n'emyaka egy'obulamu bwa Leevi emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 17 Abaana ba Gerusoni: Libuni ne Simeeyi, mu bika bya bwe. 18 N'abaana ba Kokasi: Amulaamu ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri: n'emyaka egy'obulamu bwa Kokasi emyaka kikumi mu asatu mu esatu. 19 N'abaana ba Merali; Makuli nei Musi. Abo bye bika by'Abaleevi mu mirembe gyabwe. 20 Amulaamu n'awasa Yokebedi mugandai wa kitaawe; n'amuzaalira Alooni, ne Musa: n'emyaka egy'obulamu! bwa Amulaamu emyaka kikumi mu asatu mu musanvu. 21 N'abaana ba Izukali: Koola, ne Nefega, ne Zikiri. 22 N'abaana ba Wuziyeeri; Misaeri, ne Erizafani, ne Sisiri. 23 Alooni n'awasa Eriseba, muwala wa Aminadaabu, muganda wa Nakaisoni; n'amuzaalira Nadabu ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali. 24 N'abaana ba Koola: Asira, ne Erukaana, ne Abiyasaafu; abo bye bika by'Abakoola. 25 Eriyazaali omwana wa Alooni, n'awasa mu' bawala ba Putiyeeru; n'amuzaalira Finekaasi. Abo gye mitwe gy'ennyumba za bajjajja b'Abaleevi mu bika byabwe. 26 Abo ye Alooni ne Musa bali Mukama be yagamba nti Muggyeeyo abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri mu ggye lyabwe. 27 Abo be baagamba Falaawo kabaka w‘e Misiri okuggya abaana ba Isiraeri mu Misiri: abo ye Musa ne Alooni bali. 28 Awo ku lunaku Mukama lwe yagamba Musa mu nsi y'e Misiri. 29 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti Nze Mukama: ogambe Falaawo kabaka w'e Misiri buli kye nkugamba. 30 Musa n'ayogera mu maaso ga Mukama nti Laba sikomolebwanga mimwa, Falaawo anampulira atya?

Okuva 7

1 Mukama n'agamba nti Laba, nkufudde Kato: Falaawo: era Alooni mugandawo alibeera nabbi wo. 2 Olyogera kye nkulagira: ne Alooni mugandawo aligamba Falaawo, aleke ba Isiraeri bave mu Misiri 3 Nange ndikakanyaza gwa Falaawo, ne nnyongeza obubonero bwange n'amagero mu nsi y'e Misiri. 4 Naye Falaawo talibawulira, nange nditeekako omukono gwange ku Misiri ne nfulumya eggye lyange, abantu abaana ba Isiraeri, mu nsi y’e Misiri, n'emisango eminene. 5 N’abo Abamisiri balimanya nga nze Mukama, bwe ndigolola omukono gwange ku Misiri, ne mbaggyayo abaana ba Isiraeri mu bo. 6 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yabalagira: batyo bwe baakola. 7 Ne Musa yali nga yaakamala emyaka: ne Alooni nga yaakamala kinaana mu esatu, bwe banne Falaawo. 8 Mukama nagamba Musa ne Alooni ngayogera nti 9 Falaawo bwalibagamba ng’ayogera nti Mwerotera ekitalo: nolyoka ogamba Aloni nti Twala omuggo gwo ogusuule wansi mu maaso ga Falaawo, gube omusota. 10 Musa ne Alooni nebayingira ewa Falaawo, ne bakola bwe batyo nga Mukama, bweyalagira: Aloni n’asuula omuggo gwe wansi mu maaso go Falaawo no mu maso g’abaddube, ne guba omusota. 11 Falaawo naye nalyoka ayita abagezi n’abalogo: era nabo abasawo Abamisiri nebakola bwe batya n’amagezi gaabwe ag’ekyama. 12 Kubanga basuula buli muntu omuggo gwe negiba emisota naye omuggo gwa Alooni negumira emiggo gyabwe. 13 Falaawo omutima gwe negukakanyala, natabawulira; nga Mukama bweyayogera. 14 Mukama managamba Mnsa nti Falaawo omutima gwe guzitowa, agana okubaleka abantu, 15 Ogenda eri Falaawo enkya; laba, afuluma okugenda ku mugga; naawe oliyimirira ku mabbali g’omugga okumusisiukana; n’omuggo ogwafuuka omusota oligutwala mu mukono gwo. 16 Nomagamba nti Mukama, Katonda wa Beebulaniya, y’antumye gy’oli ng’ayogera nti Leka abantu bange, bampeerereze mn ddungu: era, laba, okutuusa kaakano towulira. 17 Bw’atyo Mukama bwayogera nti Ku kino kw’olimannyira nga nze Mukama: laba, ndikuba n’omuggo oguli mu mukono gwange ku mazzi agali mu mugga, galifuka omusaayi. 18 N’eby’omu mugga birifa, omugga guliwunya: Abamisiri amazzi ag’omu mugga galibatama okunywako. 19 Mukama n’agamba Musa nti Gamba Alooni nti Twaala omuggo gwo ogolole omnkono gwo ku mazzi g’e Misiri, ku migga gyabwe, kn nsalosalo zaabwe, ne ku bidiba byabwe, ne kn nnyanja zaabwe zonna ez’amazzi, gafuke omusaayi; era mulibeera omusaayi mu nsi yonna ey’e Misiri, mu ntiba ez’omuti ne mu nsuwn ez’amayinja. 20 Musa ne Alooni ne bakola bwe batyo nga Mukama bweyalagira; n’ayimusa omuggo, n’akuba amazzi agali mu migga, ma maaso ga Falaawo ne mu maaso g’abaddu be amazzi gonna agali ma mugga negafuuka omusaayi. 21 N’eby’omu muagga ne bifa; omugga ne guwunya. Abamisiri ne batayinza kunywa amazzi mu mugga; omusaayi ne gubeera mu nsi yonna ey’e Misiri. 22 Ne bakola bwe batyo abasawo Abamisiri mu magezi gaabwe ag’ekyama; Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, natabawulira; nga Mukama bweyayogera. 23 Falaawo n’akyuka n’agenda mu nnyumba ye. 24 Abamisiri bonna ne basima, kumpi n’omugga bafune amazzi ag’okunywa; kubanga amazzi ag’omu mugga nga tebayinza ku ganywako. 25 Ennaku musanvu ne zituukirira, Mukama ng’amaze okukuba amugga.

Okuva 8

1 Mukama n’agamba Musa nti yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw’atyo Mukama bwayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 2 Era bw’onoogaana ggwe okubaleka, laba, ndikuba ensalo zo zonna n’ebikere: 3 n'omugga gulijula ebikere, ebiririnnya ne biyiingira mu nnyumba yo ne mu kisenge kyo mw'osula, ne ku kitanda kyo, ne mu nnyumba z'abaddu bo, ne ku bantu bo, ne mu ntamu zo, ne mu bibbo eby'okugoyeramu: 4 n'ebikere biririnnya ku ggwe, era ne ku bantu bo, ne ku baddu bo bonna. 5 Mukama n'agamba Musa nti Gamba Alooni nti Golola omukono gwo n'amuggo gwo ku migga, ku nsalosalo, ne ku bidiba, olinnyise ebikere ku nsi ey'e Misiri. 6 Alooni n’agolola omukano gwe ku mazzi g'e Misiri; ebikere ne birinnya ne bisaanikira ensi ey'e Misiri. 7 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama, ne balinnyisa ebikere ku nsi y'e Misiri. 8 Falaawo n'alyoka abayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Musabe Mukama anziyeko ebikere nze n'abantu bange: nange naabaleka abantu, baweeyo saddaaka eri Mukama. 9 Musa n'agamba Falaawo nti Olw'ekyo weenyumiriza ku nze: mu biro ki mwe mba nkusabira ggwe n'abaddu ba n'abantu bo ebikere bizikirizibwe kuggwe ne ku nnyumba zo, bisigale mu mugga mwakka? 10 N'ayogera nti Ku lwa jjo. N'ayogera nti Kibe ng'ekigambo kyo: olyakeemanye nga tewali afaanana nga Mukama Katonda waffe. 11 N'ebikere biri kuleka ggwe n'ennyumba zo n'abaddu bo n'abantu bo; birisigala mu mugga mwokka. 12 Musa ne Alooni ne bava eri Falaawo: Musa n'akaabira Mukama ku Iw'ebikere bye yamuleetera Falaawo. 13 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa: ebikere ne bifiira mu nnyumba, mu mpya, ne mu nsuku, 14 Ne babikuŋŋaanya entuumo n'entuuma: ensi n'ewunya. 15 Naye Falaawo bwe yalaba ng'ebbanga weeriri ery'okuwummuliramu, n'akakanyaza omutima gwe n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 16 Mukama n'agamba Musa nti Gamba AIooni nti Golola omuggo gwo okube enfuufu y'ensi, ebe ensekere mu nsi yonna ey’e Misiri. 17 Ne bakola bwe batyo; Alooni n'agolola omukono gwe n'omuggo n’akuba enfuufu y’ensi, ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo; enfuufu yonna ey'ensi n'eba ensekere mu nsi yonna ey'e Misiri. 18 N'abasawo ne bakola bwe batyo n'amagezi gaabwe ag'ekyama balyoke baleete ensekere, naye ne batayinza; ne waba ensekere ku muntu ne ku nsolo. 19 Abasawo ne balyoka bagamba Falaawo nti Eno ye ngalo ya Katonda: Falaawo n'akakanyala omutima gwe, n'atabawulira; nga Mukama bwe yayogera. 20 Mukama n'agamba Musa nti Golokoka ku nkya mu matututulu oyimirire mu maaso ga Falaawo; laba, afitluma okugenda ku mazzi; omugambe nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Leka abantu bange, bampeereze. 21 Naye bw'otoobaleke, laba, ndikuleetera ebikuukuulu by'ensowera ggwe n'abaddu bo n'abantu bo ne mu nnyumba zo: n'ennyumba ez'Abamisiri zirijjula ebikuukuulu by'ensowera, era n'ebibanja mwe ziri. 22 Nange ndigyawulako ku lunaku luli ensi ey'e Goseni, abantu bange mwebasula, ebikuukuulu by'ensowera bireme okubeerayo; olyoke omanye nga nze Mukama ali wakati w'ensi. 23 Nange nditeekawo okununula wakati mu bantu bange n'abantu bo: jjo lwe kalibeerawo akabonero kano. 24 Mukama n'akola bw'atyo; ebikuukuulu. by'ensowera ne bijja ebizibu mu nnyumba ya Falaawo ne mu nayumba z'abaddu be : ne mu ngi yonna ey'e Misiri ensi n'efa ebikuukuulu by'ensowera. 25 Falaawo n'ayita Musa ne Alooni, n'ayogera nti Mugende muweeyo saddaaka eri Katonda wammwe mu nsi eno. 26 Musa n'ayogera nti Si kirungi okukola bwe kityo; kubanga tuliwa eky'omuzizo eky'Abamisiri Mukama Katonda waffe: laba, bwe tulimuwa eky'omuzizo eky'Abamisiri mu maaso gaabwe, tebalitukuba amayinja? 27 Ka tugende olugendo olw'ennaku essatu mu ddungu, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe, nga bw'alitulagira. 28 Falaawo n'ayogera nti Naabaleka; muweeyo saddaaka eri Mukama Katonda wammwe mu ddungu: wabula kino kyokka, temugenda wala nnyo: munsabire. 29 Musa n'ayogera nti Laba nva mu maaso go, ndimusaba Mukama ebikuukuulu by'ensowera biggibwewo eri Falaawo, eri abaddu be, n'eri abantu be, jjo: wabula kino kyokka, Falaawo aleme okweyongera nate okulimba obutaleka bantu, baweeyo saddaaka eri Mukama 30 Musa n'ava mu maaso ga Falaawo, n'asaba Mukama. 31 Mukama n'akola ng'ekigambo kya Musa; n'amuggirawo ebikuukuulu by'ensowera Falaawo, abaddu be, n'abantu be; ne watasigala n'emu. 32 Falaawo n'akakanyaza omutima gwe omulundi ogwo nate, n'atabaleka abantu.

Okuva 9

1 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Yingira eri Falaawo, omugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya nti Baleke abantu bange bampeereze. 2 Kubanga bw'onoogaana okubaleka n'oyongera okubakwata, 3 laba, omukono gwa Mukama guti ku; magana go agali mu ttale, ku mbalaasi, ku ndogoyi, ku ŋŋamira, ku nte, ne ku ndiga: nsotoka omuzibu ennyo. 4 Era Mukama alyawula amagana g'Abaisiraeri n'amagana ag'e Misiri; so tewalifa n'emu mu ago ag'abaana ba Isiraeri gonna. 5 Mukama n'assaawo ekiseera kye yayagala, ng'ayogera nti Jjo Mukama bw'alikola ekyo mu nsi. 6 Mukama n'akola kiri bwe bwakya enkya, amagana gonna ag'e Misiri ne gafa: naye mu magana g'abaana ba Isiraeri tewaafa n'emu. 7 Falaawo n'atuma, laba, mu magana g'Abaisiraeri tewaali newakubadde n'emu efudde. Naye Falaawo omutima ne gukakanyala, n'atabaleka abantu. 8 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti Mwetwalire embatu ez'evvu ery'omu kyoto, Musa alijmansize waggulu mu maaso ga Falaawo. 9 Era liriba nfuufu ku nsi yonna ey'e Misiri, liriba jjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne iku nsolo, mu nsi yonna ey'e Misiri. 10 Ne batwala evvu ery'omu kyoto, ne bayimirira mu maaso ga Falaawo; Musa n'alimansa waggulu; ne liba ejjute eriyulika mu mabwa ku muntu ne ku nsolo. 11 Abasawo ne batayinza kuyiaurira mu maaso ga Musa ku lw'amayute; kubanga, amayute gaali ku basawo, ne ku Bamisiri bonna. 12 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabawulira; nga Mukama bwe yagamba Musa. 13 Mukama n'agamba Musa nti Ogolokoka enkya mu makya, n'oyimirira mu maaso ga Falaawo, n'omugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama, Katonda w'Abaebbulaniya, nti Leka abantu bange, bampeereze. 14 Kubanga omulundi guno naakuleetera ebibonobono byange byonna omutima gwo n'abaddu bo n'abantu bo; olyoke omanye nga tewali mu nsi yonna afaanana nga nze. 15 Kubanga kaakano nandigolodde omukono gwange, na ndikukubye ggwe n'abantu bo ne kawumpuli, wandizikiridde mu nsi: 16 naye ddala mazima kyenvudde nkuyimiriza okukulaga amaanyi gange ggwe, era erinnya lyange okubuulirwa mu nsi zonna. 17 Okutuusa kaakano weegulumizizza ku bantu bange, obutabaleka? 18 Laba, jjo nga mu kiseera kino nditonnyesa omuzira omuzito ennyo, ogutalabikanga mu Misiri kasookedde esooka okubaawo okutuusa kaakano. 19 Kale, kaakano, tuma, oyanguye okuyingiza amagana go ne byonna by'olina mu ttale; buli muntu n'ensolo abanaalabika mu ttale abataaleetebwe mu nnyumba, omuzira gulibakuba, balifa 20 Eyatya ekigambo kya Mukama mu baddu ba Falaawo n'abaddusiza abaddu be n'amagana ge mu nnyumba: 21 ataakitya ekigambo kya Mukama n'abaleka abaddu be n'amagana ge mu ttale. 22 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, omuaira gubeere mu nsi yonna ey'e Misiri, ku muntu, ne ku nsolo, ne ku muddo gwonna ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri. 23 Musa n'agolola omuggo gwe eri eggulu: Mukama n'aleeta okubwatuka n'omuzira, omuliro ne gukka ku nsi; Mukama n'atonnyesa omuzira ku nsi ey'e Misiri. 24 Awo ne waba omuzira, n'omuliro ne gwaka wakati w'omuzira, omuzito ennyo, ogutabangawo mu nsi yonna ey'e Misiri kasookedde ebeera eggwanga. 25 Omuzira ne gukuba mu nsi yonna ey'e Misiri buli ekyali mu ttale, omuntu era n'ensolo; omuzira ne gukuba buli muddo ogw'omu nsuku, ne gumenya buli mud ogw'omu nsuku. 26 Mu nsi ey'e Goseni yokka, mwe baali abaana ba Isiraeri, mwe mutaali muzira. 27 Falaawo n'atuma, n'ayita Musa ne Alooni, n'abagamba nti Nnyonoonye omulundi guno: Mukama ye mutuukirivu, nange n'abantu bange tuli babi. 28 Musabe Mukama; kubanga okubwatuka okw'amaanyi n'omuzira bimmaze; nange ndibaleka, muleme okulwawo nate. 29 Musa n'amugamba nti Bwe ndimala okuva mu kibuga, ne ndyoka mwanjululiza Mukama ebibatu byange; okubwatuka kuliggwaawo, so tewalibeera muzira nate; olyoke omanye ng'ensi ya Mukama. 30 Naye ggwe n'abaddu bo, mmanyi nga temulitya kaakano Mukama Katonda: 31 Obugoogwa ne sayiri ne bikubibwa: kubanga sayiri yali etanula okubala, n'obugoogwa bwali busansudde. 32 Naye eŋŋaano ne kusemesi tebyakubibwa: kubanga byali nga tebinnamera. 33 Musa n'ava mu kibuga eri Falaawo, n'ayanjululiza Mukama ebibatu bye: okubwatuka n'omuzira ne biggwaawo, so enkuba n'etetonnya ku nsi. 34 Falaawo bwe yalaba ng'enkuba n'omuzira n'okubwatuka nga biweddewo, ne yeeyongera okwonoona, n'akakanyaza omutima gwe, ye n'abaddu be. 35 Falaawo omutima gwe ne gukakanyala, n'atabaleka abaana ba Isiraeri; nga bwe yayogerera Mukama mu Musa.

Okuva 10

1 Mukama n'agamba Musa nti Yingira eri Falaawo; kubanga nkakanyazizza omutima gwe n'omutima gw'abaddu be, ndyoke ndage obubonero bwange buno wakati waabwe: 2 era olyoke obuulire mu matu g'omwana wo ne mu g'omwana w'omwana wo, bye nkoze ku Misiri, n'obubonero bwange bwe nkoze wakati waabwe; mulyoke mumanye nga nze Mukama. 3 Musa ne Alooni ne bayingira eri Falaawo, ne bamugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda w'Abaebbulaniya nti Olituusa wa oku gaana okwetoowaza mu masso gaage? Leka abantu bange, bampeereze. 4 4 Naye, bw'onoogaana okubaleka abantu bange, laba, jjo ndireeta enzige mu nsalo yo: 5 zirisaanikira kungulu ku nsi, ensi ereme okulabika: zirirya ebisigadde ebpawonawo, omuzira bye gwabalekera, ne zirya buli muti ogubamerera mu nsuku: 6 era ennyumba zo zirijjula, n'ennyumba z'abaddu bo bonna n'ennyumba z'Abamisiri bonna: nga bakitaawo bwe bataalaba newakubadde bakitaabwe ba kitaawo, okuva lwe baabeerawo ku nsi okutuusa leero. N'akyuka, n'ava eri Falaawo. 7 Abaddu ba Falaawo ne bamugamba nti Alituusa wa ono okutubeerera omutego? Leka abantu, baweereze Mukama Katonda waabwe: tonnamanya nga Misiri efudde? 8 Ne bazzibwa Musa ne Alooni eri Falaawo: n'abagamba nti Mugende, muweereze Mukama Katonda wammwe: naye b'ani abaligenda? 9 Musa n'ayogera nti Tuligenda n'abaana baffe abato era n'abakadde baffe, n'abaana baffe ab'obulenzi era n'abaana baffe ab'obuwala, n'endiga zaffe era n'ente zaffe bwe tuligenda; kubanga obubi buli mu maaso gammwe kubanga kirugwanidde ffe okukolera Mukama embaga. 10 N'abagamba nti Mukama abe nammwe nga bwe ndibaleka mmwe n'abaana bammwe abawere: mulabe; 11 Nedda mmwe abasajja abakulu mugende kaakano, mumuweereze Mukama; kubanga ekyo kye mwagala. Ne bagobebwa mu maaso ga Falaawo. 12 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nsi ey'e Misiri wabe enzige, zirinnye ku nsi ey'e Misiri, zirye buli muddo ogw'ensi, byonna byonna omuzira bye gwalekawo. 13 Musa n'agolola omuggo gwe ku nsi ey'e Misiri, Mukama n'aleeta embuyaga ku nsi ezaava ebuvanjuba ku lunaku luli obudde okuziba n'okukya; bwe bwakya enkya, embuyaga ezaava ebuvanjuba ne zireeta enzige. 14 Enzige ne zirinnya ku nsi yoana ey'e Misiri, ne zigwa mu nsalo zonna ez'e Misiri: zaali nzibu nnyo; edda n'edda tewabanga nzige nga ezo, newakubadde enayuma waazo tewalibeera nga ezo. 15 Kubanga zaasaanikira kungulu ku nsi yonna, ensi n'efuusibwa ekizikiza; ne zirya buli muddo gwonna ogw'ensi n'ebibala byonna eby'emiti, omuzira bye gwalekawo: ne watasigala kintu kibisi, newakubadde omuti newakubadde omuddo ogw'omu nsuku, mu nsi yonna ey'e Misiri. 16 Falaawo n'alyoka ayita mangu Musa ne Alooni; n'ayogera nti Nnyonoonye Mukama Katonda wammwe, nammwe. 17 Kale kaakano nkwegayiridde, munsonyiwe okwonoona kwange omulundi guno gwokka, mumusabe Mukama Katonda wammwe, anziyeko olumbe luno lwokka. 18 N'ava eri Falaawo, n'asaba Mukama. 19 Mukama n'aleeta embuyaga ez'amaanyi ennyo ezaava ebugwanjuba, ne zitwala enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emmyufu; tewaasigala nzige n'emu mu nsalo yonna ey'e Misiri. 20 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'ataleka abaana ba Isiraeri. 21 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo eri eggulu, ekizikiza kibeere ku nsi ey'e Misiri, ekizikiza ekiwulikika. 22 Musa n'agolola omukono gwe eri eggulu; ekizikiza ekikutte ne kiba mu nsi yonna ey'e Misiri ennaku ssatu; 23 tebaalabagana, newakubadde omuntu yenna teyagolokoka mu kifo kye ennaku ssatu: naye abaana ba Isiraeri bonna baalina omusana mu nju zaabwe. 24 Falaawo n'ayita Musa n'ayogera nti Mugende muweereze Mukama; endiga zammwe n'ente zammwe ze zibazisigala zokka: abaana abawere nabo bagende nammwe. 25 Musa n'ayogera nti Kikugwanidde nate okutuwa mu mikono gyaffe saddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa, tuweeyo saddaaka eri Mukama Katonda waffe. 26 Era n'amagana gaffe galigenda naffe; tewalisigala kinuulo n'ekimu; kubanga kitugwanidde okuzitwalako, tuweereze Mukama, Katonda waffe; era tetumanyi bye tulimuweerezesa Mukama, okutuusa lwe tulituuka eyo. 27 Naye Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atayagala kubaleka. 28 Falaawo n'amugamba nti Vaawo wendi, weekuume, oleme okulaba amaaso gange nate; kubanga ku lunaku lw'olirabiramu amaaso gange, olifa. 29 Musa n'ayogera nti Oyogedde bulungi; siriraba nate maaso go.

Okuva 11

1 Mukama n'amugamba Musa nti Ekibonoobono kimu nate kye ndimuleetera Falaawo ne Misiri; oluvannyuma alibaleka okuvaamu: bw'alibaleka, mazima alibagobera ddala muno. 2 Yogera kaakano mu matu g'abantu, basabe buli musajja eri muliraanwa we na buli mukazi eri muliraanwa we ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu. 3 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri. Nate omuntu Musa yali mukulu nnyo mu nsi ey'e Misiri, mu maaso g'abaddu ba Falaawo, ne mu maaso g'abantu. 4 Musa n'ayogera nti Bw'atyo Mukama bw'ayogera nti Nga mu ttumbi ndifuluma wakati w'e Misiri: 5 n'ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri balifa, okuva ku mubereberye wa Falaawo atuula ku ntebe ey'obwakabaka okutuuka ku mubereberye w'omuzaana ali ennyuma w'olubengo; n'ebibereberye byonna eby'ebisibo. 6 Era walibeera okukaaba okungi mu nsi yonna ey'e Misiri, okutabangawo newakubadde tekulibaawo nate nga kuno. 7 Naye ku omu mu baana ba Isiraeri embwa terimuwagalako lulimi, ku muntu newakubadde ensolo : mulyoke mumanye Mukama bw'ayawula wakati w'Abamisiri ne Isiraeri. 8 Era abaddu bo bano bonna baliserengeta gye ndi balivuunamira nze, nga boogera nti Genda n'abantu bo bonna abakugoberera: oluvannyuma ndigenda. N'ava eri Falaawo n'obusungu bungi. 9 Mukama n'amugamba Musa nti Falaawo talibawulira: eby'amagero byange biryoke byeyongere mu nsi ey'e Misiri. 10 Musa ne Alooni ne bakola eby'amagero bino byonna mu maaso ga Falaawo: Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo, n'atabaleka abaana ba Isiraeri okuva mu nsi ye.

Okuva 12

1 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni mu nsi ey'e Misiri, ng'ayogera nti Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. 2 Omwezi guno gulibabeerera ogw'olubereberye mu myezi: gulibabeerera omwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka. 3 Mugambe ekibiina kyonna ekya Isiraeri, nga mwogera nti Ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi guno balyetwalira buli muntu omwana gw'endiga, ng'ennyumba za bajjajja baabwe bwe ziri, omwana gw'endiga buli nnyumba: 4 era ennyumba bw'ebanga entono nga teemaleewo mwana gw'endiga, kale abeere ne muliraanwa we ali okumpi n'ennyumba ye bamutwale ng'omuwendo gw'emyoyo gy'abantu bwe guli; buli muntu nga bw'alya, mulibalibwa ku mwana gw'endiga. 5 Omwana gw'endiga gwammwe tegulibaako bulema, omusajja ogwakamala omwaka: muliguggya mu ndiga oba mu mbuzi: 6 muligutereka okutuusa olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno: ekkurŋŋaaniro lyonna ery'ekibiina kya Isiraeri baligutta lwaggulo. 7 Era balitwala ku musaayi, baguteeke kumifuubeeto gyombi ne ku kabuno, mu nnyumba mwe baliguliira. 8 Awo balirya ennyama mu kiro kiri, ng'eyokebwa n'omuliro, n'emigaati egitali mizimbulukuse; baligiriira ku nva ezi,kaawa. 9 Temugiryangako mbisi, newakubadde enfumbe n'amazzi waIbula enjokye n'omuliro; omutwe gwayo n'ebigere byayo n'eby'omunda byayo. 10 Nammwe temugiirekangawo okutuusa enkya; naye erekebwako okutuusa enkya muligyokya n'omuliro. Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. 11 Era bwe mutyo bwe muligirya; nga mwesibye ebimyu, n'engatto nga ziri mu bigere byammwe, n'omuggo nga guli mu mukono gwammwe: mugiryanga mangu: eyo kwe kuyitako kwa Mukama. 12 Kubanga ndiyita mu nsi ey'e Misiri mu kiro kiri, ndikuba ababereberye bonna mu nsi ey'e Misiri, omuntu era n'ensolo; era ku bakatonda bonna ab'e Misiri ndisala emisango: nze Mukama. 13 Awo omusaayi gulibabeerera akabonero ku nnyumba ze mulimu: nange bwe ndiraba omusaayi, ndibayitako, so tewalibeera lumbe ku mmwe okubazikiriza, bwe ndikuba ensi ey'e Misiri. 14 Era olunaku luno lulibabeerera ekijjukizo, na mmwe munaalwekuumanga embaga ya Mukama: mu mirembe gyammwe gyonna munaalwekuumanga embaga mu tteeka eritaggwaawo. 15 Ennaku musanvu mulirya emigaati egitazimbulukuswa; era ne ku lunaku olw'olubereberye munaggyangamu ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya emigaati egizimbulukuswa okuva ku lunaku olw'olubereberye okutuusa olunaku olw'omusanvu, omwoyo ogwo gulisalibwa ku Isiraeri. 16 Era ku lunaku olw'olubereberye walibabeerera okukuŋŋaana okutukuvu, era ku lunaku olw'omusanvu okukuŋŋaana okutukuvu; emirimu gyonna gyonna gireme ol:ukolebwa mu nnaku ezo, wabula gye yeetaaga buli muntu okulya, egg'o gyokka kye kirungi okukolebwa mmwe. 17 Mulyekuuma embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa; kubanga ku lunaku luno lwennyini lwe nziyiddemu eggye lyammwe mu nsi ey'e Misiri: kye munaavanga mulwekuuma olunaku luno mu mirembe gyammwe gyonna mu tteeka eritaggwaawo. 18 Mu mwezi ogw'olubereberye ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi olweggulo, mulirya emigaati egitazimbulul:uswa, okutuusa olunaku olw'amakumi abiri mu lumu olweggulo. 19 Ennaku musanvu ekizimbulukusa tekirirabika mu nnyumba zammwe: kubanga buli alya ekizimbulukuse, omwoyo ogwo gulisalibwa ku kibiina kya Isiraeri, bw'aliba munnaggwanga oba nga nzaalwa. 20 Temulyanga ekizimbulukuse; mu bifo byaminwe byonna mulyanga emigaati egitazimbulukuswa. 21 Musa n'alyoka abayita abakadde bonna aba Isiraeri, n'abagamba nti Mulonde mwetwalire abaana b'endiga ng'ennyumba zammwe bwe ziri, mutte okuyitako. 22 Nammwe mulitwala omuvumbo gwa ezobu ne munnyika mu musaayi ogw'omu kibya, ne mumansulira ku kabuno n'emifuubeeto gyombi n'omusaayi ogw'omu kibya; temufuluma omuntu yenna mu mulyango ogw'ennyumba ye okutuusa enkya. 23 Kubanga Mukama aliyita okukuba Abamisiri; awo bw'aliraba omusaayi ku kabuno ne ku mifuu beeto gyombi, Mukama aliyita ku mulyango, so talireka muzikiriza okuyingira mu nnyumba zammwe okubakuba. 24 Era mulyekuuma ekigambo ekyo ng'etteeka eri ggwe n'eri abaana bo eritaggwaawo. 25 Awo bwe muliba mutuuse mu nsi Mukama gy'alibawa, nga bwe yasuubiza, muneekuumanga okuweereza kuna. 26 Awo olulituuka abaana bammwe bwe balibagamba nti Okuweereza kwammwe kuno amakulu ki? 27 mulyogera nti Ye ssaddaaka ey'okuyitako kwa Mukama eyayita ku nnyumba z'abaana ba Isiraeri mu Misiri bwe yakuba Abamisiri n'awonya ennyumba zaffe. Abantu ne bahutama ne basinza. 28 Abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bakola bwe batyo; Mukama nga bwe yalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. 29 Awo olwatuuka mu ttumbi Mukama n'akuba abaana ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, okuva ku mubereberye wa Falaawo eyatuula ku ntebe ey'obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow'omusibe eyali mu kkomera; n'embereberye zonna ez'ebisibo. 30 Falaawo n'agolokoka ekiro, ye n'abaddu be bonna n'Abamisiri bonna; ne waba okukaaba okunene mu Misiri; kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu. 31 N'abayita Musa ne Alooni ekiro, n'ayogera nti Mugolokoke muve mu bantu bange, mmwe era n'abaana ba Isiraeri; mugende, mumuweereze Mukama nga bwe mwayogera 32 Mutwale endiga era n'ente zammwe, nga bwe mwayogera, mugende; mumpe omukisa nange. 33 N'Abamisiri ne babakubiriza abantu, okubanguyiriza okuva mu nsi; kubanga baayogera nti Tufudde fenna. 34 Abantu ne batwala obutta bwabwe nga tebunnaba kuzimbulukusibwa, ebibbo byabwe eby'okugoyeramu nga bisibiddwa mu ngoye zaabwe ku bibegabega byabwe. 35 Abaana ba Isiraeri ne bakola ng'ekigambo kya Musa; ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu, n'engoye: 36 Mukama n'abawa abantu okwagalibwa mu maaso g'Abamisiri, ne babawa bye baasaba. Ne banyaga Abamisiri. 37 Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu Lameseesi okutuuka mu Sukkosi, ng'obusiriivu mukaaga abaatambula n'ebigere abasajja, era n'abaana. 38 Era n'ekibiina ekya bannaggwanga ne balinnya wamu nabo; n'endiga n'ente, ebisibo bingi nnyo. 39 Ne bookya emigaati egitazimbulukuswa n'obutta bwe baggya mu Misiri, kubanga bwali nga tebunnassibwamu ekizimbulukusa; kubanga baagobebwa mu Misiri nga tebayinza kulwa, so baali tebannaba kwefumbira mmere yonna: 40 N'okutuula kw'abaana ba Isiraeri, kwe baatuula mu Misiri, gyali emyaka ebikumi bina . mu asatu. 41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. 41 Awo olwatuuka emyaka ebikumi ebina mu asatu nga giyise, ku lunaku luli eggye lyonna erya Mukama ne liryoka liva mu Misiri. 42 Kye kiro ekisaanira okukyekuuma ennyo eri Mukama okubafulumya mu nsi ey'e Misiri: ekyo kye kiro kiri ekya Mukaxna ekisaanira abaana bonna aba Isiraeri okukyekuumanga ennyo mu mirembe gyabwe gyonna. 43 Mukama n'abagamba Musa ne Alooni nti Lino lye tteeka ery'okuyitako: munnaggwanga yenna talyangako: 44 naye buli muddu w'omuntu agulibwa n'ebintu, bw'anaamalanga okumukomola, n'alyoka alyako. 45 Omugenyi n'omuwereeza aweebwa empeera tebalyangako. 46 Mu nnyumba emu mw'eneeriirwanga; totwalanga bweru wa nnyumba ku nnyama yaayo; so temumenyanga ggumba lyayo. 47 Ekibiina kyonna ekya Isiraeri balikukwata. 48 Era munnaggwanga bw'anaasulanga ewuwo, ng'ayagala okwekuuma okuyitako eri Mukama, abasajja be bonna bakomolebwenga, alyoke asembere akwekuume; anaabeeranga ng'enzaalwa: naye ataakomolebwenga yenna talyangako. 49 Walimubeerera etteeka limu enzaalwa n'omugenyi asula omumwe. 50 Bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri bonna; nga Mukama bwe yabalagira Musa ne Alooni, bwe batyo bwe baakola. 51 Awo ku lunaku luli Mukama n'alyoka aggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'e Misiri mu ggye lyabwe.

Okuva 13

1 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 2 Onterekeranga abaana ababereberye bonna, buli aggula enda mu baana ba Isiraeri, oba wa muntu oba wa nsolo: ye wange. 3 Musa n'abagamba abantu nti Mujjukiranga olunaku luno, lwe mwaviiramu mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: kubanga mu maanyi g'omukono Mukama mwe yabaggya mu kifo ekyo: tebalyanga ku migaati egizimbulukuswa. 4 Ku lunaku luno bwe munaavaamu mu mwezi ogwa Abibu. 5 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi y'omu Kanani n'ey'Omukiiti n'ey'omu Amoli, n'ey'Omukiivi, n'ey'omu Yebusi, gye yalayirira bajjajja bo okugikuwa, ensi ejjudde amata n'omubisi gw'enjuki, oneekuumanga okuweereza kuno mu mwezi guno. 6 Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, era ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga embaga eri Mukama. 7 Emigaati egitazimbulukuswa giriibwe mu nnaku ezo omusanvu; so tegiirabikenga gy'oli emigaati egizimbulukuswa, so tekirirabika ekizimbulukusa gy'oli, mu nsalo zo zonna. 8 Era onoomugambanga omwana wo olunaku luli, ng'oyogera nti Olw'ebigambo Mukama bye yankolera bwe nnava mu Misiri. 9 Era ginaakubeereranga akabonero ku mukonb gwo, era ekijjukizo wakati w'amaaso go, amateeka ga Mukama galyoke gabeere mu kamwa ko : kubanga mu mukono ogw'amaanyi Mukama mwe y akuggira mu Misiri. 10 Kyonoovanga weekuuma etteeka lino mu biro byalyo buli mwaka, buli mwaka. 11 Awo olulituuka Mukama bw'alikuleeta mu nsi ey'omu Kanani, nga bwe yakulayirira ggwe ne bajjajjaabo, bw'aligikuwa, 12 onoomuterekeranga Mukama buli kiggulanda, na buli kibereberye ky'olina ekiva mu nsolo; abasajja banaabanga ba Mukama. 13 Era onoonunulanga buli mbereberye y'endogoyi n'omwana gw'endiga; era oba nga tooyagalenga kuginunula, onoogimenyanga obulago: era ababereberye bonna mu baana bo onoobanunulanga. 14 Awo omwana wo bw'anaakubuuzanga mu biro ebirijja ng'ayogera nti Kiki kino? onoomugambanga nti Mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri, mu nnyumba ey'obuddu: 15 awo alwatuuka Falaawo bw'ataatuleka wabula olw'empaka, Mukama n'atta ababereberye bonna ab'omu nsi ey'e Misiri, ababereberye ab'abantu, era n'embereberye ez'ensolo: kyenva mmuwa Mukama buli kiggulanda ekisajja, okuba ssaddaaka; naye ababereberye bonna ab'abaana bange mbanunula. 16 N'ekyo kinaabanga akabonero ku mukono gwo, n'ebiteekebwa wakati w'amaaso go: kubanga mu maanyi ag'omukono gwe Mukama mwe yatuggira mu Misiri. 17 Awo Falaawo ng'amaze okubaleka abantu, Katonda n'atabatwala mu kkubo ery'ensi ery'Abafirisuuti newakubadde nga lye lyali okumpi; kubanga Katonda yayogera nti Wozzi abantu baleme okwejjusa bwe baliraba okulwana, baleme okudda e Misiri: 18 naye Katonda n'abeetoolooza abantu mu kkubo ery'eddungu ku mabbali g'Ennyanja Emmyufu: abaana ba Isiraeri ne balinnya nga balina ebyokulwanyisa okuva mu nsi ey'e Misiri. 19 Musa n'atwala amagumba ga Yusufu wamu naye: kubanga yabalayiza ddala abaana ba Isiraeri, ng'ayogera nti Katonda talirema kubajjira; nammwe mulitwala amagumba gange okuva wano wamu nammwe: 20 Ne bava mu Sukkosi okutambula, ne basula mu Yesamu ku nsalo y'eddungu. 21 Mukama n'agenda mu maaso gaabwe emisana mu mpagi ey'ekire okubakulembera, mu kkuba; era ekiro mu mpagi ey'omuliro, okubaakira: balyoke batambule emisana n'ekiro; 22 empagi ey'ekire emisana, n'empagi ey'omuliro ekiro, tezaggwaawo mu maaso g'abantu.

Okuva 14

1 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 2 Bagambe abaana ba Isiraeri badde ennyuma basule mu maaso ga Pikakirosi, wakati wa Migudooli n'ennyanja, mu maaso ga Baalizefoni: emitala w'eri mulisula ku mabbali g'ennyanja. 3 Falaayo aliboagerako abaana ba Isiraeri nti Bazingiziddwa mu nsi, eddungu libasibye. 4 Nange Falaawo ndimukakanyaza omutima, alibagoberera ennyuma waabwe; nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo ne ku ggye lye lyonna; n'Abamisiri balimanya nga nze Mukama. Bwe batyo bwe baakola. 5 Ne bamugamba kabaka w'e Misiri nti Abantu badduse: omutima gwa Falaawo n'ogw'abaddu be ne gukyukira ku bantu, ne boogera nti Kiki kino kye tukoze, okuleka Isiraeri obutatuweereza? 6 N'ateekateeka eggaali lye, n'atwala abantu be wamu naye: 7 n'atwala amagaali lukaaga amalonde, n'amagaali gonna ag'e Misiri, n'abaami okubeera ku go gonna. 8 Mukama n'akakanyaza omutima gwa Falaawo kabaka We Misiri, n'agoberera abaana ba Isiraeri: kubanga abaana ba Isiraeri baafuluma n'okwewaana. 9 Abamisiri ne babagoberera ennyuma, embalaasi zonna n'amagaali gonna aga Falaawo, n'ababe abeebagala embalaasi n'eggye lye, ne babatuukako nga basuze kumpi n'ennyanja, ku mabbali ga Pikakirosi, mu maaso ga Baalizefoni. 10 Falaawo bwe yasembera, abaana ba Isiraeri ne bayimusa amaaso gaabwe, laba, Abaimisiri nga babagoberera ennyuxria lwaabwe: ne batya nnyo: abaana ba Isiraeri ne bakaabira Mukama. 11 Ne bagamba Musa nti Kubanga tewali ntaana mu Misiri kyovudde otuleeta tufiire mu ddungu? Kiki ekikutukozezza bw'oti, okutuggya mu Misiri? 12 Kino si ky'ekigambo kye twakugambira mu Misiri, nga twogera nti Tuleke tuweereze Abamisiri? Kubanga kirungi okubaweereza Abamisiri okusinga okufiira mu ddungu. 13 Musa n'abagamba abantu nti Temutya, muyimirire buyimirizi, mulyoke mulabe obulokozi bwa Mukama bw'anaabakolera leero : kubanga Abamisiri be mulabye leero, temulibalaba nate emirembe gyonna. 14 Mukama anaabalwanirira, nammwe munaasirika. 15 Mukama n'agamba Musa nti Kiki ekikunkaabizza? Bagambe abaana ba Isiraeri bagende mu maaso. 16 Era yimusa omuggo gwo, ogolole omukono gwo ku nnyanja, ogyawulemu: n'abaana ba Isiraeri banaagenda wakati w'ennyanja ku lukalu. 17 Nange, laba, nze ndibakakanyaza emitima Abamisiri, baliyingira okubagoberera: nange ndyefunira ekitiibwa ku Falaawo, ne ku ggye lye lyonna, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. 18 Abamisiri balimanya nga nze Mukama bwe ndimala okwefunira ekitiibwa ku Falaawo, ku magaali ge, ne ku bantu be abeebagala. 19 Malayika wa Katonda, eyakulembera eggye lya Isiraeri, n'avaayo n'adda ennyuma waabwe; empagi ey'ekire n'eva mu maaso gaabwe, n'eyimirira ennyuma waabwe; 20 n'ejja n'ebeera wakati w'eggye ly'e Misiri n'eggye lya Isiraeri; ne waba ekire n'ekizikiza, naye n'ereeta omusana ekiro : abo ne batabasemberera bali ekiro kyonna. 21 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja; Mukama n'asindika ennyanja n'omuyaga ogw'amaanyi ogw'ebuvanjuba obudde okukya, ennyanja n'agifuula olukalu, amazzi ne geeyawulamu. 22 Abaana ba Isiraeri ne bayingira wakati w'ennyanja ku lukalu: amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo ne ku gwa kkono. 23 Abamisiri ne bagoberera, ne bayingira ennyuma waabwe wakati w'ennyanja, embalaasi zonna eza Falaawo, amagaali ge, n'abautu be abeebagala. 24 Awo olwatuuka mu kisisimuka eky'enkya Mukama n'atunuulira eggye ery'Abamisiri mu mpagi ey'omuliro n'ekire, ne yeeraliikiriza eggye ery'Abamisiri. 25 N'aggyako bannamuziga ab'amagaali gaabwe, ne bagagoba nga gazitowa: Abamisiri ne boogera nti Tudduke mu maaso ga Isiraeri; kubanga Mukama abalwanirira ku Bamisiri. 26 Mukama n'agamba Musa nti Golola omukono gwo ku nnyanja, amazzi gadde ku Bamisiri, ku magaali gaabwe ne ku beebagazi baabwe. 27 Musa n'agolola omukono gwe ku nnyanja, ennyanja n'edda mu maanyi gaayo nga bukedde; Abamisiri ne bagidduka; Mukama Abamisiri n'abakunkumulira wakati mu nnyanja. 28 Amazzi ne gadda, ne gasaanikira amagaali, n'abeebagazi, era n'eggye lya Falaawo lyonna abaavingira mu nnyanja ennyuma waabwe; tewaasigala n'omu mu bo. 29 Naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja; amazzi ne gababeerera ekisenge ku mukono ogwa ddyo, n'ogwa kkono. 30 Bw'atyo Mukama n'alokola Isiraeri ku lunaku luli mu mukono gw'Abamisiri; Isiraeri ne balaba Abamisiri nga bafudde ku mabbali g'ennyanja. 31 Isiraeri ne balaba omulimu omunene Mukama gwe yakola Abamisiri, abantu ne bamutya Mukama; ne bamukkiriza Mukama n'omuddu we Musa.

Okuva 15

1 Musa n'abaana ba Isiraeri ne balyoka bamuyimbira Mukama oluyimba luno ne boogera nti Ndimuyimbira Mukama, kubanga yawangulidde ddala: Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanga. 2 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, Anfuukidde obulokozi bwange: Ono ye Katonda wange, nange ndimutendereza; Ye Katonda wa kitange, nange ndimugulumiza. 3 Mukama ye muzira okulwana: Mukama lye linnya lye, 4 Amagaali ga Falaawo n'eggye lye yabisudde mu nnyanja: N'abakungu be be yalonda basaanyeewo mu Nnyanja Emmyufu. 5 Obuziba bubasaanikidde: Basse mu buziba ng'ejjinja. 6 Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gulina ekitiibwa mu maanyi, Omukono gwo ogwa ddyo, Mukama, gubetenta omulabe. 7 Era mu bukulu obw'okusinga kwo obasuula abakulumba: Otuma obusuugu bwo, ne bubasiriiza ng'ebisasiro. 8 Era n'omukka ogw'omu nnyindo zo amazzi gaalinnyisibwa. Ebitaba ne biyimirira entuumo; Obuziba ne bukwata mu mutima ogw'ennyanja. 9 Omulabe n'ayogera nti Naagoberera, naatuuka, naagerel:a omunyago: Okwegom.ba kwange kunakkusibsva kti bo; Naasowola ekitala kyange, omukono gwange gulibazikiriza. 10 Wakunsa omuyaga gwo, ennyanja n'ebasaanikira: Baasaanawo nga lisasi mu mazzi ag'amaanyi. 11 Ani afaanana nga ggwe, Mukama, mu bakatonda? Ani afaanana nga ggwe alina ekitiibwa mu butukuw, Ow'entiisa mu kutenderezebwa, akola amagero? 12 Wagolola omukono gwo ogwa ddyo, Ensi n'ebamira. 13 Ggwe mu kisa kyo wabakulembera abantu be wanunula: N'obaleeta mu maanyi go okutuuka mu kifo kyo ekitukuvu. 14 Amawaaga gaawulira, ne gakankana: Obulumi bwabakwata abatuula mu Bufirisuuti. 15 Abakungu ab'omu Edomu ne balyoka beewuunya; Ab'amaanyi ab'omu Mowaabu, okukankana kubakwata: Abatuula mu Bukanani bonna bayenjebuka. 16 Okutekemuka n'entiisa bibaguddeko; Mu bukulu obw'omukono gwo batudde ng'ejjinja; Okutuusa abantu bo lwe balisomoka, Mukama, Okutuusa abantu lwe balisomoka be weefunira. 17 Olibayingiza, olibasimba ku lusozi olw'obusika bwo, Ekifo kye weerongooseza, Mukama, okutuula omwo, Awatukuvu wo, Mukama, emikono gyo we gyanyweza. 18 Mukama alifuga emirembe n'emirembe. 19 Kubanga embalaasi za Falaawo ne ziyingira wamu n'amagaali ge n'abeebagala mu nnyanja, Mukama n'azzaawo amazzi ag'omu nnyanja ku bo; naye abaana ba Isiraeri ne batambula ku lukalu wakati mu nnyanja. 20 Miryamu, nabbi, mwannyina Alooni, n'atwala ensaasi mu mukono gwe; abakazi bonna ne bafuluma ne bamugoberera nga balina ensaasi nga bazina. 21 Miryamu n'abaddamu nti Mumuyimbire Mukama, kubanga yawangulidde ddala; Embalaasi n'omwebagazi waayo yabisudde mu nnyanja. 22 Musa n'atambuza Isiraeri okuva ku Nnyanja Emmyufu, ne bavaamu ne batuuka mu ddungu lya Ssuuli; ne bagenda ennaku ssatu mu ddungu ne batalaba mazzi. 23 Bwe baatuuka e Mala, ne batayinza kunywa ku mazzi ge Mala, kubanga gaali gakaawa : kyekyava kiyitibwa erinnya lyakyo Mala. 24 Abantu ne bamwemulugunyiza Musa, nga boogera nti Tunaanywa ki? 25 N'akaabira Mukama; Mukama n'amulaga omuti, n'agusuula mu mazzi, amazzi ne gafuuka amalungi. Awo we yabalagirira etteeka n'e mpisa, n'abakemera awo; 26 n'ayogera nti Oba nga oliwulira nnyo eddoboozi lya Mukama Katonda wo, n'okola obutuukirivu mu maaso ge, n'owulira amateeka ge, n'okwata by'alagira byonna, sirikuteekako ggwe endwadde zonna ze nnateeka ku Bamisiri: kubanga nze Mukama akuwonya. 27 Ne batuuka Erimu, awali ensulo z'amazzi ekkumi n'ebbiri, n'enkindu ensanvu: ne basula awo awali amazzi.

Okuva 16

1 Ne bava Erimu nga batambula, ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batuuka mu ddungu lya Sini, eriri wakati wa Erimu ne Sinaayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'okubiri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri. 2 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni mu ddungu: 3 abaana ba Isiraeri ne babagamba nti Waakiri twandifiiridde olw'omukono gwa Mukama mu nsi ey'e Misiri, bwe twali tutudde awali entamu ez'ennyama, bwe twali tulya emmere nga tukkuta; kubanga mwatufulumya mu ddungu lino, okutta ekibiina kino kyonna n'enjala. 4 Mukama n'alyoka agamba Musa nti Laba, nditonnyesa emmere okuva mu ggulu ku lwammwe; n'abantu balifuluma okukur3riaanya ekitundu eky'olunaku buli lunaku, ndyoke mbakeme nga banaatambuliranga mu mateeka gange oba tebaatambulirengamu. 5 Awo olunaatuukangs ku lunaku olw'omukaaga hanaateekateekanga gye baliyingiza, era eneesinganga emirundi ebiri gye bakiMrpanya buli lunaku. 6 Musa ne Alooni ne bagamba abaana ba Isiraeri bonna nti Olweggulo lwe mulimanya nga Mukama ye yabaggya mu nsi ey'e Misiri: 7 era enkya lwe muliraba ekitiibwa kya Mukama; kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe ku Mukama: naffe ffe baani, n'okwemuluguaya ne mwemulugunyiza ffe? 8 Musa n'ayogera nti Kino kinaabaawo, Mukama bw'anaabawa olweggulo ennyama okulya, n'enkya eznmere okukkuta; kubanga Mukama awulidde okwemulugunya kwammwe kwe mumwemulugunyiza: naffe ffe baani? Temwemulugunyiza ffe, wabula Mukama. 9 Musa n'agamba Alooni nti Bagambe ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Musembere mu maaso ga Mukazna: kubanga awulidde okwemulugunya kwammwe. 10 Awo, Alooni bwe yali ng'ayogera n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, ne batunuulira mu ddungu; laba, ekitiibwa kya Mu kama ne kirabika mu kire. 11 Mukama n'amugamba Musa, ng'ayogera nti 12 Mpulidde okwemulugunlra kw'abaaaa ba Isiraeri: obagambe, ng'oyogera nti Olweggulo munaalya ennyama, n'eakya munakkuta emmere; nammwe munaamanya nga nze Mukama Katonda wammwe. 13 Awo olweggulo obugubi ne bulyoka bulinnya ne busaanikira olusiisira: enkya olufu ne lugwa ne lwetooloola olusiisira. 14 Olufu olwagwa bwe lwaggwaako, laba, ne wabaawo kungulu w'eddungu akantu akatono akeekulungirivu, akatono ng'omusulo omukwafu oguba ku nsi, 15 Abaana ba Isiraeri bwe haakiraba ne bagambagana bokka na bokka nti Kiki kino? kubanga tebaamanya bwe kyali. Musa n'abagamba nti Eyo ye mmere Mukama gy'abawadde okulya. 16 Ekyo kye kigambo ky'alagidde Mukama nti Mukuŋŋaanyeeko buli muntu nga bw'alya; buli muntu kkomero emu, ng'omuwendo gw'abantu bammwe bwe guli, mulikitwala, buli muntu alibatwalira ab'omu weema ye. 17 Abaana ba Isiraeri ne bakola bwe batyo, ne bakuŋŋaanya abalala nnyingi, abalala ntono. 18 Awo bwe baageranga mu kkomero, eyakurjnaanya ennyingi n'atafissaawo, era eyakunrlaanya entono n'ateetaaga; baakuŋŋaanya buli muntu nga bw'alya. 19 Musa n'abagamba nti Omuntu talekaawo okutuusa enkya. 20 Naye Musa ne batamuwulira; naye abamu mu bo ne balekawo okutuusa enkya, n'ezaala envunyu, n'ewunya: Musa n'abakwatirwa obusungu. 21 Ne bakunnaanya buli nkya, buli muntu nga bw'alya: era omusana bwe gwayai kanga n'ekereketa: 22 Awo olunaku olw'omukaaga bwe lwatuukanga, ne bakuŋŋaanya emirundi eri emmere, buli muntu kkomeri bbiri: abakulu bonna ab'ekibiina ne bajja ne bamugamba Musa 23 N'abagamba nti Ekyo Mukama kye yayogera nti Enkya kye kiwummulo ekikulu, ssabiiti entukuvu eri Mukama: mwokye bye mwagala mufumbe bye mwagala okufumba; yonna esigalawo mweterekere ensibo okutuusa enkya. 24 Ne beeterekera okutuusa enkya, Musa nga bwe yalagira: n'etewunya, 'so ne mutaba na nvuayu. 25 Musa n'ayogera nti Mulye eno leero; kubanga leero ye ssabbiiti eri Mukama; leero temuugirabe mu ttale. 26 Mukuŋŋaanye mu nnaku mukaaga; naye ku lunaku olw'omusa nvu ye ssabbiiti, okwo teribeerawo. 27 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bagenda abamu ku bantu oku kuŋŋaanya, ne batagiraba. 28 Mukama n'amugamba Musa nti Mulituusa wa okugaana okukwata amateeka gange n'ebiragiro byange? 29 Mulabe, kubanga Mukama abawadde ssabbiiti, kyava abawa ku lunaku olw'omukaaga emmere nnaku ey’ennaku ebbiri; mutuule buli muntu mu kifo kye, tavanga omuntu yenna mu kifo kye ku lunaku olw'omusa nvu. 30 Ne bawummulanga abantu ku lunaku olw'omusanvu. 31 Ennyumba ya Isiraeri ne bagiyita erinnya lyayo Manu: n'efaanana ng'ensigo za jada, enjeru; n'obuwoomerevu bwayo bufaanana ng'emigaati egy'omubisi gw'enjuki.Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi eye Misiri. 32 Musa n'ayogera nti Ekyo kye kigambo Mukama kye yalagira nti Kkomero ejjudde eterekerwe emirembe gyammwe; balyoke balabe emmere gye nnabaliisa mu ddungu bwe nnabaggya mu nsi eye Misiri. 33 Musa n'amugamba Alooni nti Twala ekibya osse munda kkomero ejjudde manu, okiteeke mu maaso ga Mukama, ensibo y'emirembe gyammwe. 34 Nga Mukama bwe yalagira Musa, bw'atyo Alooni n'akiteeka mu maaso g'obujulirwa, okubeera ensibo. 35 Abaana ba Isiraeri ne baliira manu emyaka amakumi ana, okutuusa lwe baatuuka mu nsi ey'abantu; ne balya manu okutuuka mu nsalo ez'ensi ya Kanani. 36 Era kkomero kye kitundu eky'ekkumi ekya efa.

Okuva 17

1 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne batambula okuva mu ddungu lya Sini, mu bisulo byabwe, mu kiragiro kya Mukama, ne basula mu Lefidimu; so nga tewali mazzi abantu banywe. 2 Abantu kyebaava bamuyombesa Musa, ne boogera nti Tuwe amazzi tunywe. Musa n'abagamba nti Lwaki okunnyombesa nze? Lwaki okumukema Mukama? 3 Abantu ne baba n'ennyonta eyo ey'amazzi, abantu ne bamwemulugunyiza Musa, ne boogera nti Lwaki watuggya e Misiri, okututta ffe n'abaana baffe n'ebisibo byaffe n'ennyonta? 4 Musa n'amukaabirira Mukama ng'ayogera nti Naabakola ntya abantu bano? babulako katono bankube amayinja. 5 Mukama n'amugamba Musa nti Yita mu maaso g'abantu, otwale wamu naawe ku bakadde ba Isiraeri; n'omuggo gwo, gwe wakubya omugga, ogukwate mu mukono gwo, ogende. 6 Laba nze naayimirira mu maaso go eyo ku lwazi ku Kolebu; naawe onookuba olwazi, amazzi ganaavaamu, abantu banywe. N'akola bw'atyo Musa mu maaso g'abakadde ba Isiraeri. 7 N'atuuma ekifo erinnya lyakya Masa ne Meriba, olw'okuyomba kw'abaana ba Isiraeri, n'okuba nga baakema Mukama, nga boogera nti Mukama ali mu ffe nantiki? 8 Abamaleki ne bajja, ne balwanyisa; Isiraeri mu Lefidimu. 9 Musa n'agamba Yoswa nti Otulondere abantu, ogende, olwane n'Abamaleki: enkya naayimirira ku ntikko y'olusozi, omuggo gwa Katonda nga guli mu mukono gwange. 10 N'akola bw'atyo Yoswa nga bwe yamulagira Musa, n'alwana n'Abamaleki : Musa ne Alooni ne Kuli ne balinnya; ku ntikko y'olusozi. 11 Awo olwatuuka Musa bwe yayimusa omukono gwe, Isiraeri n'agoba: bwe yagussa omukono gwe, Abamaleki ne bagoba. 12 Naye emikono gya Musa ne gitendewererwa; ne batwala ejjinja ne baliteeka wansi we, n'alituulako; Alooni ne Kuli ne bawanirira emikomo gye, omu eruuyi n'omu eruuyi; emikono gye ne ginywera okutuusa enjuba okugwa. 13 Yoswa n'asuula Amaleki n'abantu be n'obwogi bw'elutala. 14 Mukama n'agamba Musa nti Wandiika ekyo mu kitabo okubeera ekijjuluzo okibuulire Yoswa mu matu ge: nga ndisangulira ddala okujjukirwa kwa Amaleki wansi w'eggulu. 15 Musa n'azimba ekyoto, n'akituuma erinnya lyakyo Yakuwa bendera yange: 16 n'ayogera.nti Mukama alayidde: Mukama alirwana ne Amaleki emirembe n'emirembe.

Okuva 18

1 Yesero, kabona wa Midiyaani, mukoddomi wa Musa, n'awulira byonna Katonda bye yakolera Musa ne Isiraeri abantu be, nti Mukama yaggyamu Isiraeri mu Misiri. 2 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'atwala Zipola, mukazi wa Musa, bwe yamugoba, 3 ye n'abaana be babiri; erinnya ly'omu mu bo Gerusomu; kubanga yayogera nti Nali mugenyi mu nsi etali yange: 4 n'erinnya ery'omulala Eryeza; kubanga yayogera nti Katonda wa kitange yali mubeezi wange n'amponya mu kitala kya Falaawo: 5 Yesero, mukoddomi wa Musa, n'ajja n'abaana be ne mukazi we eri Musa mu ddungu eryo gye yasula ku lusozi lwa Katonda: 6 n'agamba Musa nti Nze mukoddomi wo Yesero nzize gy'oli ne mukazi wo n'abaana be bombi wamu naye. 7 Musa n'avaayo okusisinkana mukoddomi we, n'akutama, n'amunywegera; ne babuuzagana nti Otyanno? ne bayingira mu weema. 8 Musa n'abuuiira mukoddomi we byonna Mukama bye yakola Falaawo n'Abamisiri ku lwa Isiraeri, ebizibu byonna ebyababeerako mu kkubo, era Mukama bwe yabawonya. 9 Yesero n'asanyuka ku lw'obulungi bwonna Mukama bwe yakola Isiraeri, kubanga yabalokola mu mukono gw'Abamisiri. 10 Yesero n'ayogera nti Yeebazibwe Mukama eyabalokola mu mukono gw'Abamisiri, ne mu mukono gwa Falaawo; eyalokoia abantu mu mukono gw'A bamisiri. 11 11 Kaakano ntegedde nti Mukama ye mukulu okusinga bakatonda bonna: weeiwaawo mu kigambo mwe beenyumiririza ku ba. 12 Yesero mukoddomi wa Musa, n'atwala ekiweebwayo ekyokebwa ne ssaddaaka eri Katonda: Alooni n'ajja, n'abakadde bonna aba Isiraeri, balye emmere awamu ne mukoddomi wa Musa mu maaso ga Katonda. 13 Awo olwatuuka enkya Musa n'atuula okubalamula abantu: abantu- ne bayimirira nga beetoolodde Musa okusoolca enkya okutuusa olweggulo. 14 Mukoddomi wa Musa bwe yalaba byonna bye yakolera abantu, n'ayogera nti Kiki kino ky'okolera abantu? Lwaki ggwe wehka ggwe otudde, abantu ne baba nga bayimiridde okukwebungulula, okuva enkya okuzibya obudde. 15 Musa n'agamba mukoddomi we nti Kubanga abantu bajja gye ndi okubuuza Katonda: 16 bwe baba n'eldgambo, ne bajja gye ndi; nange mbasaalira omusango omuntu ne munne, ne mbategeeza amateeka ga Katonda, n'ebiragiro bye. 17 Mukoddomi wa Musa n'amugamba nti Ekigambo ky'okola si kirungi. 18 Tolirema kusiriira ggwe n'abantu bano abali awamu naawe: kubanga ekigambo kizitowa okusinga bw'oyinza ggwe: toyinza kukituuluriza wekka. 19 Kaakano wulira eddoboozi lyange, naakuteeseza ebigambo, Katonda abe naawe: obabeerere abantu eri Katonda, oleete ensonga eri Katonda 20 naawe olibayigiriza amateeka n'ebiragiro, era olibalaga ekkubo eribagwanidde okuyitamu, n'emirimu egibagwanidde okukola. 21 Nate olonde mu bantu bonna abasajja abasaana, abatya Katonda, ab'amazima, abakyawa amagoba agatali ga butuukirivu; obakuze ku bo, babe abakulu b'enkumi, n'abakulu b'ebikumi, n'abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi: 22 babasalire abantu omusango ebi seera byonna: kale buli nsonga nnene banaagikuleeteranga ggwe, naye buli nsonga ntono banaagiramulanga bokka: bwe kityo kinaabeeranga kyangu ku ggwe, nabo baneetikkanga wamu naawe. 23 Bw'olikola ekigambo ekyo, era Katonda bw'alikulagira bw'atyo, n'olyoka oyinza okugumiikiriza ggwe, n'abantu abo bonna baligenda mu kifo kyabwe mu mirembe. 24 Awo Musa n'awulira eddoboozi lya mukoddomi we, n'akola byonna bye yayogera. 25 Musa n'alonda abasajja abasaanye mu Isiraeri yenna, n'abakuza ku bantu, abakulu ab'enkumi, abakulu b'ebikumi, abakulu b'amakumi ataano, n'abakulu b'amakumi. 26 Ne balamulanga abantu ebiseera byonna; ensonga enzibu baazireeteranga Musa, naye buli nsonga ntono baagiramulanga bokka. 27 Musa n'asiibula mukoddomi we; n'agenda mu nsi ye ye.

Okuva 19

1 Mu mwezi ogw'okusatu oluvannyuma abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi ey'e Misiri, ku lunaku luli ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi. 2 Bwe baava mu Lefidimu ne batuuka mu ddungu lya Sinaayi, ne bakuba eweema mu ddungu; Isiraeri n'asiisira wali mu maaso g'olusozi. 3 Musa n'alinnya eri Katonda, Mukama n'amuyita ng'ayima ku lusozi, ng'ayogera nti Bw'otyo bw'olibagamba ennyumba ya Yakobo, n'obabuulira abaana ba Isiraeri 4 nti Mwalaba bye nnakola Abamisiri, era bwe nnasitula mmwe n'ebiwaawaatiro by'empungu era bwe nnabaleeta gye ndi 5 Kale, kaakano, bwe munaawuliranga eddoboozi lyange ddala, ne mukwata endagaano yange, bwe mutyo munaabanga ekintu kyange ekiganzi mmwe mu mawanga gonna kubanga ensi yonna yange: 6 nammwe mulimbeerera okwakabaka ; bwa bakabona, n'eggwanga ettulkuvu. Bino bye bigambo by'oliba buulira abaana ba Isiraeri. 7 Musa n'ajja n'ayita abakadde ab'abantu, n'ateeka mu maaso gaabwe ebigambo bino byonna Mukama bye yamulagira. 8 Abantu bonna ne baddamu awamu ne boogera nti Byonna bye yayogera Mukama tulibikola. Musa n'aleeta nate ebigambo by'abantu eri Mukama. 9 Mukama n'amugamba Musa nti Laba, njija gy'oli mu kire ekizimbye, abantu bawulire bwe njogera naawe, era bakukkirize ennaku zonna. Musa n'abuulira Mukama ebigambo eby'abantu. 10 Mukama n'agamba Musa nti Genda eri abantu, obatukuze leero ne jjo, era bayoze engoye zaabwe, 11 beeteketeeke okutuusa olunaku olw'okusatu: kubanga ku lunaku olw'okusatu Mukama alikka mu maaso g'abantu bonna ku lusozi Sinaayi. 12 Naawe olibateekera abantu ensalo enjuyi zonna, ng'oyogera nti Mwekuume, muleme okulinnya ku lusozi newakubadde okukwata ku nsalo yaalwo: buli alikwata ku lusozi, talirema kuttibwa: 13 omukono gwonna guleme okumukwatako, naye talirema kukubibwa mayinja oba kufumitwa; oba ensolo, aba muntu, taliba mulamu: exlrjombe bw'erivuga ennyo, balisemberera olusozi. 14 Musa n'akka ng'ava mu lusozi ng'ajja eri abantu, n'atukuza abantu; ne bayoza engoye zaabwe 15 15 N'agamba abantu nti Mweteekereteekere alunaku olw'okusatu: temusemberera mukazi. 16 Awo ku lunaku olw'okusatu, bwe bwakya enkya, ne waba okubwatuka n'okumyansa, n'ekire ekizimbye ku lusozi,n'eddoboozi ery'eŋŋombe eddene ennyo; awo abantu bonna abaali mu lusiisira ne bakankana. 17 Musa n'aleeta abantu okuva mu lusiisira basisinkane Katonda; ne bayimirira wansi w'olusozi. 18 Olusozi Sinaayi lwonna ne lunyooka omukka, kubanga Mukama yalukkirako mu muliro: omukka gwalwo ne gunyooka ng'omukka gw'ekikoomi, olusozi lwonna ne lukankana nnyo. 19 Eddoboozi ly'erJnombe bwe lyavuga ne lyeyongera nnyo, Musa n'ayogera, Katonda n'amuddamu n'eddoboozi. 20 Mukama n'akka ku lusozi Sinaayi, ku ntikko y'olusozi; Mukama n'ayita Musa okulinnya ku ntikko y'oiusozi: Musa n'alinnya 21 Mukama n'agamba Musa nti Serengeta, olagire abantu, baleme okuwaguza eri Mukama okwekaliriza n'amaaso, abantu bangi baleme okubula mu bo. 22 Era ne bakabona abasemberera Mukama, beetukuze, Mukama aleme okugwa ku bo. 23 Musa n'agamba Mukama nti Abantu tebayinza kulinnya ku lusozi Sinaayi: kubanga watulagira, ng'oyogera nti Teeka ensalo okwetooloola olusozi, era olutukuze. 24 Mukama n'amugamba nti Genda, oserengete; naawe olirinnya, ggwe ne Alooni wamu naawe; naye bakabona n'abantu baleme okuwaguza okulinnya eri Mukama, aleme okugwa ku bo. 25 Awo Musa n'aserengeta eri abantu, n'ababuulira.

Okuva 20

1 Katonda n'ayogera ebigambo bino byonna, ng'ayogera nti 2 Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu. 3 Tobanga na bakatonda balala we ndi. 4 Teweekoleranga ekifaananyi ekyole, newakubadde ekifaananyi eky'ekintu kyonna kyonna, ekiri waggulu mu ggulu, newakubadde ekiri wansi ku ttaka, newakubadde ekiri mu mazzi agali wansi w'ettaka: 5 tobivuunamiranga ebyo, so tobiweerezanga: kubanga nze Mukama Katonda wo ndi Katonda wa buggya, abiwalana ku baana ebibi bya bajjajja baabwe okutuusa ku mirembe egy'oku bannakasatwe ne ku bannakana, egy'abantu abankyawa; 6 era addiramu abantu nga nkumi na nkumi abanjagala, abakwata amateeka gange: 7 Tolayiriranga bwereere erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga mu maaso ga Mukama omusango gulimusinga omuntu alayirira obwereere erinnya lye. 8 Jjukira olunaku olwa ssabbiiti, okulutukuzanga. 9 Ennaku omukaaga okolanga emirimu gyo gyonna: 10 naye olunaku olw'omusanvu ye ssabbiiti eri Mukama Katonda wo: olunaku olwo tolukolerangamu mirimu gyonna gyonna; so naawe wekka, newakubadde omwana wo omulenzi, newakubadde muwala wo, newakubadde omuddu wo, newakubadde omuzaana wo, newakubadde ebisolo byo, newakubadde munnaggwanga ali omumwo: 11 kubanga mu nnaku omukaaga Mukama mwe yakolera eggulu n'ensi, ennyanja, n'ebintu byonna ebirimu, n'awummulira ku lunaku olw'omusanvu: Mukama kyeyava aluwa omukisa olunaku olwa ssabbiiti, n'alutukuza. 12 Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa: enaku zo zibe nnyingi ku nsi gy'akuwadde Mukama Katonda wo. 13 Tottanga. 14 Toyendanga. 15 Tobbanga. 16 Towaayirizanga muntu munno: 17 Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno. 18 Abantu bonna ne balaba okubwatuka, n'enjota, n'eddoboozi ly'eŋŋombe, n'olusozi nga lunyooka omukka: abantu bwe baalaba ne bakankana, ne bayimirira wala, 19 Ne bagamba Musa nti Ggwe yogera naffe, lwe tunaawulira: naye Katonda aleme okwogera naffe, tuleme okufa. 20 Musa n'agamba abantu nti Temutya: kubanga Katonda azze okubakema, era entiisa ye ebeere mu maaso gammwe, muleme okwonoona. 21 Abantu ne bayimirira wala, Musa n'asemberera ekizikiza ekikutte Katonda gy'ali. 22 Mukama n'agamba Musa nti Bw'otyo bw'ogamba abaana ba Isiraeri nti Mmwe mulabye nga nnyimye mu ggulu okwogera nammwe. 23 Temukolanga bakatonda balala we ndi, bakatonda b'effeeza, newakubadde bakatonda b'ezzaabu, temubeekoleranga. 24 Ekyoto eky'ettaka onkolere, osseeko ebyo by'owaayo ebyokebwa n'ebyo by'owaayo olw'emirembe, endiga zo n'ente zo: buli wantu we njijukirizanga erinnya lyange ndijja gy'oli nange ndikuwa omukisa. 25 Era bw'olinkolera ekyoto eky'amayinja, tokizimbyanga mayinja agatemebwa: kubanga bw'olikiyimusaako ekyuma kyo, ng'okireetedde obugwagwa. 26 So tolinnyanga ku kyoto kyange ku madaala, oleme okukunamirako.

Okuva 21

1 Egyo gye misango gy'oliteeka mu maaso gaabwe. 2 Bw'ogulanga omuddu Omwebbulaniya, aweererezanga emyaka mukaaga: awo ogw'omusanvu aligenda n'eddembe bwereere. 3 Oba nga yajja omu, agendanga omu: oba nga alina omukazi, mukazi we agendanga naye. 4 Mukama we bw'amuwanga omukazi n'amuzaalira abaana ab'obulenzi oba abaana ab'obuwala; omukazi n'abaana be balibeera ba mukama we, naye agendanga omu. 5 Naye omuddu bw'ayogereranga ddala nti Njagala mukama wange; mukazi wange; n'abaana bange; saagala kugenda n'eddembe: 6 Awo mukama we amuleetanga eri Katonda, amuleetanga ku luggi oba ku mufuubeeto; ne mukama we amuwummulanga okutu n'olukato; anaamuweerezanga ennaku zonna. 7 Omuntu bw'atundanga muwala we okubeera omuzaana, tagendanga ng'abaddu bwe bagenda. 8 Oba nga tasanyusa mukama we, eyamuwasa, amulekanga okununulibwa: okumuguza bannaggwanga taliragirwa, kubanga amulimbye. 9 Oba nga amugabira omwana we, amukolanga ng'abawala. 10 Oba ng'awasa omulala; emmere ye, n'engoye ze n'ebigambo bye eby'obu gole tabikendeezangako. 11 Era bw'atamukoleranga ebyo byonsatule, aligenda bwereere, awatali bintu. 12 Akubanga omuntu okumutta, talemanga kuttibwa. 13 Era omuntu bw'atateeganga, naye Katonda n'amuteeka mu mukono gwe; oyo ndikulagirira ekifo ky'aliddukiramu. 14 Omuntu bw'ajjanga ng'agira ekyejo ku munne, okumutta n'olukwe; omuggyanga ku kyoto kyange, afe. 15 Akubanga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa. 16 Abbanga omuntu n'amutunda, Abbanga omuntu n'amutunda, oba bw'alabikanga mu mulcono gwe, talemanga kuttibwa. 17 Akolimiranga kitaawe oba nnyina, talemanga kuttibwa. 18 Era abantu bwe balwananga, omuntu omu n'akuba munne ejjinja oba kikonde, n'atafa naye n'amala agalamizibwa ku kitanda: 19 bw'agolokolcanga n'avaayo n'asenvulira ku muggo, eyamukuba nga tazzizza musango: naye amugattanga olw'ebiseera bye bye yamwonoonera, era alimuwonyeza ddala. 20 Era omuntu bw'akubanga omuddu we oba muzaana we n'omuggo bw'afanga ng'akyali wansi w'omukono gwe; talemanga kubo nerezebwa. 21 Naye bw'alwangawo ng'ennaku ebbiri, tabonerezebwanga: kubanga oli bye bintu bye. 22 Era abantu bwe balwanalwananga, ne balcola obubi omukazi alina olubuto; olubuto ne Iuvaamu, naye akabi konna ne katabaawo: talemanga kuliwa, nga bba w'omukazi bw'alimusalira; aliriwa ng'abalamuzi bwe balagiranga. 23 Naye akabi bwe kabangawo, owangayo obulamu olw'obulamu, 24 eriiso olw'eriiso, erinnyo olw'erinnyo, omukono olw'omukono, ekigere olw'ekigere, 25 okwokebwa olw'okwokebwa, ekiwundu olw'ekiwundu, okukubibwa olw'okukubibwa. 26 Era omuntu bw'akubanga eriiso ly'omuddu we, oba eriiso ly'omuzaana we n'aliziba; amuwanga eddembe olw'eriiso lye. 27 Omuntu bw'akubanga erinnyo Iy'omuddu we oba erinnya ly'omuzaana we, amuwanga eddembe olw'erinnyo lye. 28 Era ente bw'etomeranga omusajja oba mukazi okubatta, ente teremariga kukubibwa mayinja, so n'ennyama yaayo teriibwanga; naye nannyini nte nga taliiko musango. 29 Naye ente nga yamanyiira okuzomeza amayembe edda, nannyiniyo n'abuulirwa so n'atagisiba, naye 'ow'ettanga amusajja oba mukazi; ente ekubibwanga amayinja, era ne nannyiniyo attibwanga. 30 Bwe bamusaliranga olufuubanja, awangayo ebintu bye bamusalidde byonna okununula obulamu bwe. 31 Bw'etomeranga omwana ow'obulenzi oba omwana ow'obuwala, nnyiniyo ateekebwangalco omusango gwe gumu. 32 Ente bw'etomeranga omuddu oba muzaana; awangayo eri mukama waabwe ebitundu eby'effeeza amakumi asatu, era n'ente ekubibwanga amayinja. 33 Era omuntu bw'abikkulanga obunnya oba omuntu bw'asimanga obiunnya n'atabubikkako, ente oba endogoyi n'egwamu, 34 nannyini bunnya amuliyiranga omuwendo gw'ente; awangayo effeeza eri nannyinizo, n'ekisolo elufudde kibeeranga kikye. 35 Era ente y'omuntu bw'etomeranga ente ey'omulala n'emala egitta; batundanga ente ekyali ennamu, ne bagabana omuwendo gwayo; era n'efudde bagigabananga. 36 Oba bwe kimanyibwanga nti ente yamanyiira okutomeza amayembe edda, nannyiniyo n'atagisiba; talemanga kuliwa ente olw'ente, n'ekisolo ekifudde kibeezanga kikye.

Okuva 22

1 Omuntu bw'abbanga ente, oba endiga, n'amala agitta oba kugitunda; azzangawo ente ttaano olw'ente, n'endiga nnya olw'endiga. 2 Omubbi bw'alabibwanga ng'asima n'akubibwa n'amala afa, tewabanga musango gwa musaayi ku lulwe. 3 Oba enjuba bw'eba ng'evuddeyo ku ye, wabanga omusango ogw'omusaayi ku lulwe: kimugwanidde okuliwa; oba nga talina kintu, atundibwanga olw'okubba kwe. 4 Kye yabba bwe kirabikanga mu mukono gwe nga kikyali kiramu, oba nte, oba ndogoyi, oba ndiga; azzangawo bbiri. 5 Omuntu bw'aliisanga olusuku oba nnimiro y'emizabbibu, bw'agirelanga ensolo ye n'erya ku lusuku olw'omuntu omulala; aliwanga ku by'olusuku lwe ebisinga, ne ku by'ennimiro ye ey'emizabbibu ebisinga. 6 Omuliro bwe gwakanga ne gulinnya mu maggwa, emitwalo gy'eŋŋaano oba eŋŋaano ng'ekyamera oba nnimiro ne bimala bisiriira; akumanga omuliro, talemanga kuliwa. 7 Omuntu bw'ateresanga munne effeeza oba bintu, ne bamala babi bbiramu nnyumba ye; omubbi bw'anaalabikanga aliwanga emirundi ebiri. 8 Omubbi bw'atalabikanga, nannyini nnyumba asembereranga Katonda, okulaba oba nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne. 9 Kubanga buli kigambo eky'okwonoona, oba olw'ente, oba olw'endogoyi, oba olw'endiga, oba olw'engoye, oba olwa buli kibuze, omuntu ky'ayogerako nti Kye kino, ensonga ey'abo bombi ereetwanga eri Katonda; oli Katonda gw'asaliranga omusango aliwanga emirundi ebiri. 10 Omuntu bw'ateresanga munne endogoyi, oba nte, ndiga, oba nsolo yonna; nayo n'emala efa, oba kufaafaagana, oba okugobebwa nga tewali muntu alaba: 11 ekirayiro kya Mukama kibeeranga wakati waabwe bombi, nga teyateeka mukono gwe ku bintu bya munne; nannyiniyo akikkirizanga, so tali wanga. 12 Naye bw'ebbibwanga ku ye, amuliyiranga nannyiniyo. 13 Bw'etaagulwataagulwanga, agireetanga ebe omujulirwa; tamuliyiranga olw'etaaguddwa. 14 Era omuntu bw'asabanga ekintu eri munne, ne kyonooneka, oba ne kifa, nga taliiwo nannyinikyo, talemanga kumuliyira. 15 Nannyinikyo bw'abangawo, tamuliyiranga: bwe kibanga eky'empeera, nga kyajja lwa mpeera yaakyo olw'okupangisa. 16 Era omuntu bw'asendasendanga omuwala omuto atannayogerezebwa n'amala amwonoona, talemanga kuliwa bintu eby'obuko ku lulwe alyoke abeere mukazi we. 17 Kitaawe bw'agaaniranga ddala okumumuwa, aliwanga ku muwendo ogw'okwogereza abawala abato. 18 Omukazi omulogo tomulekanga mulamu. 19 Buli asulanga n'ensolo, talemanga kuttibwa. 20 Awangayo ssaddaaka eri katonda yenna, wabula eri Mukama yekka, azikirizibwanga ddala. 21 Era munnaggwanga tomwonoonanga, so tomukolanga bubi: kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri. 22 Buli nnamwandu ne mulekwa temubabonyaabonyanga. 23 Bw'onoobabonyaabonya nga n'akatono, bwe banankaabiranga nze, siiremenga kuwy,lira kukaba a kwabwe; 24 era obusungu bwange bulyaka nnyo, nange naabattanga n'ekitala; ne bakazi bammwe baliba bannamwandu, n'abaana bammwe bamulekwa. 25 Bw'owolanga buli omu mu bantu bange ali naawe effeeza nga mwavu, tomubeereranga ng'omubanzi, so tomusaliranga magoba. 26 Bw'osingirwanga ekyambalo kya munno, omuddizangayo enjuba nga tennagwa: 27 kubanga ekyo kye kimubikka kyokka, kye kyambalo kye eky'omubiri gwe: aneebikka ki? awo, bw'anankaabiranga, naawuliranga; kubanga nnina ekisa. 28 Tovumanga Katonda, so tokolimiranga omukulu w'abantu bo. 29 Tolwanga kuwaayo ku bungi obw'ebibala byo n'envinnyo yo. Omubereberye mu baana bo omumpanga. 30 Bw'otyo bw'onoolcolanga era n'ente zo, n'endiga zo: ennaku musanvu ebeeranga ne nnyina waayo; ku lunaku olw'omunaana ogimpanga nze. 31 Era munaabanga abantu abatukuvu gye ndi: kyemunaavanga mulema okulya ku nnyama ensolo gye zisse mu nsiko; mugisuuliranga embwa.

Okuva 23

1 Tokkirizanga kigambo kya bulimba: toteekanga mukono gwo awamu n'abatali batuukirivu okubeera omujulirwa ow'obulimba. 2 Togobereranga bangi okukola obubi; so toyogeranga mu nsonga okyame eri abangu okukyusa omusango: 3 so tomusalirizanga omwavu mu nsonga ye. 4 Bw'osanganga ente ey'omulabe wo oba ndogoyi ye ng'ekyama, tolemanga kugimuleetera nate. 5 Bw'olabanga endogoyi y'oyo aku kyaye ng'egalamizibbwa wansi w'o;mugugu gwayo, bw'oyagalanga obuitamuyamba, tolemanga kumuyamba. 6 Tokyusanga musango gwa mwavu wo mu nsonga ye. 7 Weebalamanga mu kigambo eky'obulimba; so tomuttanga atalina kabi n'omutuukirivu: kubanga sirifuula omubi okubeera omutuukirivu. 8 Era toweebwanga kirabo : kubanga ekirabo kibaziba amaaso abatunula, ikikyusa ebigamno by'abatuukirivu. 9 Tokolanga bubi munnaggwanga: kubanga mmwe mumanyi omutima gw'omunnaggwanga, kubanga mwali bannaggwanga mu nsi ey'e Misiri. 10 Era emyaka mukaaga osiganga ensi yo, n'okumaanyanga ebibala byayo: 11 naye omwaka ogw'omusanvu ogiwummuzanga ereme okubeera n'emirimu; abaavu ab'omu bantu bo balyoke balye : gye balekangawo ensolo ey'omu nsiko egiryanga. Bw'otyo bw'onookolanga olusuku lwo olw'emizabbibu, n'olw'emizeeyituuni. 12 Ennaku omukaaga kolanga emirimu gyo, ne ku lunaku olw'omusanvu wummulanga: ente yo n'endogoyi yo ziryoke ziwummule, n'omwana ow'omuzaana wo, ne munnaggwanga bafune amaanyi. 13 Era mu bigambo byonna bye nnabagamba, mwekuumanga: so toyogeranga n'akatono erinnya lya bakatonda abalala newakubadde okuwulikika mu kamwa ko. 14 Buli mwaka emirundi esatu oneekuumiranga embaga. 15 Embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa ogyekuumanga: ennaku musanvu olyanga egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu biro ebyateekebwawo mu mwezi gwa Abibu (kubanga mu ogwo mwe mwaviira mu Misiri); so temulabikanga busa mu maasa gange n'omu: 16 era embaga ey'okunoga ebibala ebibereberye eby'emirimu gyo, bye wasiga mu nnimiro: era embaga ey'okukungula ku nkomerero y'omwaka, bw'okungulanga emirimu gyo mu nnimiro. 17 Buli mwaka emirundi esatu abasajja bo bonna balabikanga mu maasa ga Mukama Katonda. 18 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'emigaati egizimbulukuswa; so n'amasavu ag'embaga yange tegasigalangawo ekiro kyonna okutuuka enkya. 19 Ebibereberye eby'ebisaoka okubala eby'ensi yo obireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina gwayo. 20 Laba, ntuma malayika mu maaso go, akukuume mu kkubo, akuleete mu kifo kye nnateekateeka. 21 Mumutunuulire, mumuwutire eddoboozi lye; temumusunguwaza; kubanga talibasonyiwa okwonoona kwammwe; kubanga erinnya lyange liri mu nda ye. 22 Naye bw'onoowuliriranga ddala eddoboozi lye, n'okolanga byonna bye njogera; bwe kityo naababeereranga omulabe abalabe bo, ndibaziyiza abakuziyiza. 23 Kubanga malayika wange alikulembera mu maaso go, alikuyingiza eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi, n'eri Omukanani, n'eri Omukiivi, n'eri Omuyebusi: nange ndibazikiriza. 24 Tovuunamiranga bakatonda baabwe, so tobaweerezanga, so tokolanga ng'ebikolwa byabwe: naye olibasuulira ddala, era olimenyaamenya empagi zaabwe. 25 Era munaaweerezanga Mukama Katonda wammwe, naye aligiwa omukisa emmere yo n'amazzi go; nange ndiggyawo endwadde wakati wammwe. 26 Tewaliba kirivaamu olubuto, newakubadde ekigumba, mu nsi yo: omuwendo gw'ennaku zo ndigutuukiriza. 27 Ndisindika entiisa yange mu maaso go, ndibateganya abantu bonna b'olituukako, ndikukyusiza amabega gaabwe abalabe bo bonna. 28 Era ndisindika; ennumba mu maaso go, eribagoba Omukiivi, n'Omukanani, n'Omukiiti, mu maaso go. 29 Siribagoba mu maaso go mu mwaka ogumu; ensi creme okuzika, so n'ensolo ey'omu nsiko ereme okweyongera ku ggwe. 30 Katono katono ndibagoba mu maaso go, okutuusa lw'olyeyongera, n'osikira ensi. 31 Era ndissaawo ensalo yo okuva ku Nnyanja Emmyufu okutuuka ku nnyanja ey'Abafirisuuti, n'okuva Imu ddungu okutuuka ku Mugga: kubanga ndiwaayo mu mukono gwammwe ahatudde mu nsi; naawe olibagoba mu maaso go. 32 Tolagaananga ndagaano nabo, so ne bakatonda baabwe. 33 Tebatuulanga mu nsi yo, baleme okukwonoonya ku nze: kubanga bw'oliweereza bakatonda baabwe, tekirirema kukubeerera kyambika.

Okuva 24

1 N'agamba Musa nti Linnya eri Mukama, ggwe ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri; era musinzize wala: 2 Musa yekka asemberere Mukama; naye bo baleme okuse mbera so abantu baleme okulinnya awamu naye. 3 Musa n'ajja n'agamba abantu ebigambo byonna ebya Mukama, n'emisango gyonna: abantu bonna ne baddamu n'eddoboozi limu, ne boogera nti Ebigambo byonna Mukama by'ayogedde tulibikoia. 4 Musa n'awandiika ebigambo byonna ebya Mukama, n'agolokoka enkya mu makya, n'azimba ekyoto wansi w'olusozi, n'empagi kkumi na bbiri, ng'ebika ekkumi n'ebibiri ebya Isiraeri. 5 N'atuma abavubuka ab'abaana ba Isiraeri, ne bookya ebyokwokya, ne bawaayo ebiweebwayo olw'emirembe eby'ente eri Mukama. 6 Musa n'atwala ekitundu ky'omusaayi, n'akifuka mu bibya; n'ekitundu ky'omusaayi, n'akimansira ku kyoto. 7 N'atoola ekitabo eky'endagaano, n'asoma mu matu g'abantu: ne boogera nti Byonna Mukama by'ayogedde tulibikola, era tuliwulira. 8 Musa n'atoolomusaayi, n'agumansira ku bantu, n'ayogera nti Laba omusaayi ogw'endagaano, Mukama gy'alagaanye nammwe mu bigambo bino byonna. 9 Musa n'alyoka alinnya, ne Alooni, Nadabu, ne Abiku, n'ensanvu ey'abakadde ba Isiraeri: 10 ne balaba Katonda wa Isiraeri; ne wansi w'ebigere bye ne waba ng'omulimu ogw'amayinja amaaliire aga safiro, agafaanana ng'eggulu lyennyini okutangaala. 11 So ku bakungu b'abaana ba Isiraeri n'atateekako mukono gwe: ne bamulaba Katonda, ne balya ne banywa: 12 Mukama n'agamba Musa nti Linnya gye ndi ku lusozi, obeereyo : nange ndikuwa ebipande by'amayinja, n'amateeka n'ekiragiro, bye mpandiise, obiyigirize. 13 Musa n'agolokoka ne Yoswa omuweereza we: Musa n'alinnya ku lusozi lwa Katonda. 14 N'agamba abakadde nti Mutulindirire wano, okutuusa lwe tulibajjira nate: ne Alooni ne Kuuli, laba, bali wamu nammwe: buli alina ensonga, asemberere bo. 15 Musa n'alinnya ku lusozi, ekire ne kibikka olusozi. 16 Ekitiibwa kya Mukama ne kibeera ku lusozi Sinaayi, ekire ne kirubikkira ennaku mukaaga: ku lunaku olw'omusanvu n'ayita Musa ng'ayima wakati w'ekire. 17 Ekifaananyi ky'ekitiibwa kya Mukama ne kiba ng'omuliro ogwaka ku ntikko y'olusozi mu maaso g'abaana ba Isiraeri. 18 Musa n'ayingira wakati mu kire, n'alinnya ku lusozi: Musa n'amala ku lusozi ennaku amakumi ana emisana n'ekiro.

Okuva 25

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Babuulire abaana ba Isiraeri bantwalire ekiweebwayo: eri buli muntu omutima gwe gwagaza mulitwala ekiweebwayo kyange. 3 Kino kye kiweebwayo kye mulibatwalako: zaabu, n'effeeza, n'ekikomo; 4 n'olugoye lwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 5 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'erlijonge, n'omuti gwa sita; 6 amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'okunyoo keza; 7 amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba. 8 Era Ba olere awatukuvu; ndyoke ntuule wakati waabwe. 9 Nga byonna bye nkulaga, engeri ey'eweema, n'engeri ey'ebintu byayo byonna, bwe mutyo bwe mulikola. 10 Era balikola essanduuko ey'omuti gwa sita: emikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo, era omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 11 Era oligibikkako zaabu ennungi, munda ne kungulu oligibikkako, era olikola ku yo engule eya zaabu okwetooloola. 12 Era oligifumbira empeta nnya eza zaabu, n'oteeka mu magulu gaayo ana; n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi lumu, n'empeta bbiri ziriba ku lubiriizi olw'okubiri. 13 Era olikola emisituliro egy'omuti gwa sita, oligibikako zaabu. 14 Era oligiyingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, esituli bwenga n'egyo. 15 Emisituliro giribeera mu mpeta ez'essanduuko: tegiggibwangamu. 16 Era oliteeka mu ssanduuko obujulirwa bwe ndikuwa. 17 Era olikola entebe ey'okusaasira ne zaabu ennungi: emiikono ebiri n'ekitundu obuwanvu bwayo, era omukono n'ekitundu obugazi bwayo. 18 Era olikola ba kerubi babiri aba zaabu; mu zaabu empeese mw'olibakola, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira. 19 Era kola kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi ow'okubiri ku nsonda eyo: ba zaabu emu n'entebe ey'okusaasira bwe mulikola bakerubi babiri ku nsonda zaayo ebbiri. 20 Era bakerubi baligolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi galitunuulira entebe ey'okusaasira. 21 Era oliteeka entebe ey'okusaasira waggulu ku sanduuko; era mu sanduuko mw'oliteeka obujulirwa bwe ndikuwa. 22 Era okwo kwe nnaalabaganiranga naawe, nange naanyumyanga naawe okuyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira, wakati wa bakerubi ababiri abali ku ssanduuko ey'obujulirwa, ku byonna bye nnaakuIagiranga eri abaana ba Isiraeri. 23 Era olikola emmeeza ey'omuti gwa sita: emikono ebiri obuwanvu bwayo, n'omukono obugazi bwayo, n'omukono n'ekitundu obugulumivu bwayo. 24 Era oligibikkako zaabu ennungi, era oligikolera engule eya zaabu okwetooloola. 25 Era oligikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, era olirukolako olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 26 Era oligikolera empeta nnya eza zaabu, n'oziteeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 27 Kumpi n'olukugira we ziriba empeta, zibeere ebifo by'emisituliro egy'okusitula emmee za. 28 Era olikola emisituliro n'omuti gwa sita, era oligibikkako zaabu, emmeeza esitulibwenga n'egyo. 29 Era olikola essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ensuwa zaayo, n'ebibya byayo okufuka: ne zaabu ennungi olibikola. 30 Era oliwaayo ku mmeeza emigaati egy'okulaga mu maaso gange bulijjo. 31 Era olikola ekikondo ne zaabu ennungi: ekikondo kiriweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo, biribeera bya zaabu emu nakyo: 32 n'amatabi mukaaga galiva mu mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo lumu, n'amatabi asatu ag'ekikondo mu lubiriizi lwakyo olw'okubiri: 33 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe n'ekimuli; n'ebikompe bisaru ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli; bwe kityo mu matabi mukaaga agava ku kikondo; 34 ne mu kikondo ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyakyo n'ebimuli byakyo: 35 n'omutwe gube wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agava ku kikondo. 36 Emitwe gyago n'amatabi gaago biribeera bya zaabu emu nakyo: kyonna kiribeera ekyaweesebwa ekya zaabu ennungi ekimu. 37 Era olikola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu: era banaakoleezanga eby'ettabaaza byakyo, okwakira mu maaso gaakyo. 38 Ne makaasi waakyo, ne ssowaani zaakyo ez'ebisiriiza, biribeera bya zaabu ennungi. 39 Ne ttalanta eya zaabu ennungi bwe kirikolebwa, n'ebintu ebyo byonna. 40 Era weekuume obikole mu ngeri yaabyo gye walagibwa ku lusozi.

Okuva 26

1 Era olikola eweema n'emitanda kkumi; ne bafuta erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oligikola. 2 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda gyonna giribeera gya kigero kimu. 3 Emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka; n'emitanda etaano girigattibwa gyokka na gyokka. 4 Era olikola eŋŋango eza kaniki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte; era bw'otyo bw'olikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 5 Olikola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutaada ogw'omu migatte egy'okubiri; eŋŋango zirirabagana zokka na zokka. 6 Era olikola ebikwaso amakumi ataano ebya zaabu, ogatte emitanda gyokka na gyokka n'ebikwaso: eweema eribeera emu. 7 Era olikola emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: oligikola emi tanda kkumi na gumu. 8 Obuwanvu bwa buli mutanda bulibeera emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu giribeera gya kigero kimu. 9 Era oligatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka, era olifunyamu mu mutanda ogw'omukaaga mu maaso g'eweema. 10 Era olikola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda gumu ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 11 Era olikola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo, oliteekamu ebikwaso mu imango, oligatta eweema, ebeere emu. 12 N'ekitundu eky'emitanda gy'eweema ekifikkawo ekireebeeta, ekitundu kimu eky'omutanda ekifikkawo, kirireebeeta ku mabega g'eweema. 13 N'omukono ogw'okuluuyi luno, n'omukono ogw'oku luuyi luli, ogufikkawo mu buwanvu bw'emitanda gy'eweema, gulireebeeta ku mbiriizi z'eweema eruuyi n'eruuyi, okugibikka. 14 Era olikola ku weema n'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, ne kungulu ekyokugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge. 15 Era olikola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, ziyimirire. 16 Emikono kkumi bwe bulibeera obuwanwu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu bwe bulibeera obugazi bwa buli lubaawo. 17 Mu buli lubaawo mulibeera ennimi bbiri, ezigattibwa zokka na zokka: bw'otyo bw'olikola ku mbaawo zonna ez'eweema. 18 Era olikola embaawo ez'eweema, embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo. 19 Era olikola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri: 20 era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi lw'obukiika obwa kkono, embaawo amakumi abiri: 21 n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu; n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 22 N'ez'oluuyi lw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba, olikola embaawo mukaaga. 23 Era olikola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 24 Ziriba bbiri bbiri wansi, bwe zityo bwe ziriba ennamba waggulu waazo okutuuka empeta emu: bwe zityo bwe ziriba zombi; ziribeera ez'enso nda ebbiri. 25 Era waliba embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 26 Era olikola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi olumu olw'eweema, 27 n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olw'eweema, ku luuyi olw'emabega, olw'ebugwanjuba. 28 N'omuti ogwa wakati w'embaawo guyitemu eruuyi n'eruuyi. 29 N'embaawo olizibikkako zaabu, era olikola empeta zaazo za zaabu omwokuteekera emiti: n'emiti oligibikkako zaabu. 30 Era olizimba eweema mu ngeri yaayo gye walagibwa ku lusozi. 31 Era olikola eggigi erya kaniki, n'ery'olugoye olw'effulungu, n'ery'olumyufu, n'erya bafuta ennungi erangiddwa: ne bakerubi omulimu ogw'abakozi ab'amagezi bwe lirikolebwa: 32 era oliriwanika ku mpagi nnya ez'omuti gwa sita ezibikkiddwako zaabu, ebikwaso byazo biribeera bya zaabu, ku binnya bina ebya ffeeza. 33 Era oliwanika eggigi wansi w'ebikwaso, n'essanduuko ey'obujulirwa oligiyingiza eri munda w'eggigi: n'eggigi liryawulamu eri mmwe awatukuvu n'awasinga obutukuvu. 34 Era oliteeka entebe ey'okusaasira ku ssanduuko ey'obujulirwa mu wasinga obutukuvu. 35 N'emmeeza oligiteeka ebweru w'eggigi, n'ekikondo mu maaso g'emmeeza ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo: n'emmeeza oligiteeka ku luuyi olw'obukiika obwa kkono. 36 Era olikola oluggi olw'omulyango ogw'eweema, olwa kaniki, n'olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza. 37 Era olikola empagi ttaano ez'omuti gwa sita ez'oluggi, olizibikkako zaabu; ebikwaso byazo biribeera bya zaabu: era olizifumbira ebinnya bitaano eby'ekikomo.

Okuva 27

1 Era olikola ekyoto n'omuti gwa sita, emikono etaano obuwanvu, n'emikono etaano obugazi; ekyoto kiryenkanankana: n'obugulumivu bulibeera emikono esatu. 2 Era olikola amayembe gaakyo ku nsonda za ,kyo ennya: amayembe gaakyo galibeera ga muti gumu nakyo; era olikibikkako ekikomo. 3 Era olikola entamu zaakyo ez'okutwaliramu evvu lyakyo, n'ebijiiko byakyo, n'ebibya byakyo, n'eby'olzukwasa ennyama byakyo, n'emmumbiro zaakyo: ebintu byakyo byonna olibikola bya bikomo. 4 Era olikikolera ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa; ne ku kirukiddwa olikolako empeta nnya ez'ebikomo ku nsonda zaakyo ennya. 5 Era olikiteeka wansi w'omuziziko ogwetooloola ekyoto wansi, ekirukiddwa kituuke wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 6 Era olikola emisituliro egy'ekyoto, emisituliro gy'omuti gwa sita, oligibikkako ebikomo. 7 N'emisituliro gyakyo giriyingizibwa mu mpeta, n'emisituliro giribeera ku mbiriizi z'ekyoto zombi, okukisitula. 8 Olikikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda: nga bwe walagirirwa ku lusozi, bwe batyo bwe balilukola. 9 Era olikola oluggya lw'eweema: eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo walibeera ebitimbibwa eby'oluggya ebya bafuta erangiddwa emikono kikiuni obuwanvu oluuyi olumu: 10 n'empagi zaalwo ziribeera amakusni abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 11 Era bwe bityo eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono walibeera ebitimbibwa emikono kikumi obuwanvu, n'empagi zaalwo amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso by'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 12 Era eby'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebugwanjuba walibeera ebitimbibwa eby'emikono amakumi ataano: empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi. 13 N'obugazi bw'oluggya ku luuyi olw'ebuvanjuba mu buvanjuba bulibeera emikono amakumi ataano. 14 Ebitimbibwa eby'oluuyi olumu olw'omulyango biribeera emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 15 Era eby'oluuyi olw'okubiri walibeera ebitimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano: empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 16 Era olw'omulyango ogw'oluggya walibeera oluggi olw'emikono amakumi abiri, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omudaliza: empagi zaazo nnya, n'ebinnya byazo bina. 17 Empagi zonna ez'oluggya ezeetooloode ziribeerako emiziziko egya ffeeza: ebikwaso byazo bya ffeeza, n'ebinnya byazo bya bikomo. 18 Obuwanvu obw'oluggya bulibeera emikono kikumi, n'obugazi amakumi ataano wonna wonna, n'obugulumivu emikono etaano, obwa bafuta ennungi erangiddwa, n'ebinnya byazo bya bikomo. 19 Ebintu byonna eby'omu weema mu mulimu gwayo gwonna, n'enninga zaayo zonna, n'enninga zonna ez'oluggya, biribeera bya bikomo. 20 Era oliragira abaana ba Isiraeri bakuleetere amafuta amalungi ag'omuzeeyituuni agakubibwa ag'ettabaaza, okwasa ettabaaza bulijo. 21 Mu weema ey'okusisinkanira ngamu, ebweru w'eggigi eriri mu maaso g'obujulirwa, Alooni n'abaana be banaagirongoosanga okuva lolweggulo okutuusa enkya mu maaso ga Mukama: linaabanga tteeka ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyonna ku lw'abaana ba Isiraeri.

Okuva 28

1 Era weesembereze gy'oli Alooni muganda wo, n'abaana be wamu naye, mu baana ba Isiraeri, ampeereze mu bwakabona, Alooni, Nadabu, ne Abiku, Eriyazaali ne Isamaali, abaana ba Alooni. 2 Era olimukolera Alooni muganda wo ebyambalo ebitukuw olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 3 Era olibagamba bonna abalina omutima ogw'amagezi, be nnajjuza omwoyo ogw'amagezi, bakole ebyambalo ebya Alooni okumutukuza, ampeereze mu bwa kabona. 4 Bino bye byambalo bye balikola; eky'omu kifuba, n'ekkanzu, n'omunagiro, n'ekizibawo eky'akatimba, ekiremba, n'olukoba: era balibakolera ebyambalo ebitukuvu Alooni muganda wo, n'abaana be, ampeereze mu bwakabona. 5 Era balitwala ezaabu eyo, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu,n'olumyufu,nebafuta. 6 Era balikola ekkanzu ne zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, omulimu gw'omukozi ow'amagezi. 7 Eribeerako eby'oku bibegabega bibiri ebigattiddwa ku nkomerero zaayo ebbiri; egattibwe wamu. 8 N'olukoba olulangiddwa n'amagezi, oluli ku yo okugisiba, lulyenkanankana n'omulimu gwayo, lwa lugoye lumu; olwa zaabu, olwa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa. 9 Era olitwala amayinja abiri aga onuku, n'oyolako amannya g'abaana ba Isiraeri: 10 amannya gaabwe mukaaga ku jjinja erimu, n'amannya gaabwe mukaaga abasigaddeyo ku jjinja ery'okubiri, nga bwe bazaaiibwa. 11 Mu mulimu gw'omusazi w'amayinja, ng'okuyola okw'oku kabonero, bw'olyola amayinja abiri, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri: oligeetoolooza amapeesa aga zaabu. 12 Era oliteeka amayinja abiri ku by'oku bibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukiza eri abaana ba Isiraeri: era Alooni alisitula amannya gaabwe mu maaso ga Mukama ku bibegabega bye ebibiri ng'ekijjukizo. 13 Era olikola amapeesa aga zaabu: 14 n'emikuufu ebiri egya zaabu ennungi; ng'emigwa bw'oligikola, mu mulimu ogulangibwa: era olisiba emikuufu egirangiddwa ku mapeesa. 15 Era olikola eky'omu kifuba eky'omusango, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi: ng'omulimu ogw'ekkanzu bw'olikikola; ekya zaabu, ekya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta erangiddwa, bw'olikikola. 16 Kiryenkanankana enjuyi zonna, ekifunyemu; kiribeera luta obuwanvu bwakyo, n'oluta obugazi bwakyo. 17 Era olikitonamu amayinja ag'okutona, ennyiriri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, topazi, ne kabunkulo lwe lulibeera olunnyiriri olw'olubereberye; 18 n'olunnyiriri olw'okubiri lya nawandagala, safiro, ne alimasi; 19 n'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, ne sebu, ne amesusito; 20 n'olunnyiriri olw'okuna berulo, ne onuku, ne yasipero: galyetooloozebwa zaabu we gaato nebwa. 21 N'amayinja galibeera ng'amannya g'abaana ba Isiraeri; ekkumi n'abiri, ng'amannya gaabwe; ng'okuyola okw'oku kabonero, buli muntu ng'erinnya lye, galibibeerera ebika ekkumi n'ebibiri. 22 Era olikola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, egy'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 23 Era olikola ku kyomukifuba empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka empeeta ebbiri ku nsonda ebbiri ez'ekyomukifuba. 24 Era oliteeka emikuufu ebiri egirangibwa egya zaabu ku mpeta ebbiri ku nsonda ez'ekyomukifuba. 25 N'enkomerero ebbiri endala ez'emikuufu egirangibwa ebbiri oliziteeka ku mapeesa abiri, n'ogateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 26 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, n'oziteeka ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba; ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu inunda. 27 Era olikola empeta bbiri eza zaabu, noziteeka ku by'oku bibegabega ebibiri eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi. 28 Era balisiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu. 29 Era Alooni anaasituliranga amannya g'abaana ba Isiraeri mu kyomuikifuba eky'omusango ku mutima gwe, bw'anaayingiranga mu watukuvu, olw'okujjukiza mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 30 Era oliteeka mu kyomukifuba eky'omusango limu ne Suminu; era binaabanga ku mutima gwa Alooni, bw'anaayingiranga mu maaso ga Mukama: ne Alooni anaasituliranga omusango gw'abaana ba Isiraeri ku mutima gwe mu maaso ga Mukama ennaku zonna. 31 Era olikola omunagiro ogw'omu kkanzu gwonna gwa kaniki. 32 Era gulibeera n'ekituli wakati waagwo eky'omutwe: gulibeera n'olukugiro olw'omulimu ogulangibwa okwetooloola ekituli kyagwo, ng'ekituii eky'ekizibawo eky'ekyuma, guleme okuyuzibwa. 33 Era ku birenge byagwo olikolako amakomamawanga aga kaniki, n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, okwetooloola ebirenge byagwo; n'endege eza zaabu wakati waago okwetooloola: 34 endege eya zaabu n'ekkomamawanga, endege eya zaabu n'ekkomamawanga, ku birenge eby'omunagiro okwetooloola. 35 Era gunaabanga ku Alooni okuweererezaamu: n'eddoboozi lyagwo linaawulirwanga bw'anaayingiranga mu watukuvu mu maaso ga Mukama, era bw'anaafulumanga, aleme okufa. 36 Era olikola akapande aka zaabu ennungi, n'oyolako, ng'enjola ez'akabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 37 N'okateeka ku kagoye aka kaniki, era kanaabeeranga ku kiremba; ku luuyi olw'omu maaso olw'ekiremba kwe kanaabeeranga. 38 Era kanaabeeranga ku kyenyi kya Alooni, ne Alooni anaasitulanga obubi bw'ebitukuvu, abaana ba Isiraeri bye banaatukuzanga mu birabo byabwe byonna ebitukuvu; era kanaabeeranga ku kyenyi kye ennaku zonna, balyoke bakkirizibwe mu maaso ga Mukama. 39 Era oliruka ekizibawo eky'akatimba ekya bafuta ennungi, era olikola ekiremba ekya bafuta ennungi, era olikola olukoba, omulimu ogw'omudaliza. 40 Era abaana ba Alooni olibakolera ebizibawo, era olibakolera enkoba, n'obakolera n'enkufiira, olw'ekitiibwa n'olw'obulungi. 41 N'obiteeka ku Alooni muganda wo, ne ku baana be awamu naye; n'obafukako amafuta, n'ojjuza emikono gyabwe, n'obatukuza, balyoke bampeerezenga mu bwakabona. 42 Era olibakolera seruwale za lugoye okubikka ku mubiri ogw'obwereere bwabwe; ziriva mu kiwato okukoma mu bisambi: 43 era zinaabeeranga ku Alooni, ne ku baana be, bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, oba bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza mu watukuvu; baleme okusitula obubi, n'okufa: kinaabeeranga kiragiro emirembe gyonna eri ye n'eri ezzadde lye eririmuddirira.

Okuva 29

1 Era bw'olibakola bw'otyo okubatukuza, bampeereze mu bwakabona: otwale ente ennume ento n'endiga ennume bbiri ezitaliiko bulema 2 n'emigaati egitazimbulukuswa, n'obugaati obutazimbtilukuswa obutabuddwamu amafuta, n'emigaati egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta: oligikola n'obutta obulungi obw'eŋŋaano. 3 Era oligiteeka mu kabbo kamu, oligireetera mu kabbo, awamu n'ente n'endiga ebbiri. 4 Ne Alooni n'abaana be olibaleeta ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, olibanaaza n'amazzi. 5 Era oliddira ebyambalo n'oyambaza Alooni ekizibawo, n'omunagiro ogw'ekkanzu, n'ekkanzu, n'ekyomukifuba, n'omusiba olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'a magezi: 6 era olissa ekiremba ku mutwe gwe, n'oteeka engule entukuvu ku kiremba. 7 N'olyoka otwala amafuta ag'okufukibwako, n'ogafuka ku mutwe gwe, n'omufu kira amafuta. 8 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo. 9 Era olibasiba enkoba, Alooni n'abaana be, n'obassaako enkuufiira: era banaabeeranga n'obwakabona mu kiragiro ekitaliggwaawo: era olijjuza emikono gya Alooni n'abaana be 10 Era olireeta ente mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'ente. 11 Era olisala ente mu maaso ga Mukama, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 12 N'otwala ku musaayi gw'ente n'oguteeka ku mayembe g'ekyoto n'olunwe lwo; n'oyiwa omusaayi gwonna mu ntobo y'ekyoto. 13 Era olitwala amasavu gonna agabikka ebyenda, n'ekisenge ekiri ku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'obyokera ku kyoto. 14 Naye ennyama y'ente, n'eddiba Iyayo, n'obusa bwayo, n'obyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira: kye kiweebwayo olw'ebibi. 15 Era olitwala endiga emu; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 16 Era oIisala endiga, n'otwala omusaayi gwayo, n'ogumansira ku kyoto okukyetooloola. 17 Era olitemaatema endiga mu bitundu byayo, n'onaaza ebyenda byayo, n'amagulu gaayo, n'obiteeka wamu'n'ebitundu byayo n'omutwe gwayo. 18 Era olyokera ku kyoto endiga ennamba: kye kiweebwayo ekyokebwa eri Mukama: lye wumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 19 Era olitwala endiga ey'okubiri; ne Alooni n'abaana be ne bassa engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 20 N'olyoka osala endiga, n'otwala ku musaayi gwayo, n'oguteeka ku nsonda y'okutu okwa ddyo okwa Alooni, ne ku nsonda z'amatu aga ddyo ag'abaana be, ne ku binkumu eby'oku mikono gyabwe egya ddyo, ne ku bisajja eby'oku bigere byabwe ebya ddyo, n'omansira omusaayi ku kyoto okukyetooloola. 21 Era olitwala ku musaayi oguli ku kyoto, ne ku mafuta ag'okufukibwako, n'obimansira ku Alooni, ne ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be wamu naye : naye alitukuzibwa, n'ebyambalo bye, n'abaana be, b'ebyambalo by'abaana be wamu naye. 22 Era olitwala ku ndiga amasavu, n'omukira ogw'amasavu, n'amasavu agabikka ku byenda, n'ekisenge eky'aku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, n'ekisambi ekya ddyo; kubanga ye adiga ey'okutukuza: 23 n'omugaati gumu, n'akagaati akasiigibwako amafuta kamu, n'omugaati ogw'oluwewere gumu, ng'oggya mu kabbo ak'emigaati egitazimbulukuswa akali mu maaso ga Mukama: 24 era olibissa byonna mu ngalo za Alooni, ne mu ngalo z'abaana be; n'obiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 25 Era olibiggya mu ngalo zaabwe, n'obyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa, okuba ewumbe eddungi mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 26 Era olitwala ekifuba ky'endiga ya Alooni ey'okutukuza, n'okiwuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama : era ekyo kinaabanga mugabo gwo. 27 Era olitukuza ekifuba eky'ekiweebwayo ekiwuubibwa, n'ekisambi eky'ekiweebwayo ekisitulibwa, ekiwuubibwa era ekisitulibwa, eky'endiga ey'okutukuza, ye eyo eya Alooni, n'eyo ey'abaana be: 28 era eneebeeranga ya Alooni n'abaana be ng'ekinaagwaniranga abaana ba Isiraeri emirembe gyonna: kubanga kye kiweebwayo ekisitulibwa: era eneebeeranga ekiweebwayo ekisitulibwa abaana ba Isiraeri gye bawa mu ssaddaaka zaabwe ez'ebiweebwayo olw'emirembe, kye kiweebwayo kyabwe ekisitulibwa eri Mukama. 29 N'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni binaabeeranga bya baana be abalimuddirira, okubifukirwangamu amafuta, n'okubitukulizibwangamu. 30 Omwana alimuddirira okuba kabona anaabyambaliranga ennaku musanvu, bw'anaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu okuweereza mu kifo ekitukuvu. 31 Era olitwala endiga ey'okutukuza, n'ofumbira ennyama yaayo mu kifo ekitukuvu. 32 Ne Alooni n'abaana be balirya ennyama y'endiga n'emigaati egiri mu kabbo, mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 33 Era balirya ebiweereddwayo olw'okutangirira, okubatukuza n'okubalongoosa: naye munnaggwanga tabiryangako, kubanga bitukuvu. 34 Era bwe walisigalawo ku nnyama ey'okutukuza oba ku migaati okutuusa enkya, n'obyokya ebirisigalawo n'omuliro: tebiririibwa, kubanga bitukuvu. 35 Bw'olikola bw'otyo Alooni n'abaana be, nga byonna bye nkulagidde: olibatukuliza ennaku musanvu. 36 Era onoowangayo buli lunaku ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi olw'okutangirira: era onoolongoosanga ekyoto, bw'onookikoleranga eky'okutangirira; era onookifukangako amafuta, okukitukuza. 37 Onookikoleranga ekyoto eky'okutangirira ennaku musanvu, n'okitukuzanga: era ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo; buli ekinaakomanga ku kyoto kinaabanga kitukuvu. 38 Kale by'onoowangayo ku kyoto bye bino; abaana b'endiga babiri abaakamala omwaka ogumu buli lunaku obutayosa. 39 Enkya onoowangayo omwana gw'endiga ogumu; n'akawungeezi onoowangayo omwana gw'endiga ogw'okubiri: 40 era awamu n'omwana gw'endiga omulala onoowangayo ekitundu eky'ekkumi ekya efa eky'obutta obulungi obutabuddwamu ekitundu eky'okuna ekya yini eky'amafuta amakube; n'ekitundu eky'okuna ekya yini eky'envinnyo okuba ekiweebwayo eky'okunywa. 41 N'omwana gw'endiga omulala onoomuwangayo akawungeezi, era onoogukolanga nga bwe wakola ekiweebwayo eky'obutta eky'enkya, n'ekiweebwayo eky'okunywa eky'enkya, okuba ewumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omutiro eri Mukama. 42 Kinaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama: awo we nnaasisinkaniranga nammwe, okwogerera awo naawe. 43 Era awo we nnaasisinkaniranga n'abaana ba Isiraeri; n'eweema eritukuzibwa n'ekitiibwa kyange. 44 Era nditukuza eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto: ne Alooni n'abaana be ndibatukuza, okumpeererezanga mu bwakabona. 45 Era naatuulanga mu baana ba Isiraeri, era naabeeranga Katonda waabwe. 46 Nabo banaategeeranga nga nze Mukama Katonda waabwe, eyabaggya mu nsi y'e Misiri, ndyoke ntuule mu bo: nze Mukama Katonda waabwe.

Okuva 30

1 Era olikola ekyoto eky’okwoterezangako obubaane: olikikola n’omuti ogwa sita. 2 Obuwanvu bwakyo mukono, n'obugazi bwakyo mukono; kiryenkanankana enjuyi zonna: n'obuguiumivu bwakyo mikono ebiri: amayembe gaakyo galiba ga muti gumu nakyo. 3 Era olikibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo; era olikikolako engule eya zaabu okwetooloola. 4 Era olikikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi kw'olizikolera; era ziribeera bifo bya misituliro okukisitulirangako. 5 Era olikola emisituliro n'omuti ogwa sita, n'ogibikkako zaabu. 6 Era olikiteeka mu maaso g'eggigi eriri okumpi n'essahduuko ey'obujulirwa, mu maaso g'entebe ey'okusaasira eri ku bujulirwa, kwe nnaasisinkaniranga naawe. 7 Ne Alooni anaayoterezanga okwo obubaane obw'ebiwunya akaloosa: buli nkya, bw'anaazirongoosanga ettabaaza, anaabwotezanga. 8 Era Alooni bw'anaakoleezanga ettabaaza akawungeezi, anaabwotezanga okuba obubaane obutaliggwaawo mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna. 9 Temukyoterezangako obubaane obulala, newakubadde ekiweebwayo eky'okwokya, newakuI badde ekiweebwayo eky'obutta: so temukifukirangako ekiweebwayo eky'okunywa. 10 Era Alooni anaakolanga eky'okutangirira ku mayembe gaakyo omulundi gumu buli mwaka: n'omusaayi ogw'ekiweebwayo olw'ebibi eky'okutangirira bw'anaakikoleranga eky'okutangirira omulundi gumu buli mwaka mu mirembe gyammwe gyonna: kye kitukuvu ennyo eri Mukama. 11 Mukama n'agamba Musa nti 12 Bw'onoobalanga omuwendo gw'abaana ba Isiraeri, ababalibwa mu bo bwe benkana, ne balyoka bawanga buli muntu eky'okununula emmeeme ye eri Mukama, bw'onoobabalanga; kawumpuli aleme okubakwata, bw'onoobabalanga. 13 Kino kye banaawanga, buli anaayitanga mu abo ababaliddwa anaawanga ekitundu kya sekeri, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: (sekeri emu ye 'nkana ne gera amakumi abiri :) ekitundu kya sekeri okuba ekiweebwayo eri Mukama. 14 Buli anaayitanga mu abo ababaliddwa, bonna abaakamala emyaka amakumi abiri oba kusingawo anaawanga ekiweebwayo ekya Mukama. 15 Abagagga tebasukkirizangawo newakubadde abaavu tebakendeezanga lm kitundu kya sekeri, bwe banaawanga ekiweebwayo ekya Mukama olw'okutangirira emmeeme zammwe. 16 Era onootwalaaga ffeeza ey'okutangirira ku baana ba Isiraeri, n'ogikoza emirimu egy'omu weema ey'okusisinkanirangamu; ebeere ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri mu maaso ga Mukama, okutangirira emmeeme zammwe. 17 Mukama n'agamba Musa nti 18 Era olikola ekinaabirwamu kya kikomo, n'entoba yaakyo ya kikomo, okuaaabirangamu: n'okiteeka wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'okufukangamu amazzi. 19 Ne Alooni n'abaana be banaanaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe: 20 bwe banaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, banaanaabanga n'amazzi, baleme okufa; newakubadde bwe banaasembereranga ekyoto okuweereza, okwokya ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: 21 banaanaabanga bwe baryo engalo zaabwe n'ebigere byabwe, baleme okufa: era kinaabeeranga kiragiro ennaku zonna eri bo, eri ye n'eri ezzadde lye mu mirembe gyabwe gyonna. 22 Nate Mukama n'agamba Musa nti 23 Era weetwalire ku bpakaloosa ebimanyibwa, muulo ekulukuta sekeri bitaano, ne kinamomo sekeri bibiri mu ataano, kye kitundu ky'omuwendo gwa muulo, ne kalamo empoomerevu sekeri bibiri mu ataano, 24 ne kasia sekeri bitaano, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, n'amafuta ag'omuzeyituuni emu: 25 era olibikoza amafuta amatukuvu ag'okufukibwangako, omugavu ogutabuddwa n'amagezi ag'omukozi w'omugavu: galiba mafuta amatukuvu ag'okufukibwangako. 26 Era oligafuka ku weema ey'okusisinkanirangamu, ne ku ssanduuko ey'obujulirwa, 27 ne ku mmeeza ne ku bintu byayo byonna, n'ekikondo ne ku bintu byakyo, ne ku kyoto eky'okwoterezangako, 28 ne ku kyoto eky'okwokerangako ne ku bintu byakyo byonna, ne ku kinaabirwamu ne ku ntobo yaakyo. 29 Era olibitukuza okubeera ebirukuvu ennyo: buli ekinaabikomangako kiriba kitukuvu: 30 Era Alooni n'abaana be olibafukako amafuta, n'obatukuza okumpeereza mu bwakabona. 31 Era oligamba abaana ba Isiraeri nti Gano ganaabeeranga mafuta matukuvu ag'okufukibwangako eri nze mu mirembe gyammwe gyonna. 32 Tegafukibwanga ku mubiri gwa muntu, so temukolanga agafaanana nago, nga bwe gatabulwa: ge matukuvu, galibeera matukuvu gye muli. 33 Buli alitabula agafaanana nago, na buli aligafukako ku munnaggwanga, alizikirizibwa okuva mu bantu be. 34 Mukama n'agamba Musa nti Weetwalire ebyakawoowo ebiwoomerevu, sitakite, ne onuka, ne galabano; ebyakaloosa ebiwoomerevu n'omugavu omulongoofu: byonna byenkane obuzito; 35 era olibikoza eky'okwoteza, akaloosa akakolebwa n'amagezi ag'omukozi w'akaloosa, akatabuddwamu omunnyo, akalongoofu, akatukuvu: 36 era olikatwalako n'okasekulasekula nnyo, n'okateeka mu maaso g'obujulirwa mu weema ey'okusisinkanirangamu, we nnaasisinkaniranga naawe: kanaabeeranga katukuvu nnyo gye muli. 37 N'eky'okwoteza ky'olikola temukyekoleranga mmwe mwekka nga bwe kitabulwa: kinaabeeranga kitukuvu gy'oli eri Mukama. 38 Buli anaakolanga agafaanana nago, okuwunyako, alizikirizibwa okuva mu bantu be.

Okuva 31

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Laba, mpise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'omu kika kya Yuda: 3 era mmujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, ne mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri ya kukola, 4 okulowooza emirimu egy'amagezi, okukola ne zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo, 5 ne mu kusala amayinja ag'okussaamu, ne mu kwola emiti, okukola mu buli ngeri ya kukola. 6 Nange, laba, nteeseewo wamu naye Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'omu kika kya Ddaani; ne mu mitima gyabwe bonna abalina emitima egy'amagezi ngitaddemu amagezi bakole byonna bye nkulagidde: 7 eweema ey'okusisinkanirangamu, ne ssanduuko ey'obujulirwa, n'entebe ey'okusaasira egiriko, n'ebintu byonna eby'omu weema; 8 n'emmeeza n'ebintu byayo, n'ekikondo ekirungi n'ebintu byakyo byonna, n'ekyoto eky'okwoterezangako; 9 n'ekyoto eky'okwokerangako n'ebintu byakyo byonna, n'ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 10 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweerereza mu bwakabona; 11 n'amafuta ag'okufukibwangako, n'ekyokwoteza eky'ebyakaloosa ebiwoomerevu ekya watukuvu: nga byonna bye nkulagidde, bwe balikola bwe batyo. 12 Mukama n'agamba Musa nti 13 Era buulira abaana ba Isiraeri nti Mazima mukwatanga ssabbiiti zange: kubanga ke kabonero wakati wange nammwe mu mirembe gyammwe gyonna; mulyoke mumanye nga nze Mukama abatukuza. 14 Kyemunaavanga mukwata ssabbiiti; kubanga lwe lutukuvu gye muli: buli anaalusobyanga talemanga kuttibwa: kubanga buli anaalukolerangako emirimu gyonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 15 Ennaku mukaaga emirimu gikolebwenga; naye ku lunaku olw'omusanvu wabangawo ssabbiiti olw'okuwummula okutukuvu, eri Mukama: buli anaakoleranga emirimu gyonna ku ssabbiiti, talemanga kuttibwa. 16 Abaana ba Isiraeri kyebanaavanga bakwata ssabbiiti, okwekuumanga ssabbiiti mu mirembe gyabwe gyonna, okuba endagaano etaliggwaawo. 17 Ke kabonero wakati wange n'abaana ba Isiraeri ennaku zonna: kubanga mu nnaku mukaaga Mukama yakola eggulu n'ensi, ne ku lunaku olw'omusanvu n'awummula, n'aweera. 18 Bwe yamala okwogera naye ku lusozi, Sinaayi, n'awa Musa ebipande bibiri eby'obujulirwa, ebipande eby'amayinja, ebyawandiikibwako n'engalo ya Katonda.

Okuva 32

1 Awo abantu bwe baalaba nga Musa aludde okukka okuva ku lusozi, ne bakuŋŋaana eri Alooni, ne bamugamba nti Golokoka, otukolere bakatonda, abanaatukulemberanga; kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 2 Alooni n'abagamba nti Mumenye ku mpeta eza zaabu, eziri mu matu g'abakazi bammwe, n'ag'abaana bammwe ab'obulenzi n'ab'obuwala, muzindeetere. 3 Abantu bonna ne bamenya ku mpeta eza zaabu ezaali mu matu gaabwe, ne bazireetera Alooni. 4 N'agitoola mu ngalo zaabwe, n'agiwumba n'ekyuma ekisala, n'agifuula ennyana ensaanuuse: ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri 5 Alooni bwe yalaba, n'azimba; ekyoto mu maaso gaayo; Alooni n'alangirira n'ayogera nti Enkya wanaabeera embaga eri Mukama. 6 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne bawaayo ebiweebwayo eby'okwokya, ne baleeta ebiweebwayo olw'emirembe; abantu ne batuula okulya n'okunywa, ne bagolokoka okuzannya. 7 Mukama n'agamba Musa nti Genda oserengete; kubanga abantu bo be waggya mu nsi y'e Misiri beeyonoonyesezza: 8 balyamye mangu ne bava mu kkubo lye nnabalagira: beekoledde ennyana ensaanuuse, ne bagisinza, ne bagiwa ssaddaaka, ne boogera nti Bano be bakatonda bo, ggwe Isiraeri, abaaku ggya mu nsi y'e Misiri: 9 Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano era, laba, be bantu abalina ensingo enkakanyavu: 10 kale kaakano ndeka, obusungu bwange bwake nnyo ku bo, era mbazikirize: era ndikufuula ggwe eggwanga eddene. 11 Musa ne yeegayirira Mukama Katonda we, n'ayogera nti Mukama, ldki ekyasizza ennyo obusungu bwo ku bantu bo, be waggya mu nsi y'e Misiri n'amaanyi amangi n'omukono ogw'obuyinza? 12 Lwaki okwogeza Abamisiri nti Yabaggiramu obubi, okubattira ku nsozi, n'okubazikiriza okuva ku maaso g'ensi? Oleke obusungu bwo obukambwe, ojjulukuke oleke obubi obwo eri abantu bo. 13 Ojjukire Ibulayimu, Isaaka, ne Isiraeri, abaweereza bo, be weerayiririra wekka n'obagamba nti Ndyongera ezzadde lyammwe ng'emmunyeenye ez'omu ggulu, n'ensi eyo yonna gye njogeddeko ndigiwa ezzadde lyammwe, nabo baligisikira emirembe gyonna. 14 Mukama n'ajjulukuka n'aleka obubi bw'abadde ayogedde okubakola abantu be. 15 Musa n'akyuka, n'aserengeta okuva ku lusozi, ng'alina ebipande bibiri eby'obujulirwa mu ngalo ze; ebipande ebyawandiikibwako ku njuyi zaabyo zombi; byawandiikibwako eruuyi n'eruuyi. 16 N'ebipande byali mulimu gwa Katonda, n'okuwandiika kwali kuwandiika kwa Katonda, okwayolebwa ku bipande. 17 Yoswa bwe yawulira eddoboozi ly'abantu nga boogerera waggulu, n'agamba Musa nti Waliwo eddoboozi ery'okulwana mu lusiisira. 18 N'ayogera nti Eryo si ddoboozi lyabo aboogerera waggulu olw'okuwangula, so si ddoboozi lyabo abakaaba olw'okugobebwa: naye eddoboozi lyabo abayimba lye mpulira. 19 Awo olwaruuka bwe yasemberera olusiisira, n'alyoka alaba ennyana n'abazina: obusungu bwa Musa ne bwaka nnyo, n'akasuka ebipande mu ngalo ze, n'abimenyera wansi w'olusozi, 20 N'atwala ennyana gye baali bakoze, n'agyokya n'omuliro, n'agisekulasekula, n'agimansira ku mazzi, n'aganywesaako abaana ba Isiraeri. 21 Musa n'agamba Alooni nti Abantu bano baakukola ki, ggwe n'okuleeta n'obaleetako okwonoona okunene? 22 Alooni n'ayogera nti Obusungu bwa mukama wange buleme okubuubuuka ennyo: gw'omanyi abantu bano, nga bagobererera ddala obubi. 23 Kubanga baŋŋamba nti Tukolere bakatonda, abanaatukulemberanga: kubanga Musa oyo, ye yatuggya mu nsi y'e Misiri, tetumanyi ky'abadde. 24 Ne mbagamba nti Buli alina zaabu yonna yonna, bagimenyeko; awo ne bagimpa: ne ngiteeka mu muliro, n'ennyana eno n'evaamu. 25 Awo Musa bwe yalaba ng'abantu bajeemye; kubanga Alooni yabajeemya okusekererwa abalabe baabwe: 26 Musa n'alyoka ayimirira mu wankaaki w'olusiisira, n'ayogera nti Buli muntu ali ku lwa Mukama, ajje gye ndi. Abaana bonna aba Leevi ne bakuŋŋaana gy'ali. 27 N'abagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Muteeke buli muntu ekitala kye ku kisambi kye, muddiiŋŋane mu miryango gyonna mu lusiisira lwonna, mutte buli muntu muganda we, na buli muntu munne, na buli muntu muliraanwa we. 28 Abaana ba Leevi ne bakola ng'ekigambo kya Musa: ne bafa ku bantu ku lunaku luli abasajja nga nkumi ssatu. 29 Musa n'ayogera nti Mwetukuze leero eri Mukama, newakubadde olsulwana buli muntu n'omwana we, era ne muganda we; alyoke abawe leero omukisa. 30 Awo olwatuuka enkya Musa n'agamba abantu nti Mwayonoonye ekyonoono ekinene: ne kaakano naalinnya eri Mukama; mpozzi naakola ekinaatangirira olw'ekyonoono kyammwe. 31 Musa n'addayo eri Mukama, n'ayogera nti Woo, abantu abo bayonoonye ekyonoono ekinene, ne beekolera bakatonda aba zaabu. 32 Naye kaakano, bw'onoosonyiwa ekyonoono kyabwe; naye bw'otoobasonyiwe, onsangule nze, nkwegayiridde, mu kitabo kyo kye wawandiika. 33 Mukama n'agamba Musa nti Buli eyannyonoonye nze, oyo gwe nnaasangula mu kitabo kyange. 34 Ne kaakano genda, otwale abantu mu kifo kye nnakugambako: laba, malayika wange anaakukulemberanga: era naye ku lunaku luli lwe ndiwalana, ndibawalanako ekibi kyabwe. 35 Mukama n'abonyaabonya abantu, kubanga baakola ennyana, Alooni gye yakola.

Okuva 33

1 Mukama n'agamba Musa nti Mugende mulinnye okuva wano, ggwe n'abantu be waggya mu nsi y'e Misiri, muyingire mu nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo: 2 era ndituma malayika mu maaso go; era ndigobamu Omukanani, Omwamoli, n'Omukiiti, n'Omuperizi, Omukiivi, n'Omuyebusi: 3 mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki: kubanga nze siririnnya wakati mu mumwe; kubanga oli ggwanga eririna; ensingo enkakanyavu: nneme okukuIzikiriza mu kkubo. 4 Abantu bwe baawulira ebigambo ebyo ebibi, ne banakuwala: ne wataba muntu ayambala eby'obuyonjo bye. 5 Mukama n'agamba Musa nti Gamba abaana ba Isiraeri nti Muli ggwanga eririna ensingo enkakanyavu: mbeera kulinnya wakati mu ggwe newakubadde akaseera akatono, nandikuzikirizza: kale kaakano yambula eby'obuyonjo byo, ndyoke ntegeere bwe nnaakukola. 6 Abaana ba Isiraeri ne beeyambula eby'obuyonjo byabwe okuva ku lusozi Kolebu n'okweyongerayo. 7 Musa yatwalanga eweema n'agisimba ebweru w'olusiisira, walako n'olusiisira; n'agiyita Eweema ey'okusisinkanirangamu. Era buli eyanoonyanga Mukama n'afulumanga n'ager.da mu weema ey'okusisinkanirangamu, eyali ebweru w'olusiisira. 8 Era Musa bwe yafulumanga n'agendanga mu Weema, abantu bonna ne bagolokokanga ne bayimirira, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye, n'atunuulira Musa, okutuusa bwe yamalanga okuyingira mu Weema. 9 Awo Musa bwe yayingiranga mu Weema, empagi ey'ekire n'ekka n'eyimirira ku mulyango gw'Eweema: Mukama n'ayogera ne Musa. 10 Abantu bonna ne balaba empagi ey'ekire ng'eyimiridde ku mulyango gw'Eweema: abantu bonna ne bayimuka ne basinza, buli muntu mu mulyango gw'eweema ye. 11 Mukama n'ayogeranga ne Musa nga balabagana mu maaso, ng'omuntu bw'ayogera ne mukwano gwe. N'addangayo mu lusiisira nate: naye omuweereza we, Yoswa, omwana wa Nuni, omuvubuka, teyavanga mu Weema. 12 Musa n'agamba Mukama nti Laba, ondagira nti Twala abantu bano: n'otoŋŋanya kumanya gw'onoottuna awamu nange. Naye wayogera nti Nkumanyi erinnya, era walaba ekisa mu maaso gange. 13 Kale kaakano, nkwegayiridde, bwe mba nga nalaba ekisa mu maaso go, ondage amakubo go, nkumanye, ndyoke ndabe ekisa mu maaso go: era lowooza ng'eggwanga lino bantu bo. 14 N'ayogera nti Amaaso gange galigenda naawe, nange ndikuwa okuwummula. 15 N'amugamba nti Amaaso go bwe gataagendenga nange, totutwala okuva wano. 16 Kubanga kiritegeerebwa kitya nga nze nalaba ekisa mu maaso go, nze n'abantu bo? si kyekiriva kitegeerebwa kubanga ogenda naffe, n'okwawulwa ne twawulibwa, nze n'abantu bo, mu bantu bonna abali ku maaso g'ensi? 17 Mukama n'agamba Musa nti Era n'ekyo ky'oyogedde ndikikola: kubanga walaba ekisa mu maaso gange, nange nkumanyi erinnya. 18 N'ayogera nti Nkwegayiridde, ondage ekitiibwa kyo. 19 N'ayogera nti Naayisa obulungi bwange bwonna mu maaso go, era naatendera erinnya lya Mukama mu maaso go; era naamukwatiravanga ekisa gwe naakwatirwanga ekisa, era naamusaasiranga gwe naasaasiranga. 20 N'ayogera nti Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n'aba omulamu. 21 Mukama n'ayogera nti Laba, waliwo ekifo ekiri okumpi nange, naawe onooyimirira ku jjinja: 22 awo olunaatuuka ekitiibwa kyange bwe kinaaba nga kiyita, naakuteeka mu lwatika lw'omu jjinja, ne nkubikkako n'omukono gwange okutuusa bwe nnaaba nga mpiseewo: 23 ne nziyako omukono gwange, naawe n'olaba amabega gange: naye amaaso gange tegaalabike.

Okuva 34

1 Mukama n'agamba Musa nti Weebajjire ebipande bibiri eby'amayinja ebifaanana ng'eby'olubereberye: nange ndiwandiika ku bipande ebigambo ebyali ku bipande eby'olubereberye, bye wamenya. 2 Era enkya obe nga weeteeseteese, olinnye enkya ku lusozi Sinaayi, weeragire okwo gye ndi ku ntikko y'olusozi. 3 So tewaabe muntu alinnya naawe, so n'omuntu yenna aleme okulabikira ku lusozi lwonna lwonna; newakubadde endiga newakubadde ente bireme okuliira mu maaso g'olusozi olwo. 4 N'abajja ebipande bibiri ebifaanana ng'eby'olubereberye; Musa n'agolokoira enkya mu makya, n'alinnya ku lusozi Sinaayi, Mukama nga bwe yamulagidde, n'atwala mu ngalo ze ebipande bibiri eby'amayinja. 5 Mukama n'akkira mu kire, n'ayimirira eyo wamu naye, n'atendera erinnya lya Mukama. 6 Mukama n'ayita mu maaso ge, n'atendera nti Mukama, Mukama, Katonda ajjudde okusaasira era ow'ekisa, alwawo okusunguwala, era alina okusaasira okungi n'amazima amangi; 7 ajjukira okusaasira eri abantu enkumi n'enkumi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okwonoona n'ekibi: era atalimuggyako omusango n'akatono oyo aligubaako; awalana obutali butuukirivu bwa bakitaabwe ku baana baabwe, ne ku baana b'abaana baabwe, ku mirembe egya bannakasatwe n'egya bannakana. 8 Musa n'ayanguwa, n'avuunamya omutwe, n'asinza. 9 N'ayogera nti Bwe mba kaakano nga naalaba ekisa mu maaso go, ai Mukama, Mukama; atambulenga wakati mu ffe, nkwegayiridde; kubanga lye ggwanga eririna ensingo enkakanyavu; era otusonyiwe obutali butuukirivu bwaffe n'okwonoona kwaffe, era otutwale okuba obusika bwo. 10 N'ayogera nti Laba, ndagaana endagaano: mu maaso g'abantu bo bonna naakolanga eby'amagero, ebitakolebwanga mu nsi zonna, newakubadde mu ggwanga lyonna lyonna: n'abantu bonna b'olimu banaalabanga omulimu gwa Mukama, kubanga kye ndikukoza kya ntiisa. 11 Lowooza kino kye nkulagira leero: laba, ngoba mu maaso go Omwamoli, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omuperizi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi. 12 Weekuume wekka, tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi gy'ogenda, ereme okuba ng'ekyambika wakati mu ggwe: 13 naye mulimenyaamenya ebyoto byabwe, era mulyasayasa empagi zaabwe, era mulitemaatema Baasera baabwe: 14 kubanga toosinzenga Katonda mulala yenna: kubanga Mukama, erinnya lye Waabuggya, ye Katonda ow'obuggya: 15 tolagaananga ndagaano n'abo abali mu nsi, baleme okwenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babawa ssaddaaka bakatonda baabwe, ne wabaawo akuyita n'olya ku ssaddaaka ye; 16 n'otwalira abaana bo abasajja ku bawala baabwe, abawala baabwe ne bayenda nga bagoberera bakatonda baabwe, ne babayenza abaana bo nga bagoberera bakatonda baabwe, 17 Teweekoleranga bakatonda abasaanuuse. 18 Oneekuumanga embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa. Ennaku musanvu onoolyanga emigaati egitazimbulukuswa, nga bwe nnakulagira, mu kiseera ekyalagirwa mu mwezi Abibu: kubanga mu mwezi Abibu mwe waviira mu Misiri. 19 Buli ekinaggulanga enda kyange; n'ensolo zo zonna ennume, eby'olubereberye eby'ente n'eby'endiga. 20 N'omwana omubereberye ogw'endogoyi onoomununu langa n'omwana gw'endiga: era bw'onoobanga toyagala kumununula, onoomenyanga obulago bwayo. Onoonunulanga ababereberye bonna mu baana bo. So tewaabenga eyeeraga eri nze nga taleese kintu. 21 Ennaku omukaaga onookolerangamu emirimu, naye ku lunaku olw'omusanvu onoowummulanga: mu nnaku ze balimirangamu ne mu nnaku ze bakungulirangamu onoowummulanga. 22 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti, ye y'omwaka omubereberye ogw'eŋŋaano, n'embaga ey'okutereka omwaka nga guweddeko. 23 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna baneeraganga mu maaso ga Mukama Katonda, Katonda wa Isiraeri. 24 Kubanga ndigobamu amawanga mu maaso go, ne ngaziya ensalo zo: so tewaabenga muntu alyegomba ensi yo, bw'onoogendanga okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo emirundi esatu buli mwaka. 25 Towangayo musaayi gwa ssaddaaka yange wamu n'omugaati oguzimbulukuswa; newakubadde ssaddaaka ey'embaga ey'Okuyitako tesigalangako okutuusa enkya. 26 Eby'olubereberye eby'ensi yo ebisooka onoobireetanga mu nnyumba ya Mukama Katonda wo. Tofumbiranga omwana gw'embuzi mu mata ga nnyina waagwo. 27 Mukama n'agamba Musa nti Ggwe wandiika ebigambo ebyo: kuba ebigambo ebyo nga bwe biri bwe ndagaanye bwe ntyo endagaano naawe ne Isiraeri. 28 N'amala eyo wamu ne Mukama ennaku amakumi ana emisana n'ekiro; nga talya mmere so nga tanywa mazzi. N'awandiika ku bipande ebigambo eby'endagaano, amateeka ekkumi. 29 Awo olwatuuka Musa bwe yakka okuva ku lusozi Sinaayi, ebipande bibiri eby'obujulirwa nga biri mu ngalo za Musa, bwe yakka okuva ku lusozi, Musa n'atamanya ng'omubiri ogw'amaaso ge gumasamasa olw'okwogera naye. 30 Alooni n'abaana bonna aba Isiraeri bwe baalaba Musa, laba, omubiri ogw'amaaso ge ne gumasamasa; ne batya okumusemberera. 31 Musa n'abayita; Alooni n'abakulu bonna ab'ekibiina ne badda gy'ali: Musa n'ayogera nabo. 32 Oluvannyuma abaana bonna aba Isiraeri ne basembera: n'abalagira byonna Mukama by'ayogeredde na ye ku lusozi Sinaayi. 33 Musa bwe yamala okwogera nabo, n'ateeka eky'okubikka ku maaso ge: 34 Naye Musa bwe yayingiranga mu maaso ga Mukama okwogera naye, n'aggyako eky'okubikka, okutuusa lwe yafulumanga; n'afulumanga n'ayogera n'abaana ba Isiraeri bwe yalagirwanga; 35 abaana ba Isiraeri ne balaba amaaso ga Musa, omubiri ogw'amaaso ge nga gumasamasa : Musa n'azzanga eky'okubikka ku maaso ge, okutuusa lwe yayingiranga okwogera naye:

Okuva 35

1 Musa n'akurjnaanya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri, n'abagamba nti Bino bye bigambo Mukama by'alagidde, mmwe okubikola. 2 Ennaku omukaaga emirimu gikolerwengamu, naye ku lunaku olw'omusanvu wabenga olunaku olutukuvu gye muli, ssabbiiti ey'okuwtunmula okutukuvu eri Mukama: buli anaakolerangako omulimu gwonna anattibwanga. 3 Temukumanga muliro gwonna mu nnyumba zammwe zonna ku lunaku olwa ssabbiiti. 4 Musa n'abuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nti Kino kye kigambo Mukama ky'alagidde, ng'ayogera nti 5 Muggye ku bannanunwe ekiweebwayo eri Mukama: buli alina omutima ogukkiriza, akireete, kye kiweebwayo ekya Mukama; zaabu, ne ffeeza, n'ekikomo; 6 ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta, n'ebyoya by'embuzi; 7 n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋonge, n'omuti gwa sita; 8 n'amafuta g'ettabaaza, n'eby'akaloosa eby'amafuta ag'okufukako, n'eby'akaloosa eby'okunyookeza; 9 n'amayinja aga onuku, n'amayinja ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba. 10 Era buli muntu mu mmwe alina omutima ogw'amagezi ajje akole byonna Mukama by'alagidde; 11 ennyumba, eweema yaayo n'eky'okugibikkako, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 12 essanduuko, n'emisituliro gyayo, entebe ey'okusaasira, n'eggigi eryawulamu; 13 emmeeza n'emisituliro gyayo, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 14 era n'ekikondo eky'ettabaaza, n'ebintu byakyo, n'ettabaaza zaakyo, n'amafuta ag'ettabaaza; 15 n'ekyoto eky'okwoterezangako, n'emisituliro gyakyo, n'amafuta ag'okufukako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'omu mulyango ogw'eweema; 16 ekyoto eky'okwokerangako ekiweebwayo, era n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 17 ebitimbibwa eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byazo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya; 18 enninga ez'eweema, n'enninga ez'oluggya, n'emigwa gyabyo; 19 n'ebyambalo ebikolebwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, eby'okuweererezangamu mu bwakabona. 20 Ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bagenda ne bava mu maaso ga Musa. 21 Ne bajja buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza, era na buli muntu omwoya gwe gwe gwakkirizisa, ne baleeta ekiweebwayo ekya Mukama, olw'omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'olw'okuweereza kwayo kwonna, n'olw'ebyambalo ebitukuvu. 22 Ne bajja, abasajja era n'abakazi, bonna abaalina emitima egikkiriza, ne baleeta amapeesa, n'empeta ez'omu matu, n'eziriko obubonero, n'amagemu, amakula gonna aga zaabu; buli muntu eyawa ekiweebwayo ekya zaabu eri Mukama. 23 Na buli muntu eyala bika ng'alina kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, n'ebyoya by'embuzi, n'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, n'amaliba g'eŋŋoonge, n'abireeta. 24 Buli muntu eyawaayo ekiweebwayo ekya ffeeza n'ekikomo yaleeta ekiweebwayo ekya Mukama: na buli muntu eyalabika ng'alina omuti gwa sita olw'omulimu gwonna gwonna ogw'okuweereza, n'aguleeta. 25 N'abakazi bonna abaalina emitima egy'amagezi ne balanga n'engalo zaabwe, ne baleeta bye baalanga, kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. 26 N'abakazi bonna emitima gyabwe be gyakubiriza mu magezi ne balanga ebyoya by'embuzi. 27 N'abakulu ne baleeta amayinja aga onuku, n'ag'okutona, okubeera ku kkanzu ne ku kyomukifuba; 28 n'eby'akaloosa, n'amafuta; olw'ettabaaza, n'olw'amafuta ag'okufukako, n'olw'obubaane obuwoomerevu. 29 Abaana ba Isiraeri baaleeta ekiweebwayo eky'emyoyo egy'eddembe eri Mukama; buli musajja n'omukazi, emitima gyabwe be gyakkirizisa okuleetera omulimu gwonna Mukama gwe yalagira okukola mu mukono gwa Musa. 30 Musa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Laba, Mukama ayise erinnya Bezaaleeri omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda; 31 era amujjuzizza omwoyo gwa Katonda, mu magezi, mu kutegeera, ne mu kumanya, ne mu buli ngeri y'okukola: 32 n'okuyiiya emirimu egy'amagezi, n'okukola omulimu gwa zaabu, n'ogwa ffeeza, n'ogw'ekikomo, 33 n'ogw'okusala amayinja ag'okutona, n'ogw'okwola emiti, okukola buli ngeri y'emirimu egy'amagezi. 34 Era ateese mu mutima gwe okuyigiriza, ye era ne Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani. 35 Abo abajjuzizza emitima gyabwe amagezi, okukola buLi ngeri y'emirimu, egy'omusazi w'amayinja, n'egy'omukozi ow'amagezi, n'egy'omudaliza, egya kaniki, n'egy'olugoye olw'effulungu n'egy'olumyufu, n'egya bafuta ennungi, n'egy'omulusi egya bonna abakola emirimu gyonna gyonna, n'abo abayiiya emirimu egy'amagezi.

Okuva 36

1 Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira. 2 Musa n'ayita Bezaaleeri ne Okoliyaabu, na buli muntu eyalina , omutima ogw'amagezi, Mukama gwe yateekamu amagezi mu mutima gwe, buli muntu omutima gwe gwe gwakubiriza okujja ku mulimu okugukola: 3 Musa n'abawa ekiweebwayo kyonna abaana ba Isiraeri kye baaleeta olw'emirimu egy'okuweereza okw'omu watukuvu, okugikola. Era ne bamuleeteranga ebiweebwayo n'emyoyo egy'eddembe buli nkya. 4 N'ab'amagezi bonna, abaakola emirimu gyonna egy'omu watukuvu, ne bava buli muntu ku mulimu gwe, gwe baali bakola; 5 ne bagamba Musa nti Abantu baleeta bingi ebi'sukkiridde ennyo okumala okukola emirimu, Mukama gye yalagira okukola. 6 Musa n'alagira, ne balangirira mu lusiisira lwonna, nti Omusaja era n'omukazi alekere awo okukola nate omulimu gwonna ogw'ekiweebwayo eky'awatukuvu. Abantu ne baziyizibwa okuleeta. 7 Kubanga ebintu bye baali nabyo byamala emirimu gyonna okugikola, era byasukkirirawo. 8 Na buli muntu eyalina omutima ogw'amagezi eyakola omulimu ogwo n'akola eweema n'emitanda kkumi; egya bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yagukola. 9 Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi abiri mu munaana, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: eautanda gyonna gyali gya kigero kimu. 10 N'agatta emitanda etaano gyokka na gyokka: era n'emitanda etaano emirala n'agigatta gyokka na gyokka. 11 N'akola erl0ango eza kaaiki ku lukugiro lw'omutanda ogumu okuva mu nsonda ey'emigatte: era bw'atyo n'akola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 12 Yakola eŋŋango amakumi ataano ku mutanda gumu, n'eŋŋango amakumi ataano ku luku giro lw'omutanda ogw'omu migatte egy'okubiri: eŋŋango zaalabagana zokka na zokka. 13 Era n'akola ebikwaso ebya zaabu amakumi ataano, n'agatta emitanda gyokka m gyokka n'ebikwaso: eweema n'ebeera emu. 14 Era n'akala emitanda egy'ebyoya by'embuzi okubeera eweema ku weema: yakola emitanda kkumi na gumu. 15 Obuwanvu bwa buli mutanda bwali emikono amakumi asatu, n'obugazi bwa buli mutanda emikono ena: emitanda kkumi na gumu gyali gya kigero kimu. 16 N'agatta emitanda etaano gyokka, n'emitanda omukaaga gyokka. 17 N'akola eŋŋango amakumi ataano ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte, n'eŋŋango amakumi ataano n'azikola ku lukugiro lw'omutanda ogw'oku mabbali g'emigatte egy'okubiri. 18 Era n'akola ebikwaso amakumi ataano eby'ebikomo oku gatta eweema, ebeere emu. 19 Era n'agikolera eweema eky'okugibikkako eky'amaliba g'endiga amannyike amamyufu, ne kungulu eky'okugibikkako eky'amaliba g'eŋŋonge. 20 Era n'akola embaawo ez'eweema ez'omuti gwa sita, okuyimirira. 21 Emikono kkumi bwe bwali obuwanvu bw'olubaawo, n'omukono n'ekitundu obugazi bwa buli lubaawo. 22 Ku buli lubaawo kwaliko ennimi bbiri, ezaagattibwa zokka na zokka: bw'atyo bwe yakola ku mbaawo zonna ez'eweema. 23 N'akola embaawo ez'eweema; embaawo amakumi abiri ez'oluuyi lw'obukiika obwa ddyo mu bukiika obwa ddyo: 24 era n'akola ebinnya ebya ffeeza amakumi ana wansi w'embaawo amakumi abiri; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu eby'ennimi zaalwo ebbiri, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala eby'ennimi zaalwo ebbiri. 25 Era ez'oluuyi olw'okubiri olw'eweema, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'akola embaawo amakumi abiri, 26 n'ebinnya byazo ebya ffeeza amakumi ana; ebinnya bibiri wansi w'olubaawo lumu, n'ebinnya bibiri wansi w'olubaawo olulala. 27 Era ez'oluuyi olw'eweema olw'emabega mu bugwanjuba n'akola embaawomukaaga. 28 Era n'akola embaawo bbiri ez'ensonda ez'eweema ku luuyi olw'emabega. 29 Zaali bbiri bbiri wansi, era bwe zityo bwe zaali ennamba waggulu waazo okutuuka ku mpeta emu: bw'atyo bwe yazikola zombi mu nsonda zombi. 30 Zaali embaawo munaana, n'ebinnya byazo ebya ffeeza, ebinnya kkumi na mukaaga; ebinnya ebibiri wansi wa buli lubaawo. 31 Era n'akola emiti egy'omuti gwa sita; etaano egy'embaawo ez'oluuyi lumu olw'eweema, 32 n'emiti etaano egy'embaawo ez'oluuyi olulala olw'eweema, n'emiti etaano egy'embaawo ez'eweema ez'oluuyi olw'emabega olw'ebugwanjuba. 33 N'omuti ogwa wakati n'aguyisa wakati mu mbaawo eruuyi n'eruuyi. 34 N'embaawo n'azibikkako zaabu, n'akola empeta zaazo eza zaabu omw'okuteekera emiti, n'emiti n'agibikkako zaabu. 35 N'akola eggigi erya kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyu. fu, ne bafuta ennungi erangiddwa; ne bakerubi omulimu ogw'omukozi ow'amagezi bwe yalikola. 36 N'alikolera empagi nnya ez'omuti gwa sita, n'azibikkako zaabu: n'ebikwaso byazo byali bya zaabu; n'azifumbira ebinnya bina ebya ffeeza. 37 N'alukolera akatimba oluggi olw'eweema, aka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa, omulimu ogw'omudaliza; 38 n'empagi zaako ttaano n'ebikwaso byazo: n'emitwe gyazo n'emiziziko gyazo n'abibikkako zaabu: n'ebinnya byazo bitaano byali bya bikomo.

Okuva 37

1 Bezaaleeri n'akola essanduuko ey'omuti gwa sita: obuwanw bwayo bwali emikono ebizi n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu, n'obugulumiw bwayo omukono gumu n'ekitundu: 2 n'agibikkako zaabu ennungi munda ne kungulu, n'agikolera engule eya zaabu okwetooloola. 3 N'agifumbiza empeta nnya eza zaabu, mu magulu gaayo ana; empeta bW ku lubiriizi lwayo olumu, n'empeta bbiri kulubiriizi lwayo olw'okubiri. 4 N'akola emisituliro egy'a muti gwa sita, n'agibikkako zaabu 5 N'ayingiza emisituliro mu mpeta ku mbiriizi ez'essanduuko, okusitula essanduuko. 6 N'akola entebe ey'okusaasira eya zaabu ennungi: obuwanvu bwayo emikono ebiri n'ekitundu, n'obugazi bwayo omukono gumu n'ekitundu. 7 N'akola bakerubi babiri aba zaabu; yabakola n'eyaweesebwa, ku nsonda bbiri ez'entebe ey'okusaasira; 8 kerubi omu ku nsonda eyo, ne kerubi omu ku nsonda eyo: yakola bakerubi mu kitundu eky'entebe ey'okusaasira ku nsonda zaayo ebbiri. 9 Ne bakerubi baagolola ebiwaawaatiro byabwe waggulu, nga bayanjaaza ku ntebe ey'okusaasira ebiwaawaatiro byabwe, nga balabagana amaaso gaabwe; amaaso ga bakerubi baatunuulira entebe ey'okusaasira. 10 N'akola emmeeza ey'omuti gwa sita: obuwanvu bwayo emikono ebiri, n'obugazi bwayo omukono gumu, n'obugulumivu bwayo omukono gumu n'ekitundu: 11 n'agibikkako zaabu ennurrgi, n'agikolako engule eya zaabu okwetooloola. 12 N'agikolako olukugiro olw'oluta okwetooloola, n'alukolera olukugiro lwayo engule eya zaabu okwetooloola. 13 N'agifumbira empeta nnya eza zaabu, n'ateeka empeta ku nsonda ennya eziri ku magulu gaayo ana. 14 Kumpi n'olukugiro we zaali empeta, ebifo eby'emisituliro gisitulenga emmeeza. 15 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu, okusitulanga emmeeza. 16 N'akola ebintu ebyabeeranga ku mmeeza, essowaani zaayo, n'ebijiiko byayo, n'ebibya byayo, n'ensuwa zaayo, okufuka nabyo, ne zaabu ennungi. 17 N'akola ekikondo ekya zaabu ennungi: yakola ekikondo n'eyaweesebwa, entobo yaakyo, n'omukonda gwakyo; ebikompe byakyo, n'emitwe gyakyo, n'ebimuli byakyo byali bya zaabu emu nakyo: 18 era amatabi mukaaga gaava ku mbiriizi zaakyo; amatabi asatu ag'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olumu, n'amatabi asatu eg'ekikondo gaava ku lubiriizi lwakyo olw'okubiri: 19 ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi limu, omutwe nekimuli; n'ebikompe bisatu ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa mu ttabi ery'okubiri, omutwe n'ekimuli: bwe kityo mu matabi mukaaga agaava ku kikondo. 20 Ne mu kikondo mwalimu ebikompe bina ebifaanana ng'ebimuli bya kaluwa, emitwe gyabyo n'ebimuli byabyo: 21 n'omutwe gwali wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, n'omutwe wansi w'amatabi abiri aga zaabu emu nagwo, mu matabi omukaaga agaakivaako. 22 Emitwe gyabyo n'amatabi gaabyo byali bya zaabu emu nakyo: kyonna kyali mulimu muweese ogumu ogwa zaabu ennungi. 23 N'akola eby'ettabaaza byakyo, omusanvu, ne makansi waakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, ne zaabu ennungi. 24 Yakikola ne ttalanta eya zaabu ennungi, n'ebintu byakyo byonna. 25 N'akola ekyoto eky'okwoterezangako obubaane eky'omuti gwa sita : obuwanvu bwakyo bwali mukono, n'obugazi bwakyo mukono, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo bwali emikono ebiri; amayembe gaakyo gaali ga muti gumu nakyo. 26 N'akibikkako zaabu ennungi, waggulu waakyo, n'enjuyi zaakyo okwetooloola, n'amayembe gaakyo: n'akikolako engule eya zaabu okwetooloola. 27 N'akikolako empeta bbiri eza zaabu wansi w'engule yaakyo, mu mbiriizi zaakyo zombi, ku njuyi zaakyo zombi, okuba ebifo eby'emisituliro okukisitulirangako. 28 N'akola emisituliro n'omuti gwa sita, n'agibikkako zaabu. 29 N'akola amafuta amatukuvu ag'okufukangako, n'obubaane obulongoofu obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu, ng'amagezi ag'omukozi w'omugavu bwe gali.

Okuva 38

1 N'akola ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo eky'omuti gwa sita: obuwanvu bwakyo bwali emikono etaano, n'obugazi bwakyo emikono etaano, okwenkanankana enjuyi zonna; n'obugulumivu bwakyo emikono esatu. 2 N'akola amayembe gaakyo ku nsonda zaakyo ennya; amayembe gaakyo gaali ga mulimu gumu nakyo: n'akibikkako ekikomo. 3 N'akola I ebintu byonna eby'ekyoto, entamu, n'ebijiiko, n'ebibya, n'eby'okukwasa ennyama, n'emmumbiro: ebintu byakyo byonna yabikola n'ebikomo. 4 N'akikolera ekyoto ekitindiro eky'ekikomo ekirukibwa, wansi w'omuziziko ogukyetooloola wansi, n'akituusa wakati mu bugulumivu obw'ekyoto. 5 N'afumbira empeta nnya ensonda ennya ez'ekitindiro eky'ekikomo, okuba ebifo eby'e misituliro. 6 N'akola emisituliro egy'omuti gwa sita, n'agibikkako ebikomo. 7 N'ayingiza emisituliro mu mpeta ez'oku mbiriizi ez'ekyoto, okukisitulirangako; yakikola n'embaawo nga kirina ebbanga munda. 8 N'akola eky'okunaabirangamu eky'ekikomo, n'entobo yaakyo ya kikomo, n'endabirwamu ez'abakazi abaweereza abaaweerezanga ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 9 N'akola oluggya: ebyatimbibwa eby'oluggya eby'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo obukiika obwa ddyo byali bya bafuta ennungi erangiddwa, emikono kikumi: 10 empagi zaabyo zaali amakumi abiri, n'ebinnya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo byali bya ffeeza. 11 N'eby'oluuyi olw'obukiika obwa kkono emikono kikumi, empagi zaabyo amakumi abiri, n'ebianya byazo amakumi abiri, eby'ebikomo; ebikwaso eby'empagi a'emiziziko gyazo bya ffeeza. 12 N'ebyatimbibwa eby'oluuyi olw'ebugwanjuba bya mikono ataano, empagi zaabyo kkumi, n'ebinnya byazo kkumi; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 13 N'eby'oluuyi olw'ebuvanjuba ku buvanjuba emikono ataano. 14 Ebyatimbibwa eby'oku luuyi olumu oluliko omulyango byali bya mikono kkumi n'etaa.no; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu; 15 n'oluuyi olulala bwe lutyo; eruuyi n'eruuyi ku mulyango ogw'oluggya waaliwo ebyatimbibwa eby'emikono kkumi n'etaano; empagi zaabyo ssatu, n'ebinnya byazo bisatu. 16 Ebyatimbibwa byonna eby'oluggya eby'enjuyi zonna byali bya bafuta ennungi erangiddwa. 17 N'ebinnya eby'empagi byali bya bikomo; ebikwaso eby'empagi n'emiziziko gyazo bya ffeeza; n'emitwe gyazo gyabikkibwako ffeeza; n'empagi zonna ez'oluggya zaateekebwako emiziziko gya ffeeza. 18 N'akatimba ak'oluggi olw'oluggya kaali mulimu gwa mudaliza, ka kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa : n'obuwanvu bwako bwali emikono abiri, n'obugulumivu mu bugazi bwako bwali emikono etaano, okwenkanankana n'ebyatimbibwa eby'oluggya. 19 N'empagi zaabyo zaali nnya, n'ebinnya byazo bina, eby'ebikomo; ebikwaso byazo bya fl'eeza, n'eby'okubikka ku mitwe gyazo n'emiziziko gyazo bya ffeeza. 20 N'enninga zonna ez'eweema, n'ez'oluggya okwetooloola, byali bya bikomo. 21 Guno gwe muwendo ogwebintu eby'eweema, ye weema ey'obujulirwa, nga bwe byabalibwa nga Musa bwe yalagira, olw'okuweereza kw'Abaleevi, mu mukono gwa Isamaali, omwana wa Alooni kabona. 22 Ne Bezaaleeri, omwana wa Uli, omwana wa Kuuli, ow'ekika kya Yuda, ye yakola byonna Mukama bye yalagira Musa. 23 Era wamu naye waaliwo Okoliyaabu, omwana wa Akisamaki, ow'ekika kya Ddaani, omusazi w'amayinja, era omukozi ow'amagezi, era omudaliza wa kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi. 24 Zaabu yonna gye baakoza omulimu mu mulimu gwonna ogw'awatukuvu, ye zaabu ey'ekiweebwayo, yali ttalanta abiri mu mwenda, ne sekeri lusanvu mu amakumi asatu, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri. 25 Ne ffeeza ez'abo abaabalibwa ab'ekibiina yali ttalanta kikumi, ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanw mu ttaano, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri: 26 buli muntu beka emu, kye kitundu kya sekeri, nga sekeri ey'awatukuvu bw'eri, buli muntu eyayita okugenda mu abo abaabaliddwa, abaakamala emyaka abiri oba kusukkawo, abantu obusiriivu mukaaga mu enkumi ssatu mu bitaano mu ataano. 27 Ne ttalanta kikumi eza ffeeza zaali za kufumba ebinnya eby'awatukuvu, n'ebinnya eby'eggigi; ebinnya kikumi byava mu ttalanta kikumi, buli kinnya ttalanta. 28 Ne sekeri lukumi mu lusanvu mu nsanvu mu ttaano n'azikoza ebikwaso eby'empagi, n'abikka ku mitwe gyazo, n'azikolako emiziziko. 29 N'ebikomo eby'ekiweebwayo; byali ettalanta nsunw, ne sekeri enkumi bbiri mu bina. 30 Nabyo, n'abikoza ebinnya eby'oluggi olw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, n'ebintu byonna eby'ekyoto, 31 n'ebinnya eby'oluggya okwetooloola n'ebinnya eby'oluggi olw'oluggya, n'enninga zonna ez'eweema, n'enninga zonna ez'oluggya okwetooloola.

Okuva 39

1 Ne kaniki n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne babikoza ebyambalo ebyalangibwa obulungi, eby'okuweererezangamu mu watukuvu, ne bakolera Alooni ebyambalo ebitukuvu Mukama nga bwe yalagira Musa: 2 N'akola ekkanzu eya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi, erangiddwa. 3 Ne baweesa zaabu, ne bagifuula ebipaapi, ne bagikomolamu obunyere, okugirunga mu kaniki, ne mu lugoye olw'effulungu, ne mu lumyufu, ne mu bafuta ennungi, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi. 4 Ne bagikolako eby'okubibegabega ebyagattibwa yagattibwa ku nsonda zaayo zombi. 5 N'olukoba olw'alangibwa n'amagezi, olwagiriko, okugisibyanga, lwali lwa lugoye lumu nayo era omulimu gwalwo gwafaanaaa nga yo; lwa zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, a'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa; nga Mukama bwe yalagira Musa. 6 Ne balongoosa amayinja aga onuku, ne gayingizibwa mu mapeesa aga zaabu, ne gasalibwako ng'akabonero bwe kasalibwa, ng'amannya g'abaana ba Isiraeri bwe gaali. 7 N'agateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, okuba amayinja ag'okujjukizanga eri abaana ba Isiraeri; nga Mukama bwe yalagira Musa. 8 N'akola ekyomukifuba, omulimu ogw'omukozi ow'amagezi oku faanana ag'omulimu ogw'ekkanzu; kya zaabu, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, ne bafuta ennungi erangiddwa. 9 Kyenkanankana enjuyi zonna; ekyomukifuba baakifunyamu: obuwanvu bwakyo luta, n'obugazi bwakyo luta, nga kifunyiddwamu. 10 Ne bakiteekamu ennyiziri nnya ez'amayinja: olunnyiriri olwa sadio, ne topazi, ne kabunkulo lwe Iwali olunnyiriri olw'olubereberye. 11 N'olunnyiriri olw'okubiri ejjinja erya nnawa ndagala, safiro, ne alimasi. 12 N'olunnyiriri olw'okusatu yakinso, sebu, ne amesusito. 13 N'olunnyiriri olw'okuna berulo, oauku, ne yasipero: geetooloozebwa zaabu we gatonebwa. 14 Amayinja ne gaba ng'amannya g'abaana ba Isiraeri, ekkumi n'abiri, ag'amannya gaabwe; ng'akabonero bwe kasalibwa, buli muntu ng'erinnya lye, ebika ekkumi n'ebibiri. 15 Ne bakola ku kyomukifuba emikuufu ng'emigwa, obw'omulimu ogulangibwa ogwa zaabu ennungi. 16 Ne bakola amapeesa abiri aga zaabu, n'empeta bbiri eza zaabu; ne bateeka empeta ebbiri ku nsonda zombi ez'ekyomukifuba. 17 Ne bateeka emikuufu gyombi obwa zaabu obulangibwa ku mpeta zombi ku nkomerero ez'ekyomukifuba. 18 N'enkomerero zombi endala ez'emikuufu gyombi egirangibwa ne baziteeka ku mapeesa gombi, ne bagateeka ku by'okubibegabega eby'ekkanzu, ku luuyi lwayo olw'omu maaso. 19 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteekaku nsonda zombi ez'ekyomukifuba, ku mabbali gaakyo agali ku luuyi olw'ekkanzu munda. 20 Ne bakola empeta bbiri eza zaabu, ne baziteeka ku by'okubibegabega byombi eby'ekkanzu wansinsi, ku luuyi lwayo olw'omu maaso, kumpi n'olukindo lwayo, waggulu w'olukoba olw'ekkanzu olulukibwa n'amagezi. 21 Ne basiba eky'omukifuba n'empeta zaakyo n'empeta ez'ekkanzu n'akagoye aka kaniki, kibeere ku lukoba olw'ekkanzu olulangibwa n'amagezi, era ekyomukifuba kireme okusumululwanga ku kkanzu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 22 N'akola omunagiro ogw'omu kkanzu gwa mulimu ogulangibwa, gwa kaniki gwonna; 23 n'ekituli eky'omunagiro wakati mu gwo, ng'ekituli eky'ekizibawo eky'ekyuma, nga guliko olukugiro okwetooloola ekituli kyagwo, guleme okuyuzibwa. 24 Ne bakola ku birenge by'omunagiro amakomamawanga aga kaniki n'ag'effulungu, n'ag'olumyufu, n'aga bafuta erangiddwa. 25 Ne bakola endege eza zaabu ennungi, ne bateeka endege wakati w'amakomamawanga ku birenge by'omunagiro okwetooloola, wakati w'amakomamawanga; 26 endege n'ekkomamawanga, endege n'ekkomamawanga, ku bireage by'omunagiro okwetooloola, okuweererezangamu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 27 Ne bakolera Alooni ebizibawo ebya bafuta ennungi eby'omulimu ogulangibwa, n'abaana be, 28 n'ekiremba ekya bafuta ennungi, n'enkuufiira ennungi eza bafuta ennungi, ne seruwale eza bafuta ennungi erangiddwa, 29 n'olukoba olwa bafuta ennungi erangiddwa, ne kaniki, n'olugoye olw'effulungu, n'olumyufu, omulimu ogw'omudaliza; nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 Ne bakola akapande ak'oku ngule entukuvu aka zaabu ennungi, ne bakawandiikako abigambo, ng'ebiwandiikibwa ku kabonero, nti OMUTUKUVU ERI MUKAMA. 31 Ne bakasibako akagoye aka kaniki, okukasiba ku kiremba waggulu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 32 Bwe gutyo omulimu gwonna ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu ne guggwa: era abaana ba Isiraeri baakola nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe baakola bwe batyo. 33 Ne bagireetera Musa ennyumba, Eweema, n'ebintu byayo byonna, ebikwaso byayo, n'embaawo zaayo, n'emiti gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo; 34 n'eky'okubikkako eky'amaliba g'endiga eza seddume amannyike amamyufu, n'eky'okubikkako eky'amaliba g'eŋŋonge, n'eggigi eryawulamu; 35 essanduuko ey'obujulirwa, n'emisituliro gyayo, n'entebe ey'okusaasira; 36 emmeeza, n'ebintu byayo byonna, n'emigaati egy'okulaga; 37 ekikondo ekirongoofu, eby'ettabaaza byakyo, bye by'ettabaaza eby'okulongoosebwanga, n'ebintu byakyo byonna, n'amafuta ag'ettabaaza; 38 n'ekyoto ekya zaabu, n'amafuta ag'okufukangako, n'obubaane obuwoomerevu, n'akatimba ak'oluggi olw'eweema; 39 ekyoto eky'ekikomo, n'ekitindiro kyakyo eky'ekikomo, emisituliro gyakyo, n'ebintu byakyo byonna, ekinaabirwamu n'entobo yaakyo; 40 eby'okutimba eby'oluggya, empagi zaalwo, n'ebinnya byalwo, n'akatimba ak'oluggi olw'oluggya, emigwa gyalwo, n'enninga zaalwo, n'ebintu byonna eby'okuweereza okw'omu nnyumba, eby'eweema ey'okusisinkanirangamu; 41 ebyambalo ebyakolebwa obulungi eby'okuweererezangamu mu watukuvu, n'ebyambalo ebitukuvu ebya Alooni kabona, n'ebyambalo eby'abaana be, okuweererezangamu mu bwakabona. 42 Nga byonna Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baakola omulimu gwonna. 43 Musa n'alaba omulimu gwonna, era, laba, baali nga bagumaze; nga Mukama bwe yalagira, bwe batyo bwe baali bagukoledde ddala: Musa n'abasabira omukisa.

Okuva 40

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi.ogwolubereberye olisimba ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu. 3 Era oligiteekamu essanduuko ey'obujulirwa, era olitimba eggigi ku ssanduuko. 4 Era oliyingiza emmeeza, n'oteekateeka ebintu ebigiriko; n'oyingiza ekikondo, n'okoleeza ettabaaza zaakyo. 5 Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky'okwoterezangako obubaane mu maaso g'essanduuko ey'obujulirwa, n'oteekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 6 Era oliteeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo mu maaso g'omulyango ogw'ennyumba y'eweema ey'okusisinkanirangamu. 7 Era oliteeka ekinaabircvamu wakati w'eweema ey'okusisinkazurangamu n'ekyoto, n'okifukamu amazzi. 8 Era olisimba oluggya okwetooloola, n'oti,mba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. 9 Era olitwala amafuta ag'okufukangako, n'ofuka ku weema, ne ku byonna ebirimu, n'ogitukuza, n'ebintu byayo byonna: era eribeera entukuvu. 10 Era oligafukako ku kyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo, n'ebintu byakyo byonna, n'otukuza ekyoto: n'ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11 Era oligafukako ku kinaabirwamu n'entobo yaakyo, n'okitukuza. 12 Era olireeta Alooni n'abaana be ku mulyango ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'obanaaza n'amazzi. 13 Era oliyambaza Alooni ebyambalo ebitukuw; n'omufukako amafuta, n'omutukuza, ampeerereze mu bwakabona. 14 Era olireeta abaana be, n'obambaza ebizibawo: 15 n'obafukako amafuta, nga bw'ofuse ku kitaabwe, bampeerereze mu bwakabona: era bwe balifukibwako amafuta, kiribabeerera obwakabona obutalibavaako mu mirembe gyabwe gyonna. 16 Musa n'akola bw'atyo: nga byonna Mukama bye yamulagira, bwe yakola bw'atyo. 17 Awo olwatuuka mu mwezi ogw'olubereberye ogw'omwaka ogw'okubiri, ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, eweema n'esimbibwa. 18 Musa n'asimba eweema, n'ateekawo ebinnya byayo, n'ayimiriza embaawo zaayo, n'ayingiza emiti gyayo; n'awangiza empa gi zaayo. 19 N'atimba eweema ku nnyumba, n'agiteekako kungulu ekyokubikka ku weema; nga Mukama bwe yalagira Musa. 20 N'atwala obujulirwa n'abuteeka mussanduuko, n'assa emisituliro kui ssanduuko, n'ateeka entebe ey'okusaasira kungulu ku ssanduuko: 21 n'ayingiza ssanduuko mu weema, n'atimba eggigi eryawulamu, n'akisa essanduuko ey'obujulirwa; nga Mukama bye yalagira Musa. 22 N'ateeka emmeeza mu weema ey'okusisinkanirangamu, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa kkono, ebweru w'eggigi. 23 N'agiteekateekako emigaati mu maaso ga Mukama: nga Mukama bwe yalagira Musa. 24 N'ateeka ekikondo mu weema ey'okusisinkanirangamu, mu maaso g'emmeeza, ku luuyi olw'eweema olw'obukiika obwa ddyo. 25 N'akoleeza ettabaaza mu maaso ga Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa. 26 N'ateeka ekyoto ekya zaabu mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso g'eggigi: 27 n'akyoterezaako obubaane obw'ebyakaloosa ebiwoomerevu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 28 N'ateekawo akatimba ak'oluggi olw'eweema. 29 N'ateeka ekyoto eky'okwokerangako ebiweebwayo ku mulyango ogw'ennyumba ey'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'akiwaako ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta; nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 N'ateeka ekinaabirwamu wakati w'eweema ey'okusisinkanirangamu n'ekyoto, n'akifukamu amazzi, okunaabiramu. 31 Musa rie Alooni n'abaana be ne bakinaabirangamu engalo zaabwe n'ebigere byabwe; 32 bwe baayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, era bwe baasembereranga ekyoto, baanaabanga: nga Mukama bwe yalagira Musa. 33 N'asimba oluggya okwetooloola eweema n'ekyoto, n'atimba akatimba ak'oluggi olw'oluggya. Bw'atyo Musa n'amala omulimu. 34 Ekire ne kiryoka kibikka ku weema ey'okusisinkanirangamu, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 35 Musa n'atayinza kuyingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, kubanga ekire kyagituulako, n'ekitiibwa kya Mukama ne kijjuza ennyumba. 36 Era ekire bwe kyaggibwanga ku weema, abaana ba Isiraeri ne batambulanga, mu lugendo lwabwe lwonna: 37 naye ekire bwe kitaggibwangako, ne batatambulanga okutuusa ku lunaku lwe kyaggibwangako. 38 Kubanga ekire kya Mukama kyabeeranga ku weema emisana, n'ekiro ne mubangamu omuliro, mu maaso g'ennyumba ya Isiraeri yonna, mu lugendo lwabwe lwonna.

Ebyabaleevi

Ebyabaleevi 1

1 Awo Mukama n'akoowoola Musa n'ayogera naye mu weema ey'okusisinkanirangamu ng'agamba nti 2 Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi. 3 Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku muIyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama. 4 Era anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo ekyokebwa; awo eneemukkiririzibwanga okumutangirira. 5 Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 6 Awo anaabaaganga ekiweebwayo ekyokebwa era anaakisalangamu ebitundu byakyo. 7 Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro: 8 awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto: 9 naye ebyenda byayo n'amagulu gaayo anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaayokeranga byonna ku kyoto, okuba ekiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'ewumbe edduagi eri Mukama. 10 Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema. 11 Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 12 Awo anaagisalangamu ebifi byayo, awamu n'omutwe gwayo n'amasavu gaayo: awo kabona anaabiteekateekanga ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto: 13 naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 14 Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato. 15 Awo kabona anaakaleetanga eri ekyoto, n'akanyoola omutwe n'agumenyako, n'akookera ku kyoto; n'omusaayi gwako gunaatonnyeranga ku mabbali g'ekyoto: 16 awo anaggyangamu ekisakiro kyako awamu n'empitambi yaakyo, n'akisuula ku mabbali g'ekyoto ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kifo eky'evvu: 17 era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.

Ebyabaleevi 2

1 Era omuntu yenna bw'awangaya ekitone eky'obutta obuweebwayo eri Mukama ekitone kye kinaabanga kya butta bulungi: era anaabufukangako amafuta n'abuteekako omugavu: 2 awo anaakireeteranga abaana ba Alooni hakabona: naye anaakiggyangamu olubatu lwe olw'obutta obulungi bwakyo n'olw'amafuta gaakyo, awamu n'omugavu gwakyo gwonna; awo kabona anaabwokyanga okuba ekijjukizo kyakyo ku kyoto, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'ewumbe eddungi eri Mukama: 3 n'ekyo ekifikkawo ku kiweebwayo eky'ohutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro. 4 Era bw'owangayo ekitone eky'obutta obuweebwayo obwokeddwa mu kabiga, kinaabanga emigaati egitazimbulukuswa egy'obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, oba egy'empewere egitazimbulukuswa egisiigibwako amafuta. 5 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta eky'omu kikalango, kinaabanga kya butta bulungi obutazimbulukuswa obutabuddwamu amafuta. 6 Onookyawulangamu ebitundu, obufukeko amafuta: kye kiweebwayo eky'obutta. 7 Era oba ng'owaayo ekitone eky'obutta elry'omu kikalango, kinaakolebwanga n'obutta obulungi wamu n'amafuta. 8 Awo onooleetanga ekiweebwayo eky'obutta ekikolebwa n'ebyo eri Mukama: awo kinaaleeterwanga kabona, naye anaakitwalanga eri ekyoto. 9 Awo kabona anaalobolanga ku kiweebwayo eky'obutta ekijjukizo kyakyo, anaakyokeranga ku kyoto: ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 10 N'ekyo ekinaafikkangawo ku kiweebwayo eky'obutta kinaabanga kya Alooni n'abaana be: kye kintu ekitukuvu ennyo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro. 11 Tewabangawo kiweebwayo kya butta, kye munaawangayo eri Mukama, ekikolebwa n'ekizimbulukusa: kubanga temwokyanga ekizimbulukusa kyonna, newakubadde omubisi gw'enjuki gwonna, okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 12 Ebyo munaabiwangayo eri Mukama okuba ekitone eky'ebibereberye: naye tebirinnyisibwanga ku kyoto okuba ewunibe eddungi. 13 Era buli kitone eky'obutta bw'onoowangayo onookirungangamu omunnyo; so tokkirizanga ky'owaayo eky'obutta okubulwa omunnyo ogw'endagaano ya Katonda wo: awamu n'ebitone byo byonna onoowangayo omunnyo. 14 Era oba ng'owaayo ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye eri Mukama, onoowangayo okuba ekiweebwayo eky'obutta eky'ebibereberye byo eŋŋaano ng'ekyali ku birimba eyokebwa n'omuliro, eŋŋaano embetentere ku birimba ebibisi. 15 Awo onoogifukangako amafuta, era onoogiteekangako omugavu: ekyo kye kiweebwayo eky'obutta. 16 Era kabona anaayokyanga eki kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.

Ebyabaleevi 3

1 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; bw'anaawangayo ku nte, oba nnume oba nkazi, anaawangayo eteriiko bulema mu maaso ga Mukama. 2 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo gy'awaayo, n'agittira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni bakabona banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 3 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda n'amasavu gonna agali ku byenda, 4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekiserige ekiri ku kibumba, awa mu n'ensigo, anaabiggyangako. 5 Awo abaana ba Alooni banaagookeranga ku kyoto ku kiweebwaya ekyokebwa ekiri ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama. 6 Era oba ng'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe eri Mukama ku mbuzi; oba nnume oba nkazi, anaagiwangayo nga teriiko bulema: 7 Bw'anaawangayo omwana gw'endiga okuba ekitone kye, anaaguweerangayo mu maaso ga Mukama: 8 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekitone kye, n'agittiranga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna: 9 Era anaawangayo ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu gaayo, omukira ogwa ssava omulamba, anaagusaliranga kumpi n'omugongo; n'amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 10 10 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 11 Awo kabona anaagookeranga ku kyoto: ekyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 12 Era oba ng'awaayo embuzi, anaagiweerangayo mu maaso ga Mukama: 13 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gwayo, n'agittira mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: awo abaana ba Alooni banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna. 14 Awo anaawangayo ku yo ekitone kye, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 15 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako. 16 Awo kabona anaabyokeranga ku kyoto: kye kyokulya eky'ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro olw'ewumbe eddungi: amasavu gonna ga Mukama. 17 Lino linaabanga etteeka eritajjulukuka emirembe gyammwe gyonna mu nnyumba zammwe zonna, obutalyanga ku masavu newakubadde omusaayi.

Ebyabaleevi 4

1 Mukama n'agamba Musa ng'ayogera nti 2 Buulira abaana ba Isiraeri ng'oyogera nti Omuntu yenna bw'anaayonoonanga nga tamanyiridde, mu kigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, n'amala akola kyonna ku ebyo: 3 kabona eyafukibwako amafuta bw'anaayonoonanga n'okuleeta n'aleetera abantu omusango; awo awengayo olw'ekibi kye ky'ayonoonye ente ennume envubuka eteriiko bulema eri Mukama okuba ekiweebwayo olw'ekibi. 4 Awo anaaleetanga ente eri omulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Mukama; awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ente, n'attira ente mu maaso ga Mukama. 5 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaatoolanga ku musaayi gw'ente, n'aguleeta eri eweema ey'okusisinkanirangamu: 6 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'amansira ku musaayi emirundi musanvu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi ly'awatukuvu. 7 Awo kabona anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto eky'okwotere zangako eby'akaloosa mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu; n'omusaayi gwonna ogw'ente anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 8 N'amasavu gonna ag'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi anagiggyangako; amasavu agabikka ku byenda, n'amasavu gonna agali ku byenda, 9 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anabiggyaagako, 10 aga bwe gaggibwa ku nte eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaabyokeranga ku kyoto ekiweerwako ebyokebwa. 11 N'eddiba ly'ente, n'ennyama yaayo yonna, wamu n'omutwe gwayo, n'amagulu gaayo, n'ebyenda byayo, n'obusa bwayo, 12 ente yonna anaagitwalanga ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu, ewu we lifukwa, agyokyenga n'omuliro ku nku: ewu we lifukwa eyo gy'eneeyokerwanga. 13 Era oba ng'ekibiina kyonna ekya Isiraeri kinaasobyaaga, ekigambo ne kikwekebwa mu maaso g'ekibiina, era nga bakoze ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era nga bazzizza omusango; 14 ekibi kye boonoonye bwe kinaamanyibwanga, awo ekibiina kinaawangayo ente ennume envubuka okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ne bagireetanga mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu. 15 Awo abakadde b'ekibiina banaateekanga engalo zaabwe ku mutwe gw'ente mu maaso ga Mukama: ne battira ente mu maaso ga Mukama. 16 Awo kabona eyafukibwako amafuta anaaleetanga ku musaayi gw'ente eri eweema ey'okusisinkanirangamu: 17 awo kabona anannyikanga engalo ye mu musaayi, n'agumansira em+rundi musaavu mu maaso ga Mukama, mu maaso g'eggigi. 18 Awo anaasiiganga ku musaayi ku mayembe g'ekyoto ekiri mu maaso ga Mukama, ekiri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'omusaayi gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 19 N'amasavu gaayo gonna anaagagiggyangako, n'agookera ku kyoto. 20 Bw'atyo bw'anaakolanga ente; nga bwe yakola ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, bw'atyo bw'anaakolanga eno: ne kabona anaabatangiriranga, bo ne basonyiyibwa. 21 Awo anaatwalanga ente ebweru w'olusiisira, n'agyokya nga bwe yayokya ente ey'olubereberye: kye kiweebwayo olw'ekibi olw'ekibiina. 22 Omukulu yenna bw'ayonoonanga, n'akola nga tamanyiridde ekigambo kyonna kyonna ku ebyo byonna Mukama Katonda we bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 23 ekibi ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, ennume eteriiko bulema; 24 awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'embuzi, n'agittira mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama: kye kiweebwayo olw'ekibi. 25 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi ogw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa. 26 N'amasavu gaayo gonna anaagookeranga ku kyoto, ng'amasavu aga ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye, naye anaasoyiyibwanga. 27 Era oba ng'omuntu yenaa ku bantu ab'omu nsi ayonoona nga tamanyiridde, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga, era ng'azzizza omusango; 28 ekibi kye ky'ayonoonye bw'anaakitegeezebwanga, awo anaaleetanga embuzi okuba ekitone kye, enkazi eteriiko bulema, olw'ekibi ky'ayonoonye. 29 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'attira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'ekiweebwayo ekyokebwa. 30 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto. 31 N'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona anaagookeranga ku kyoto okuba ewumbe eddungi eri Mukama; era kabona anaamutangiriranga, naye anaasonyiyibwanga. 32 Era oba ng'aleeta omwana gw'endiga okuguwaayo okuba ekiweebwayo olw'ekibi, anaaleetanga enkazi eteriiko bulema. 33 Awo anaateekanga engalo ze ku mutwe gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'agitta okuba ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo mwe battiza eluweebwayo ekyokebwa. 34 Awo kabona anaatoolanga n'engalo ye ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi, n'aguteeka ku mayembe g'ekyoto ekiweerwako ebyokebwa, n'omusaayi gwayo gwonna anaaguyiwanga ku ntobo y'ekyoto: 35 n'amasavu gaayo gonna anaagaggyangako, ng'amasavu g'omwana gw'endiga bwe gaggibwa ku ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; awo kabona annabyokeranga ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: awo kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, aaye anaasonyiyibwanga.

Ebyabaleevi 5

1 Era oba ng'omuntu yenna ayonoona, ng'awulira eddoboozi ery'okulayiza, oba nga mujulirwa, oba nga yalaba oba nga yamanya, bw'ataakyogereaga, kale anaabangako obubi bwe: 2 era oba ng'omuntu yenna akoma ku kintu ekitali kirongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nsiko eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ensolo ey'omu nnyumba eteri nnongoofu, oba mulambo gw'ebyewalula ebitali birongoofu, naye ng'akwekeddwa; n'aba atali mulongoofu, kale ng'aliko omusango: 3 era oba ng'akoma ku butali bulongoofu bw'omuntu bwonna bwonna obumufuula atali mulongoofu, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango: 4 era oba ng'omuntu yenna alayira mangu n'emimwa gye okukola obubi, oba okukola obulungi, ekintu kyonna omuntu ky'anaayogeranga amangu n'ekirayiro, naye ng'akwekeddwa; bw'anaakimanyanga, kale ng'aliko omusango mu kimu ku bigambo ebyo: 5 awo olulituuka bw'anaabangako omu sango m u kimu ku ebyo, kale anaayatulanga ekigambo kye yayonoona: 6 awo anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama olw'ekibi ky'ayonoonye, enkazi ey'omu kisibo, omwana gw'endiga oba mbuzi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi kye. 7 Era oba ng'ebintu bye bitono n'okuyinza n'atayinza mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga eri Mukama okuba ekyo ky'awaayo olw'omusango olw'ekigambo ky'ayonooaye, bukamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; akamu ka kiweebwayo kya kibi, ak'okubiri ka kiweebwayo ekyokebwa. 8 Awo anaabuleetanga eri kabona, naye anaasookanga okuwaayo ak'ekiweebwayo olw'ekibi, n'anyoola omutwe gwako ku bulago bwako, naye n'atakasalamu: 9 awo anaamansiranga ku musaayi gw'ekiweebwayo olw'ekibi ku mabbali g'ekyoto; n'omusaayi gwonna ogusigaddewo gunaatonnyezebwanga ku ntobo y'ekyoto: kye kiweebwayo olw'ekibi. 10 Era anaawangayo ak'okubiri okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ng'ekiragiro bwe kiri: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye, naye anaasonyiyibwanga. 11 Naye oba ng'ebintu bye bitono n'okuyiaza n'atayinza bukaamukuukulu bubiri, newakubadde amayiba amato abiri, kale anaaleetanga okuba ekitone kye olw'ekigambo ky'ayonoonye, ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi, okuba ekiweebwayo olw'ekibi; tateekangako mafuta, so tateekangako mugavu: kubanga kye kiweebwayo olw'ekibi. 12 Awo anaabuleetanga eri kabona, kabona n'abutoolako olubatu lwe okuba ekijjukizo kyabwo, n'abwokera ku kyoto, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kye kiweebwayo olw'ekibi. 13 Ne kabona anaamutangiriranga olw'ekibi ky'ayonoonye mu bigambo ebyo byonna, naye anaasonyiyibwanga: n'ekitundu ekinaafikkangawo kinaabanga kya kabona, ng'ekiweehwayo eky'ohutta. 14 Mukama n'agamba Musa nti 15 Omuntu yena bw'asobyanga, n'ayonoona nga tamanyiridde mu bigambo ebitukuvu ebya Mukama; kale anaaleetanga eri Mukama ekyo ky'awaayo olw'omusango, endiga !ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, nga bw'onoosaliranga ffeeza mu sekeri, nga sekeri ey'omu warukuvu bw'eri, okuba ekiweebwayo, olw'omusango: 16 era anaagattaI,nga olw'ekigambo ky'asobezza mu 'kigambo ekitukuw, era anaakyongerangako ekitundu eky'ekkumi, n'akiwa kabona: ne kabona anaamutangiriranga n'endiga ennume ey'ekiweebwayo olw'omusaago, naye anaasonyiyibwanga. 17 Era omuntu yenna bw'anaayonoonanga, ng'akola ekigambo kyonna ku ebyo Mukama bye yalagira obutabikolanga; newakubadde nga yali .takimanyi, naye ng'aliko omusango, era anaabangako obubi bwe. 18 Awo anaatoolanga endiga ennume eteriiko bulema ng'agiggya mu ndiga ze, nga bw'onoosalanga, okuba ekiweebwayo olw'omusango n'agireeta eri kabona: ne kabona anaamutangiriranga olw'ekigambo kye yasobya nga tamanyiridde n'atakitegeera, naye anaasonyiyibwanga. 19 Kye kiweebwayo olw'omusango: mazima ng'aliko omusango mu maaso ga Mukama.

Ebyabaleevi 6

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Omuntu yenna bw'ayonoonanga, n'asobya ku Mukama, n'alyazaamaanya muliraanwa we mu higambo eby'okuteresa, oba mu by'okulamulagana, oba mu by'okunyaga, oba bw'abanga ajooze muliraanwa we; 3 oba bw'aba ng'azudde ekyazaawa, n'akiryazaamaanya, n'alayira eby'obulimba; mu kigambo kyonna ku ebyo byonna omuntu ky'akola ng'ayonoona bw'atyo; 4 kale olunaatuukanga bw'aba ng'ayonoonye era ng'aliko omusango, anazzangayo ekyo kye yanyaga, oba kye yafuna olw'okujooga, oba ekyateresebwa kye baamukwasa, oba ekyazaawa kye yazuula 5 oba ekintu kyonna kye yalayirira ng'alimba; anaakizzangayo kyonna, era anaakyongerangako ekitundu kyakyo eky'okutaano: nannyini kyo gw'alikiwa ku lunaku lw'alirabika ng'aliko omusango. 6 Era anaaleetanga ekyo ky'awaayo olw'omusango eri Mukama, endiga ennume eteriiko bulema ey'omu kisibo, aga bw'onoosalanga okuba ekiweebwayo olw'omusaago, eri kabona: 7 ne kabona anaamutaagiriranga mu maaso ga Mukama, naye anaasonyiyibwanga; mu bigambo byonna bye yali akoze ebimuleetako omusango. 8 Mukama n'agamba Musa nti 9 Lagira Alooni a'abaana be ati Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa: ekiweebwayo ekyokebwa kinaabanga ku nktl zaakyo kyoto, kinaasulangako okukeesa obudde; era omuiiro ogw'omu kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga. 10 Era kabona anaaya mbalaaga ekyambalo kye ekya ba futa, ne seruwale ye eya bafu anaagyambalanga ku mubiri gwe; kale anaasitulanga ewu erivudde mu kiweebwayo ekyokebwa omuliro kye gwokezza ku kyoto, era anaaliteekanga ku mabbali g'ekyoto. 11 Awo anaayambulanga ebyambalo bye, n'ayambala ebyambalo ebirala, n'atwala, ewu ebweru w'olusiisira eri ekifo ekirongoofu. 12 Era omuliro oguli ku kyoto gunaakumibwanga omwo obutazikiranga; era kabona anaayokerangako enku buli nkya: era anaakiteekerateekerangako ekiweebwayo ekyokebwa, era anaakyokerangako amasavu ag'ebiweebwayo olw'emirembe. 13 Omuliro gunaakumibwanga mu kyoto lutata; teguzikiranga. 14 Era lino lye tteeka ery'ekiwee bwayo eky'obutta: abaana ba Alooni banaakiwecrangayo mu maaso ga Mukama mu maaso g'ekyoto. 15 Era anaakitoolangako olubatu, lwe, ku butta obulungi obw'ekiweebwayo eky'obutta, ne ku mafuta gaakyo, n'omugavu gwonna oguli ku kiweebwayo eky'obutta, n'akyokera ku kyoto okuba ewumbe eddungi, okuba ekijjukizo kyakyo eri Mukama. 16 N'ekyo ekinaafikkangawo Alooni n'abaana be banaakiryanga: kinaaliirwanga awatali kizimbulukusa mu kifo ekitukuw; mu luggya lw'eweema ey'okusisinkaniraagamu mwe banaakiriiranga. 17 Tekyokebwanga n'ekibulukusa. Nkibawadde okuba ugabo gwabwe ku byange ebieebwayo ebikolebwa n'omuliro; kye kitukuvu ennyo, ng'ekiweebwayo olw'ekibi, era ng'ekiweebwayo olw'omusango. 18 Buli musajja ku baana ba Alooni banaakiryangako, okuba ebbanja ennaku zonna mu mirembe gyammwe gyonna, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; buli anaabikomangako anaabanga mutukuvu. 19 Mukama n'agamba Musa nti 20 Kino kye kitone kya Alooni n'abaana be, kye banaawangayo eri Mukama ku lunaku lw'alifukirwako amafuta; ekitundu eky'ekkumi ekya efa y'obutta obulungi okuba ekiweebwayo eky'obutta ennaku zonna, ekitundu kyabwo enkya, n'ekituadu kyabwo akawungeezi. 21 Ku kikalango kwe bunaafumbirwanga n'amafuta; bwe bumalaaga okunnyikira, n'olyoka obuyingiza: onoowangayo ekiweebwayo eky'obutta mu bitole ebyokye okuba ewumbe eddungi eri Mukama. 22 Era kabona eyafukibwako amafuta anaabanga mu kifo kye ow'oku baana be ye anaakiwangayo: kinaayokebwanga kyonaa eri Mukama olw'etteeka eritalijjulukuka ennaku zonna. 23 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekya kabona kinaayokebwanga kyonna: tekiriibwanga. 24 Mukama n'agamba Musa nti 25 Gamba Alooni n'abaana be nti Lino lye tteeka ery'ekiweebwayo olw'ekibi: mu kifo ekiweebwayo ekyokebwa mwe kittirwa n'ekiweebwayo olw'ekibi mwe kinattirwanga mu maaso ga Mukama: kye kitukuvu ennyo. 26 Kabona akiwaayo olw'ekibi y'aaaakiryanga: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu, mu luggya lw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 27 Buli ekinaakomanga ku nnyama yaakyo kinaabanga kitukuvu: era bwe kunaamansirwanga ku musaayi gwakyo ku kyambalo kyonna, onooyolezanga ekyo ekimansiddwako mu kifo ekitukuvu. 28 Naye ekintu ekibumbe mwe kifumbirwa kinaayasibwanga: era oba nga kifumbiddwa mu kintu eky'ekikomo, kinaasiimuulwanga era kinaayozebwanga n'amazzi. 29 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kye kitukuvu ennyo. 30 So tewabanga kiweebwayo lwa kibi, kye batoolako ku musaayi gwakyo ne baguyingiza mu weema ec'okusisinkanirangamu okutangirira mu watukuvu, kye balyako; kinaayokebwanga n'omuliro.

Ebyabaleevi 7

1 Era lino lye tteeka ery'ekiwee' bwayo olw'omusango: kye kitukuvu ennyo. 2 Mu kifo mwe battira ekiweebwayo ekyokebwa mwe banattiranga ekiweebwayo olw'omusango: n'omusaayi gwakyo anaagumansiranga ku kyoto enjuyi zonna. 3 Era anaawangayo ku kyo amasavu gaakyo gonna; omukira ogwa ssava, n'amasavu agali ku byenda 4 n'ensigo zombi, n'amasavu agaziriko, agaliraana n'ekiwato, n'ekisenge ekiri ku kibumba, awamu n'ensigo, anaabiggyangako: 5 awo kabona anaabyokeranga ku kyoto okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama: kye kiweebwayo olw'omusango. 6 Buli musajja ku bakabona anaakiryangako: kinaaliirwanga mu kifo ekitukuvu: kye kitukuvu ennyo. 7 Ng'ekiweebwayo olw'ekibi bwe kiri, n'ekiweebwayo olw'omusango bwe kiri bwe kiti: etteeka lyabyo limu: kabona annakitangirizanga y'anaabanga nakyo. 8 Era kabona awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eky'omuntu yenna, kabona oyo y'aneetwaliranga eddiba ery'ekiweebwayo ekyokebwa ky'awaddeyo. 9 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekyokerwa mu kabiga, ne byotma ebirongoosebwa mu kikalango, ne ku kikalango eky'omu kabiga, binaabanga bya kabona abiwaayo. 10 Era buli ekiweebwayo eky'obutta ekitabulwamu amafuta oba kikalu, abaana ba Alooni bonna banaabanga nakyo, buli muntu okwenkana ne munne. 11 Era lino lye tteeka erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe omuntu by'anaawangayo eri Mukama 12 Oba ng'agiwaayo olw'okwebaza, kale anaaweerangayo wa mu ne ssaddaaka ey'okwebaza emigaati egitazimbulukuswa egitabuddwamu amafuta, n'egy'emFewe: egitazimbulukuswa egisiigiddwako amafuta, n'emigaati egitabudwamu amafuta, egy'obutta obulungi nnyikidde. 13 Awamu n'emigaati egizimbulukuswa bw'anaawangayo ky'awaayo wamu ne ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe olw'okwebaza. 14 Era ku yo anaawangayo gumu ku buli kitone okuba ekiweebwayo ekisitulibwa eri Mukama; gunaabanga gwa kabona oyo amansira omusaayi ogw'ebiweebwayo olw'emirembe. 15 Era ennyama eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe olw'okwebaza eneeriibwanga ku lunaku lw'agiweerako; tafissangako okutuusa enkya. 16 Naye oba nga ssaddaaka gy'awaayo bweyamo, oba gy'awaayo ku bubwe, enerriibwanga ku lunaku lw'aweerako saddaaka ye: n'enkya ekinaafikkangako kinaaliibwanga; 17 naye ekinaafikkanga ku nnyama eya ssaddaaka ku lunaku olw'okusatu kinaayokebwanga n'omuliro. 18 Era oba ng'ennyama yonna eya ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eneerubwanga ku lunakn olw'okusatu, tekkirizibwenga, so teemubalirwenga cyo agiwaayo: eneebanga ya muzizo, n'omwoyo ogunaagiryangako gunaabangako obubi bwe. 19 Era ennyama ekoma ku kintu kyonna ekitali kirongoofu teriibwanga; eneeyokebwanga n'omuliro. N'ennyama eyo, buli mulongoofu anaagiryangako: 20 naye omwoyo ogunaalyanga ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, ng'aliko obutali bulongoofu bwe, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 21 Era omuntu yenna bw'anaakomanga ku kintu ekitali kirongoofu, obutali bulongoofu bw'omuntu, oba ensolo eteri nnongoofu, oba eky'omuzizo kyonna ekitali kirongoofu, n'alya ku nnyama eya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, Mukama ye nannyini byo, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 22 Mukama n'agamba Musa nti 23 Gamba abaana ba Isiraeri nti Temulyanga ku masavu, ag'ente, newakubadde ag'endiga, newakubadde ag'embuzi. 24 N'amasavu g'eyo efa yokka n'amasavu g'eyo etaagulwa ensolo ganaabanga ga mirimu mirala gyonna: naye okulya temugalyangako n'akatono, 25 Kubanga buli alya ku masavu g'ensolo, abantu gye bawaayo okuba ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama, omwoyo ogwo ogunaagalyangako gunaazikirizibwanga mu bantu be. 26 So temulyanga ku musaayi ogw'engeri yonna, bwe guba ogw'ennyonyi newakubadde ogw'ensolo, mu nnyumba zammwe zonna. 27 Buli muntu yenna anaalyanga ku musaayi gwonna, omwoyo ogwo gunaazikirizibwanga mu bantu be. 28 Mukama n'agamba Musa nti 29 Gamba abaana ba Isiraeri nti Awaayo ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe eri Mukama anaaleetanga ekitone kye eri Mukama ssaddaaka y'ebyo by'awaayo olw'emirembe: 30 engalo ze yennyini zinaaleetanga ebiweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro; amasavu n'ekifuba anaabireetanga, ekifuba kiwuubibwewuubibwenga okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 31 Era kabona anaayokeranga amasavu ku kyoto: naye ekifuba kinaabanga kya Alooni n'abaana be. 32 N'ekisambi ekya ddyo munaakiwanga kabona okuba ekiweebwayo ekisitu libwa ku ssaddaaka z'ebyo bye mu waayo olw'emirembe 33 Oyo ku baana ba Alooni awaayo omusaayi gw'ebiweebwayo olw'emirembe, a'amasavu, y'anaabanga n'ekisambi ekya ddyo okuba omugabo gwe. 34 Kubanga ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa bye nziye ku baana ba Isiraeri ku ssaddaaka z'ebyo bye bawaayo olw'emirembe, n'embiwa Alooni kabona n'abaana be, okuba ebbanja emirembe gyonna eri abaana ba Isiraeri. 35 Ogwo gwe mugabo ogw'okufukibwako amafuta ogwa Alooni, n'omugabo ogw'okufukibwako amafuta ogw'abaana be, oguggibwa ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, ku lunaku lwe yabaleeterako okuweereza Mukama mu bwakabona; 36 Mukama gwe yalagira okubawanga abaana ba Isiraeri; ku lunaku lwe yabafukirako amafuta. Linaabanga bbanja ennaku zonna mu mirembe gyabwe gyorma. 37 Eryo lye tteeka ery'ekiweebwayo ekyokebwa, ery'ekiweebwayo eky'o butta, n'ery'ekiweebwayo eky'ekibi, a'ery'ekiweebwayo olw'omusango; n'ery'okwawula, n'erya ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; 38 Mukama lye yalagira Musa ku lusozi Sinaayi ku lunaku kwe yalagirira abaana ba Isiraeri okuwangayo ebitone byabwe eri Mukama mu ddungu lya Sinaayi.

Ebyabaleevi 8

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Twala Alooni n'abaana be awamu naye, n'ebyambalo, n'amafuta ag'okufukako, n'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'endiga ennume zombi, n'ekibbo ekirimu amigaati egitazimbulukuswa; 3 okunnaanyize ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 4 Awo Musa n'akola nga Mukama bwe yamulagira; ekibiina ne kikuŋŋaanyizibwa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu. 5 Musa n'agamba ekibiina nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira okukola. 6 Musa n'aleeta Alooni n'abaaaa be, n'abanaaza n'amazzi. 7 N'amwambaza ekizibawo, n'amusiba olukoba, n'amwambaza omunagiro, n'amussaako ekkanzu, n'amusiba olukoba olw'ekkanzu olwalukibwa n'amagezi, n'aginyweza n'olwo 8 N'amussaako ekyokukifuba: ne mu kyokukifuba yateeka Ulimu ne Sumimu. 9 N'amutikkira enkuufiira ku mutwe; ne ku nkuufiira, mu maaso gaayo, n'assaako ekipande ekya zaabu, engule entukuvu; nga Mukama bwe yalagira Musa. 10 Musa n'addira amafuta ag'okufukako, n'agafuka ku weema ne ku byonna ebyagirimu, n'abitukuza: 11 N'amansirako ku kyoto emirundi musanvu, n'afuka ku kyoto n'ebintu byakyo byonna, n'eky'okunaabirangamu n'entobo yaakyo, okubitukuza. 12 N'afuka ku mafuta ag'okufukako ku mutwe gwa Alooni, n'amufukako amafuta, okumutukuza. 13 Musa n'aleeta abaana ba Alooni, n'abambaza ebizibawo, n'abasiba enkoba, n'abasibako ebiremba; nga Mukama bwe yalagira Musa. 14 N'aleeta ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'ente ey'ekiweebwayo olw'ekibi. 15 N'agitta: Musa n'addira omusaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto enjuyi zonna n'engalo ye, n'alongoosa ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, n'akitukuza, okukitangirira. 16 N'addira amasavu gonna agaali ku byenda, n'ekisenge eky'okuki bumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, Musa n'agookera ku kyoto 17 Naye ente n'eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'obusa bwayo n'abyokera n'omuliro ebweru w'olusiisira; nga Mukama bwe yalagira Musa. 18 N'aleeta endiga ennume ey'ekiweebwayo ekyokebwa: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 19 N'agitta: Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 20 N'asala mu ndiga ebitundu, byayo; Musa n'ayokya omutwe, n'ebitundu, n'amasavu. 21 N'anaaza ebyenda n'amagulu n'amazzi Musa n'ayokera endiga yonna ku kyoto: yali kiweebwayo ekyokebwa' olw'evvumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama; nga Mukama bwe yalagira Musa: 22 N'aleeta endiga ennume ey'okubiri, endiga ey'okwawula: Alooni n'abaana be ne bateeka engalo zaabwe ku mutwe gw'endiga. 23 N'agitta; Musa n'atoola ku musaayi gwayo, n'agusiiga ku nsonda y'okutu kwa Alooni okwa ddyo, ne ku kinkumu ky'omukono gwe ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo, 24 N'aleeta abaana ba Alooni, Musa n'asiiga ku musaayi ku nsonda y'okutu kwabwe okwa ddyo, ne ku kinkumu eky'omukono gwabwe I ogwa ddyo, ne ku kigere ekisajja eky'okugulu kwabwe okwa ddyo:' Musa n'amansira omusaayi ku kyoto enjuyi zonna. 25 N'addira amasavu, n'omukira ogwa ssava, n'amasavu gonna agali ku byenda, n'ekisenge eky'oku kibumba, n'ensigo zombi, n'amasavu gaazo, n'ekisambi ekya ddyo: 26 ne mu kibbo ekyalimu emigaati egitazimbulukuswa elryali mu maaso ga Mukama n'aggyamu omugaati gumu ogutazimbulukuswa, n'omugaati gumu ogwasiigibwako amafuta, n'ogw'oluwewere gumu, n'agiteeka ku masavu, ne ku kisambi ekya ddyo: 27 n'ateeka byonna mu ngalo za Alooni ne mu ngalo z'abaana be, n'abiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama. 28 Musa n'abiggya mu ngalo zaabwe, n'abyokera ku kyoto ku kiweebwayo ekyokebwa: byali bya kwawula olw'ewumbe eddungi: yali kiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama. 29 Musa n'addira ekifuba, n'akiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: gwali mugabo gwa Musa ku ndiga ey'okwawula; nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 Musa n'atoola ku mafuta ag'akufukako, ne ku musaayi ogwali ku kyoto, n'agumansira ku Alooni, ku byambalo bye, ne ku baana be, ne ku byambalo by'abaana be awamu naye; n'atukuza Alooni, ebyambalo bye, n'abaana be, n'ebyambalo by'abaana be awamu naye. 31 Musa n'agamba Alooni n'abaana be nti Mufumbire ennyama ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: mugiriire eyo n'emigaati egiri mu kibbo eky'okwawula, nga bwe nnalagira nga njogera nti Alooni n'abaana be banaabiryanga. 32 Era ekinafikkawo ku nnyama ne ku migaati munaakyokya n'omuliro. So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. 33 So temufulumanga mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu ennaku musanvu, okutuusa ennaku ez'okwawula kwammwe lwe zirituukirira: kubanga alibaawulira ennaku musanvu. 34 Nga bwe kikoleddwa leero, bw'aryo Mukama bwe yalagira okukola, okubatangirira. 35 Era ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu gye mulimalira ennaku musanw emisana n'ekiro, mwekuume ekiragiro kya Mukama muleme okufa: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 36 Alooni n'abaana be ne bakola byonna Mukama bye yalagira mu mukono gwa Musa.

Ebyabaleevi 9

1 Awo olwatuuka ku lunaku olw'omunaana Musa n'ayita Alooni n'abaana be n'abakadde ba Isiraeri; 2 n'agamba Alooni nti Weetwalire ennyana ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi, a'endiga ennume okuba ekiweebwayo ekyokebwa, ezitaliiko bulema, oziweereyo mu maaso ga Mukama. 3 Era abaana ba Isiraeri onoobagamba nti mwetwalire embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi; n'ennyana n'omwana gw'endiga, ezaakamaze omwaka ogumu zombi, ezitaliiko bulema, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; 4 n'ente n'endiga ennume okuba ebiweebwayo olw'emirembe, okuziwaayo mu maaso ga Mukama; n'ekiweebwayo eky'obutta ekitabuddwamu amafuta: kubanga leero Mukama anaabalabikira. 5 Ne baleeta ebyo Musa by'alagidde mu maaso g'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekibiina kyonna ne kisembera ne kiyimirira mu maaso ga Mukama. 6 Musa n'ayogera nti Kino kye kigambo Mukama kye yalagira mukikole: n'ekitiibwa kya Mukama kinaabalabikira. 7 Musa n'agamba Alooni nti Semberen. ekyoto, oweeyo ekyo ky'owaayo olw'ekibi n'ekyo ky'owaayo ekyekebwa, weetangirire wekka n'abantu: oweeyo ekitone eky'abantu obatangirire; nga Mukama bwe yalagira. 8 Awo Alooni n'asemberera ekyoto, n'atta ennyana ey'ekiweebwayo olw'ekibi, ekikye ku bubwe. 9 Abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi: n'annyika engalo ye mu musaayi, n'agusiiga ku mayembe g'ekyoto, n'ayiwa omusaayi ku ntobo y'ekyoto, 10 naye amasavu n'ensigo n'ekisenge eky'okukibumba eky'ekiweebwayo olw'ekibi, n'abyokera kn kyoto; nga Mukama bwe yalagira Musa. 11 N'ennyama n'eddiba n ahyolzera n'omuliro ebweru w'olusiisira. 12 N'atta ekiweebwayo ekyokebwa; abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna. 13 lee bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, eBitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto: 13 Ne bamuleetera ekiweebwayo ekyokebwa, ebitundu ebitundu kinnakimu, n'omutwe: n'abyokera ku kyoto: 14 N'anaaza ebyenda n'amagulu, n'abyokera ku kiweebwayo ekyokebwa ku kyoto. 15 N'aleeta ekitone eky'abantu, n'addira embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi ekyali, ku bw'abantu, n'agitta, n'agiwaayo olw'ekibi, nga n'eyolubereberye. 16 N'aleeta ekiweebwayo ekyokebwa, n'akiwaayo ng'ekiragiro bwe kyali. 17 N'aleeta ekiweebwayo eky'obutta, n'akitoolako okujjuza olubatu lwe, n'agyokera ku kyoto, era n'ekiweebwayo ekyokebwa eky'enkya. 18 Era n'atta ente n'endiga ennume, ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, eyali ku bw'abantu: abaana ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n'agumansira ku kyoto enjuyi zonna, 19 n'amasavu g'ente: ne ku ndiga omukira ogwa ssava, n'agabikka ku byenda, n'ensigo n'ekisenge eky'oku kibumba: 20 amasavu ne Ibagateeka ku bifuba n'ayokera amaisavu ku kyoto: 21 n'ebifuba n'ekisambi ekya ddyo Alooni n'abiwuulbawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; nga Musa bw'alagidde 22 Awo Alooni n'ayimusa emikono gye eri abantu, n'abasabira omukisa; n'aserengeta ng'amaze okuwaayo ekiI weebwayo olw'ekibi n'ekiweebwayo ekyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. 23 Awo Musa ne Alooni ne bayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu, ne bafuluma, ne basabira abantu omukisa: awo ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira abantu bonna. 24 Omuliro ne guva eri Mukasna mu maaso ge, ne gwokera ku kyoto ekiweebwayo ekyokebwa n'amasavu: awo abantu bonna bwe baagulaba ne boogerera waggulu ne: bavuunama amaaso gaabwe.

Ebyabaleevi 10

1 Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga. 2 Omuliro ne guva eri Mukama mu maaso ge, ne gubookya, ne bafiira mu maaso ga Mukama. 3 Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira. 4 Musa n'ayita Misaeri ne Erizafani, abaana ba Wuziyeeri kojja wa Alooni, n'abagamba nti Musembere, musitule baganda bammwe okubaggya mu maaso g'awatukuvu mubatwale ebweru w'olusiisira. 5 Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo, byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde. 6 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza. 7 So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga, Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali. 8 Mukama n'agamba Alooni nti 9 Tonywanga ku mwenge newankubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna 10 era mulyoke mwawulengamu ebitukuvu n'ebitali bitukuvu, n'ebirongoofu n'ebitali birongoofu; 11 era mulyoke muyigirize abaana ba Isiraeri amateeka gonna Mukama ge yababuulirira mu mukono gwa Musa. 12 Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo: 13 era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbannja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa. 14 N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe. 15 Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo eki wuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira. 16 Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti 17 Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama? 18 Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde. 19 Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kiruagi nnyo mu maaso ga Mukama? 20 Kale Musa bwe yawulira, n'ekiba kirungi nnyo mu maaso ge.

Ebyabaleevi 11

1 Mukama n'ayogera ne Musa ne Alooni ng'abagamba nti 2 Mugambe abaana ba Isiraeri nti Bino bye biramu bye munaalyanga ku nsolo zonna eziri ku nsi. 3 Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era, ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye kye munalyanga. 4 Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli. 5 N'omusu kubanga guzza obwenkulumu nayetegwawulamu kinuulo, ogwo si mulongoofu gye muli. 6 N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli. 7 N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. 8 Ku nnyama yaazo temulyangako, so n'emirambo gyazo temugikomangako; si nnongoofu gye muli. 9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiri mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba mu mazzi, mu nnyanja ne mu migga, ebyo bye munaalyanga. 10 Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli, 11 era binaabanga bya muzizo gye muli; temulyanga ku nnyama yaabyo, n'emirambo gyabyo munaagiyitanga gya muzizo. 12 Buli ekitalina maggwa newakubadde amagamba mu mazzi, ekyo kya muzizo gye muli. 13 Na bino bye munaayitanga eby'omuzuo ku nnyonyi; tebiriibwanga, bya muzizo: ennunda, n'empungu, ne makwanzi; 14 ne kamunye, n'eddiirawamu n'engeri yaalyo; 15 buli namuŋŋoona n'engeri yaabo; 16 ne maaya, n'olubugabuga, n'olusove, n'enkambo n'engeri yaayo; 17 n'ekiwuugulu, n'enkobyokkoobyo, n'ekkufufu; 18 n'ekiwuugulu eky'amatu, ne kimbala, n'ensega; 19 ne kasida, ne mpaabaana n'engeri ye, n'ekkookootezi, n'ekinyira. 20 Ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana bya muzizo gye muli. 21 Naye bino bye muyinza okulya ku byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro ebitambuza amagulu ana, ebirina amagulu waggulu ku bigere byabyo, okugabuusa ku nsi; 22 bino bye muyinza okulya ku ebyo enzige n'engeri yaayo, n'enseenene n'engeri yaayo, n'akanyeenkule n'engeri yaako, n'ejjanzi n'engeri yaalyo. 23 Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli. 24 Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi 25 era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 26 Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu. 27 Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 28 Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli. 29 Na bino bye bitali birongoofu gye muli ku byewalula ebyewalula ku nsi; eggunju, n'emmese, n'ekkonkomi eddene n'engeri yaalyo, 30 ne anaka, n'enswaswa, n'omunya, n'ekkonkomi, ne nnawolovu. 31 Ebyo bye bitali birongoofu gye muli ku ebyo byonna ebyewalula: buli anaabikomangako, nga bifudde, anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 32 Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaaI banga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu. 33 Na buli kintu eky'e'bbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga. 34 Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu : na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu. 35 Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli. 36 Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuinaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu. 37 Era oba nga ku mulambo gwabyo kugwa ku nsigo yonna ey'okusiga egenda okusigibwa, yo eneebanga nnongoofu. 38 Naye oba ng'amazzi gafukibwa ku nsigo, ne ku mulambo gwabyo ne kugwa okwo, nga si nnongoofu gye muli. 39 Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. 40 N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, 41 Na buli ekyewalula ekyewalula ku nsi kya muzizo; tekiriibwanga. 42 Buli ekitambuza olubuto, na buli ekitambuza amagulu ana, oba bud ekirina amagulu amangi, buli ebyewalula ku nsi, ebyo temubiryanga; kubanga bya muzizo. 43 Temwegwagwawazanga na kyewalula kyonna, so temwefuulanga nabyo abatali balongoofu, mubeere n'empitambi bwe mutyo. 44 Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi. 45 45 Kubanga nze ndi Mukama eyabalinnyisa okuva mu nsi y'e Misiri, okuba Katonda wammwe, kale mmwe munaabanga abatukuvu: kubanga nze ndi mutukuvu. 46 Eryo lye tteeka ery'ensolo n'ery'ennyonyi n'erya buli kitonde ekiramu ekitambula mu mazzi, n'erya buli kitonde ekyewalula ku nsi: 47 okwawulamu ebitali birongoofu n'ebirongoofu, n'ekiramu ekiriika n'ekiramu ekitaliika.

Ebyabaleevi 12

1 Mukama n'agamba Musa nti 2 Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu. 3 Awo ku lunaku olw'omunaana omubiri gw'ekikuta kye gunaakomolwanga. 4 Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa. 5 Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe. 6 Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona: 7 kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala. 8 Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.

Ebyabaleevi 13

1 Era Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti 2 Omuntu bw'anaabAnga n'ekizimba oba kikuta oba mbalabe etvngudde ku ddiba ly'omubiri gwe, ne kifuuka endwadde y'ebigenge ku ddiba ly'omubiri gwe, kale anaaleetebwanga eri Alooni kabona, oba eri omu ku baana be bakabona: 3 kale kabona anaakeberanga endwadde eri ku ddiba ly'omubiri: era obwoya obuli awali endwadde bwe buba nga bufuuse obweru, ne kifaananyi ky'endwadde nga kifulumye wansi w'eddiba ly'omubiri gwe, nga ye ndwadde y'ebigenge: awo kabona anaamukeberanga, n'amwatulira nga si mulongoofu. 4 Era embalabe erungudde bw'ebanga enjeru ku ddiba ly'omubiri gwe, n'ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, n'obwoya bwawo nga tebufuuse bweru, kale kabona snaasibiranga ow'endwadde ennaku musanvu: 5 awo kabona alimukebera ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, bw'anaalabanga ng'endwadde ekomye awo; n'endwadde nga tebunye ku ddiba, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu endala: 6 awo kabona alimukebera nate ku lunaku olw'omusanvu: kale, laba, endwadde bw'eba nga tekyalabika nnyo, n'endwadde nga tebunye ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: nga kye kikuta: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu 7 Naye ekikuta bwe kinaabunanga ku ddiba, ag'amaze okweraga eri kabona olw'okulongoosebwa kwe, aneeraganga nate eri kabona: 8 kale kabona anaakeberanga, era, laba, ekikuta bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongaofu: nga bye bigenge. 9 Endwadde y'ebigenge bw'ebanga ekutte omuntu, awo anaaleetebwanga eri kabona; 10 kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba, 11 nga bye bigenge eby'edda ku ddiba ly'omubiri gwe, era kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: tamusibanga; kubanga oyo si mulongoofu. 12 Era ebigenge bwe bifuutuukanga ku ddiba, ebigenge ne bibuna eddiba lyonna ery'omulwadde okuva ku mutwe okutuusa ku bigere, okulaba kwonna kabona kw'anaalabanga; 13 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, ebigenge bwe binaabanga bibunye omubiri gwe gwonaa, anaamwatuliranga omulwadde nga mulongoofu: byonna bifuuse okuba ebyeru: oyo mulongoofu. 14 Naye ennyama enjere bw'eneerabikanga ku yc, anaabanga atali mulongoofu. 15 Awo kabona anaakebeianga ennyama enjere, n'amwatulira nga si mulongoofu: ennyama enjere si nnongoofu: bye bigenge. 16 Oba ennyama enjere bw'ekyukanga nata n'efuuka okuba enjeru, kale anajjanga eri kabona, 17 kabona n'amukebera: era, laba, endwadde bw'ebanga efuuse okuba onjeru, kale kabona anaamwatulirangs onnulwadde nga mulongoofu: oyo mulongoofu. 18 Era omubiri bwe gunaabangako ejjute ku ddiba lyagwo, nalyo nga lyawona, 19 n'awaali ejjute ne wabaawo ekizimba ekyeru, oba mbalabe erungudde, enjeruyeru era emmyufumyufu, kale kinaalagibwanga kabona; 20 awo kabona anaakeberanga, era, laba, ekifaananyi kyakyo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, a'obwoya bwawo nga bufuuse okuba obweru, hale kabona anamwatuliranga nga si mulongoofu: ye ndwadde y'ebigenge, efulumye mu jjute. 21 Naye kabona bw'anaakikeberanga, era, laba, nga temuli bwoya bweru, so nga tekifulumye wansi w'eddiba, naye nga tekirabika bulungi, awo kabona anaamusibiranga ennaku musanvu: 22 awo bwe kinaabunanga ku ddiba, awo kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: eyo ye ndwadde: 23 Naye embalabe erungudde bw'eneekomanga 'awo, era nga tebunye, eyo nga ye enkovu ey'ejjute; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. 24 Oba omubiri bwe gunaabangako okwokebwa n'omuliro ku ddiba lyagwo, ennyama ennamu eyokeddwa n'efuuka okuba embalabe erungudde, enjeruyeru era lemmyufumyufu, oba njeru; 25 awo kabona anaagikeberanga: era, laba, obwoya obw'omu mbalabe erungudde bwe bunaabanga bufuuse okuba obweru, n'ekifaananyi kyayo nga kifulumye wansi w'eddiba; bino bye bigenge, byafuluma awaayokebwa: kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge. 26 Naye kabona bw'anaagikeberanga, era, laba, nga tewali bwoya bweru awali embalabe erungudde, so nga tefulumye wansi w'eddiba, naye nga terabika bulungi; kale kabona anaamusibiranga ennaku musanvu: 27 kale kabona alimukebera ku lunaku olw'omusaavu: bw'eneebunanga ku ddiba, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: nga ye ndwadde y'ebigenge. 28 Era embalabe erungudde bw'eneekomanga awo, nga tebunye ku ddiba, era nga terabika bulungi; nga kye kizimba eky'okwo kebwa, era kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kubanga eyo ye nkovu ey'okwokebwa. 29 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'endwadde ku mutwe oba ku kirevu, 30 kale kabona anaakeberanga endwadde: awo, laba, ekifaananyi kyayo bwe kinaabanga nga kifulumye wansi w'eddiba, era nga mulimu enviiri eza kyenvu ez'entalaaga, kale kabona anaamwatuliranga nga si mulongoofu: ekyo kye kikakampa, bye bigenge eby'oku mutwe oba eby'oku kirevu. 31 Era kabona bw'anaakeberanga endwadde ey'ekikakampa, era, laba, ekifaananyi kyayo nga tekifulumye wansi w'eddiba, so nga tewali nviiri nzirugavu, kale kabona anaamusibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu: 32 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera endwadde: era laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye, so nga tewali nviiri za kyenvu, n'ekifaananyi ky'ekikakampa nga tekifulumye wansi w'eddiba, 33 kale anaamwebwanga, naye ekikakampa takimwanga; era kabona anaasibiranga omulwadde w'ekikakampa ennaku musanvu endala: 34 awo ku lunaku olw'omusanvu kabona alikebera ekikakampa: kale, laba, ekikakampa bwe kinaabanga nga tekibunye ku ddiba, n'ekifaananyi kyakyo nga tekifulumye wansi w'eddiba; awo kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu: kale anaayozanga engoye ze, n'aba mulongoofu. 35 Naye ekikakampa bwe kinaabunanga ku ddiba ng'amaze okulongoosebwa; 36 awo kabona anaamukeberanga: era, laba, ekikakampa bwe kinaabanga kibunye ku ddiba, kabona tanoonyanga nviiri za kyenvu; oyo si mulongoofu. 37 Naye bw'anaalabanga ng'ekikakampa kikomye awo, n'enviiri enzirugavu nga zimezeewo; ekikakampa nga kiwonye, oyo mulongoofu: kale kabona anaamwatuliranga nga mulongoofu. 38 Era omusajja oba mukazi bw'anaabanga n'embalabe ezirungudde ku ddiba ly'omubiri gwabwe, ze mbalabe ezirungudde enjeru; 39 kale kabona anaakeberanga: awo, laba, embalabe ezi rungudde eziri ku ddiba ly'omubiri gwabwe bwe zinaabanga enjeruyeru; nga bwe butulututtu, nga bufulumye mu ddiba; oyo mulongoofu. 40 Era omusajja bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'oku mutwe gwe, oyo nga wa kiwalaata; (naye) mulongoofu. 41 Era bw'anaabanga akuunyuuse enviiri ez'omu kawumpo, nga wa kiwalaata kya mu kawumpo; naye nga mulongoofu. 42 Naye endwadde enjeruyeru era emmyafumyufu bw'eneebanga ku mutwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ak'ekiwalaata; ebyo bye bigenge ebifuluma mu mutwe gwe ogw'ekiwalaata oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata. 43 Awo kabona anaamukeberanga: kale, laba, ekizimba eky'endwadde bwe kinaabanga ekyeruyeru era ekimyufumyufu ku mutwe gwe ogw'ekiwalaata, oba mu kawumpo ke ak'ekiwalaata, ng'ekifaananyi ky'ebigenge bwe kiri ku ddiba ly'omubiri; 44 oyo nga wa bigenge, si mulongoofu: kabona talemanga kumwatulira nga si mulongoofu; endwadde ng'eri ku mutwe gwe. 45 Era omugenge alina endwadde, engoye ze zinaabanga enjulifuyulifu, n'enviiri ez'oku mutwe gwe tazisibangako, era anaabikkanga ku mumwa gwe ogw'engulu, era anaayagereranga waggulu nti Siri mulongoofu, siri mulongoofu. 46 Ennaku zonna eadwadde ng'ekyali ku ye anaabanga atali mulongoofu; si mulongoofu: anaabeeranga yekka; ennyumba ye eneebanga bweru wa lusiisira. 47 Era n'ekyambalo ekiriko endwadde y'ebigenge, oba kyambalo kya byoya bya ndiga oba kyambalo kya bafuta; 48 bwe bibanga ku wuuzi ez'obusimba oba ku z'obukiika; oba kya bafuta oba kya byoya; bwe bibanga ku ddiba oba ku kintu ekikolebwa n'eddiba; 48 endwadde bw'eneebanga eya nnawandagala oba emmyufumyufu ku kyambalo, oba ku ddiba, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku kintu kyonna eky'eddiba; eyo nga ndwai dde ya bigenge, era eneeragibwanga kabona: 49 awo kabona anaakeiberanga endwadde, n'asibira eki kyambalo, oba ku wuuzi ez'obusimba, oba ku z'obukiika, oba ku ddiba, omulimu gwonna eddiba gwe likola; endwadde nga bigenge ebirya; nga si kirongoofu. 50 Awo anaayokyanga ekyambalo, oba wuuzi za busimba, oba za bukiika, oba ng'eri mu byoya oba mu bafuta, oba mu kintu kyonna eky'eddiba, omuli endwadde: kubanga ebyo bye bigenge ebirya; kinaayokebwanga mu muliro. 51 Era kabona bw'anaakeberanga, kale, laba, endwadde nga

Impressum

Verlag: BookRix GmbH & Co. KG

Texte: This bible can either be read online or downloaded onto your pc as well as every kind of e-reader. It is made available in e-pub format. It can and should be spread in every way, selling it is, however, prohibited.
Tag der Veröffentlichung: 15.04.2013
ISBN: 978-3-7309-4760-9

Alle Rechte vorbehalten

Widmung:

Nächste Seite
Seite 1 /